TEL: +256 782/752 610368
OFFICE: +256 414 693075, +256 414 673289

P.O.BOX,73503 CLOCK TOWER KAMPALA (U) EAST AFRICA (newedencentreparkministries@gmail.com)

No sermons found.
Archives
Documents

THE PROPHECY 

THE MESSAGE OF THE PROPHECY ABOUT THE NEW AND LAST GENERATION 2002 – 2018 IN SUMMARY

THE REST IN BROAD IS TO COME SOON

This message of Prophecy works as a trumpet of the new and last Generation to the entire world to warn all of us about the vast calamity that is coming soon onto the world and the way to overcome it.

TO ALL CHURCHES IN UGANDA,

THE MINISTERS OF GOD, HIS EXCELLENCY,

MAJESTY KINGS, GOVERNMENT MINISTERS,

HONOURABLES, OFFICIALS, CIVIL SERVANTS AND INDIVIDUALS.

  • CAUTION TO THE CHURCH ABOUT THE DRYNESS IN THE WORD OF GOD.
  • GOD’S CALLING TO THE NEW GENERATION FOR MINISTRY.
  • CAUTION TO THE REPUBLIC OF UGANDA ABOUT WITCH CRAFT,

ARROGANCE AND CORRUPTION.

  • URGENT WARNING.
  • REVEALING REBELLION AND THE REBELLIOUS.

 

CAUTION TO THE CHURCH ABOUT DRYNESS IN THE WORD OF GOD (PROPHECY7/8/ 2002).

To the leaders, ministers and saints in Uganda, peace be to you and the grace of the Father and our Lord Jesus Christ.

The Lord spoke to me clearly on 7/8/2002 about spiritual dryness that has penetrated the Church of Christ as indicated in Amos 8:1-2 and 11, all resulting from the lack of true doctrine in the Church to day. This has resulted in confusions, wrong or sub – standard deeds and divisions that have struck the Church leaders there by numerous Christians have continuously suffered due to lack of the foundation in the word of God. This has greatly affected the Church and the world; consequently some businesses, passports, bank accounts and others have collapsed, been cancelled, closed and others will happen seven times. Money and medicine will be useless to some.

UGANDA BEING CHOSEN

God has chosen Uganda to fulfill His purpose as described in Isaiah 19:1-10, 16, and 19 -22. Therefore, Uganda is going to be so blessed in the whole world through the word of God. However, a price must be paid through fire to uproot the ungodly things that we have planted.

It is high time we Ugandans humbled ourselves and be prepared for the vision and commission Revelation 10, Isaiah 28:9 -10 and going deep into the word of God to bring forth the very truth that lies in it to set the nation free. God is ready to deal with anybody that will stand in the way to hinder His will, first Ugandans Amos 9:2- 3 A lot of offenses, that is to say; sexual immorality, treachery, witchcraft, indecent dressing, covetousness, segregation, competition, selfishness, self exaltation and pride which is happening in our church is due to lack of sound doctrine of the word of God; but by God’s grace whoever submits totally, will get out of trouble Revelation 18:1 – 5.

“If you hear the voice of the Lord, do not harden your heart” Hebrew 3:7-8, 15-19.

GOD’S CALLING TO THE NEW GENERATION FOR MINISTRY    (PROPHECY4/9/2009)

God commanded me on 4/9/2009 to reveal the secret which was in His heart that He had told me some time back that He is going to use unknown and un respected ministers 1Samuel 16:6-13, Mathew 21:23-27, as well as the known, respected but they must humble themselves from all pride and arrogance, Isaiah 2:11-12: so that God may be exalted in His begotten Son Jesus Christ.

The ministers of the new and last generation are to be thoroughly trained Proverbs 21:22, Proverbs 2:1-7, Isaiah 11:1-3 to carry the cross against all evil today 2Corinthians 10:3-6. It is time for the Church to be the light to the world to hear and obey God’s voice because there is no one who will escape His mighty hand Hebrew 12:25-29, 1Corinthians1:18-20 but by His grace in Jesus Christ, whoever will not harden the heart will be out of trouble and confusion (tribulation) Revelation 17:1-4, Revelation 18.

Words of wisdom:

  • Where God is, no question without an answer.
  • No problem without solution.
  • Whenever Jesus preached in parables and in brief, the disciples longed for detailed interpretations.
  • When John Baptist was also preaching to the people, they came for solution Luke 3:3 – 10

CORRUPTION (PROPHECY20/11/2009)

The Lord showed me in a night vision on 20/11/2009 after interceding for our nation. I saw a nice looking mango tree with green leaves but without mangoes. It had many branches but on five of them, there were horns fastened, very old, and facing the same direction. The Spirit of the Lord within me said, “Those horns have caused famine, confusion, and poverty to the nation because of their witch craft, arrogance and corruption, but I am going to destroy them forever” Isaiah 2:1-22, Hebrews 12:26-29.

 

URGENT WARNING (PROPHECY 10/7/2010)

On 10/7/2010 I got a voice in a dream saying that “My servant Muwanguzi Jubilee tell my people what I am going to do as soon as possible He said this three times. I am going to accomplish whatever I have spoken through my prophets as shown in Jeremiah 25:3-17, Revelation 1:1-3 because I am not man to lie and deceive nor a son of man to repent Number 23:19 and there is no one who can stop me on whatever  I vow  to accomplish Isaiah 43:11-12, Isaiah 45:23, Job 42:1-2, I am going to bring  destruction on this rebellious generation that it may force every person to know that  I am God Almighty so that everybody  may learn to worship Me alone not to add on Me any other god.”

 

TO REVEAL REBELLION AND THE REBELLIOUS (PROPHECY 30/7/2011)

God showed me on Saturday 30/7/2011 in a night vision, when I was dressed in a white shirt and black trousers having two pockets behind. Then I pocketed behind on the right, and picked papers on which were photos of different people, their names, nations where they live, their ministries or jobs and business both saved and nun saved. The Holy spirit told me “I am the Spirit of God of Prophecy of the Prophets who reveals the hidden secrets, I am going to expose the nakedness of every person starting with my house (church of the born again) as I did to king David 2Samuel 12:11-12;  because you have caused my name to be abused among the non saved, therefore you must be ashamed, laughed at, that the fear of God will be back in your hearts, then you may exalt me and the world will exalt Me as well.

 

GOD’S WORLD PROPHETIC MESSAGE 2014 (PROPHECY 1/1/2014)

This year two thousand fourteen (2014) is God’s year for transition of leadership in all ministries or services, especially in the church (Pentecostal) because of the new generation ministry in the name of the Lord Jesus Christ Ezekiel 21:26-27.

God’s plan is to take all people through the transition to put down all governance under His government  (Kingdom) Revelation 3:7-12, Psalm 110:1-7, Daniel 7:9-14.

This is the process or period of changing from one state, business, position, area, stage or level, system to another.

Is to cross over or pass through situation, conditions, struggles, circumstances, judgments and righteous processes and others Isaiah 9:6-9, Isaiah 40:27-28, Romans 11:33, Hebrews 12:1-13.

This process is in two ways: positive and negative, meaning to be lifted or lowered Psalm 75:6-10. Ezekiel 21:26-27, Luke 1:50-53.

 

In this process

  1. Things like business, plans, programs and others are going to be at a standstill Amos 2:13-16, Hebrews 12:26-27.
  2. Earthly wisdom is going to be destroyed and people are going to become failures in all until they surrender I Corinthians 1:19-28, Philippians2:10-11.
  3. Some people are going to be judged, punished or die because of oppressing the poor, widows, orphans, disabled, illiterate and others depriving them of their rights Proverbs 22:22-23, Proverbs 23:10-11, Isaiah 10:1-4.
  4. The fury of God’s wrath is going to rain upon those who got or took away others’ properties, riches and others through trickery and power, bribery for their own benefits shall vomit it whether they like it or not Job 20:15-29.
  5. The shed human blood is going to speak and pursue those who shed it Ezekiel 16:38, Ezekiel 35:6, Ezekiel 36:18, Habakkuk 2:12-14.
  6. Properties such as land, land titles, buildings, offices, trucks or vehicles, money or treasures are to speak each and every moment to those who got or took over powers in wrong ways until they are returned to their owners, governments, companies and others, unconditionally Habakkuk 2:9-15, 1Samuel 6:1-21.
  7. Some people, especially leaders of all categories are to eat from rubbish pits or to beg for seven weeks, seven months, seven years, seventy years or lifetime imprisonment Daniel 4:1-37, Psalm 110:4-7.
  8. Some people are to become insane so that they reveal every hidden secret of witch craft power and what they did Isaiah 44:25, Isaiah 28:18-20, Micah 5:12-15.
  9. God is also going to use these four types of forces:
  • Air and space forces to invade and overtake in some areas for certain hours or moments according to this battle plan, and these are:-

Bees, locusts and other insects, birds, thunders, storms, long droughts and heavy rain, hailstones and very dark mist for like 3 hours, aircrafts to disappear, power breakouts, satellites and aerial systems to go off or jam for moments or hours, extreme coldness and others.

 

  • Land forced to do the same such as:-

Landslides, cyclones, creatures to arise violently as if mad in some areas and to some people, famine, food and drinks to become sour to some, fire outbreaks, automatic switch off of all types of Power and engine systems for 2, 3, 4, 5, 6 hours per day or night, heavy snow and others.

 

  • Water forces to do the same such as:-

Water creatures to invade and surround some rivers, lakes, seas, oceans for some hours, strong storms, some water to become red and black, dirty and sour for some particular hours or days, strong floods and others.

 

  • Underground forces are to do the same such as:-

Strong earthquakes, water from underground to spill in some drained swamps and others: the ground to open and cover buildings and people.

  • God is going to frustrate soldiers or armies around the whole world and weapons of war are to jam especially at war, catching fire, switching off automatically forever, some are to rise against themselves which will cause them to sit down and agree to destroy many weapons Isaiah 11:4-10, Isaiah 9:5-7, Micah 4:3.

In brief God is going to use  all possible means to fight for His governance or government in this ten point  battle  program  Revelation17:14, Daniel 7:9-14, Psalm 2, Psalm 110:1-7, 1Corinthians 15:23-27, Hebrew 12:26-29, Revelation 21:24, Philippians 2:10-11.

 

Why is God doing this?

Because of these five reasons:-

  1. Too much arrogance, corruption and witchcraft practices and many other sinful immoralities.
  2. Many saved and unsaved are deceived and cheated for the benefit of others.
  3. Many saved and unsaved are led astray and are confused because they cannot identify who is right, what is right and who is the true God.
  4. Because the poor, widows, orphans, disabled and illiterate are so much oppressed in all societies.
  5. God wants to stream line and put all types of governance under His government or kingdom Psalm 2, Psalm 110, Daniel 7:9-14, Revelation 19:15-16 and Revelation 21:24.

 

The mystery revealed to me by the grace of our Lord Jesus Christ in our generation, I am blessed and you are more blessed if you unite with me and this ministry, because God revealed to me the mystery of the tree or trees of life, for healing the church and nations Revelation 22:1-2.

 

A command:

Everybody, leaders, leadership and their organs it is a must to humble and obey to walk in the light of the New Jerusalem city or the latter church glory (Pentecostal), and bring treasures or pay tributes to the living God in the name of Jesus Christ Malachi 3:7-12 (Haggai 2:6-9, Hebrews 12:26-29), (Micah 4:1-3,8,11-13, Revelation 21:13-26).

 

Attention!

God has already closed the old generation or chapter and opened a new one with one Ministry as the central and control tower. That is why your ministry, fellowships, businesses, governance, vision and others have or are going to receive messages, dreams, visions, revelations and prophecies informing them that keys, offices, houses, plots, permits, certificates, land titles, passports, identity cards, roads, bank accounts, ministries, leaderships and others are closed, cancelled, cut off, taken away, blocked, spiritually and physically.

Enduring love, peace, grace, and mercy will be upon those who will surrender totally to God.

 

UGANDA IN PARTCULAR

  1. The church of Christ ( Pentecostal) is in the process of uniting in Uganda, and there shall be no more proclaiming ourselves as mighty men and women but we shall only be proclaiming Jesus Christ.

 

Warning to the church

Treasures are coming in abundance but to those who will steal, or will not be accountable the Holy Spirit told me that He is going to kill them Acts 5:1-11.

  1. Forgiveness
  2. The spiritual church of Christ has been forgiven, it is going to be transformed and be in its position of glory and take the first position in the whole world Daniel 7:27, Haggai 2:6-9, Revelation 15:1-4, Revelation 21:1-2. 23-26.

 

THE COMMAND TO HUMBLE AND OBEY THE KING OF KINGS, LORD OF LORDS, PRINCE OF PEACE JESUS CHRIST IN THE NEW AND LAST GENERATION. PSALM 2:7-12, ISAIAH 45:23, PHILIPPIANS 2:9-11.  (PROPHECY 1/1/2015)

All leaders in the church and the whole world, peace and grace of God the father and his son Jesus Christ may be upon you.

Our Lord Jesus Christ commanded me to pass a firm decree which cannot be annulled to every leader most especially those at the top in every church, nation, kingdom and elsewhere and it came from office of the prime minister of heaven. The Holy Spirit used me  as a voice or trumpet to declare, warn and command for the kingdom of God yet am not above anyone else in power, wisdom but by his spirit. Daniel 2:30, Zechariah 4:6, Acts 10:25-26, 1Corinthians 2:10-15, Revelation 19:10, Revelation 22:8-9.

 

A FIRM DECREE THAT CANNOT BE ANNULLED EZRA 6:11-12, DANIEL 3:29, DANIEL 6:26, ISAIAH 45:6-7, ISAIAH 46:5, REVELATION 10:11.

A firm decree that cannot be annulled to every leader most especially at the top in  the church, nation, kingdom and elsewhere; you are informed that from 8-9/10/2014 the authority of all leaders in the whole world returned in full into His hands therefore you  are commanded immediately you have received this information and understood it very well, begin to repent and completely change most especially knowledge, action, aims then you seek those of the kingdom of God and his will in the new and last generation. Mathew 6:1, Daniel 2:41-45, Daniel 7:9-12, 18 22, 27, Revelation 21:24-26.

 

HIS AUTHORITY AND DOMINION

He returned to himself authority and dominion and put it in the last church which is going to introduce to the whole world, He is to fight until He has put down every one exalted and there will be no one to call himself a man, a woman or powerful ruler; thereafter we may be able to glorify and bow before Him as King of kings, Lord of lords, Prince of peace Jesus Christ. Daniel 2:44-45, Daniel 7:22, 26-27, Micah 4:1-3, 8-13, Haggai 2:6-9, Zechariah 14:9, 1Corinthians 15:23-28, Philippians 2:9-11, Revelation 11:15-19, Revelation 19:11-16, Revelation 21:24-26.

                   

THE CHURCH OF CHRIST ( OF THE HOLY SPIRIT) IN THE WHOLE  WORLD

Leaders in churches in the whole world must know that all authority was taken away from you that you may humble  down  again and be trained  afresh for serving in the new  or last generation, so every person as soon as you receive this information and  understands it very well, you have been given fourteen days only (14) to put down whatever  you were doing and seek God for three days (3) in prayer and fasting depending on your ability, dry or breaking in the evening hours, the Holy Spirit will reveal to you the generation and its changes, thereafter being able to repent and start afresh to be trained. The one who rebels will suffer until death or die immediately and this will teach others because judgment has started in the house (church). 1Peter 4:17, 2Peter 2:1-11, Ezekiel 34:1-16, Hebrews 12:25-29, Acts 3:20-23.

Born again always say that we are in the grace yet our grandfather Abraham obeyed the command of the prophecy that he used to receive from God even before the laws were put in place and even Lot was also in the grace, but the time he was given was from evening; in the morning they had to leave and be saved from the fire. Genesis 19:12, 12-24 and also Jonah was commanded to declare repentance and not to go beyond forty days to be delivered from destruction. Jonah 3:1-10.

 

A GREAT WARNING TO ALL OF US

A leader everywhere in the church and country, kingdom and any other position, all people should avoid fighting, opposing, taking a step to hinder this preparation which is to bring peace in the  whole world and even not supporting helping, fighting for and uniting with any leader in the church and the world who does not accept this firm decree which cannot be annulled that you may be saved from falling into the hand of God because a war has already  been declared to every rebellious and uncouth person. 1Samuel 12:15, Ezra 6:12, Job 9:12, Job 12:14, Isaiah 14:27, Psalm 7:11-13, Isaiah 40:17-18, Isaiah 45:9-10, Isaiah 66:16, Jeremiah 25:31, Daniel 4:35, Hosea 4:1-9, Malachi 4:1, Romans 9:20, Revelation 3:10, Revelation 17:14, 18,19.

 

 

This is what is going to happen to every leader who will rebel against the firm decree that cannot be annulled.

  1. Taking wisdom away from them to the point of eating from the rubbish pit or bush. Daniel 4:31-33.
  2. To be quickly killed by the angel of God, Acts 12:20-23.
  3. To release to you a distressing spirit to entice you to enter into spiritual wars or wars of the fresh when you are not going to win until you kill yourself / committing suicide 1Samuel 15:1-23, 1Samuel 16:14-15, 1Samuel31:1-7.
  4. To release to you a lying spirit to entice you using those around you that you may be killed in spiritual wars or the flesh, 2Chronicles 18:18-34.
  5. Dying a sudden death / pressure, 1Samuel 4:16-18.
  6. Taking leadership away from you that you may be ruled, summoned, or imprisoned so that you may regret, Esther 2:4,17, Daniel 4:17,37.
  7. Becoming blind for a certain period of time or never to see the sun again, Acts 13:10-12.

Apart from those that God still loves so much, a minister that God still needs to use shall subdue in a very difficult situation, Exodus 12:29-31, 1Kings 13:1-6, Jonah 1&2, Acts 9:1-16.

 

CHANGE OF GENERATION

God has a good plan to everyone who will be obedient to the change in generation. When God is changing a generation after sinning lot (rebellion), he chooses a person who is despised and puts his grace on him and also joins him with those despised and he prepares them so as to use them to change the generation.  He weakens the system which has been in place or may add ingredients so as to put an end to rebellion and familiarity and also judges as He wishes.

 

THE TREE OF LIFE WHICH IS TO HEAL NATIONS (BORN AGAIN AND NONE BORN AGAIN), REVELATION 22:1-2.

This system is the one which is going to save the people from tribulations and give a pleasant life to anyone who will accept to repent and obey Jesus Christ. The tree of life in the beginning of creation of the earth is the system where God was ruling the people and man had life and peace, Genesis 2:6-17.

 

THOUSANDS MINISTERING TO HIM, DANIEL 7:9-10, MALACHI 3:1-11, MALACHI 4:5-6, REVELATION 19.

Because of the difficult situation, very bad which has never been in existence since the creation of the world full of tribulations and death, it will force most of the people who will still be alive to become humble and use this medicine or the system.

 

WISDOM

It is always wise for everyone especially the leaders in the whole world to repent and walk with God in the name of our Lord Jesus Christ, because God does not want anyone to die in sin / rebellion. One who is not yet saved get saved, one who is saved or who was saved let us go back to the truth, and those not saved / those who have not yet reached the time obey his voice, Acts 17:30.

Yet as you know a born again who is backslidden and one who has not become saved the end is unquenchable fire for you together with Satan and his demons. Revelation 20:11-15. Because God still has many who can lead / pastor in the world and the church, respectively, because He is the one who gives wisdom, understanding and knowledge, 1Samuel 15:26, Daniel 4:34.

 

PUTTING MORE EMPHASIS ON REBELLION

According to this information every person on the earth without discrimination who will rebel against this message and the system of the last generation of the tree of life, which means our Lord Jesus , is to die quickly or suffer until he dies, Psalm 7:11-16, Isaiah 1:19-20, Micah 5:10-15, Malachi 4:1, 2Peter 3:5-12, Revelation 11:15-18, Revelation 14:18-20, Revelation 19:11-18.

Now as you have understood inform others that life and death, curse and blessing are in their hands. I am not accountable to anyone’s blood but it is on your head and others if you don’t inform them about the truth, Ezekiel 3:16-21.

Be wise and don’t resist and fight against this truth but join us,

Our Lord Jesus Christ bless you.

 

TO ALL LEADERS IN UGANDA,

IN THE CHURCH AND THE WORLD

IN YOUR RESPECTIVE HONOUR AND CATEGORIES.

 

WARNING OUR NATION UGANDA ABOUT TWO ISSUES THAT ARE SO DENGEROUS TO OUR LIVES. (PROPHECY 1/1/2015)

To all my fellow Ugandans, I extend my greetings to you, peace and grace of God and His Son be upon you in our Lord Jesus Christ, King of kings, Lord of lords through His Holy Spirit who has told me more than four times since this year (2018) began to warn my fellow Ugandans on the above two issues that am going to elaborate.

The first issue: is to warn my fellow Ugandans not to rebel against God for the calling to minister to Him in the generation in the name of our Lord Jesus Christ.

The second issue: is to come out and remove all abominations from our nation Uganda.

 

Elaborating the two issues

The first issue: is to warn every Ugandan not to rebel against God in the call which He chose us to minister to Him in the last generation working together, as I explained in the prophecy that I wrote on 7/8/2002 from the book of prophet Isaiah 19:1-10, 16, 19-22.

It is wise you also endeavor to get copy from this ministry or from the one who has received and also take responsibility to properly understand and know what is taking place that we may together engage in this service: because I have been told more than four times that if there is any rebellion, on every eighteen million (18,000,000) people, fifteen million shall die (15,000,000) and three million (3,000,000) shall remain. He is to send a plague which shall not be healed, as He used to do long ago to those who used to rebel against Him, and even now He is going to do it to Uganda if there is no obedience, 2Samuel 24:15, Ezekiel 14:17-23, Ezekiel 38:22-23, Revelation 14:18-20, Revelation 19:11-18.

 

The second issue: is to warn every Ugandan to get out and completely put away all abominations and never to practice and walk in them again, because whoever does so, becomes an abomination before the Lord God, Deuteronomy7:26, Revelation 18:1-20.

On this matter I was told to warn and try as much as I can, in the name of our Lord Jesus Christ to indicate the abominations that I have been revealed to, according to the Bible, together with the Holy Spirit and what He Shall also reveal to us, so that we may be able to repent and completely leave them. These abominations have brought us so many tribulations and severe famine that He showed me which is coming, if we do not come out of them; and this famine will be so amazing because those who will be having money or the ability of getting food and drinks from any place like outside the country, but when they have refused to put away abominations their food and drinks shall be attacked by a plague of bitterness and they shall be bitter,  and whoever will test them shall first develop a swollen stomach and there after fall and die; yet those who will repent and leave the abominations shall remain eating normally. Every Ugandan should know that death shall enter into food and drinks, 2Kings 4:40.

 

Understanding and knowing some of the abominations.

  1. Manufacturing, importing, selling, drinking alcohol, cigarettes, marijuana, toxic things that change the brains, giving authority and collecting taxes from them.
  2. Manufacturing, importing, selling, buying, wearing clothes that a shame any person like the transparent, minis, damage, open clothes, women putting on trousers, peeping bras, balance trousers for men, giving authority and collecting taxes from them.
  3. Manufacturing, importing, selling, buying, wearing wigs and weaves, artificial nails, growing and painting nails, applying lipstick, creams or chemicals that enlarge breasts and bums, contraceptives for both men and women, bleaching, very high heeled shoes, hair-dos and cutting styles that degrade, men making their hair and wearing ear rings, prostitution, homosexuals, and those who get their money, giving them authority and collecting taxes from such.
  4. Manufacturing, importing, selling things in false measurements or dishonest scales or which are sub-standard, giving them authority and collecting taxes from them, Proverbs 11:1-4.
  5. Schools exploiting parents or guardians, demanding two or more brooms; for example if a school has 200 students, it will amount to 400 brooms (200 times 2 = 400), if there are 700 students, it will be 1400 brooms ( 700 times 2 =1400). For the case of papers, a student is demanded to take a ream of white paper (rotatrim) per term, and yet most exams most especially in primary are printed on brown ones; if a school has 200 students this will imply a total of 200 reams (200 times 1 =200) and if there 700 students, this will imply 700 reams (700 times 1=700). This is done with the intention of selling some. In addition to the above, they also ask for high examination fees, many rolls of toilet paper, cement, jerricans of paint and many others, Jeremiah 17:9-11.

 

  1. Organizations that levy and collect excessive taxes on things from which they earn money without proper planning, hence the money is robbed or spent badly, Luke 3:12-13.

 

  1. Those who are supposed to pay taxes but they do not, Romans 13:6-7.

 

  1. Those who make laws or constitutions, discussing and passing useless laws some of which that I have mentioned above, for example: alcohol, games that make people foolish not working spending their time in betting and others, not discussing issues that concern people amidst the difficult financial situations, but rather talking about increasing their earnings, passing bills anyhow and in addition judges who do not judge fairly, most especially to the poor Isaiah 10:1-4, Jeremiah 8:8.

 

  1. Police – men or peace keepers not knowing how to handle people, because a human being is so precious before God above everything, except those who are notorious. Peacekeepers, know this that you are not supposed to intimidate or take money from anyone, Luke 3:14.

 

  • Some leaders in different positions not caring and planning for those they lead, satisfying themselves, oppressing and taking their belongings without respect.

 

  • Some people who are led in different categories disobeying and dishonoring their leaders and doing things not officially launched, Romans 13:1-5, Hebrews 13:17, 2Peter 2:10-12.

 

  • People who get involved in witchcraft, sacrificing by shedding human blood, animals, birds and others because of financial reasons, wealth, protection; bewitching most especially to remain in their positions or seats of leadership in different capacities in addition to those who think that they are worshipping God due to ignorance, because He does not need blood since His Son’s blood Jesus Christ accomplishes all.

 

  • Killing and harassing people in various ways.

 

  • Ministers lying and stealing through scriptures.

 

  • Setting up and worshipping idols that look like heavenly creatures and kinds of those on the earth and beneath, Deuteronomy 5:8-9.

 

  • Setting up, showing and spreading pornography on posters, televisions, news papers, magazines, radios, internet, cinema halls and other places, using vulgar languages, levying and collecting taxes from them.

 

  • Compromising with foreigners or whites due to inferiority complex and love for money accepting immorality like homosexuality, that is to say, freedom that makes people to behave the way they want like men to men, women to women and so many others together with things that destroy the earth and our lives like: genetically modified organisms, medicines for plants and animals that make them grow at a faster rate and even human beings destroying forests, wetlands and so many others, in brief destroying the earth, Revelation 11:18.

 

I pray for every leader in your honor and capacity to obey the voice of the Creator, in the name of our Lord Jesus Christ. Whoever shall stiffen his neck, am clean, your blood shall not be counted on my life, Ezekiel 3:16-21.

 

Prayer

Oh God, who made heaven and earth without a pillar in the authority of your power, I thank and glorify You because of the secrets You revealed to me and the wisdom that was hidden for many generations, hiding it from those who consider themselves wise in this generation; and yet they become foolish, refusing the message and teaching of the last generation because of familiarity and despise, love for the world,  honor and lack of humility which is going to make them perish consciously, because that is how our forefathers refused the prophets who were sent to them together with our Lord Himself. You shall be given all the glory by whoever shall be obedient as we do Your will by the grace You have given your servant who is not worthy, in the name of our Lord Jesus Christ.

LET OUR LORD JESUS CHRIST BE GIVEN GLORY KING OF KINGS AND LORD OF LORDS FOREVER AND EVER AMEN.

A Servant to all for Jesus’ sake.

……………………………………………………..

Apostle Muwanguzi Jubilee

0782/0752610368.

OBUNNABBI 2002 - 2018 (THE PROPHECY 2002 - 2018)

Ekitabo kino kirimu obubaka obw’obunnabbi obukola nga ekkondeere  ery’omulembe omuggya era ogusembayo eri ensi yonna olw’okulabula abantu ffenna ku bulwa obwolekedde ensi ate n’engeri  gye tuyinza okubuvvuunukamu.

 

KUJJUKIRA N’OKUSIIMA

Nebaza nnyo Katonda Kitaffe n’Omwana we Yesu  Kristo Mukama waffe n’Omwoyo Omutukuvu, olw’omukisa ogwampeebwa nze so si lwakuba nti nsinga omuntu yenna obulungi oba amagezi naye lwa kisa  kya Katonda.

Nnebeza nnyo Mukama olw’amagezi n’okubikkulirwa mu byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino olw’ekisa kya Katonda. Wano ka nzizeeko okwebaza Omutume Grace Muwanguzi olw’okumpabulanga obutakoowa, okunsabiranga  era n’okunteekerateekeranga nze nsobole okukkalira obulungi  ku mulimu  gw’obwakabaka bwa Katonda ogwampeebwa okutuukiriza; era mmwebaza olw’okungumiikiriza  olw’okuyitibwa kuno okuli ku bulamu bwange okulina okuyingira ne mu nyingiza y’amaka gaffe  olw’okuwaayo mu mulimu gwa Katonda guno gusobole okugenda mu maaso.

Nnebaza nnyo abantu bonna olw’okunsabiranga n’okumpanirirangako mu byetaago byange ng’omuntu ate n’olwomulimu gwa Katonda guno.

Nnebaza nnyo abaweereza bonna mu biti byabwe  ebyenjawulo olw’okumpabulanga, okumpanga amagezi, okunsabiranga, okuwangayo  n’okusabiranga omulimu guno.

Nnebaza nnyo Board of Trustees n’olukiiko lwa Executive, n’abegayiririzi olw’okuteesezanga, okuwangayo,  okusabanga n’okwegayiriranga  olw’omulimu guno gusobole okugenda mu maaso.

Nga mmaliriza  nnebaza nnyo omuwandiisi w’obuweereza  buno Omutume Simon Kizza  olw’omulimu  ogw’okugatta obubaka buno obwali bwawuddwayawuddwa  mu kusooka  mu butabo bwa mirundi ena n’abugatta okubufuula ekitabo  kino  ekimu. N’okuwanula era n’okulambulula ebyawandiikibwa ebijuliza okuva mu Baibuli,  ku nsonga zonna ezampeebwa eziri mu kitabo kino okusobola okusoma nga totawaana kubikkula Baibuli yo kubanga ebyawandiikibwa byonna bikuweereddwa nga bwe wandibisomye okuva  mu Baibuli kubanga bangi  abajja okusoma  ekitabo kino  oluusi  nga tebalina na Baibuli, olw’ensonga ezitali zimu.

Nnebaza abantu bonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, nsaba Mukama abawe omukisa.

KATONDA KITAFFE AWEEBWE EKITIIBWA EMIREMBE N’EMIREMBE AMIINA.

 

ENNYANJULA:

Mu mwaka  gwa 2002 mu mwezi gw’omunaana nga ennaku z’omwezi musanvu  (7/8/2002) Mukama Katonda aweebwe ekitiibwa, mmwebaza yayogera nange ebigambo byoggya okusoma mu kitabo kino nga byonna okusinga byali  bya kunenya, kulabula  n’okuwa amagezi ku nkyukakyuuka Yye Mwene gy’agenda okuleeta mu nsi yonna eri buli muntu era na buli kitonde. Enkyukakyuka zino zaalimu okukyuka kw’omulembe Katonda mwagenda okukyusakyusiza ebintu byonna nga Abantu, emirimu, omukisa, eby’enfuna, ebitiibwa, ebifo, obugagga, obukulembeze, Yafeesi  n’ebintu ebirala nga abiggya kw’ono n’abiwa omulala amusinga obulungi, obwesigwa, obugonvu, obunyiikivu, okukola n’ebirala. Naye nga kino kikolebwa okusinziira ku malala, okwegulumiza, obutagonda, obutaba beesigwa, obujeemu, obugayaavu, okunyaga,  okwekulumbaza n’ebirala. Yajjanga ayogera nange emirundi mingi egy’enjawulo era mu biseera eby’enjawulo nga anjigiriza era nga ambikkulira  ebintu bingi nnyo ddala ebiri mu nsi ne mu kkanisa nga andaga akatyabaga akagenda okubeera mu nsi ku balina omubiri bonna. Wabula Katonda w’akisa era mulungi nambikkulira n’engeri gye tugenda okuvvuunukamu akatyabaga  ako era n’antegeeza n’obulwa obugenda okutuuka ku buli anaajeema. Mu bye yangamba mulimu okulabula okwamangu era nga kirungi nnyo okugonda buli aweetagisa,  okukola buli aweetagisa okubaako eddaala ly’otwala era nga okola mangu amagezi agatuweereddwa mu bubaka  bw’ekitabo kino.

Ebigambo byonna ebiri mu kitabo kino eky’obunnabbi bikulu nnyo, bikakafu, by’amazima era byesigwa. Kirungi okunyiikira okukisoma lunyiriri ku lunyiriri nga wetegereza era nga oteeka mu nkola ebitugambiddwa okukola.

Mukama Katonda abawe omukisa.

Bya Mutume Muwanguzi Jubilee

0752610368/0782610368

Office: 0414693075

OBUBAKA  OBW’OBUNNABBI OLW’OMULEMBE OMUGGYA

2002- 2018

Obwa nga 07/8/2002, Obwa nga 04/9/2009, Obwa nga 20/9/ 2009

Obwa nga 10/7/2010, Obwa nga 30/7/2011, Obwa nga 01/1/2014

Obwa nga 01/1/2015, Obw’omwaka 2018.

Obubaka buno bwa bwereere era bwa buli omu tebusosola mu  ggwanga, Diini,  myaka oba nsi wadde nga mulimu obw’eggwanga Uganda obwetengeredde naye nga obulala bwonna bwa buli omu mu nsi yonna.  Lino lye  Kkondeere  ery’omulembe  ogusembayo n’olwekyo fuba nnyo okubusoma  n’okubuwaako  omulala  naye ategeere  okulabula  kuno.

OKULABULA: Toyonoona wadde okutunda obubaka buno bwa bwereere . Matayo 10:

Matayo 10:8 Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu,  mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.

ERI AMAKANISA GONNA MU UGANDA, ABAWEEREZA BA KATONDA, OW’EKITIIBWA OMUKULEMBEZE W’EGGWANGA, AB’EBITIIBWA BAKABAKA, AB’EBITIIBWA ABAWEEREZA BA GAVUMENTI, AB’EBITIIBWA ABENJAWULO MU BITI BYABWE, ABAKOZI  BA  GAVUMENTI  N’ABANTU BA  BULIJJO. 

 

  • OKULABULA ERI EKKANISA KU NJALA Y’EKIGAMBO KYA KATONDA.
  • KATONDA AYITA OMULEMBE OMUGGYA OKUMUWEREZA.
  • OKULABULA ERI EGGWANGA UGANDA OLW’OBUSAMIZE, AMALALA N’OBUKENUZI.
  • OKULABULA OKW’AMANGU.
  • OKUBIKKULA OBUJEEMU/ABAJEEMU.

OKULABULA  ERI EKKANISA KU NJALA Y’EKIGAMBO KYA KATONDA.

 

Abakulembeze, abaweereza n’abatukuvu abali mu Uganda, Ekisa kibeere gye muli n’e mirembe gya Katonda  kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.

 

Mukama yayogera nange nga 7/8/2002 ebikwatagana ku njala y’ekigambo ky’a Katonda eziinze ekkanisa mu nsi yonna; nga bwe kyayogerwako mu Amosi 8:1-2 ne 11.

 

Amosi 8:1-2 ne 11

1Bw’atyo Mukama Katonda bwe yandagira: era,laba, ekibbo eky’ebibala eby’omukyeya. 2Nayogera nti Amosi olaba ki? Nenjogera nti Ndaba ekibbo eky’ebibala eby’omukyeya. Awo Mukama  n’alyoka angamba nti  Enkomerero etuuse ku bantu bange Isireari; siribayitako nate lwa kubiri.11 Laba,ennaku zijja bw’ayogera Mukama Katonda lwendiwereza enjala mu nsi eteri njala ya mmere  newakubadde anyonta  ey’amazzi, naye  anjala eyokuwulira ekigambo kya Mukama.

 

Naye nga ebyo byonna bivudde mu butaba na njigiriza ntuufu era enambulukufu mu Kkanisa ya leero.

Ebyo era bye bivuddeko okutabulwatabulwa, obutategeragana, ebikolwa oba ebikolebwa ebitali birungi  oba ebitatukana na mutiindo, n’okwesalamu ebikubye abakulembeze, n’abakkiriza bangi, ekibaviiriddeko okubonaabona olw’obutaba na mirandira  minywevu , oba emigumu  mu kigambo kya Katonda.

Era kino kikosezza nnyo e Kkanisa ne wabweeru waayo era kye kiviiriddeko emirimu okufa, pasipoota ezimu okusazibwaamu, akawunti ezimu okuggalwawo, n’ebirala bijja kweyongera emirundi musanvu, ensiimbi n’eddagala bifuuke ebitagasa eri abantu abamu.

OKULONDEBWA  KWA  UGANDA

 

Katonda yalonda Uganda okutuukiriza ekigendererwa kye nga bwe kinnyonnyolwa  mu  Isaaya 19:1-10,16 ne 19-22    

 

Isaaya 19:1-10, 16 ne 19-22

1 Omugugu gwa Misiri, Mukama yebagadde ku kire ekiyita amangu n’ajja mu nsi y’eMisiri: n’ebifaananyi eby’eMisiri birinyenyezebwa mu maaso ge, n’omutima gw’eMisiri gulisaanuuka muyo wakati. 2 Era ndilwanya Abamisiri n’Abamisiri: era balirwana buli muntu ne muganda we, na buli muntu ne muliranwa we; ekibuga ne kibuga, obwakabaka n’obwakabaka. 3 N’omwoyo gwa Misiri guliggwamu wakati muyo; nange nditta okuteesa kwayo:era baliragulwa eri ebifaananyi, n’eri abasamize, n’eri abo abaliko emizimu, n’eri abalogo. 4Era ndigabula  Abamasiri mu mukono gw’omwami omukambwe; era kabaka omukaanga alibafuga, bw’ayogera Mukama, Mukama oweggye. 5 N’amazzi galikendeera mu nnyanja

N’omugga guliweebuuka ne gukala. 6 N’emigga giriwunya; obugga obw’eMisiri bulikeewa ne bukala: ebitoogo n’essaalu biriwotoka. 7 Amalundiro agali ku kiyira ku lubalama lwa kiyira kwenyini, ne byonna ebisigibwa ku kiyira birikala, birigobwebwawo,tebiribaawo nate. 8 Era n’abavubi balikaaba, n’abo bonna abasuula amalobo mu kiyira balinakuwala, n’abo abasuula  ebiragala mu mazzi baliggwamu amaanyi. 9 Era nate abo abakola omulimu gw’obugoogwa obusunsule, n’abo obaluka engoye enjeru, balikwatibwa ensonyi. 10 N’empagi zaayo zirimenyekamenyeka, abo bonna abakolera empeera balinakuwala mu mwoyo.

(16)

16 Kulunaku luli Misiri erifanana nga abakazi: era erikankana eritya olw’okukunkumula  kw’omukono gwa Mukama Oweggye kwakunkumula kuyo.

19-22

19 Kulunaku luli waliba ekyoto eri Mukama wakati mu nsi y’e Misiri,  n’empagi eriba kunsalo yaayo eri Mukama. 20 Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama Oweggye mu nsi ye Misiri: kubaanga balikaabira Mukama olw’abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola. 21 Era Mukama alimanyibwa Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama  kulunaku luli;wewaawo, balisinza 

ne ssaddaaka n’ekitone, era balyeyama obweyamo eri Mukama era balibutuukiriza. 22 Era Mukama alikuba Misiri, nga akuba era ng’awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegaylirwa bo,era alibawonya.

 

N’olwensonga eyo Uganda egenda kuweebwa omukisa mu nsi yonna okuyita mu kigambo kya Katonda naye nga omuwendo gwa kusasula okuyita mu muliro okusimbula bye twasimba nga sibya bwa Katonda. Kati kye kiseera banna Uganda okukkakkana wansi okutekebwateekebwa olw’okuyitibwa kuno n’okutumibwa. Okubikkulirwa 10:1-11 ne Isaaya 28:9-10.

 

Okubikkulirwa 10:1-11

1 Nendaba Malayika omulala ow’amanyi ng’akka okuva mu Ggulu nga ayambadde ekire; ne musoke ng’ali ku mutwe gwe n’amaso ge ng’enjuba,n’ebigere bye ng’empaji ez’omuliro; 2era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n’ekya kkono ku nsi; 3 n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’empologoma bw’ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo. 4 Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ngenda okuwandiika ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika. 5 Malayika gwe nnalaba ng‘ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu,6 n’alayira oli aba omulamu emirembe n’emirembe, eyatonda eggulu n’ebirimu, n’ensi n’ebirimu,n’ennyanja n’ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate:7naye mu nnaku z’eddoboozi lya Malayika ow’omusanvu, bwaliba nga agenda okufuuwa,ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira,ng’enjri bw’eri gyeyabuulira abaddu be bannabbi. 8 N’eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi. 9 Ne ngenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N’angamba nti Twala okamire; era kanaakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa kanaaba kawoomerevu ng’omubisi gw’enjuki. 10 Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika,ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng’omubusi gw’enjuki: bwe nnakalya, olubuto lwange nerukayizibwa. 11 Nebangamba nti Kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n’amawanga n’ennimi ne bakabaka bangi.

 

Isaaya 28:9-10

9 Ani gw’aliyigiriza okumanya? Era ani gw’alitegeeza ebibulirwa ?abo abaleseeyo okuyonka era abavudde ku mabeere? 10 Kubanga kiba kiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro; olunyiriri ku lunyiriri,olunyiriri ku lunyiriri; wano katono,awo katono.

 

Okwennyika n’okwenyikira ddala ebuziba mu kigambo ky’aKatonda okujjayo amazima agakirimu okusumulula amawanga; Katonda mwetegefu okubakana na buli an’enyigira mu kuziyiza okwagala kwe. Amosi 9:2-3

 

Amosi 9:2-3.

2Newakubadde nga basima okutuuka mu mamagombe, omukono gwange gulibaggyayo;era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu,ndibassa okubaggyayo. 3 Era newakubadde nga bekweekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikeneenya ne mbaggyayo: era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw’ennyanja wansi , ndiragirira eyo omusota ne gubaluma.

 

Bingi eby’esittaza nga okweweebuula, enkwe, eddogo, enyambala embi omulugube mu Kkanisa, okusosologana, okuvuganya,  okwekuza n’ebirala bingi nga bizzewo olw’obutaba nanjigiriza nnungamu mu kigambo kya Katonda, naye buli aneeweerayo ddala y’anawona emitawaana. Okubikkulirwa 18:1-5.

 

Okubikkulirwa18:1-5

1Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi nemulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amanyi, ng’ayogera nti kigudde, kigudde Babulooni ekinene,nekifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera  erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonnyi embi, ekyayiibwa. 3 Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’ensi ne bayeenda naye ,n’abatuunzi b’ensi ne baggagawala olw’amaanyi g’obukaba bwe. 4 Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 5 Kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebibi bye.  

 

“Bwowulira eddobozi lya Mukama tokakanyaza mutima gwo”

Abaebulaniya 3:7-8,15-19

 

Abaebulaniya 3:7-8, 15-19

7 Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw’ayogera nti

Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,

8 Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa,

Nga ku lunaku olw’okukemerwa mu ddungu,

 

15-19

15 nga bwekyayogerwa  nti

Leero bwe munawulira eddobozi lye Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mukusunguwazibwa.

16 Kubanga baani bwe baawulira abaamusunguwaza? Si abo bonna abaava mu mu Misiri ne Musa? 17 era baani be yanyiigiranga emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona , n’2emirambo gyabwe  ne gigwa mu ddungu? 18 Era baani beyalayirira obutayingira mu kiwummulo kye, wabula abo abatagoonda? 19 Era tulaba nga tebaayinza kuyingira olw’obutakkiriza.

 

OKUVVUUNULA AMAGEZI AGAMBIKKULIDDWA KU BW’OMYOYO OMUTUKUVU

 

Amosi 8:1-2 ne 11

 

1 Bw’atyo Mukama Katonda bwe yandaga : era laba, ekibbo eky’ebibala eby’omukyeya  2 N’ayogera nti Amosi, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba ekibbo eky’ebibala eby’omukyeya . Awo Mukama n’alyoka angamba nti Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri.

 

(11)Laba ennaku zijja, bw’ayogera Mukama Katonda, lwe ndiwereza enjala  mu nsi,eteri njala yammere newakubadde enyonta ey’amazzi, naye enjala ey’okuwulira ebigambo bya Mukama.

 

Amosi 8:1

Katonda alaga bannabbi be ebigenda mu maaso mu nsi y’omwoyo wadde nga tebinabeerawo mu buliwo basobole okutuusa amawulire ag’okulanga n’okulabula.  Amosi 3:7.

 

Amosi 3:7

7Mazima Mukama Katonda taliiko kyarikola wabula ng‘abuulidde abaddu be bannabbi  ekyaama kye.

 

Amosi 8:2

Bannabbi balina kulaba,kuwulira kwetegereza, kwekenneenya, kubuuza, kuvvuunulwa basobole okutuusa obubaka bwa Katonda gye bwetagisa,Yeremiya 1:4-10, Ezeekyeri 3:1-9, Danyeri 2:17-24

 

Yeremiya 1:4-10

4 Awo ekigambo ky’a Mukama ne kinjijira 5 nti bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nakutukuza; nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga. 6 Awo nze ne ndyoka njogera nti woowe, Mukama Katonda! Laba,siyinza kwogera Ndi mwana muto. 7 Naye Mukama nangamba nti Toyogera  nti ndi mwana muto: Kubanga eri bonna gyennaakutumanga  gyonoogeendanga,era kyonna kyennaakulagiranga ky’onooyogeranga. 8 Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya,bw’ayogera Mukama. 9 Awo Mukama n’agolola omukono gwe n’akoma ku kamwa kange;Mukama nangamba nti laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko: 10 laba, leero nkutaddewo okuba omukulu w’amawanga era ow’amatwale gabakabaka, okusimbula n’okumenya; n’okuzikiriza n’okusuula; okusimba n’okuziimba.

 

Ezeekyeri 3:1-9

1 Awo nangamba nti omwana w’omuntu, lya ekyo kyosanga; lya omuziingo guno,ogende ogambe ennyumba ya Isiraeri. 2 Awo nenjasama akamwa kange n’andiisa omuziingo. 3 N’angamba nti omwana w’omuntu, liisa olubuto lwo, ojjuze ebyenda byo  omuziingo guno gwe nkuwa. Kale ne ngulya,ne guba mu kamwa kange ng’omubisi gw’enjuki okuwoomerera. 4 Awo nangamba nti Omwana w’omuntu, genda otuule eri ennyumba ya Isiraeri,oyogere nabo ebigambo byange. 5 Kubanga totumiddwa eri eggwanga ery’enjogera gy’otomanyi era ab’olulimi oluzibu, wabula eri ennyumba ya Isiraeri; 6 si eri amawanga amangi ab’enjogera gy’otomanyi era ab’olulimi oluzibu, b’otoyinza kutegeera bigambo byabwe. Mazima singa nkutumidde bo bandikuwulidde. 7 Naye ennyumba ya Isiraeri tebalikuwulira; kubanga tebalimpulira nze: kubanga ennyumba yonna eya Isiraeri ba kyenyi kikalubo era ba mutima mukakanyavu. 8 Laba,nkalubizza amaaso go awali amaaso gaabwe, n’ekyenyi kyo nkikalubizza awali ekyenyi kyabwe. 9 Nfudde ekyenyi kyo ng’alimansi okukaluba okusinga ejjinja ery’embaalebale: tobatyanga, so tokengentererwanga olw’amaaso gabwe, newakubadde nga nnyumba  njeemu.

 

Danyeri 2:17-24

17 Awo Danyeri n’agenda mu nnyumba ye n’ategeeza ekigambo ekyo Kananiya, Misayeri, ne Azaliya, banne: 18 basabe Katonda ow’omuggulu okubasaasira olw’ekyama ekyo: Danyeri ne banne baleme okuzikirira awamu n’abagezigezi abalala ab’eBabulooni. 19 Ekyama ne kiryoka kibikkulirwa Danyeri mu kwolesebwa okw’ekiro. Danyeri n’alyoka yebaza Katonda ow’omuggulu. 20 Danyeri n’addamu n’agamba nti lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n’emirembe: kubanga amagezi n’amanyi gage 21 era oyo ya wanyisa ebiro n’ebiseera: aggyawo bakabaka,era assaawo bakabaka : awa amagezi abagezigezi, n’okumanya eri abo abamanyi okutegeera: 22 abikkula ebigambo ebyebuziba eby’ekyama: ebiri mu kizikiza abimanyi, era omusana gubeera naye. 23 Nkwebaza, nkutendereza, ai ggwe Katonda wa bajjajange, ampadde amagezi n’amaanyi, era antegezezza kaakano byetwakusabye : kubanga otutegezezza ekigambo kya Katonda. 24 Danyeri kyeyava ayingira eri Aliyoki, kabaka gwe yali ateesewo okuzikiriza abagezigezi ab’eBabulooni; n’ageenda n’amugamba bwati nti Tozikiriza bagezigezi ab’eBabulooni: nnyingiza mu maaso ga kabaka, nange naalaga kabaka amakulu.

 

Amosi 8:1-2 ne 11 Ekibbo ky’ebibala by’omu kyeeya.

 

Ekigambo kya Katonda w’ekiri kibuulirwa wonna mu nsi naye nga kya munguuba, tewabadde kubikkulirwa nakusima kugenda buziba okujjayo amakulu n’enkola entuufu abantu basobole okutegeera eky’okukola ekituufu, era  bangi nnyo nnyo batabuddwa, kyova olaba abalokole ebikolebwa oba enneyisa eyawukanira ddala n’ekigambo kyetubuulira; nga ate ffe ttabaaza y’ensi: abakulembeze oba abasumba tewali ayiinza okw’esimbawo naawa ensi eky’okuddamu ekituufu, olwokubulwa amazima, n’emirembe tewali eri abangi ennyo. 2 Ebyomumirembe 15:3, Koseya 4:6, Yokaana 8:32.

 

2Ebyomumirembe 15:3

Era ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow’amazima era nga talina Kabona ayigiriza era nga talina mateeka:

 

Koseya 4:6

Abantu bange bazikiridde olw’okubulwa okumanya; kubanga ogaanye okumanya, nange ndikugaana  ggwe, olemeenga okubeera Kabona gye ndi: kubanga werabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo.

 

Yokaana 8:32

Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddeembe.

 

Ekibbo – kitegeeza Kkanisa.

Ebibala – kye kigambo kya Katonda.

Ekyeeya – Munguuba oba okuba n’ennyonta y’amazima.

 

Isaaya 19:1-10, 16, 19-22

 

Isaaya 19:1-10

1Omugugu  gwa  Misiri:  Laba, Mukama  yeebagadde  ku kire  ekiyita  amangu  n’ajja  mu  Misiri:  n’ebifaananyi eby’eMisiri  birinyeenyezebwa  mu  maaso  ge,  n’omutima  gwa  Misiri  gulisaanuuka  mu  yo  wakati. 2 Era ndirwanya  ab’aMisiri  n’abaMisiri :era  balirwana  buli  muntu  ne  muganda  we,  na  buli  muntu  ne muliraanwa we;  ekibuga  n’ekibuga , obwakabaka  n’obwakabaka. 3 N’omwoyo  gwa  Misiri  guliggwamu wakati  muyo;  nange  nditta  okuteesa  kwayo: era  baliragulwa  eri  ebifaananyi, n’eri  abasamize,  n’eri abalogo. 4 Era ndigabula  Abamisiri  mu  mukono  gw’omwami  omukambwe;  era  kabaka  omukaanga alibafuga , bw’ayogera  Mukama,  Mukama  oweggye. 5 N’amazzi  galikendeera  mu  nnyanja, n’omugga guliweebuuka  ne  gukala. 6 N’emigga  giriwunya; obugga  obw’eMisiri  bulikeewa  ne  bukala: ebitoogo n’essaalu  biriwotoka. 7 Amalundiro  agali  ku  Kiyira, ku  lubalama  lwa  Kiyira  kwennyini, ne  byonna ebisigibwa  ku  kiyira,  birikala,  birigobebwawo,  so  tebiribaawo  nate. 8 Era  n’abavubi  balikaaba,  naabo bonna  abasuula  amalobo  mu  kiyira  balinakuwala, n’abo  abasuula  ebiragala  mu  mazzi  baliggwamu amanyi. 9 Era nate abo  abakola  omulimu  ogw’obugoogwa   obusunsule, n’abo abaluka  engoye  enjeru, balikwatibwa   ensonyi. 10 N’empagi zaayo  zirimenyekamenyeka,  abo   bonna  abakolera   empeera  balinakuwala   mu   mwoyo.

16 Ku  lunaku   luli  Misiri erifaanana  ng’abakazi:  era erikankana  eritya olw’okukunkumula  kw’omukono  gwa  Mukama ow’eggye,  gw’akunkumulira  ku  yo.

19-22

Ku lunaku  luli waliba ekyoto  eri  Mukama mu  nsi  y’eMisiri, n’empagi  eriba  ku  nsalo  yaayo  eri  Mukama. 20 Era  eriba  kabonero  era omujulirwa  eri  Mukama  ow’eggye  mu  nsi  y’eMisiri: kubanga balikaabira  Mukama  olw’abajoozi, naye   alibaweereza  omulokozi , era  omukuumi,  naye  alibalokola. 21 Era  Mukama  alimanyibwa Misiri, N’abaMisiri balimanya Mukama  ku  lunaku  luli; weewawo, balisinza ne saddaaka  n’ebitone,  era  balyeyama  obweyamo eri Mukama  era  balibutuukiriza. 22 Era Mukama alikuba Misiri, ng’akuba era  nga  awonya; nabo  balidda eri  Mukama naye  alyegayirirwa  bo, era  alibawonya.

 

Katonda yasalawo dda okugolokokera ku Africa  n’agitikka  omugugu  ogugizitoowerera  olw’obujeemu  bwe  tumazeemu ebiro  n’ebyeeya, nga  gwa  kusaanuusa  emitima  ggyaffe  abaddugavu,  tulyoke  tujeemulukukire  mu  mbeera  enzibu ennyo; awamu n’okwetikka obuvunanyizibwa obw’omulembe  ogw’oluvannyuma.

 

Isaaya 19:2-3

2 Era ndirwanya  ab’aMisiri n’aMisiri : era balirwana  buli muntu ne muganda we,  na buli muntu ne mulirwana we; ekibuga n’ekibuga,obwakabaka n’obwakabaka. 3 N’omwoyo gwa Misiri guliggwamu wakati muyo; nange nditta okuteesa kwayo: era baliragulwa eri ebifaananyi, n’eri abasamize,n’eri abo abaliko emizimu, n’eri abalogo. 

 

Katonda y’ali mu kulwanagana kwonna okubadde era okuli mu Africa; nga kyagenderera atte abikolwa, ebigendererwa, amagezi, n’obukujjukujju bwonna; ng’ayita mu kuteeka omwoyo gw’obubambaavu mu bantu bonna, okuva ku bakulembeze okutuuka ku basembayo wansi. Isaaya 19:14.

 

Isaaya 19:14

Mukama atadde omwoyo gw’obubambaavu wakati mu yo: era bakyamizza Misiri mu buli mulimu gw’ayo, ng’omutamiivu atagata ng’asesema.

 

Isaaya 19:4

Era ndigabula ab’aMisiri mu mukono gw’omwami omukaambwe; era kabaka omukaanga alibafuga, bw’ayogera Mukama,Mukama oweggye.

 

Kabaka omukambwe oba omukaanga be bafuzi ba Africa, abasinga bajja  mu buyinza nga begonza nga abalumirirwa abantu naye nga ekijjudde mu mitima gyabwe kunyaga, kwekkusa, kusosola, kulinnyirira, kutta, kusiba, kutiisatiisa, n’okuwa enguzi abalamuzi n’abakiise b’azi Palamenti: bakyuusekyuuse zi ssemateeka  basobole  okwekuumira  mu buyinza.

Bbo bakabaka kye basalawo tekiddibwamu, naye nga kino kiri mu kuteesa kwa Katonda; embeera enyigirize abantu naddala aba waansi bagoonde, ate nabo balyoke  babakyukire. Isaaya 10:5-17

 

Isaaya 10:5-17

5 Ggwe omwasuuli, oluga olw’obusungu bwange, omuggo oguli mu ngalo zo  kye kiruyi kyange!

6 Ndimutuma okuluumba eggwanga erivvoola, era ndimugabira ku bantu abaliko obusuungu bwange, okunyaga omunyago n’okunyaga omuyiggo, n’okubalinyirira wansi ng’ebitoomi by’omu nguudo. 7 Naye tagenderera kukora bw’atyo, so n’omutima gwe tegulowooza bwegutyo; naye kiri mu mutima gwe okuzikiriza, n’okumalawo amawanga si matono. 8 Kubanga ayogera nti abakulu bange bonna si bakabaka? 9  Kalino tekifanana Kalukamisi? Kamasi tekifaanana Alupaadi? Samaliya tekifaanana Damasiko? 10 Ng’omukono gwange bwe gwatuuka ku nsi  za bakabaka ezisiinza  ebifaananyi, ezaalina ebifaananyi ebibajje ebyasiinga ebyo ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya; 11 nga bwe nnakola Samaliya  ne sanamu zaakyo, sirikola bwentyo Yerusaalemi ne sanamu zaakyo? 12 kye kiriva kituuka, Mukama bw’aliba nga amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi  Sayuuni ne ku Yerusaalemi,ne ndyoka mbonereza ebibala by’omutima omukakanyavu ogwa kabaka w’eBwasuuli n’amalala g’amaaso ge amagulumivu.  13 Kubanga yayogera nti  olw’amanyi g’omukono gwange nnakikola, n’olwamagezi gange ; kubanga ndi mukabakaba: era najjulula ensalo z’amawanga, ne nnyaga obugagga bwabwe, ne ntoowaza ng’omusajja omuzira abo abatuula ku ntebe:  14 era omukono gwange guvumbudde obugagga  obw’amawanga ng’ekisu; era ng’omuntu bw’akunganya amagi amazire, bwe ntyo bwennakunganya ensi zonna: so tewali eyayanjuluza ekiwawatiro, newakubadde eyayasamya akamwa,  newakubadde eyakaaba. 15 Embazzi eryenyumiriza eri oyo  agitemya? Omusumeeno gulyekuza eri oyo agunyeenya? Kwenkana oluga nga lunyenyeezza   abo abaluloonda oba omuggo nga gusitudde atali muti. 16 Mukama,Mukama ow’eggye, ky’aliva aweereza obukovvu mu basajja be abagevvu, era wansi w’ekitiibwa kye we w’alikolera okwokya ng’okwokya kw’omuliro. 17 N’omusana gwa Israeri guliba mu kifo ky’omuliro, n’omutukuvu we aliba  mu kifo  ky’okwaka: kale gulyookya gulimalawo amaggwa ge n’emyeramannyo gye ku lunaku lumu.

 

Isaaya 19:5-7

5 N’amazzi galikeendeera mu nnyanja, n’omugga guliweebuuka ne gukala. 6 N’emigga giriwunya; obugga obw’eMisiri bulikeewa ne bukala: ebitoogo n’essaalu biriwotoka. 7 Amalundiro agali ku kiyira  ku lubalama lwa kiyira kwennyini, ne byonna ebisigibwa ku kiyira, birikala, birigobebwaawo, so tebiribaawo nate. 

 

Katonda yateesa dda amazzi okukendeera mu nnyanja ne mu migga nga n’omugga omunene ogusibuka wano mu Ggwanga eddonde Uganda oguyitibwa Kiyira (Nile) kw’eguli. Kyova olaba nti Gavumenti bwe yakola ebbibiro  nga enoonya okwongera ku masanyalaze ate ggo amazzi g’ayongera kukendeera: Nabbi Isaaya bye yalagula ne bituukirira;  Ebirime, obutoonde  n’amalundiro okusanawo.

 

Ebirime: Emwanyi zikala Ebitooke byengera, Muwogo agengewala, era kati okulima kuzibu nnyo mu bituundu  ebimu  ate nga bikyeyongera; singa tetwenenya kukyuuka.

 

Amalundiro: Ente, Enkoko, Embizzi n’ebirala ebinnansi  bigenda bisanawo;  olw’obutagumikiriza kubanga bikula mpola ate nga ebigwiira birina kukulira ku mulagala oguleeta endwadde zinnamutta: era bo abazungu batuyamba nnyo mu kubiruunda naye ate bbo tebaagala kubirya  olw’obulabe obubirimu.

 

Obutonde: Bwo obutonde nga ebibira, (emiti) bitemeddwa, entobazi zisanyiziddwawo olw’okuziziba  n’okuzizimbamu  amayumba. Isaaya 19:8

 

Isaaya 19:8

Era n’abavubi balikaaba n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira balinakuwala  n’abo abasuula ebiragala mu mazzi baliggwamu amaanyi.

 

Abavubi mu Uganda yaffe bakaaba amaziga ebyennyanja bitono, envuba embi; ennyanja ya kukayanirwa oba erina ba nnyiniyo: Ebyennyanja ebifunibwa bya buwanana, ate nga ebisinga bigenda bweeru, bannansi abateesobola balya maliba n’amagumba nga mbwa ate nga nabyo bya buseere. Isaaya 19:9

 

Isaaya 19:9

Era nate abo abakola omulimu ogw’obugoogwa  obusunsule, n’abo abaluka engoye enjeru  balikwatibwa ensonyi.

 

Wano mu Uganda ebyuma ebikola engoye ebyali mu Mukono okuliraana Kiyira (Nile) ebyo mmye ate kwogatta n’amakolero agaliwo kati agakola engoye n’abasuubula ebweeru, bageenda kukaaba nnyo nnyo kubanga abantu bonna Katonda agenda kubanyigiriza nnyo nnyo okutuusa nga bakooye okugula n’okwambala(enkunamyo oba obumpi) (obudeeya oba ez’ebitulituli) (ez’endabirwamu oba ezitangaala) (kamiimo ezisiba oba ezitippa omubiri) eziyisa amabeere, amakundi, ebiwato n’emigoongo ebweeru n’empale z’abakyala ez’omunda ezirabika ebweeru, n’okusiba balansi(ezitatuuka mu kiwato). Bino byonna bya kusanawo lwa mpaka. Okubikkulirwa 18:11

 

Okubikkulirwa 18:11

N’abatuunzi ab’omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe;

 

Isaaya 19:10

N’empagi zaayo zirimenyekamenyeka, abo bonna  abakolera mpeera balinakuwala mu mwoyo.

 

Empagi okumenyekamenyeka:

Buli muntu kye yesiga obutagondera njiri ya Yesu Kristo kya kusanawo, okufiirwa, okulemererwa, gamba nga  abesiga eddogo, okusaddaaka abantu, ebisolo, obusamize, amasabo  byonna byakusanawo awamu n’okubeefulira okutuuka ku bazzukulu bannakana, naddala abalina endagaano z’okuyiwa omusaayi gw’abantu. Zabbuli 50:21

 

Zabbuli 50:21

Ebyo wabikola, nange n’ensirika; N’olowooza nga nenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.

 

Abesiga  emikwano, enganda, abantu, abakulembeze okusinga Katonda bajja kubeefulira, babakole bubi nnyo. Yeremiya 17:5-6.

 

Yeremiya 17:5-6

5 Bw’ati  bw’ayogera Mukama nti akolimiddwa omusajja oyo eyesiga abantu, naafuula omubiri okuba omukono gwe, n’omutima gwe guva ku Mukama. 6 Kubanga  alifaanana omwoloola oguli mu dduungu, so taliraba ebiruungi bwe birijja: naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey’omunnyo so eterimu bantu. 

 

Abesiga ebyenfuna, ensiimbi oba eby’obugagga baakufiirwa nnyo  nnyo, oluusi okufuna ebirwadde ebizibu n’ebirala. Yeremiya 17:9-11.

 

Yeremiya 17:9-11

9 Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya? 10 Nze Mukama nkebera omutima , nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali, ng’ebibala bwe biri eby’ebikolwa bye. 11 Ng’enkwale bwe kunganya obwana bw’etezaalanga, bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga so si lwa mazima; ennaku ze  nga zikyali za kitundu bulimuvaako, n’enkomerero ye aliba musirusiru.

 

Abesiga eby’okulwanyisa, Katonda wa kubagolokokerako nga ajeemesa abalala okutabangula embeera babeerenga ku bunkeenke oluusi n’okubawaamba.  Isaaya 31:1-4

 

Isaaya 31:1-4

1Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa,era abesiga embalaasi ; era abesiga amagaali kubanga mangi, n’abebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira  mutukuvu wa Isiraeri so tebanoonya Mukama!

2 Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye: naye aligolokokera ku nnyumba y’abo abakola obubi ne ku buyambi bw’abo abakola ebitali bya butuukirivu. 3 Kale nno Abamisiri bantu buntu so si Katonda; n’embalaasi zaabwe mubiri bubiri so si mwoyo: era Mukama bw’aligolola omukono gwe, oyo ayamba alyesittala era n’oyo ayamba aligwa, kale bonna baliggwerawo wamu. 4 Kubanga bw’atyo Mukama bw’angamba nti Ng’empologoma bw’ewulugumira ku muyiggo gwayo n’empologoma ento, abasumba abangi bwe bayitibwa okugiruumba, teritiisibwa na ddoboozi ly’abwe, so teryetoowaza lwa kuyoogaana kwabwe: bw’atyo Mukama ow’eggye bw’alikka okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku kasozi kaako.  

 

Abesiga obuyinza n’ab’obuyinza okukenula, okubba, okulinnyirira n’okunyigiriza abalala nga batwala ebyabwe, b’akubonaabona nnyo nnyo nnyo okutuusa nga babisesemye; bye baafuna mu makubo agatali matuufu ka bibeere bya zi gavumeenti na buli muntu ajja kufuna ekibonerezo eky’amaanyi ekimujeemula okutuuka ku baana  n’abaana n’abazzukulu  bannakana nabo singa baba nga babyenyigiddemu oba okubikombako n’okubasikira abamu n’okufa bwe batenenya. Yobu 20:15-29, Engero 23:10-11, Engero 22:22-23, Okubikkulirwa 18:6-18.

 

Yobu 20:15-29

15 Yamira obugagga, era anaabusesemanga nate: Katonda anabuggyanga mu lubuto lwe. 16 Ananuunanga obusagwa bw’embalasaasa;  olulimi lw’omusota lunamuttanga. 17 Taatunuulirenga migga, Emigga egikulukuta egy’omubisi gw’enjuki n’omuzigo. 18 Kye yateganira anaakizzanga, so taakimirenga; so tasanyukenga ng’ebintu bwe biri by’afunye. 19 Kubanga yajooga abaavu n’abaleka; yaggyawo ennyumba olw’amaanyi so taagisimbenga. 20 Kubanga teyamanya kutereera munda ye, Tawonyenga kintu ku ebyo byasanyukira. 21 Tewasigala kintu  ky’atalya; omukisa gwe kye gunavaanga  gulema okuba ogw’olubeerera.

22 Mu lufulube lw’ebintu bye ebisukkirira anaalabanga ennaku: omukono gwa buli muntu aliko obuyinike gunamutuukaangako.

23 Bw’atyo ng’anatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anamusuulangako ekiruyi kye ekingi,

Era anaakitonnyesanga ku ye ng’alya.

24 Anaddukanga  ekyokulwanyisa eky’ekyuuma, N’omutego  ogw’ekikomo gunamufumitanga.

25Aguggyamu ne guva mu mubiri gwe; weewawo, omumwa gwagwo ogumasamasa guva mu mususa gwe; Ebitiisa bimuliko.

26 Ekizikiza kyonna kyaterekerwa ebibye eby’obugagga: omuliro ogutaakumibwa bantu gunamwookyanga; Gunamalangawo ebyo ebisigadde mu weema ye.

27Eggulu linabikkulanga ku butali butukirivu bwe, N’ensi enemugolokokerangako.

28 Ekyengera eky’omu nnyumba ye kinaavangawo, Ebintu bye binaabuliranga ku lunaku olw’obusuungu bwe.

29 Ogwo gwe mugabo gw’omuntu omubi oguva eri Katonda, N’obusika Katonda bwe yamiteekerawo.

 

Engero 23:10-11

10 Tojjulululanga kabonero ka nsalo akedda;

So toyingiranga  mu nnimiro  ez’abatalina  bakitaabwe:

11 Kubanga omununuzi  wabwe  wa  maanyi;

Anaawozanga   ensonga  yaabwe  naawe.

 

Engero 22:22-23

22Tonyaganga mwavu kubanga mwavu,

So tojooganga abonyaabonyezebwa mu mulyango:

23Kubanga Mukama ye aliwoza ensoonga yaabwe,

Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu.

 

Okubikkulirwa 18:6-18

6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe by’ali; mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri.7 Nga bwe yeegulumiza n’akabawala, mumuwe  mutyo okubonaabona n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so siri namwandu, so ssiriraba nnaku n’akatono.

8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda w’amaanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa  kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti zikisaanze, zikisaanze, ekibuga ekinenene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu sssaawa emu omusango gwo gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omu nsi bakaaba banakuwala kululwe kubanga tewali muntu akyayagala obuguzi bwabwe; 12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu ne bbafuta ennungi, n’olugoye olw’efuluungu, ne aliiri n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kintu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’ekyekikomo, n’ekyekyuma, n’ekyejjinja edduungi; 13 n’ekyakaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo ogw’omugavu, n’envumbo n’omwenge, n’amafuta, n’obutta obulungi, n’engaano n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebirala omwoyo gwo by’egwegoomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera nti zikisanze, zikisanze ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n’olugoye olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n’amayiinja ag’omuwendo ne luulu! 17 Kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde.  Na  buli magoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunyanja ne bonna abakola omirimu egy’omu nnyanja ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti kiruwa ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 

 

Abakolera empeera okunakuwala mu mwoyo naddala abatabeera mu buyiinza oba abatalina nganda mu zi gavumenti banyagibwa, tebasasulwa bulungi; emisaala mitono; abamu tebaweebwa nsako ku mirimu egiba gisusse, kw’egyo gye baba batekeddwa okukola, basosolwa, bagobebwa awatali mateeka: era tegasobola kubayamba olw’obutasobola kuwa nguzi ku lukalu lwa Africa.

 

Isaaya 19:16: Africa okutya n’okukankana ng’omukazi

 

Isaaya19:16

Ku lunaku luli Misiri erifaanana ng’abakazi: era erikankana eritya olw’okukunkumula kw’omukono gwa Mukama  ow’eggye,  gw’akunkumula ku yo.

 

Africa okutya n’okukankana ng’omukazi, Katonda yateesa embeera etali nyangu  ku lukalu lwaffe abaddugavu, buli omu embeera emusobere  alina n’atalina, omufuzi ne gwe bafuga, omukyala n’omwami, omulwadde n’omulamu, omwana n’omuzadde, omukozi ne mukama we, omuyizi n’omuyigiriza, omuseenze ne nnanyini ttaka, omupangisa ne nannyini nnyumba, omuwi w’enguzi ne gwe bagiwa, owe mmundu n’atalina, omusumba n’endiga(abagoberezi).

Isaaya 19:19

 

Isaaya 19:19

Ku lunaku luli waliba ekyoto eri Mukama wakati mu nsi y’e Misiri n’empagi eriba ku nsalo yaayo eri Mukama.

 

Katonda yateesa dda okusimba obuweereza obulina okutandika omulembe ogusembayo (amadda ga Mukama waffe Yesu kristo) mu Africa naye kumpi ne nsalo awasibuka omugga Kiyira (Nile) mu Uganda nga ensulo (spring) eri mu Buganda. Obuweereza buno Katonda yennyini y’alina okulonda  abaweereza okuva mu buweereza obulala n’abagatta nga balina omutima gumu, okukolera awamu, omugugu gumu nga bagoberera era nga bakulemberwa Omwoyo omutukuvu; ekyo kye Kyoto.  Ate empagi kitegeeza Katonda kuteeka bwesige mu baweereza oba obuweereza buno.

Ekirala Empagi oba omuloongooti gulengerwa wala: amakulu g’akyo, ensi yonna egenda kutuuka okuzuula n’okutegeera obuweereza buno n’abaweereza bano awamu n’okubanoonya, olw’obugagga, amagezi, amaanyi, obuyinza, obukulu, ekitiibwa n’omukisa  by’obuweereza buno, n’abalonde baamu.

 

Okubikkulirwa 5:9-14

9 Ne bayiimba oluyimba oluggya, nga boogera nti osaanidde okutoola ekitabo n’okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n’ogulira Katonda olw’omusaayi gwo mu buli kika n’olurimi n’abantu n’eggwanga, 10 N’obafuula eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona; era abafuga ku nsi. 11 Ne ndaba ne mpulira eddoboozi lya ba malayika abangi abeetoolodde entebe n’e biramu n’abakadde; n’omuwendo gwabwe gwaali obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi; 12 nga boogera n’eddoboozi ddene nti Asaanidde omwana gw’endiga eyattibwa okuweebwa obuyiinza n’obugagga n’amagezi n’amaanyi n’etteendo  n’ekitiibwa  n’omukisa. 13 Na buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w’ensi ne ku nnyanja, n’ebirimu byonna ne mbiwulira byonna nga byogera  nti Eri oyo atudde ku ntebe , n’eri omwana gw’endiga, omukisa gubeenga  n’ettendo n’ekitiibwa n’amaanyi emirembe n’emirembe. 14 N’ebiramu ebina  ne byogera nti Amiina. N’abakadde ne bavuunama ne basinza.

 

Ensi ekyatawaana olw’obutannaba kubikkulirwa kyama kino nga kw’otadde ne Uganda; era ne Buganda awali ensulo wadde ensi ebonaabona  naye Uganda, Buganda okubonaabona kuggya kweyongera nnyo nnyo okutuusa nga Omukulembeze ne bakabaka abaliwo oba abanaabeerawo okutuuka ku muntu owa wansi bakkiriza okuyambibwa, okuyigirizibwa, okuwabulwa  naddala  abaweereza (abalonde) abategedde eky’okukola, era abaweereddwa obuyinza n’amafuta g’omuleembe. Luka 4:16-19, Ebyabalevi 25:9-10, Matayo 21:23-27.

 

 Lukka 4:16-19

16 Naye n’amugamba nti waaliwo omuntu eyafuumba embaga ennene; n’ayita bangi: 17 n’atuma omuddu we obudde bw’embaga nga butuuse okugamba bali abaayitiddwa, nti mujje; kubanga bimaze okutegekebwa . 18 Bonna n’emmeeme emu ne batanula okwegayirira okusonyiyibwa. Ow’olubereberye n’amugamba nti Nguze olusuku, kingwanidde okuyimuka okugenda okululaba; Nkwegayiridde nsonyiwa. 19 N’omulala n’agamba nti Nguze emigogo gy’ente etaano ngenda kuzikema; nkwegayiridde  nsonyiwa.

 

Ebyabaleevi 25:9-10

9 Awo n’olyokanga otambuza ekkondeere ery’eddoboozi eddene ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogw’omusanvu; ku lunaku olw’okutangirirako  kwemunatambulizaako ekkoondere okubunya ensi yammwe yonna. 10 Era munatukuzanga omwaka ogw’okutaano, ne mulangirira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna abagituulamu: gunabanga jubilee gye muli ; era munakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munakomangawo buli muntu mu nda ze.

 

Matayo 21: 23-27

23N’ayingira mu yekaalu, bakabona abakulu n’abakadde b’abantu ne bajja gyali nga ayigiriza, ne bagamba nti buyinza ki obukukoza bino? Ani eyakuwa obuyinza buno? 24 Yesu n’addamu n’abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu, bwe munaakinzivunula, era nange n’ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Mu ggulu nantiki mu bantu? Nebeebuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti  Bwe tunaagamba nti mu ggulu: anaatugamba nti kale kiki ekyabalobera okukkiriza? 26 Naye bwe tunaagamba nti mu bantu; tutya abantu; kubanga bonna bamulowooza Yokaana nga nabbi. 27 Ne baddamu Yesu ne bagamba nti  Tetumanyi. Naye n’abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.

 

Isaaya 19:20

 20 Era eriba kabonero era mujulirwa eri Mukama ow’eggye mu nsi y’eMisiri: kubanga balikaabira Mukama olw’abajoozi, naye alibawereeza omulokozi, era omukuumi,naye alibalokola.

 

Katonda yateesa nti olw’embeera egenda mu maaso erina okutuusa naddala abaddugavu okumukaabirira alyoke alonde era asimbe Omuweereza ayimirire mu kituli, okutandika okuddabiriza; era ng’alina kwerekereza byonna atendekebwe Katonda yennyini nga bwe yakola (Musa.) Okuva 3;1-10, (Gidiyoni) Ekyabalamuzi 6:11-16, (Yokaana) Lukka 3:1-8, n’abalala; ate naye atendeke banne.

 

(Musa)  Okuva 3:1-10

1 Awo Musa yali ng’alunda ekisibo kya Yesero Mukoddomi we Kabona we Midiyaani: n’atwala ekisibo ennyuma w’edduungu n’atuuka ku lusozi lwa Katonda Kolebu. 2 Malayika wa Mukama n’amulabikira mu lulimi lw’omuliro okuva wakati w’ekisaka: n’atunuulira, laba, ekisaka ekyo ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira. 3 Musa n’ayogera nti ka nnekoolobye kaakati ndabe ekigambo kino ekikulu, ekisaka kyekivudde kirema okusiriira. 4 Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n’amuyita ng’ayima wakati w’ekisaka n’ayogera nti Musa, Musa, N’ayitaba nti nze nzuuno. 5 N’ayogera nti tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky’oyimiriddemu y’e nsi entukuvu. 6 N’ayogera nate nti Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n’akweeka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda. 7 Mukama n’ayogera nti Ndabidde ddala okubonaabona okw’abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw’abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe; 8 era nzise okubawonya mu mukono gw’abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennuungi engazi, mu nsi ejjudde amata n’omubisi gw’enjuki; mu kifo eky’omukanani, n’ekyomukiiti, n’ekyomu Amoli, n’ekyomu Pereezi, n’ekyomu Kiivi, n’ekyomu Yebusi.9 Kale ,laba, okukaaba kw’abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi: nate ndabye okubonaabona kw’ebababonyaabonya Ab’aMisiri. 10 Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo, obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri.

  

(Gidyoni)

Ekyabalamuzi 6:11-16

11 Malayika wa Mukama n’ajja, n’atuula wansi w’omweera ogwali mu Ofula, kye kyali ekya Yowaasi omwabiyezeeri: ne mutabani we Gidyoni yali awuula engaano mu ssogolero agikise Abamidiyaani. 12 Malayika wa Mukama n’amulabikira , n’amugamba nti Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow’amaanyi omuzira. 13 Gidyoni n’amugamba nti Ai mukama wange, oba nga Mukama ali wamu naffe, kale, ekitubesezzaako ebyo byonna kiki? Era ebikolwa bye byonna eby’ekitalo biri ludda wa bajjajjaffe bye baatubulirako, nti Mukama teyatujja mu Misiri? Naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani. 14 Mukama n’amutunuulira n’ayogera nti Genda n’amaanyi go gano, olokole  Isiraeri  mu mukono gwa Midiyaani si nze nkutumye? 15 N’amugamba nti Ai Mukama wange, Isiraeri ndimulokolera  ku ki? Laba, baganda bange be basinga okuba abaavu mu Manase, nange ndi muto mu  nnyumba ya kitange. 16 Mukama n’amugamba nti Mazima ndibeera wamu  naawe, era olikuba Abamidiyaani ng’omuntu omu.

 

(Yokaana)

Lukka 3:1-8

1 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’etaano ku mirembe gya Tiberiyo Kayisaali, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye wessaza ly’e Buyudaaya, ne Kerode bwe yali nga y’afuga e Ggaliraaya, ne Firipo muganda we bwe yali nga y’afuga Abireene; 2 ne Ana ne Kayafa bwe baali nga be bakabona abasinga obukulu, ekigambo kya Katonda ne kijjira Yokaana omwana wa Zekkaliya, mu ddungu. 3 N’ajja mu nsi yonna eriraanye Yoludaani, ng’abuulira okubatiza okw’okwenennya olw’okuggibwako ebibi; 4 nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky’ebigambo bya  nnabbi Isaaya nti Eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu dduungu nti  mulongoose oluguudo lwa Mukama, mulungamye amakubo ge. 5 Buli kiwonvu kirijjuzibwa, Na buli lusozi n’akasozi biriterezebwa: N’ekikyamye kirigololwa, N’amakubo agatali masende galitereezebwa; 6 N’abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda. 7 Awo n’agamba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa ye nti Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 8 Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana.

 

Ebyokulabirako:

Amakulu agali mu Katonda okussawo omukuumi era omulokozi ye kwe kwelondera omuntu yenna gw’asiima okutandika oba okukomyawo n’okukyusa omulembe gye guba gwawabira  oba  okugutandika, gamba nga:

Adamu ne Eva be baakwasibwa obukuumi n’obulokozi bw’okutandika ensi. Lubereberye 2:15-24

 

Lubereberye 2:15-24

15 Mukama Katonda n’atwala omuntu, n’amuteeka mu lusuku Adeni alulimenga. 16 Mukama Katonda n’alagira omuntu n’amugamba nti Buli muti ogw’omulusuku  olyangako nga bw’onooyagalanga: 17 naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa. 18 Mukama Katonda n’ayogera nti Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; n’amukolera omubeezi amusaanira.19 Mukama Katonda n’akola n’ettaka buli nsolo ey’omunsiko, na buli ekibuuka waggulu; n’abireetera omuntu, okulaba bw’anabiyita: n’omuntu buli lye yayita ekitonde eryo lye  rinnya lyakyo.20 Omuntu N’abituuma amannya buli nsolo n’ekibuuka waggulu na buli nsolo ey’omunsiko; naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira. 21 Mukama Katonda n’aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n’amuggyamu olubiriizi lumu , n’azzaawo ennyama mu kifo kyalwo. 22 Mukama Katonda n’aziimba olubiriizi, mu muntu okuba Omukazi, n’amuleeta eri omuntu. 23 Omuntu n’ayogera nti ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja. 24 Omusajja ky’anavaanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we nabo banaabanga omubiri gumu.

 

Nuuwa: Obukuumi n’obulokozi bw’okuzimba eryato okutaasa abamukkiriza amataba. Olubereberye 6:1-14

 

Olubereberye 6:1-14

1 Awo abantu bwe baasooka okweyongera mu nsi, ne bazaala abaana ab’obuwala, 2 abaana ba Katonda ne balaba abawala  b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda. 3 Mukama n’ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu  emirembe n’emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri. 4 Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe bayingiranga eri abawala ba bantu, ne babazaalira abaana : bano be b’amaanyi abasooka edda, abantu abaayatiikirira. 5 Mukama n’alaba obubi bw’omuntu  nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’o mu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo. 6 Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n’anakuwala mu mutima gwe. 7 Mukama n’ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatoonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu n’ensolo, n’ekyewalula n’ekibuuka waggulu; kubanga nejjusizza kubanga nabikola. 8 Naye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama. 9 Kuno kwe kuzaala kwa Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye; Nuuwa n’atambulira wamu ne Katonda. 10 Nuuwa n’azaala abaana basatu, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.11 Ensi n’eyononeka mu maaso ga Katonda, ensi n’ejjula eddalu. 12 Katonda n’alaba ensi, ng’eyononese; kubanga buli ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona akkubo lyakyo ku nsi. 13 Katonda n’agamba Nuuwa nti Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjude eddalu ku lwabwe; kale’ laba, ndibazikiriza wamu n’ensi. 14 Weekolere eryato n’omuti goferi; osalangamu ennyumba mu lyato, osiige munda ne kungulu envumbo.

 

Musa: Obukuumi n’obulokozi eri abaana ba Isiraeri okubatwala mu busika ate Yoswa ye kwali kubatuusa. Okuva 3:1-14, Yoswa 5:10-12.

 

Okuva 3:1-14

1 Awo Musa yali ng’alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, Kabona w’e Midiyaani: n’atwala ekisibo ennyuma w’edduungu n’atuuka ku lusozi lwa Katonda Kolebu. 2 Malayika wa Mukama n’amulabikira  mu lulimi lw’omuliro okuva wakati w’ekisaka: n’atunuulira , laba, ekisaka ekyo  ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira. 3 Musa n’ayogera nti ka nnekoolobye kaakati, ndabe ekigambo kino ekikulu, ekisaka kyekivudde kirema okusiriira. 4 Mukama bwe yalaba nga yekoloobezza okulaba, Katonda n’amuyita ng’ayima wakati w’ekisaka  n’ayogera nti Musa, Musa N’ayitaba nti nze nzuuno. 5 N’ayogera nti Tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky’oyimiriddemu y’e nsi entukuvu. 6 N’ayogera nate nti nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n’akweka amaaso ge : kubanga yatya okumutunuulira Katonda. 7 Mukama n’ayogera nti ndabidde ddala okubonaabona okw’abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw’abo ababakoza kubanga mmanyi ennaku zaabwe; 8 era nzise  okubawonya mu mukono ogw’Abamisiri, okubalinnyisa okuva  mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n’omubisi gw’enjuki; mu kifo eky’omu Kanani, n’eky’omu Kiiti, n’eky’omu Amoli, n’ekyomu Perizi, n’eky’omu Kiivi, n’eky’omu Yebusi. 9 Kale, laba okukaaba kw’abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi: nate ndabye  okubonaabona kwe bababonyaabonya Abamisiri. 10 Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo  obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri. 11 Musa n’agamba Katonda nti nze ani agenda mu maaso ga Falaawo mbaggyeyo abaana ba Isiraeri mu Misiri? 12 N’ayogera nti mazima ndibeera naawe; era kano kalikubeerera akabonero, nga nze nkutumye: bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, muliweerereza Katonda ku lusozi luno. 13 Musa n’agamba Katonda nti, laba, bwendigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa bajjajja bammwe yantumye eri mmwe; nabo balyogera nti erinnya lye ye ani? Ndibagamba ntya? 14 Katonda n’agamba Musa nti NINGA BWE NDI: n’ayogera  nti bw’otyo bw’olibagamba abaana ba Isiraeri nti NDI ye antumye eri mmwe.

 

Dawudi: Bukuumi na bolokozi, kununula baana ba Isiraeri n’okuzza ssanduke ey’endagaano. 1 Samwiri 16:1-14, 1Ebyomumirembe 13:1-7.

 

1Samwiri 16:1-14

1 Awo Mukama n’agamba Samwiri nti olituusa wa okunakuwalira Sawulo nga nze mmaze okumugaana okuba Kabaka wa Isiraeri? Jjuza ejjembe lyo amafuta ogende , n’akutuma eri Yese Omubesirekemu: kubanga neerabidde kabaka mu batabani be. 2 Samwiri n’ayogera nti  Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw’alikiwulira, alinzita. Mukama n’ayogera nti Twala ente enduusi ogende nayo oyogere nti Nzize okuwaayo saddaaka eri Mukama. 3 N’oyita Yese ajje ku ssaddaaka, nange ndikulaga bw’olikola: era olinfukira amafuta ku oyo gwe ndikwatulira erinnya. 4 Awo Samwiri n’akola ekyo Mukama kye yayogera najja e Besirekemu. Abakadde b’e kibuga n’e bajja okumusisinkana ne boogera nti ozze mirembe? 5 N’ayogera nti mirembe: nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama: mwetukuze mujje nange tugende ku ssaddaaka. N’atukuza Yese ne batabani be  n’abayita okujja ku ssaddaaka. 6 Awo olwatuuka nga batuuse n’atunuulira Eriyaabu  n’ayogera  nti mazima Mukama gw’afukako amafuta ali mu maaso ge. 7 Naye Mukama n’agamba Samwiri  nti Totunuulira maaso ge newakubadde embala ye bw’eri  empanvu;  kubanga muganyi: kubanga Mukama talaba  nga abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima. 8 Awo Yese n’alyoka ayita Abinadaabu n’amuyisa  mu maaso ga Samwiri. N’ayogera nti so n’oyo  Mukama tamuloonze. 9 Awo Yese n’ayisaawo Samma. N’ayogera nti so n’oyo Mukama tamuloonze. 10 Yese n’ayisa mu maaso ga Samwiri musanvu ku batabani be. Samwiri n’agamba Yese nti taloonze  abo. 11 Samwiri n’agamba Yese nti Abaana bo bonna bali wano? N’ayogera nti Ekyasigaddeyo omuto, era, laba, aluunda endiga. Samwiri n’agamba Yese nti tuma bamukime; kubanga tetutuule okutuusa lw’anajja eno. 12 N’atuma n’amuyingiza. Era yali mumyufu n’amaaso ge nga malungi era eyegombebwa okutunuulirwa. Mukama n’ayogera nti Golokoka omufukeko amafuta: kubanga ye wuuyo. 13 Awo Samwiri n’alyoka addira ejjembe ly’amafuta, n’amufukako amafuta wakati mu baganda be: Omwoyo gwa Mukama n’eguggya ku Dawudi n’amaanyi okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo. Awo Samwiri n’agolokoka n’agenda e Laama.

14 Awo omwoyo gwa Mukama gwali guvudde ku Sawulo,  n’omuzimu omubi ogwava eri Mukama n’egumunakuwuza.

 

1Eby’omumirembe 13:1-7

1 Awo Dawudi n’ateesa n’abaami b’enkumi n’abebikumi, buli mukulu 2 Dawudi n’agamba ekungaaniro lyonna erya Isiraeri nti Oba nga musiima bwe mutyo, era oba nga kivudde eri Mukama Katonda waffe, tutume wonna wonna eri baganda baffe abasigaddewo mu nsi yonna eya Isiraeri, bakabona n’abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe, ebiriko ebyalo, bakungaanire gye tuli: 3 tukomyeewo gye tuli essanduuko ya Katonda waffe: kubanga tetwagyebuuzangako kigambo mu mirembe gya Sawulo. 4 Ekungaaniro lyonna ne boogera nga banaakola bwe batyo: kubanga ekigambo kyali  kirungi mu maaso g’abantu bonna. 5 Awo Dawudi n’akungaanya Isiraeri yenna, okuva ku sikoli akagga  ak’eMisiri okutuuka awayingirirwa e Kemasi, okuleeta essanduuko ya  Katonda nga bagiggya e Kiriyasuyalimu. 6 Dawudi n’ayambuka ne Isiraeri yenna e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda, okukimayo essanduuko ya Katonda, Mukama atuula ku bakerubbi,ayitibwa Erinnya lye nnyini. 7 Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya mu nnyumba ya Abinadaabu: Uzza ne Akiyo ne bagoba eggaali.

 

Yokaana : Bukuumi na bulokozi, obwali buteekerateekera amajja ga Mukama waffe Yesu Kristo okulokola ensi. Lukka 3:15-17

 

Lukka 3:15-17

15 Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza ebigambo bya Yokaana mu mitima gyabwe oba nga mpozzi ye Kristo; 16 Yokaana n’addamu n’agamba bonna nti mazima nze mbatiza na mazzi ; naye ajja y’ansinga amaanyi, so nange sisanira kusumulula lukoba lwa ngatto ze: ye alibabatiza n’Omwoyo Omutukuu n’omuliro. 17 Olugali lwe luli mu mukono gwe, okulongoosa ennyo egguuliro lye, n’okukunganyiza engaano mu ggwanika lye;  naye ebisusuunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.

 

Yesu Kristo: Ssabakuumi era Ssabalokozi mu nsi yonna.  Matayo 1:18-21

 

Matayo 1:18-21

18 N’okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti. Maliyamu nnyina bwe yali ng’ ayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa,n’alabika nga ali lubuto Olw’omwoyo Omutukuvu. 19 Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n’atayagala kumukwasa nsonyi , yali alowooza okumulekayo kyama. 20 Laba bwe yali alowooza bw’atyo, malayika wa Mukama n’ajja gyali mu kirooto, n’amugamba nti Yusufu omwana wa Dawudi, totya  kutwala Malyamu mukazi wo , kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu. 21 Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye alilokola abantu be mu bibi byabwe.

 

Peetero: Yali mukuumi na mulokozi kukulembera baana ba Isiraeri mu njiri ya Mukama waffe Yesu Kristo, Yokaana 21:15-17

 

Yokaana 21:15-17

15 Awo bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Simoni Peetero nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira banno? N’amugamba nti weewawo , Mukama wange; gwe omanyi nga nkwagala, N’amugamba nti Liisanga abaana be ndiga bange. 16 N’amugamba nate omulundi ogw’okubiri nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? N’amugamba nti weewawo, Mukama wange; gwe omanyi nga nkwagala, N’amugamba nti Lundanga endiga zange. 17 N’amugamba omulundi ogw’okusatu nti Simooni, omwaana wa Yokaana, onjagala? Peetero n’anakuwala kubanga amugambye  omulundi ogwokusatu nti Simooni omwana wa Yokaana, onjagala? N’amugamba nti Mukama wange ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala. Yesu n’amugamba nti Liisanga  endiga zange.

 

Pawulo: Yali mukuumi era mulokozi okukulembera ab’amawanga mu njiri ya Mukama waffe Yesu Kristo, Ebikolwaby’Abatume 9:1-15 , n’abalala bangi.

 

Ebikolwaby’Abatume 9:1-15

1 Naye Sawulo bwe yali akyayogera ebigambo eby’okukanga n’ebyo kutta abayigirizwa ba Mukama waffe, n’agenda eri kabona asinga obukulu, 2 n’amusaba ebbaluwa ez’okugenda e Damasiko, eri amakungaaniro, bw’alirabayo abantu ab’ekkubo, abasibe abaleete e Yerusaalemi.3 Awo bwe yali ng‘atambula, ng’anatera okutuuka e Damasiko, amangu ago omusana oguva mu ggulu ne gumwakira okumwetoloola, 4 n’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? 5 N’agamba nti Ani gwe, Mukama wange? Ye n’agamba nti Nze Yesu,  gw’oyigganya ggwe: 6 naye golokoka oyingire mu kibuga ; onoobulirwa ebikugwanidde okukola. 7 Naye abaali batambula naye ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga bawulidde eddoboozi naye ne batalaba muntu.8 Sawulo  n’agookoka wansi, amaaso ge bwe gaazibuka , n’atalaba kintu: ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Damasiko. 9 N’amala ennaku ssatu nga talaba, era nga talya, wadde nga tanywa. 10 Yaliyo omuyigirizwa e Damasiko, erinnya lye Ananiya ;  Mukama waffe n’amugamba mu kwolesebwa nti Ananiya, N’amugamba nti laba, nze nzuuno, Mukama wange. 11Mukama waffe n’amugamba nti Golokoka ogende mu kkubo eriyitibwa Eggolokofu, Obuulirize  mu nnyumba ya Yuda omuntu erinnya lye Sawulo ow’e Taluso; kubanga ,laba asaba; 12 era alabye omuntu, erinnya lye Ananiya, ng’ayingira, ng’amussaako emikono azibule. 13 Naye Ananiya n’addamu nti Mukama wange , omuntu oyo nnawulira ebigambo bye mu bangi obubi bweyabakolanga abatukuvu bo abali eYerusaalemi bwe buli obungi: 14 ne wano alina obuyinza obuva eri ba kabona abakulu okubasiba bonna abasaba erinnya lyo. 15 Naye Mukama waffe n’amugamba nti Genda: kubanga oyo kye kibya ekironde gye ndi okutwalanga erinnya lyange mu maaso g’amawanga ne bakabaka n’abaana ba Isiraeri.

 

Katonda akuyambe akubikkule amaaso n’amagezi g’omwoyo okuzuula obukuumi n’obulokozi we buli, kubanga Katonda ataddewo omukuumi era omulokozi olw’okuteekateeka amadda ga Mukama waffe Yesu Kristo mu njiri ey’oluvannyuma. Okubikkulirwa 10:1-11.

 

Okubikkulirwa 10:1-11

1Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu, ng’ayambadde ekire; ne Musoke ng’ali ku mutwe gwe, n’amaaso ge ng’enjuba,  n’ebigere bye ng’empagi ez’omuliro;  2 era mu mukono gwe akatabo akabikkuse:

N’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n’ekya kkono ku nsi; 3 n’ayogerera waggulu n’eddoboozi eddene ng’empologoma bw’ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu n’ebyogera amaloboozi gaabyo. 4 Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali ngenda okuwandiika: n’empulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika. 5 Malayika gwe nnalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, 6 n’alayira oli aba omulamu emirembe n’emirembe, eyatonda eggulu n’ebirimu, n’ensi n’ebirimu, ne nnyanja n’ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate: 7 naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bwaliba  ng’agenda  okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng’enjiri bw’eri gye yabuulira abaddu be bannabbi. 8 N’eddoboozi lye nnawulira nga liva  mu ggulu , ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse  mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi. 9 Ne ngenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N’angamba nti Twala, okamire; era kanaakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu  ng’omubisi gw’enjuki. 10 ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika, ne nkamira: ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng’omubisi gw’enjuki:  bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukaayizibwa. 11 Ne bangamba nti kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n’amawanga n’ennimi ne bakabaka bangi.

 

Isaaya 19:21: Okumanya Mukama n’okusinza ne ssaddaaka n’ekitone, okweyama obweyamo n’okubutuukiriza.

 

Isaaya 19:21

 Era Mukama alimanyibwa Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama ku lunaku luli; wewaawo balisinza Mukama ne saddaaka n’ekitone, era balyeyama obweyamo eri Mukama, era balibutuukiriza.

 

Kitegeeza kusalirawo ddala n’okwewaayo n’omutima, amagezi, amaanyi n’obulamu bwonna, okuyigirizibwa, okuwabulwa, okusoma Bayibuli, okubuuza, okwezuula n’okuteeka mu nkola ekyo kyewatonderwa oba okuyitibwa nga kuyita mu kulagaana  n’okutongozebwa si nsonga wasoma oba nga tewasoma wabula okukola ye kyayagala so si nga ffe bwe twagala. Matayo 6:10

 

Matayo 6:10

Obwakabaka bwo bujje By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.

 

Isaaya 19:22:  Okukuba n’okuwonya.

 

Isaaya 19:22

Era Mukama alikuba Misiri, ng’akuba era ng’ awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegayirirwa bo naye alibawonya.

 

Kitegeeza nti awali okujeema kwonna, obutagonda n’obutakkiriza, embeera ey’amaanyi ya kunyigiriza nnyo emirundi musanvu (7) naddala abalina ebibeeyinuza; n’okutabulwatabulwa okw’amaanyi: ate awali okugonda, okwenenya n’okukola okutaliimu bukuusa, nga kwe kwewaayo n’omutima gwonna oluusi n’okuwa omutango ogw’amaanyi, n’obutaddayo kubizanyiramu; kinaaleta okuwonyezebwa n’emirembe.

Isaaya 1:19-20, Zabuli 51:17 ne Abaebulaniya 12:4-13.

 

Isaaya 1:19-20                   

19 Bwe munagondanga ne muwulira, munalyanga ebirungi eby’ensi: 20 naye bwe munagaananga ne mujeema, munaliibwanga n’ekitala; kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

 

Zabuli 51:17

Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.

 

Abaebulaniya 12:4-13

4 Temunnawakana okutuusa ku musaayi nga mulwana ne kibi:5 era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, ekyogera nammwe ng’abaana nti mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, so toddiriranga bwakunennyanga; 6 Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw’akkiriza. 7 Olw’okukangavvulwa kyemunavaanga mugumiikiriza; Katonda abakola ng’abaana;  kuba mwana ki kitaawe gwatakangavvula? 8 Naye bwe munaabeeranga awatali kukangavvulwa, okugwaana okututuukako ffenna, muli beeboolereze, so si baana. 9 Naye  twalina bakitaffe ab’omubiri gwaffe abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa: tetulisinga  nnyo okugonderanga Kitaawe w’emyoyo, ne tuba abalamu? 10 Kubanga bo baatukangavvulaanga ennaka si nyingi olw’okwegasa bo ; naye oyo atukangavvula olw’okutugasa,  tulyoke tufune omugabo mu butukuvu bwe. 11 okukangavvulwa kwonna mu biro bya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo, bye by’obutuukirivu. 12 Kale mugololenga emikono egirengejja, n’amaviivi agakooziimba; 13 era mukubire ebigere byammwe amakubo amagolokofu, awenyera aleme okugavaamu, naye awonenga buwonyi.

 

                                              WETEGEREZE BINO:

 

  • Uganda okuweebwa omukisa okuyita mu kigambo kya Katonda.

Bwe tunagondera okukola okwagala kwa Kayonda ne tuteekebwateekebwa bulungi, eggwanga ne litandika okutambulira mu kutya Katonda okutandikira ku mukulembeze an’abaawo era nga akkiriza okukola endagaano ne Katonda, okufugira wansi w’okuwabulwa kwe, awamu n’okutongozebwa  oba okufukibwako amafuta Katonda w’abalokole (Pentecostal) abo ababikkuliddwa eky’okukola olw’okuyitibwa kuno: olwo amawanga gajja kukulugguka  n’ebyobugagga oba obuyambi ate ggo gafune ekigambo kya Katonda, Uganda efuuke ya njawulo nnyo nnyo mu nsi yonna. Isaaya 60:1-22.

 

Isaaya 60:1-22

1 Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse. 2 Kubanga, laba,ekizikiza kiribikka ku nsi n’ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga, naye Mukama alikuviirayo n’ekitiibwa kye kirirabikira ki ggwe. 3 N’amawanga galijja eri omusana gwo, ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo ng’ovaayo. 4 Yimusa amaaso go omagemage olabe: bonna beekunganyizza wamu, bajja gy’oli: batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo baliweekerwa ku mbiriizi. 5 Awo n’olyoka olaba n’oyakirwa n’omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy’oli, obugagga obw’amawanga bulikujjira. 6 olufulube lw’engamira lulikubikkako, engamira ez’eMidiyaani ne Efa;bonna balijja nga bava e Seeba: balireeta ezaabu n’omugavu ne balanga amatendo ga Mukama.7 Endiga zonna eza Kedali zirikunganyizibwa gy’oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuwereza: zinaalinnyanga ku Kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndissaamu ekitiibwa  ennyumba ey’ekitiibwa kyange. 8 Bano be baani ababuuka ng’ekire era nga bu kamukukulu eri ebituli byabwo? 9 Mazima ebiziinga birinnindirira, n’ebyombo eby’eTalusisi bye birisooka, okuleeta batabani bo okubajja ewala efeeza yaabwe  n’ezaabu yaabwe wamu nabo, olw’erinnya lya Mukama Katonda wo  n’olw’omutukuvu owa Isiraeri, kubanga ye yakussizaamu ekitiibwa. 10 Era bannaggwanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nakukuba nga nkwatiddwa obusuungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa ekisa. 11 Era n’enzigi zo zinaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo emisana n’e kiro;abantu bakuleterenga obugagga bw’amawanga ne  bakabaka baabwe nga bawambe. 12 Kubaga eggwanga  n’obwakabaka obwo obutalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikirizibwa ddala. 13 Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, enfugo n’omuyovu ne namukago wamu; okuwoomya ekifo eky’awatukuvu wange, era ndifuula ekifo eky’ebigere by’abaana okuba ekitiibwa. 14 N’abaana b’abo abakujooganga balijja nga bakukutaamirira; n’abo bonna abakunyoomanga balivuunama awali ebigere byo; ne bakiyita kibuga kya Mukama, Sayuuni eky’omutukuvu owa Isiraeri. 15 Kubanga walekebwa n’okyayibwa ne wataba muntu ayita mu ggwe, ndikufuula okuba obulungi obungi obutaliggwawo, essanyu ery’emirembe emingi. 16 N’okuyonka oliyonka  amata ag’amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka: era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, Ow’amaanyi owa Yakobo. 17 Mu kifo  ky’ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma: era ndifuula abaami bo okuba emirembe n’abakusolooza okuba obutuukirivu. 18 Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bolokozi n’enzigi zo Kutendereza. 19 Enjuba si yeeneebanga nate omusana gwo emisana; so n’omwezi si gwe gunaakwakiranga olw’okumasamasa: naye Mukama ye anabeeranga gy’oli omusana ogutaliggwawo, Era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo. 20 Enjuba yo terigwa nate  lwa kubiri so n’omwezi gwo tegulyegendera: kubanga Mukama ye anaabanga omusana gwo ogutaliggwaawo, n’ennaku ez’okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo. 21 Era n’abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna; ettabi  nze lye nasimba, omulimu gw’engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa. 22 Omuto alifuuka lukumi n’omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.

 

(b) Okusimbula bye twasimba ebitali bya bwa Katonda okuyita mu muliro:

 

Buli muntu w’akuyita mu kanyigo nga yeggyako emizizo gye y’egatta na gyo oba bye yakola gamba nga obubbi, obusamize, obwenzi, ettamiiro, okulya n’okuwa enguzi, obulogo, okutta n’okuddyeekadyeeka olw’ebyenfuuna  nga mwotwalidde  ne Kkanisa ya Katonda omulamu ey’abalokole ffe, nga okufuna ensiimbi za bamulekwa, bannamwandu, abateesobola, ez’okuyamba amakanisa amato aga wansi, okubbira mu byawandiikibwa  naddala mu kuwaayo  nga Katonda siyatulagidde; olw’ebyetaago n’ebigendererwa eby’obuntu: ne zizzibwa mu kugula amamotoka ag’ebbeeyi, Radio projects, Tv, ebiziimbe ebinene, amayu g’abapangisa n’ebirala bingi nga emirimu egy’enjawulo. Obuyambi obwo bwa kusalwako ate n’abagoberezi (abakristayo) bwe banazibuka amaaso wanaabawo vvaawo mpitewo. Ezeekyeri 34:1-31

 

Ezeekyeri 34:1-31

 1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 2 nti omwana w’omuntu, balagulireko abasumba ba Isiraeri, olagule obagambe nti ogambe abasumba nti Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! Abasumba tebandirisizza ndiga? 3 Mulya masavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ebyassava; naye ne mutariisa ndiga. 4 Eteeyinza temugissangamu maanyi, so temuwonyanga erwadde, so temusibanga emenyese, so temukomyangawo egobeddwa, so temunoonyanga ebuze; naye mwazifugisanga  n’amaanyi n’amawaggali. 5 Ne zisaasaana olw’obutabaawo musumba; ne ziba kya kulya eri ensolo zonna ez’omu nsiko ne zisaasaana. 6 Endiga zange zabulubuutira ku nsozi zonna ne ku buli kasozi akawanvu: weewaawo, endiga zange zasaasaanira ku maaso g’ensi yonna; so tewali eyazinoonya newakubadde okuzibuuliriza. 7 Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: 8 Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo zonna ez’omu nsiko olw’obutabaawo musumba, so n’abasumba bange  tebanoonya ndiga zange naye abasumba ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange. 9 Kale , mmwe abasumba , muwulire ekigambo kya Mukama; 10 bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti laba, ndi mulabe w’abasumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n’abasumba tebalyeriisa  bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba eky’okulya eri bo. 11 Kubanga Mukama Katonda Bw’ayogera bw’ati  nti Laba,  nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuuliriza.12 Ng’omusumba bw’abuuliriza ekisibo kye ku lunaku  lw’abeera mu ndiga ze ezisasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziwonya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire  olw’ekizikiza. 13 Era ndiziggya mu mawanga, ne nzikungaanya okuziggya mu nsi nyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo;  era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri. 15 Nze mwene ndiriisa endiga zange ne nzigalamiza , bw’ayogera Mukama Katonda. 16 Ndinoonya ekyo ekibuze ne nkomyawo ekyo ekigobeddwa ne nsiba ekyo ekimenyese ne nzisaamu amaanyi mu ekyo ekirwadde: n’ebyassava n’ebyamaanyi ndibizikiriza; ndibiriisa n’omusango.17 Nammwe, ekisibo kyange,  bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti laba, nsala omusango og’ensolo n’ensolo, ogw’endiga ennume era n’embuzi ennume. 18 Mukiyita kigambo kitono nga mwalya omuddo omulungi, naye ne kibagwanira okulinnyirira  n’ebigere  by’ammwe omuddo gwammwe ogwafikkawo? Era nga mwanywa amazzi amateefu, naye nekibagwanira okutabangula n’ebigere byammwe agafisseewo? 19 N’endiga zange zirya  ebyo byemulinnyiridde n’ebigere byammwe, ne zinywa  ago gemutabangudde n’ebigere byammwe. 20 Mukama Katonda kyava abagamba bw’ati nti laba,nze nze mwene ndisala omusango gw’ensolo eza ssava n’ogw’ensolo enkovvu. 21 Kubanga musindisa embiriizi n’ebibegabega, ne mutomeza ezirwadde zonna amayembe gammwe okutuusa lwe muzisaasanyiza ddala;  22 kyendiva mponya ekisibo kyange, so  teziriba nate muyiggo; naye ndisala omusango gw’ensolo n’ensolo. 23 Era ndissaawo kuzo omusumba omu, naye aliziruunda, omuddu wange Dawudi; ye aliziruunda, era ye aliba omusumba waazo. 24 Nange Mukama ndiba Katonda waabwe, n’omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo; nze Mukama nkyogedde. 25 Era ndiragaana nabo endagaano ey’emirembe, era ndikomya mu nsi ensolo embi: kale balituula mu dduungu nga tebaliiko kye batya, ne bebakira mu bibira. 26 Era ndibafuula omukisa n’ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa oluwandaggirize mu ntuuko zaalwo: walibaawo empandaggirize ez’omukisa. 27 N’omuti ogw’omu ttale gulibala ebibala byagwo, n’ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yabwe nga tebaliiko kye batya; kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga mmaze okumenya ebisiba eby’ekikoligo kyabwe, era nga mbawonyezza  mu mukono gw’abo abaabafuula abaddu. 28 So tebaliba muyiggo nate eri ab’amawanga, so n’ensolo ey’omu nsi teribalya; naye balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatsssiisa. 29 Era ndibayimusiza olusuku olw’okwatiikirira, so tebalimalibwawo nate n’enjala mu nsi, so tebalibaako nsonyi z’abamawanga nate. 30 Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe ndi wamu nabo, era nga bo, ennyumba ya Isiraeri, be bantu bange, bw’ayogera Mukama Katonda. 31 Nammwe,  endiga zange, endiga ez’omuddundiro lyange, muli bantu bange ndi Katonda wammwe, bw’ayogera Mukama Katonda.

 

(c) Okukkakana wansi okutendekebwa:

 

Buli muntu kimwetagisa okuyigirizibwa buto, na ddala abaana ba Katonda, okusobola okumanya eky’okukola olw’okutwala omulembe guno mu maaso, byo ebitiibwa n’obuyinza Katonda yennyini wa kubitwambulamu, wasobole okubaawo okugonda n’okutuula ku bigere by’abatume ab’omulembe guno wadde nga bayinza okuba nga tebaasoma, tebamanyiddwa, tebaatendekebwa nnyo mu Matendekero ga Bayibuli (Bible School) EbikolwaBy’Abatume 4:13 Naye nga Katonda yennyini ye abetendekedde n’okubafukako amafuta g’omulembe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

 

EbikolwaBy’Abatume 4 :13

Awo bwe baalaba obugumu bwa  Peetero ne Yokaana, ne babategeera okuba abantu abatamanyi  kusoma era abataayigirizibwa nnyo, ne beewunya, ne babeetegereza nga bali wamu ne Yesu.

 

(d) Isaaya 28:9-10, Okubikkulirwa 10:1-10

 

Isaaya 28:9-10

9Ani gw’aliyigiriza okumanya? Era ani gw’alitegeeza ebibuulirwa? Abo abaleseeyo okuyonka era abavudde ku mabeere?10 kubanga kiba kiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, olunnyiriri ku lunnyiriri, olunnyiriri ku lunnyiriri; wano katono, awo katono.

 

Okubikkulirwa 10:1-10

1 Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu, ng’ayabadde ekire; ne musoke ng’ali ku mutwe gwe n’amaaso ge ng’enjuba, n’ebigere bye ng’empagi ez’omuliro; 2 era yalina mu mukono gwe  akatabo akabikkuse: n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n’ekya kkono ku nsi; 3 n’ayogerera waggulu n’eddoboozi eddene ng’empologoma bw’ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu n’ebyogera amaloboozi gaabyo. 4 Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera  amaloboozi gaabyo, nnali nga ngenda okuwandiika: ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu , nga lyogera nti Teeka akabonero kw’ebyo ebibwatuka omusanvu  bye byogedde,so tobiwandiika.5 Malayika gwe nnalaba nga ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, 6 n’alayira  oli aba omulamu emirembe n’emirembe, eyatonda  eggulu n’ebirimu, n’ensi n’ebirimu, n’ennyanja n’ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate: 7 naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba ng’ agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng’enjiri bw’eri gye yabuulira abaddu be ba nnabbi. 8 N’eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi. 9 Ne ngenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N’angamba nti twala, okamire; era kanakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu nga omubisi gw’enjuki. 10 Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng’omubisi gw’enjuki: bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukayizibwa.

 

Isaaya 28:

Luno olunyiriri lulabula mulembe gwaffe, bw’ogenda ogoberera Bayibuli ate n’obunnabbi  obuyita mu baweereza ab’enjawulo mu nsangi zino, Katonda tasitula mulembe n’abaweereza ababaddewo, kubanga oluusi baba tebakyasobola kukkakana wansi kuva mu bitiibwa, abamu n’okunyooma ab’awansi  oba abato; nga ku Dawudi bwe kyali 1 Samwiri 17:20-58 baganda be ab’alemwa edda olw’obujeemu bwa kabaka Sawulo ne bazibibwa amaaso, Dawudi b’amulabangamu malala ate  ye Katonda  atalaba nga ffe abantu ng’alaba Naggwano mu kulwana;  gw’ataddeko ekisa okugenda mu linnya lye.

 

1Samwiri 17:20-58

20 Dawudi n’agolokoka enkya mu makya, n’alekera  endiga omusumba n’addira ebintu n’agenda nga Yese bwe yamulagira; n’atuuka mu kifo eky’amagaali, eggye lyali lifuluma okulwana nga balanga emiruka egy’obulwa. 21 Awo Isiraeri n’abafirisuuti ne basiimba enyiriri, eggye nga lyolekera eggye, 22 Dawudi n’aleka omugugu gwe mu mukono gw’omukuumi w’emigugu, n’adduka mbiro eri eggye n’ajja  n’alamusa baganda be. 23 Awo bwe yali anyumya nabo,laba, ne wayambuka oyo omuzira, omufirisuuti ow’e Gaasi, erinnya lye Goliyaasi, ng’ava mu nnyiriri ez’abafirisuuti n’ayogera ng’ebigambo ebyo bwe byali: Dawudi n’abiwulira. 24 Awo abasajja bonna aba Isiraeri bwe baalaba omusajja n’ebamudduka ne batya nnyo.25 Abasajja ba Isiraeri ne boogera nti mulabye omusajja oyo ayambuse? Mazima okusoomooza Isiraeri ky’avudde ayambuka: awo olunaatuuka omuntu anaamutta kabaka anaamugaggawaza n’obugagga bungi, era an’amuwa ne muwala we, era anaafuula ennyumba ya kitaawe okuba ey’eddembe mu Isiraeri. 26 Awo Dawudi n’ayogera n’abasajja abaali bayimiridde okumuliraana nti omuntu anakolwa atya anatta omufirisuuti ono, naggya ekivume ku Isiraeri? Kubanga omufirisuuti ono atali mukomole ye ani asoomooze eggye lya Katonda omulamu? 27 Abantu ne bamuddamu bwe bati nga boogera nti Bw’atyo bw’anakolwa omuntu anaamutta. 28 Ne Eriyabu muganda we omukulu n’awulira bwe yayogera n’abasajja; obusuungu ne bumukwata Eriyabu eri Dawudi, nayogera nti oserengetedde ki n’endiga ezo entono wazirekera ani ku ttale mmanyi amalala go n’ekyeejo ekiri mu mutima gwo, kubanga oserengese okulaba olutalo. 29 Dawudi n’ayogera nti nkoze ki kaakano? Tewali nsonga ? 30 N’amuvaako n’akyukira omulala n’ayogera ebigambo ebimu n’ebyo: abantu ne bamuddamu nate  bwe batyo nga bwe bamuzzeemu olubereberye. 31 Awo ebigambo bwe byawulirwa Dawudi bye yayogera ne babyogera mu maaso ga Sawulo; n’amutumya. 32 Dawudi n’agamba Sawulo nti Omuntu yenna aleme okuggwaamu omwoyo ku lulwe; omuddu wo an’agenda n’alwana n’Omufirisuuti oyo. 33 Sawulo n’agamba Dawudi nti toyinza kusisinkana na Mufirisuuti oyo okulwana naye: kubanga ggwe oli mulenzi bulenzi, naye ye musajja mulwanyi okuva mu buto bwe. 34 Dawudi n’agamba Sawulo nti omuddu wo yakuumanga endiga za kitaawe; awo bwewajjaanga empologoma oba eddubu n’eggya omwana gw’endiga mu kisibo, 35 ne nfulumanga ne njigoberera ne njikuba ne njiwonya nga ngiggya mu kamwa kaayo: awo bweyaangolokokerangako ne ngikwata mu kirevu kyayo ne ngikuba  ne ngitta. 36 Omuddu wo yakuba empologoma era n’eddubu: n’omufirisuuti oyo atali mukomole aliba ng’emu kuzo kubanga asoomoozezza eggye lya Katonda omukulu. 37 Dawudi n’ayogera nti Mukama eyamponya mu njala z’empologoma n’emunjala z’eddubu , alimponya ne mu mukono gw’omufirisuuti oyo. Sawulo n’agamba Dawudi nti Genda, era Mukama anaaba naawe. 38 Awo Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye, n’amutikkira n’enkuufira ey’ekikomo ku mutwe gwe, n’amwambaza ekizibawo eky’ekikomo. 39 Awo Dawudi n’eyesiba ekitala kye ku byambalo bye, n’agezaako okutambula; kubanga yali tannaba ku byegezaamu. Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti Siyinza kugenda na bino; kubanga sinnabyegezaamu Dawudi nabyeyambulamu. 40 N’addira omuggo mu mukono gwe, n’eyerondera amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ey’omusumba gye yalina,mu ndyanga ye; n’envumuulo ye yali mu mukono gwe: n’asemberera omufirisuuti. 41 Awo Omufirisuuti n’ajja n’amusemberera Dawudi; n’omusajja eyatwala engabo n’amukulembera. 42 Awo Omufirisuuti bwe yamagamaga n’alaba Dawudi, n’amunyooma: kubanga nga yali mulenzirenzi, era mumyufu, na maaso ge nga malungi. 43 Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti Nze ndi mbwa n’okujja n’ojja gye ndi n’emiggo? Omufirisuuti n’akolimira Dawudi eri bakatonda be. 44 Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti Jjangu gye ndi ngabire omubiri gwo ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko. 45 Awo Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti ojja gye ndi n’ekitala n’olunyago n’effumu: naye nze njija  gyoli  mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isiraeri ly’osoomozezza. 46 Leero Mukama anaakugabula mu mukono gwange; era n’akukuba ne nkuggyako omutwe gwo; era n’agabira ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko emirambo egy’eggye ery’abafirisuuti; ensi zonna zitegeere nga mulimu Katonda mu Isiraeri: 47 era ekibiina kino kyonna kitegeere nga  Mukama talokola na kitala na ffumu: kubanga olutalo lwa Mukama, naye anaabagabula mu mukono gwaffe. 48 Awo alwatuuka Omufirisuuti bwe yagolokoka n’asembera okusisinkana Dawudi, awo Dawudi n’ayanguwa n’adduka mbiro eri eggye okusisinkana n’omufirisuuti. 49 Awo Dawudi n’ayingiza engalo ze mu nsawo ye n’aggyamu ejjinja n’alivuumuula n’akuba Omufirisuuti ekyenyi; ejjinja n’eriyingira mu kyenyi kye, n’agwa nga y’evuunise. 50 Awo Dawudi n’awangula bw’atyo Omufirisuuti n’envumuulo n’ejjinja, n’akuba Omufirisuuti n’amutta; naye nga temuli kitala mu mukono gwa Dawudi. 51 Awo Dawudi n’adduka mbiro n’ayimirira ku Mufirisuuti, n’addira ekitala kye nakisowola mu kiraato kyakyo, n’amutta n’amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng’afudde ne badduka. 52 Awo abasajja ba Isiraeri n’aba Yuda ne bagolokoka  ne boogerera waggulu ne bagoberera Abafiriisuuti okutuusa lw’otuuka e Gaayi ne ku miryango gya Ekuloni, N’Abafiriisuuti abaafumitibwa ebiwundu ne bagwa ku kkubo eridda e Ssalayimu, okutuusa e Gaasi ne Ekuloni. 53 Abaana ba Isiraeri ne baleka okugoberera Abafirisuuti ne bakomawo ne banyaga olusiisira lwabwe. 54 Awo Dawudi n’addira omutwe gw’Omufirisuuti n’agutwala e Yerusaalemi; naye n’ateeka eby’okulwanyisa bye mu weema ye. 55 Era Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’afuluma okulwana n’omufirisuuti, n’agamba Abuneeri, omukulu w’eggye, nti Abuneeri, omulenzi  ono ye mwana w’ani? Abuneeri n’ayogera nti nga ggwe bw’oli omulamu, ai Kabaka, Simanyi. 56 Kabaka n’ayogera nti Buuza kitaawe w’omuvubuka oyo bw’ali. 57 Awo Dawudi bwe yali akomawo ng’asse Omufirisuuti, Abuneeri n’amutwala n’amuleeta eri Sawulo ng’alina omutwe gw’Omufirisuuti mu mukono gwe. 58 Sawulo n’amugamba nti Gwe oli mwana wani, Mulenzi ggwe? Dawudi n’ddamu nti Nze ndi mwana wa muddu wo Yese Omubesirekemu.

 

Isaaya 28: 10

Kubanga kiba kiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, olunnyiriri ku lunnyiriri, olunyiriri ku lunyiriri; wano katono , awo katono.

 

Katonda ku luno ayagala kuddamu okututeekateeka nga tuyiga ssomo ku ssomo nga tetusosola, okuyita mu kubikkulirwa kw’aggyeyo eri abo abatono ennyo abatandise olugendo, twejjemu mbimanyi, mpereza nnyo, ndi wa kitiibwa.

Awatali kukakkana  wa kukuyitako akozese abo abanaagoonda olw’okuyitibwa kuno, era baaba asimba mu bifo eby’obuvunanyizibwa. Eseza 1:9-19, Isaaya 28:22, Ezekyeri 21:26

 

Eseza 1:9-19

9 Ne Vasuti kaddulubaale n’afumbira abakazi embaga mu nnyumba ya kabaka, eya kabaka Akaswero. 10 Awo ku lunaku olw’omusaanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyuka olw’omwenge, n’alagira Mekumani ne Bizusa ne Kalubona ne Bigusa ne Abagusa ne Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweerezanga mu maaso ga Akaswero Kabaka, 11 Okuleeta Vasuti Kaddulubaale mu maaso ga Kabaka ng’atikkidde engule ey’obwakabaka okw’olesa amawanga n’abakungu obulungi bwe: kubanga yali mulugi okutunuulira.12 Naye Kaddulubaale n’agaana okujja olw’ekiragiro kya Kabaka bwe yamulagiriza abalaawe: Kabaka kyeyava asuunguwala ennyo, ekiruyi kye n’ekibuubuuka mu ye. 13 Awo Kabaka n’agamba abagezi abategeera ebiro, (kubanga eyo ye yali empisa ya Kabaka eri bonna abaamanya amateeka n’emisango; 14 ne Kalusena ne Sesali ne Adumasa ne Talusiisi ne Meresi ne Malusema ne Memukani, abakungu musanvu ab’e Buperusi n’e Bumeedi, abaalabanga amaaso  ga Kabaka era abaatuulanga ku ntebe ez’okumwanjo mu bwakabaka, abo be bamuddirira:) 15 nti Tunakola tutya Kaddulubaale Vasuti ng’amateeka bwe gali, kubanga takoze ekyo Kabaka Akaswero Ky’amulagirizza Abalawe? 16 Awo Memukani n’addamu mu maaso ga Kabaka n’abakungu nti Vasuti Kaddulubaale tayonoonye Kabaka yekka era naye n’abakungu bonna n’amawanga gonna agali mu masaza gonna aga Kabaka Akaswero. 17 Kubanga ekikolwa kino ekya Kaddulubaale kiryatiikirira mu bakazi  bonna okunyomesaanga babbaabwe mu maaso gaabwe bwe kinaabuulirwanga  nti Kabaka Akaswero yalagira Vasuti Kaddulubaale okuletebwa mu maaso ge naye n’atajja. 18 Awo ku lunaku luno abakyala ab’e Buperusi n’e Bumeedi abawulidde ekikolwa kya Kaddulubaale banaagamba abakungu bwe batyo abakungu bonna aba Kabaka. Kale walibaawo okunyooma kungi  n’obusungu. 19 Kabaka bw’anasiima bw’atyo alaalike ekiragiro kya Kabaka,  era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n’Abameedi kireme okuwanyisibwa, Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga Kabaka Akaswero; era n’obukulu bwe obwa Kaddulubaale Kabaka abuwe  omulala  amusinga  obulungi.

 

Isaaya 28:22

Kale nno temuba banyoomi , enjegere zammwe zireme okunywezebwa: kubanga okukkomekkereza era okwatesebwa kwe mpulidde okuva eri Mukama, Mukama ow’eggye, ku nsi yonna.

 

Ezeekyeri 21:26-27

26 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Ggyawo enkuufiira otikkule engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo; gulumiza  ebikkakanye , okkakanye ebigulumizibwa. 27 Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika; so n’ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo lw’alijja era ndikimuwa.

 

Okubikkulirwa 10:1-6

1 Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu, ng’ayambadde ekire ; ne Musoke ng’ali ku mutwe gwe n’amaaso ge ng’enjuba, n’ebigere bye ng’empagi ez’omuliro; 2 era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n’ekya kkono ku nsi; 3 n’ayogerera waggulu n’eddoboozi eddene ng’empologoma bw’ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo. 4 Ebibwatuka omusaanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nali nga ngeenda okuwandiika: ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika. 5 Malayika gwe nnalaba nga ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n’ayimusa omukono gwe  ogwa ddyo eri eggulu, 6 n’alayira oli aba omulamu emirembe n’emirembe, eyatonda eggulu n’ebirimu, n’ensi n’ebirimu, n’ennyanja n’ebirimu, nti tewalibeera kiseera  nate:

 

Malayika bye yategeeza Yokaana bigenda bitukirizibwa eri ensi yonna mu mulembe gwaffe.

 

Okwambala ekire:

 Kitegeeza kudda buggya oba okudda kw’ekitiibwa kya Katonda ku nsi.

1 Bassekabaka 8:1-11, Ezekyeri 43:1-6

 

1 Bassekabaka 8:1-11

1 Awo Sulemaani n’akungaanya abakadde ba Isiraeri n’emitwe gyonna egy’ebika, abakulu be nnyumba za bakitaabwe ez’abaana ba Isiraeri, eri Kabaka Sulemaani e Yerusaalemi, okulinnyisa Essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga bagiggya mu kibuga kya Dawudi, Sayuni. 2 Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakungaanira eri kabaka Sulemaani ku mbaga, mu mwezi Esanimu, gwe mwezi ogw’omusanvu. 3 Abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, bakabona ne basitula essanduuko. 4 Ne balinnyisa essanduuko ya Mukama, n’eweema ey’okusisinkanirangamu, n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema; ebyo bakabona n’abaleevi bye baalinnyisa. 5 Kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna  ekya Isiraeri abaali bakungaanidde gy’ali baali wamu naye mu maaso g’essanduuko, nga bawaayo endiga n’ente ezitabalika newakubadde okugattika olw’obungi. 6 Bakabona ne bayingiza essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa mu nnyumba okwogera, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi we biwaawayiro bya bakerubi. 7 Kubanga ba kerubi baabamba ebiwawaatiro byabwe ku kifo ky’essanduuko, ba kerubi ne babikka ku ssanduuko n’emisituliro gyayo waggulu. 8 Era emisituliro gyali miwanvu bwe gityo emisa gy’emisituliro n’okulaba n’agiraba  ng’ayima mu kifo ekitukuvu mu maaso g’awayimibwa okwogera: naye ayima ebweru nga tagiraba: era giri eyo ne leero. 9 Tewaali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi; eby’amayinja Musa bye yateekamu ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n’abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y’eMisiri. 10 Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, ekire ne kijjuza ennyumba ya Mukama, 11 bakabona n’okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw’ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama nga kijjuzizza ennyumba ya Mukama.

 

Ezeekyeri 43:1-6

1 Awo oluvannyuma n’antwala eri omulyango, omulyango ogwo gutunuulira obuvanjuba: 2 kale, laba, ekitiibwa kya Katonda wa  Isiraeri nga kijja nga kiva mu kkubo ery’ebuvanjuba: n’eddoboozi lye lyali ng’okuwuuma kw’amazzi amangi: ensi n’emasamasa olw’ekitiibwa kye.3 Era kyali ng’embala ey’okwolesebwa kwe nnalaba, ng’okwolesebwa kw’ennalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga: era okw’olesebwa kwali ng’okwolesebwa kwe nnalaba ku lubalama lw’omugga Kebali: awo ne nvuunama amaaso gange. 4 Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu nnyumba nga kifuluma mu kkubo ery’omulyango ogutunuulira obuvanjuba. 5 Omwoyo ne gunsitula ne gundeeta mu luggya olw’omunda: kale,laba, ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba. 6 Awo ne mpulira ayogera nange ng’ayima mu nnyumba; omusajja n’ayimirira ku mabbali gange.

 

Musoke ku mutwe:   Kitegeeza bukulu n’obukulembeze bwa Katonda, okuyita mu mwana we Yesu Kristo; Kabaka wa bakabaka nga ajjude ekisa, okusaasira, okujjukirwa okununulwa n’okusonyiwa buli awali okwetowaza n’okwenenya oba okubonerera. Zabbuli 51:17

 

Zabbuli 51:17

Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda , toogugayenga.

 

Amaaso ng’enjuba:   

Kitegeeza kigambo kye, kigenda kumulisa mu buli muntu mu mutima gwe; ate nga we tutuuse buli muntu aggya kukyetaaga olw’embeera; olwo omwoyo omutukuvu alumirize ekibi, omusango n’obutuukirivu eri ensi n’amaanyi amasukkulumu.

 

N’ebigere bye ng’empagi ez’omuliro:

Kino kitegeeza nti Obwakabaka bwa Katonda buyimirira ku magulu abiri, kkono ne ddyo ate  nga ddyo ye asiinga amaanyi okusinga kkono,naye nga gonna gayimirira lumu (bumu) nga Yesu Kristo n’ekkanisa; Eggulu n’ensi, Ennyanja n’olukalu, omwami n’omukyala, omukulembeze n’eb’akulembera, Omuzadde n’omwana, Omukadde n’omuvubuka, ekkanisa n’ensi, okwagala Katonda n’okwagala muntu munno, Emisana n’ekiro, ekibuga n’ekyalo, Baibuli n’ebitabo ebirala ebiyamba ku magezi amalungi.

 

Ate Omuliro okwokya:

Kitegeeza kusaanuusa bujeemu bwonna mu mitima gy’abantu.

 

Akatabo akabikkuse:

Kitegeeza okubikkulirwa okw’omulembe ogusembayo olw’omwoyo wa Katonda, si lwa magezi oba amaanyi gaffe. Zekkaliya 4:6

 

Zekkaliya 4:6

N’addamu n’angamba nti kino ky’ekigambo kya Mukama eri Zerubbaberi nga ky’ogera nti Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw’ayogera Mukama w’eggye.

 

Okuteeka ekigere ekya ddyo ku nnyanja:

Kitegeeza Katonda okukozesa amaanyi amassukkulumu okulinnyirira n’okufaafaganya ebyeyinuza buli omu, eby’obugagga, eby’enfuna n’ebirara; Ate ekigere ekya kkono ku nsi ku linnyirira  n’okufaafaganya amagezi n’olukujjukujju lwaffe abantu. 1 Abakkolinso 1:18-28

 

1Abakkolinso 1:18-28

18 Kubanga ekigambo eky’omusalaba bwe busirusiru eri abo ababula; naye eri ffe abalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19 Kubanga kyawandiikibwa nti ndizikiriza amagezi g’abagezigezi, N’obukabakaba bw’abakabakaba ndibuggyawo.20 Omugezigezi aluwa? Omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi ow’omu nsi muno aluwa? Katonda teyasiruwaza magezi ga nsi? 21 Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw’amagezi gaayo bw’etaategeera Katonda, Katonda n’asiima olw’obusirusiru obw’okubuulira okwo okulokola abo abakkiriza.22 Kubanga Abayudaaya basaba   obubonero, n’Abayonaani banoonya amagezi; 23 naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa, eri abayudaaya nkonge, n’eri abamawanga busirusiru; 24 naye eri abo abayite Abayudaaya era n’Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda. 25 Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.

26 Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe aboluganda, ng’abamagezi ag’omubuli si bangi abayitibwa, ab’amaanyi si bangi, ab’ebitiibwa si bangi: 27 naye Katonda yaloonda ebisirusiru by’ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi akwase ensonyi eby’amaanyi; 28 n’ebikopi by’ensi n’ebinyoomebwa  Katonda yabiroonda era n’ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo:

 

Ate okulayira kitegeeza:

Kusalawo n’okumalirira, obutejjusa n’okutuukiriza buli kimu. Okubala 23:19

 

Okubala 23:19

Katonda si muntu, okulimba; so si mwana wa muntu, okwejjusa:

Ayogedde, n’okukola talikola? Oba agambye, n’okutuusa talikituusa?

 

Ekyama ky’ennjiri eky’abuulirwa ba nnabbi.

Okubikkulirwa 10:7-11

 

Okubikkulirwa 10:7-11

7 naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba nga agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng’enjiri bw’eri gye yabuulira abaddu be bannabbi. 8 N’eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate  nga lyogera nange  ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi. 9 Ne ngenda eri malayika, nga mmugamba Okumpa akatabo . Nangamba nti Twala, Okumire; era kanakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu ng’omubisi gw’enjuki. 10 Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika, ne nkamira ; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng’omubisi gw’enjuki: bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukayizibwa. 11 Ne bangamba nti kikugwanidde okubuulira nate abantu n’amawanga  n’ennimi ne bakabaka bangi.

 

Buno bwe budde Katonda bwe yategeka okubuuliriramu enjiri ey’oluvannyuma; ke katabo akabikkuse, buli omu alina okutwala obuvunanyizibwa oba omuwendo okufuna ekigambo kya Katonda okukiyiga wadde nga kikaawa eri obujeemu oba amagezi ag’obuntu. Ate nga kiwoomerera ng’omubisi gw’enjuki eri abaloonde, abetoowaza kubanga kiyitibwa kitala. Isaaya 1: 19-20, Abaebulaniya 4:12.

 

Isaaya 1:19-20

19 Bwe munagoondanga ne muwulira, munalyanga ebirungi eby’ensi: 20 naye bwe munagaananga ne mujeemanga, munaliibwanga n’ekitala: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

 

Abaebulaniya 4:12

Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusiinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.

 

Okugambibwa okubuulira enjiri eri abantu n’amawanga ne nnimi ne bakabaka abangi:-

 

Kitegeeza nti enjiri eno ey’oluvunnyuma abaweereza balina okumalirira kubanga tegenda kutaliza muntu yenna ka babeere bafuzi, nnimi oba abantu bonna; bonna balina okuvuunama wansi wa Kabaka wa bakabaka Yesu Kristo. Tewajja kubaawo kiwagi, kyetwala oba naakyemalira yenna. Zabbuli 2:1-12, Zabbuli 110:1-7, Abaefeso2:5-11.

 

Zabbuli 2:1-12

1Kiki ekibagugumusizza ab’amawanga, N’abantu kiki ebalowoozesezza ekitaliimu?

2 Bakabaka ab’ensi bateesetese, N’abafuga bateesezza ebigambo wamu ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti

3 Ka tumenyeemenye enjegere zaabwe, tusuule wala amigwa gyabwe.

4 Atuula mu ggulu aliseka, Mukama alibaduulira.

5 Mu biro biri alibagamba mu busuungu bwe, Alibateganya mu kiruyi kye ekingi.

6 Naye naateeka kabaka wange ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.

7 Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yangamba nti Ggwe oli mwana wange: Leero nkuzadde.

8 Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okuba obusika bwo, N’ensonda  ez’ensi okubeera amatwale go.

9 Olibamenya n’omuggo ogw’ekyuma; olibasaayasa ng’entamu ey’omubuumbi.

10 Kale kaakano mubeere n’amagezi, mmwe bakabaka: muyige, mmwe abasala omusango gw’ensi.

11 Muweereze Mukama n’okutya, Era musanyuke n’okukankana.

12 Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo, kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu. Balina omukisa bonna abamweyuna ye.

Zabbuli 110:1-7

1 Mukama agamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.

2 Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi go okuva mu Sayuuni: Ggwe fugira wakati mu balabe bo. 3 Abantu bo beewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo: Mu bulungi obw’obutukuvu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo, oguva mu lubuto lw’enkya.

4 Mukama yalayira, talyejjusa, Nti gwe oli kabona emirembe gyonna. Ng’engeri ya Merukizeddeki bw’eri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusuungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga, Alijjuza ebifo emirambo; Alifumita omutwe munsi nyingi.

7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo: ky’aliva ayimusa omutwe.

 

Abaefeso 2:5-11

5 Era ffe bwe twali nga tufiiridde  mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo(mwalokoka lwa kisa), 6 n’atuzuukiza wamu naye, n’atutuuza wamu mu bifo eby’omu ggulu mu Kristo Yesu: 7 mu mirembe egigenda okuggya alyoke alage obugagga obusinga ennyo obw’ekisa kye mu bulungi obuli gye tuli mu Kristo Yesu: 8 kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza, so te kwava gye muli. Kye kirabo kya Katonda: 9 tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumiriza. 10 Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw’ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteeketeeka ffe okubitambuliramu.11 Kale mujjukire ng’edda mmwe, abaali ab’amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abatakomolebwa, mu mubiri abaakomolebwa ne mikono;

 

 

Amosi 9:2-3 (a) Okusima okutuuka emagombe era n’omukono gwa Mukama okubaggyayo:-

 

Amosi 9:2-3

2 Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo; era newakubadde nga balinnya mu ggulu, ndibassa okubaggyayo.3 Era newakubadde nga bekwekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikenneenya ne mbaggyayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw’ennyanja wansi, ndiragirira eyo omusota ne gulibaluma.

 

Kino kitegeeza nti buli eyagenda ebuziba mu sitani, nga okusaddaaka abantu n’ebirala ng’abakola endagaano ne sitani okufuna amaanyi n’okufuuka ab’amaanyi mu nsi ne mu Kkanisa; Katonda agolokose okubassaako amaanyi ag’ekika ekyawaggulu okubaggyayo: nga buli omu wa kuwanika yekka. N’obutasobola kuziyiza njiri wadde okubuzaabuza abantu  ababadde batayawula maanyi ga Katonda ne sitaani. Isaaya 28:14-19.

 

Isaaya 28:14-19

14 Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abanyooma, abafuga abantu bano abali  mu Yerusaalemi: 15 nti kubanga mwogedde nti Tulagaanye endagaano n’okufa, era tutabaganye n’amagombe; ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu, tekiritutuukako; kubanga tufudde eby’obulimba ekiddukiro kyaffe,era twekweese wansi w’obukuusa: 16 Mukama Katonda ky’ava ayogera nti laba, nteeka mu Sayuni  ejjinja okuba omusingi, ejjinja eryakemebwa, ejjinja ery’okunsonda ery’omuwendo omungi erinywezebwa ennyo wansi: akkiriza talyanguyiriza.17 Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera, n’obutuukirivu okuba omugwa ogutereeza: n’omuzira gulyerera ddala ekiddukiro  ky’obulimba, n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.18 N’endagaano gye mwalagaana n’okufa erijjulukuka, so n’okutabagana kwammwe kwe mwatabagana n’amagombe tekulinywera: ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu, ne kiryoka kiribalinnyirira wansi. 19 Buli lwe kinayitangamu, kinaabakwatanga; kubanga buli lukya kinayitangamu emisana n’ekiro: era okutegeera ebibuulirwa kuliba ntiisa nsa.

 

Amosi 9:2 (b) Abalinnya okutuuka  mu ggulu omukono gwa Katonda okubaggyayo:-

 

 Amosi 9:2

Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo: era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, ndibassa okubaggyayo.

 

Kino nno kitegeeza nti buli eyessa mu kitiibwa kyonna yekka oba nga yayambibwako abantu, mmundu, kubba bululu,balamuzi, bukujjukujju mu kkanisa ne munsi, Katonda agenda kumwambula ebitiibwa byonna, amuteeke w’asanira okubeera oba we yamuyitira. Bano ba tuzimba ekyalo kimu (global village) bano nabo Katonda agenda kubakola nga bwe yakola abaali baziimba omunaala gw’e Baberi; n’ekifaananyi kya Nebukadduneeza kye yasimba, buli omu wa kukakkana wansi awatali kuyimuka. Lubereberye11:1-9, Danyeri 3, Okubikkulirwa 17:11-14, Okubikkulirwa 18:4-11

 

Lubereberye 11:1-9

1 N’ensi zonna z’alina olulimi lumu n’enjogera emu. 2 Awo, bwe baali batambula ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi Sinali; ne batuula omwo. 3 Ne bagambagana nti kale nno, tukole amatoffaali, tugokere ddala. Awo ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, n’ebitosi mu kifo ky’ennoni. 4 Ne boogera nti kale nno, twezimbire  ekibuga, n’ekigo, ( ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu, era twefunire erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala mu nsi zonna. 5 Mukama n’akka okulaba ekibuga n’ekigo, abaana ba bantu kye bazimba. 6 Mukama n’ayogera nti laba, abo lye ggwanga limu, era bonna balina olulimi lumu; era kino kyebatanula okukola: ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola. 7 Kale nno,tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegeera enjogera yaabwe bokka na bokka. 8 Bw’atyo Mukama nabasaasanyiza ddala okuva eyo okubuna ensi zonna:  ne baleka okuzimba ekibuga. 9 Erinnya lyaakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’e nsi zonna.

 

Danyeri 3:1-30

1 Nebukudduneeza kabaka yakola ekifaananyi ekya zaabu, obuwanvu bwakyo emikono nkaaga, n’obugazi bwakyo emikono mukaaga; n’akiyimiriza mu lusenyi lwa Duula, mu ssaza ely’e Babulooni. 2 Awo Nebukadduneeza kabaka n’atuma okukungaanya abaamasaza, n’abamyuka, n’abafuga, n’abalamuzi, n’abawanika, n’abakungu, n’ab’amateeka, n’abakulu bonna ab’omu masaza, bajje eri ekifaananyi Nebukadduneeza Kabaka kye yayimiriza bwe kiriwongebwa. 3 Awo abaamasaza, n’abamyuka, n’abafuga, n’abalamuzi, n’abawanika, n’abakungu, n’ab’amateeka, n’abakulu bonna ab’omu masaza, ne bakungaana olw’okuwonga ekifaananyi Nebukadduneeza Kabaka kye yayimiriza! Ne bayimirira mu maaso g’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yayimiriza.4 Awo omulangirizi n’ayogerera waggulu nti mmwe mulagirwa, mmwe abantu, amawanga, n’ennimi, 5 bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadiinda, n’ekidoongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, ne mulyoka  muvuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza Kabaka kye yayimiriza: 6 era buli anaalema okuvuunama n’okusinza mu kiseera ekyo alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro.7 Awo abantu bonna bwe baawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadiinda, n’ekidoongo, na buli ngeri yonna evuga, abantu bonna amawanga, n’ennimi, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza  Kabaka kye yayimiriza. 8 Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bajja, ne baloopa Abayudaaya 9 Ne baddamu ne bagamba Nebukadduneeza Kabaka nti Ai Kabaka, obeere omulamu emirembe gyonna. 10 Ggwe ai Kabaka, wateeka etteeka, nti buli anaawulira eddoboozi  ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadiinda, n’ekidoongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, anaavuunama n’asinza ekifaananyi ekya zaabu: 11 era anaalema okuvuunama n’okusinza alisulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro. 12 waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu bigambo by’essaza ery’eBabulooni, Saddulaaki, Mesaki  ne Abeduneego: abasajja abo ai Kabaka tebakulowoozezza: tebaweereza ba katonda bo, so tebasinza kifaananyi kya zaabu kye wayimiriza.13 Awo Nebukadduneeza n’alyoka asunguwala ne  yeejuumuula n’alagira okuleeta Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga Kabaka. 14 Nebukadduneeza n’abaddamu n’abagamba nti mmwe Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, mukigenderedde bugenderezi obutaweereza katonda wange, n’obutasinza kifaananyi kya zaabu kye nayimiriza. 15 Kale nno, bwe munakkiriza  nga muwulidde eddoboozi lya Kagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadiinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, okuvuunama n’okusinza ekifaananyi kye nnakola:  naye bwe mutasinze, mu kiseera ekyo munasulibwa wakati mu kikoomi ekyaka: era katonda aliwa oyo anabawonya mu mikono gyange? 16 Saddulaaki, Misaki ne Abeduneego ne baddamu ne bagamba Kabaka nti Ai Nebukadduneeza, tekitugwanira kuddamu mu kigambo ekyo.17 bwe kinaaba bwe kityo, Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n’omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo, ai Kabaka. 18 Naye bwe kitaabe bwe kityo, tegeera,ai kabaka, nga tetugenda kuweereza ba katonda bo, Newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza. 19 Awo Nebukadduneeza n’alyoka yeejuumuulira ddala, n’engeri y’amaaso ge newanyisibwa eri Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego: n’ayogera n’alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okukira bwe kyali kyase. 20 N’alagira ab’amaanyi abamu ab’omu ggye lye okusiba Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, okubasuula mu kikoomi ekyaka n’omuliro. 21 Awo abasajja abo ne balyoka babasiba nga bambadde seruwale zaabwe, n’ebizibawo byabwe n’eminagiro gyabwe, n’engoye zaabwe endala, ne babasuula wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro.22 Awo kubanga Kabaka yabakuutirira ddala, n’ekikoomi nga kyase nnyo ennimi z’omuliro ne zitta abasajja abo abaabakwata, Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. 23 N’abasajja abo abasatu, Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego ne bagwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro, nga basibiddwa. 24 Awo Nebukadduneeza kabaka n’alyoka yeewunya, n’ayanguwa n’agolokoka: n’ayogera n’agamba abakungu be nti Tetusudde abasajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro? Ne baddamu ne bagamba Kabaka nti mazima, ai Kabaka.25 N’addamu n’ayogera nti Laba, nze ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambula wakati mu muliro, so nga tebaliiko kabi: n’okufaanana kw’owokuna kulinganga omwana wa bakatonda. 26 Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’ekikoomi ekyaka n’omuliro; n’ayogera nti Saddulaaki,Mesaki ne Abeduneego mmwe abaddu ba Katonda ali waggulu ennyo, mufulume mujje wano. Saddulaaki,Mesaki ne Abeduneego ne balyoka bafuluma wakati  mu muliro. 27 N’abaamasaza, n’abamyuka, n’abafuga n’abakungu ba kabaka ne bakungaana ne balaba abasajja abo, ng’omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe so n’enviiri ez’okumitwe gyabwe nga tezisirridde, so n’engoye zaabwe nga teziwanyisibbwa, so nga olusu olw’omuliro nga terubabaddeeko. 28 Nebukadduneeza n’ayogera nti Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonnyezza abaddu be abamwesize ne bawanyisa ekigambo kya Kabaka ne bawaayo emibiri gyabwe baleme okuweereza newakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo. 29 Kyenva nteeka etteeka nga buli bantu n’eggwanga n’olulimi abanayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abedunego balitemebwatemebwa, ne nnyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo. 30 Kabaka n’alyoka akuza Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego mu Ssaza ery’e Babulooni.

 

Okubikkulirwa 17:11-14

11N’ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye yew’omunaana  naye ye w’okumusanvu,era agenda kubula. 12 N’amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi,abatannaba kuweebwa bwa kabaka, naye baweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n’ensolo, okumala essawa emu. 13 Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n’obuyinza. 14 Abo balirwana n’omwana gw’endiga, n’omwana gw’endiga alibawangula kubanga ye Mukama w’amaami, era Kabaka wa bakabaka; era naabo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa

 

Okubikkulirwa 18:4-10

4 Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu ,abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye. 5 Kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukkidde ebyonoono bye. 6 Mu musasule oyo nga naye bwe yasasula, era mu mwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe  byali: mu kikompe kye yatabula mu mutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bwe yegulumiza n’akabawala, mu muwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala;  kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri  nnamwandu, so ssiriraba  nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja ku lunaku olumu ebibonyoonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango . 9 Era bakabaka b’ensi abayenda ne bakabawala naye,  balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssawa emu omusango gwo gutuuse.

 

Amosi  9:3(a) Okwekweka ku ntikko ya Kalumeeri n’okumenya okubaggyayo:

 

Amosi 9:3

Era newakubadde nga bekwekera  ku ntikko ya Kalumeeri, ndi kenneenya ne mbaggyayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw’ennyanja wansi, ndiragira omusota ne gubaluma.

 

Kitegeza nti buli muntu ayagala ebirungi naye nga tabikoleredde oba okubifuna mu makubo amakyamu ng’okuyita mu kubba, okunyigiriza abalala, okulya  enguzi, okulyazaamanya, okutiisatiisa n’okutta. Ate mu Kkanisa kunoonya byamagero byokka, okufunira mu kulimbira mu kigambo kya Katonda, n’ebirala bingi; byonna byakuddayo eri ba nnyini byo, ate ebimu byakusanyizibwawo, bisaana bidde mu mikono emituufu n’okuweesa Katonda ekitiibwa.

 

Amosi 9:3(b) Abekweeka mu buziba bw’enyanja wansi, okulagira omusota okubaluma:

 

Amosi 9:3

Era newakubadde nga bekwekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikenneenya ne mbajjayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw’ennyanja wansi ndiragira eyo omusota ne gubaluma.

 

Kitegeeza nti abalala abasaliddewo ddala okujeema, Katonda wa kukola kyonna ekisoboka okubagengewaza, okubafaafaaganya mu by’omwoyo n’eby’omubiri oluusi n’okubatta; abasigaddewo babere nga tebakyalina we basinziira okulwanyisa n’okujeemera enjiri oba amazima: mu bufuunze anagolokokera ku njiri oba amazima, Katonda y’ajja okumwanganga olwo ensi zonna ziryoke zimutye  zinoonye okuwonyezebwa. Zekkaliya 14:12,17, Okubikkulirwa 21:1-2 ne 24.

 

Zekkaliya 14:12,17

12 Na kino kye kibonoobono Mukama ky’alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: Omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n’amaaso gaabwe galivundira mu bunya bwago, n’ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.

17Awo olulituuka mu biro byonna eby’ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza Katonda, Mukama w’eggye, enkuba terimutonnyera.

 

Okubikkulirwa 21:1-2 ne 24

1Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya, kubanga eggulu ery’olubereberye n’ensi ey’olubereberye nga bigenze: n’ennyanja nga tekyaliwo. 2 Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng’omugole ayonjereddwa bba. 24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mukyo.

 

Okubikkulirwa 18:1-5

 

Okubikkulirwa 18:1 – Ensi yonna okumulisibwa n’ekitibwa:

 

Okubikkulirwa 18:1

Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi: n’ensi ne mulisibwa ekitibwa kye.

 

Ensi yonna ejja kuwulira n’okuyaayanira ekigambo kya Katonda era nga kisukkuluma obuyinza, amaanyi, ekitiibwa n’obufuzi; kiwalirize buli omu okw’ekebera n’okwezuula bwayimiridde olw’omwoyo omutukuvu okubikkula n’okulumiriza ensi ekibi, omusango n’obutukirivu. Yokaana 16:8-11

 

Yokaana 16:8-11

8 Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutukirivu, n’olw’omusango; 9 olw’ekibi, kubanga tebanzikiriza nze;10 Olw’obutukirivu, kubanga ngenda eri kitange, so nammwe temukyandaba nate; 11 Olw’omusango, kubanga omukulu w’ensi eno asaliddwa omusango.

 

Okubikkulirwa 18:2 –  Okugwa kwa Babulooni okw’amaanyi:

 

Okubikkulirwa 18:2

N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti Kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi mbi ekyayibwa.

 

Kitegeeza nti abantu bonna baggya kutya, kukankana olw’embeera enzibu ennyo eggyanga okweyongera okukaawa naddala eri abajeemu abakola ebikontana n’obwakabaka  bwa Katonda, kubanga buli ekitali mu makubo matuufu kya kunyeenyezebwa kimenyebwe. Abaebulaniya 12:26-29.

 

Abaebulaniya 12:26-29

26 Eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndi nyeenya, si nsi yokka, naye era n’eggulu. 27 N’ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n’ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n’okwegendereza n’okutya: 29 kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.

 

Okubikkulirwa 18:3  –  Omwenge gw’obusungu bw’obwenzi :

 

Okubikkulirwa 18:3

Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’ensi ne bayenda naye, n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi  g’obukaba bwe.

 

Kino kitegeeza Katonda kuwa bibonerezo nga bya bibonyoobonyo eby’amaanyi nga bya ngeri nyingi ez’enjawulo eri bakabaka, abafuzi b’amawanga abenyigira mu bikolwa bya sitani nga banonya ebyobugagga.

 

Okubikulirwa 18:4 – Okukifulumamu abantu ba Katonda n’obutassa kimu n’ebibonyoobonyo:

 

Okubikkulirwa 18:4

N’empulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye:

 

Kino kitegeeza, kusalawo n’obutaddayo kwenyigira mu bikolwa ebikontana n’okwagala kwa Katonda era n’okutandika okugonda n’okutambulira mu kigambo kya Katonda, wansi  w’omukono gwe n’okugulumizibwa okw’Omwoyo Omutukuvu.

 

Okubikkulirwa 18:5 –  Ebibi okutuuka mu ggulu ne Katonda okujjukira ebyonoono bye :

 

Okubikulirwa 18:5

Kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye.

 

Kitegeeza nti okwonoona bwe kusukka, kuleeta Katonda okusala emisango  (okulamula) okuwa ebibonerezo nga bwaba yateesa.

Mu mulembe gwa Nuuwa yaleeta amataba  era teyataliza baana bato olw’obujeemu bw’abazadde baabwe  abaagaana  okuzimba eryato.

Olubereberye 6,7,ne 8

 

Olubereberye 6:1-22

1 Awo abantu bwe bazooka  okweyogera ku nsi 2 abaana ba Katonda ne balaba abawala b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda. 3 Mukama n’ayogera nti omwoyo gwange teguwakanenga na muntu emirembe n’emirembe, kubanga naye gwe mubiri naye enaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri. 4 Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala ba bantu, ne babazaalira abaana: bano be b’amaanyi abasooka edda abantu abaayatiikirira. 5 Mukama n’alaba obubi bw’omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mutima gwe nga kubi kweerere bulijjo. 6 Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n’anakuwala mu mutima gwe.

7 Mukama n’ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusokera ku muntu, n’ensolo, n’ekyewalula n’ekibuuka waggulu; kubanga nejjusizza kubanga nabikola. 8 Naye Nuuwa n’alaba  ekisa mu maaso ga Mukama.

9 Kuno kwe kuzaala kwa Nuuwa. Nuuwa yali Mutukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye: Nuuwa n’atambulira wamu ne Katonda. 10 Nuuwa n’azaala abaana basatu, Seemu, Kaamu ne Yafeesi. 11 Ensi n’eyononeka  mu maaso ga Katonda, ensi n’ejjula eddalu. 12 Katonda n’alaba ensi, ng’eyononese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo mu nsi. 13 Katonda n’agamba Nuuwa  nti Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjude eddalu ku lwabwe: kale, laba,  ndibazikiriza wamu n’ensi. 14 wekolere eryato n’omuti Goferi: osalangamu ennyumba mu lyato, osiige ku ngulu ne munda envuumbo. 15 Bw’otyo bwokolanga: emikono ebikumi bisatu obuwanvu bwalyo. 16 Osalangamu ekituli ku lyato, era ng’omukono gumu bw’olimala waggulu;  n’omulyango gw’elyato oguteekanga mu mbiriizi zaalyo; okolanga eryato nga lirina ennyumba eya wansi, n’eyokubiri, n’eyokusatu.17 Nange, laba, nze ndireeta amataba ag’amazzi ku nsi, okuzikiriza ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw’obulamu wansi w’eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa. 18 Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe n’abaana bo, ne mukazi wo, n’abakazi b’abaana bo wamu naawe.19 Ne mu  buli kiramu mu birina omubiri byonna, bibiri bibiri mu buli ngeri by’olireeta mu lyato, biryoke bibeere ebiramu awamu naawe; biriba ekisajja n’ekikazi. 20 Mu bibuuka mu ngeri yaabyo, mu nte mu ngeri yaazo, mu buli ekyewalula eky’omu nsi mu ngeri yaakyo, mu buli ngeri bbiri bbiri birijja gy’oli bibe ebiramu. 21 Naawe wetwalire ku mmere yonna eriibwa, ogyekungaanyize;  eriba mmere gy’oli ggwe nabyo. 22 Nuuwa n’akola bw’atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw’atyo bwe yakola.

 

Olubereberye 7:1-24

1Mukama n’agamba Nuuwa nti Yingira ggwe n’ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu maaso gange  mu mirembe gino. 2 Mu buli nsolo ennongoofu twala  musanvu musanvu ensajja n’enkazi yaayo; era ne mu nsolo ezitali nongoofu bbiri ensajja n’enkazi yaayo; 3 era ne mu bibuuka waggulu, musanvu musanvu ekisajja n’ekikazi: ezzadde liryoke libe eddamu ku nsi yonna. 4 Kubanga oluvannyuma lw’ennaku musanvu nze nditonnyesa enkuba ku nsi ennaku makumi ana emisana n’ekiro; nange ndisangula buli kintu ekiramu kye nnakola okuva mu ttaka. 5 Nuuwa byonna n’abikola nga Katonda bwe yamulagira.

6 Naye Nuuwa yali yaakamala emyaka lukaaga, amataba ag’amazzi bwe gaabeera ku nsi. 7 Nuuwa nayingira n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be awamu naye mu lyato olw’amazzi g’amataba. 8 Mu nsolo ennongoofu, ne mu nsolo ezitali nnongoofu, ne mu bibuuka, ne mu buli ekyewalula ku nsi. 9 bibiri bibiri ne biyingira eri Nuuwa mu lyato, ekisajja n’ekikazi nga  Katonda bwe yalagira Nuuwa. 10 awo olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku omusanvu ziri, amazzi ag’amataba ne gaba ku nsi.11 Mu mwaka ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogw’okubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ne zizibukuka ensulo zonna,  ezz’omu nnyanja ennene, n’ebituli eby’omu ggulu ne bigguka. 12 Enkuba n’etonnyera ku nsi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro. 13 Ku lunaku olwo Nuuwa n’ayingira ne Seemu ne kaamu ne Yafeesi, abaana ba Nuuwa, ne mukazi wa Nuuwa n’abakazi abasatu ab’abaana be  awamu nabo, mu lyato; 14 abo na buli nsolo mu ngeri yaayo, n’ente zonna mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo, na buli ekibuuka ku nsi mu ngeri yaakyo, buli nnyonyi eya buli kiwaawatiro.15 Ne biyiingira eri Nuuwa mu lyato bibiri bibiri mu buli nnyama  yonna  erimu omukka ogw’obulamu. 16 Ebyayingira ne biyingira ekisajja n’ekikazi mu buli nnyama, nga Katonda bwe yamulagira: Mukama na muggalira munda. 17 Amataba ne gabeera ku nsi ennaku amakumi ana; amazzi ne geyongera ne gasitula eryato, ne liwanikibwa waggulu w’ensi. 18 Amazzi ne gafuga, ne geyongera nnyo ku nsi; eryato ne liseeyeeya  kungulu ku mazzi. 19 Amazzi ne gayinza nnyo ku nsi; ensozi zonna empanvu ne zisanikirwa ezaali wansi w’eggulu lyonna. 20 Emikono kkumi n’etaano okugenda waggulu amazzi bwe gaayinza; ensozi ne zisanikirwa. 21 Buli nnyama etambula ku nsi n’efa, ekibuuka, n’ente, n’ensolo na buli ekyewalula: 22 byonna ebyalimu omukka ogw’omwoyo ogw’obulamu mu nnyindo zaabyo, mu byonna ebyali mu lukalu ne bifa. 23 N’asangula buli kintu kiramu ekyali kungulu ku ttaka, Omuntu, n’ente, n’ekyewalula, n’ekibuuka waggulu; ne bisangulibwa ku nsi: Nuuwa n’asigalawo yekka, n’abo abaali awamu naye mu lyato. 24 Amazzi ne gayinza ku nsi ennaku kikumi mu ataano.

 

Olubereberye 8:1-22

1 Katonda n’ajjukira Nuuwa na buli kiramu na buli nte eyali awamu naye mu lyato: Katonda n’aleeta empewo ziyite ku nsi, amazzi ne gaweebuuka; 2 era n’ensulo ez’ennyanja n’ebituli eby’omu ggulu ne ziziyizibwa; 3 amazzi ne gadda okuva ku nsi obutayosa: ne gaweebuuka amazzi oluvannyuma ennaku ekikumi mu ataaano bwe zaayitawo. 4 Mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi eryato ne lituula ku nsozi za Alalati. 5 Amazzi ne gaweebuuka obutayosa okutuuka ku mwezi ogw’ekkumi: mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi entikko z’ensozi ne zirabika. 6 Awo oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’asumulula ekituli eky’eryato kye yakola: 7 n’atuma Namungoona n’afuluma n’addinganaanga okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi. 8 N’atuma ejjiba okuva w’ali alyoke alabe nga amazzi gaweebuuse ku ngulu ku nsi; 9 naye ejjiba teryalaba bbanga wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali ku ngulu ku nsi yonna: n’afulumya omukono gwe, n’alikwata n’aliyingiza  mwali mu lyato.

10 N’ayosaawo ennaku musanvu nate; nate n’atuma ejjiba okuva mu lyato; 11 ejjiba ne likomawo olw’eggulo mw’ali; laba, mu kamwa kalyo ne muba akalagala akabisi ak’omuzeyituuni: Nuuwa n’alyoka amannya nti amazzi gaweebuuse okuva ku nsi. 12 N’ayosaawo ennaku  musanvu nate; natuma ejjiba;  awo oluvannyuma teryakomawo nate gy’ali. 13 Awo mu mwaka ogw’olukaaga mu gumu, mu mwezi ogw’olubereberye, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi, amazzi ne gakalira ku nsi; Nuuwa n’aggyako ekyasanikira eryato, n’atunuulira, laba ku ngulu ku nsi nga kukalidde. 14 Mu mwezi ogw’okubiri, ku lunaku olw’amakumi abiri mu musanvu olw’omwezi, ensi n’ekalira. 15 Katonda n’agamba Nuuwa nti 16 va mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, n’abaana bo, n’abakazi b’abaana bo awamu naawe. 17 ofulumye wamu naawe buli kiramu ekiri awamu naawe mu buli nnyama yonna, ekibuuka n’ente na buli ekyewalula ku nsi; bizaalenga bibune mu nsi, byalenga byeyongerenga ku nsi. 18 Nuuwa n’afuluma, n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be awamu naye: 19 buli nsolo, buli ekyewalula, na buli ekibuuka, buli ekitambula kyonna ku  nsi, mu bika byabyo, ne bifuluma mu lyato. 20 Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto;  n’alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n’aweerayo ebiweebwayo eby’okebwa ku Kyoto. 21 Mukama n’awulira evvumbe eddungi; Mukama n’ayogera mu mutima gwe nti Ensi sikyagikolimira nate oluvannyuma ku lw’omuntu; kubanga okulowooza okw’omu mutima gw’omuntu kubi okuva mu buto bwe; so sikyakuba nate oluvannyuma buli kiramu, nga bwe nkoze. 22 Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’okukungula, era empewo n’ebbugumu, era ekyeeya n’ettogo, era emisana n’ekiro tebiggwengawo.

 

Omulembe gwa Lutti y’atonnyesa omuliro ku Sodoma ne Gomola era nagwo tegwataliza muntu yenna muto oba mukulu  okujjako Lutti ne bawala be.  Olubereberye 19:1-29

 

Olubereberye 19:1-29

1 Ne Bamalayika babiri ne batuuka e Sodoma akawungeezi; ne Lutti yali atudde ku mulyango ogw’e Sodoma: Lutti n’abalaba, n’agolokoka okubasisinkana; n’avuunama amaaso ge 2 n’ayogera nti laba  nno, bakama bange, mwekoolobye, mbegayiridde, mu nnyumba ey’omuddu wammwe, musule okukeesa obudde, mu naabe ebigere, mukeere enkya okugolokoka mwegendere. Ne boogera nti Nedda; naye tunaasula mu  luguudo  okukeesa obudde. 3 N’abawaliriza nnyo; ne beekoolobya ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye; n’abafumbira embaga, n’ayokya omugaati ogutazimbulukuswa, ne balya. 4 Naye nga tebanneebaka, abasajja ab’omu kibuga, abe Sodoma, ne bazingiza ennyumba, abato era n’abakulu, abantu bonna nga bavudde mu bifo byonna; 5 ne bayita Lutti,ne bamugamba nti Abasajja bali ludda wa abayingidde ewuwo ekiro kino? Obafulumye gye tuli, tubamanye. 6 Lutti n’afuluma gye bali mu mulyango, n’aggalawo oluggi ennyuma we. 7 N’ayogera nti mbegayiridde, baganda bange, temukola bubi obwenkinidde wano. 8 Laba nno, ninna abaana abawala babiri, abatamanyanga musajja; ka mbafulumye abo gye muli, mbegayiridde, nammwe mubakole nga bwe kiri ekirungi mu maaso gammwe: naye abasajja abo temubakola kigambo; kubanga batuuse wansi w’ekesikirize eky’akasolya kange. 9 N’eboogera nti vawo. Ne boogera nti olusajja luno  lwayingira okuba omugenyi, naye kirugwanira okuba omulamuzi: kaakano tunaakola gwe bubi okusinga abo. Ne bamunyigiriza nnyo omusajja, ye, Lutti, ne basembera okumenya oluggi. 10 Naye abasajja ne bagolola emikono, ne bayingiza Lutti mu nnyumba mwe baali ne baggalawo oluggi. 11 Ne bazibya amaaso g’abasajja abaali ku luggi, abato era n’abakulu: n’okwekooya ne beekooya nga banoonya oluggi. 12 Abasajja ne bagamba Lutti nti olina nate wano abalala? Mukoddomi wo n’abaana bo, ab’obulenzi n’abobuwala, ne bonna bolina mu kibuga; bafulumye mu kifo muno: 13 kubanga tunazikiriza ekifo kino, kubanga okukaaba kwabwe kweyongedde nnyo mu maaso ga Mukama; era Mukama yatutumye okukizikiriza.14 Lutti n’afuluma n’ayogera ne bakoddomi be, abaawasa abawala be, nagamba nti mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama an’azikiriza ekibuga. Naye yalinganga asaaga eri bakoddomi be. 15 Awo bwe bwakya enkya , ba malayika ne bamwanguyiriza Lutti, nga boogera nti golokoka , otwale mukazi wo, n’abaana bo abawala bombi abali wano: oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw’ekibuga. 16 Naye n’alwa; abasajja ne bamukwata ku mukono gwe ne ku mukono gwa mukazi we, ne ku mukono gw’abaana be abawala bombi; Mukama nga amusaasira: ne bamuggyamu ne bamuleeta ebweeru w’ekibuga. 17 Awo bwe baamala okubaggyiramu ddala, n’ayogera nti dduka oleme okufa; totunula nnyuma wo, so tolwa mu lusennyi lwonna; ddukira ku lusozi oleme okuzikirizibwa, 18 Lutti n’abagamba nti Nedda Mukama wange nkwegayiridde; 19 Laba nno omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, era ogulumizizza okusaasira kwo kw’ondaze ng’omponya nneme okufa: ne siyinza kuddukira ku lusozi luno, akabi kaleme okuntuukako ne nfa: 20 laba nno, ekibuga ekyo kwe kumpi okukiddukiramu, era ky’ekibuga ekitono: nkwegayiridde, nzirukire omwo, ( si kitono? ) n’obulamu bwange buliwona. 21 N’amugamba nti Era nkukkirizza ne mu kigambo ekyo. Obutasuula kibuga ky’oyogeddeko. 22 Yanguwako, oddulire omwo;  kubanga siyinza kukola kigambo, nga tonnatuuka omwo Erinnya ly’ekibuga kyeryaava liyitibwa Zowaali. 23 Enjuba yali nga emaze okuvaayo ku nsi Lutti bwe  yatuuka e Zowaali. 24 Mukama n’alyoka attonyesa ku Sodoma ne ku Gomola omuliro n’ekibiriiti nga biva mu ggulu; 25 n’asuula ebibuga ebyo, n’olusenyi lwonna, n’abo bonna abatuulanga mu  bibuga, n’ebyo eby’amera ku ttaka. 26 Naye omukazi we n’atunula ennyuma we ng’amuvaako ennyuma  n’afuuka empagi ey’omunnyo. 27 Ibulayimu n’agolokoka enkya mu makya n’agenda mu kifo mwe yayimirira mu maaso ga Mukama:28 n’atunuulira eSodoma n’e Gomola, n’eri ensi yonna ey’olusenyi, n’alengera,era, laba, omukka ogw’ensi ne gunyooka ng’omukka ogw’ekikoomi.

29 Awo, Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby’omu lusenyi, Katonda n’ajjukira Ibulayimu n’asindika Lutti ave wakati mu bibuga ebyasuulibwa, bwe yasuula  ebibuga Lutti mwe yali atuula.

 

Kati ku mulembe gwaffe buli omu ateekwa  okutegeera nti  gwa bibonyoobonyo eby’enjawulo eri abakulu n’abato. Okubikkulirwa 18: 1-24

 

Okubikkulirwa 18:1-24

1 Oluvannyuma lw’ebyo  ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obiyinza bungi: n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti Kigudde, kigudde Babbulooni ekinene, n’ekifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa 3 kubanga olw’omwenge gw’obusuungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’ensi ne bayenda naye,  n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe. 4 Ne mpulira  eddoboozi eddala  eriva mu ggulu,  nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 5 kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye. 6 Mumusasule oyo nga naye bweyasasula, era mumwongereko emirundi ebiri nga ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bwe yegulumiza n‘akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe  nti Ntudde nga Kabaka, so siri namwandu, so ssiriraba  nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa n’ennaku, n’enjala era alyokerwa ddala omuliro, kubanga Mukama Katonda w’amaanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’ensi abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu saawa emu omusango gwo gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omu nsi bakaaba  banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi  bwabwe; 12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, ne bbafuta ennungi, n’olugoye olw’effulungu, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; ne bbafuta ennuungi, n’olugoye olw’effulungu, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kintu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’ekyekikomo, n’eky’ekyuma, n’eky’ejjinja eddungi;13n’eky’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge, n‘amafuta, n’obutta obulungi, n’engaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera  nti zikisanze,  zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bbafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! 17 Kubanga mu saawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy’omu nnyanja, ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka  ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti kiruwa ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku  mitwe gyabwe, ne  boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu  abalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu saawa emu gwazikirira. 20 Mumusanyukire eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe ba nnabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe. 21 Malayika ow’amaanyi n’asitula ejjiinja eddene ng’olubengo olunene, n’alisuula mu nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennaanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe. 23 newakubadde okutangaala kw’etabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde  eddoboozi ly’awasa omugole n’ery’omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa. 24 Era n’omusaayi gwa bannabbi n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.

 

Nkuwa amagezi n’okukusabira ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo wenenye obudde bwa kusonyiwagana, kutabagana, kuwaayo ebyafunibwa mu makubo amakyamu, okuggyawo eby’emizizo ( kuwa mutaango nga mwoyo mutukuvu bw’alagira) tulyoke tuwone omukono gwa Katonda, obutakuba nsi na kikolimo. Malaki 4:5-6

 

Malaki 4:5-6

5 Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw’entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. 6 Era alikyusa omutima gwa ba kitaabwe eri abaana, n’omutima gw’abaana eri ba  kitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n’ekikolimo.

 

                                                KA TUYIGE KU KIBUGA

 

Ekibuga be bantu abazimbibwa ne bazimba ku musingi ogulina enkola, ennono  n’okukulakulanya obufuzi obumu nga bulina omukulembeze.

Ekibuga Yerusaalemi be bantu oba abaana ba Katonda abazimbibwa ne bazimba ku musingi ogulina enkola, ennono n’okukulakulanya obufuzi bwa Katonda obw’obutuukirivu ( amazima) mu ndagaano enkadde ye Isiraeri ate nga mu ndagaano empya ye Kkanisa ( abalokole ob’omwoyo) Pentecostal. Isaaya 52:1, Okubikkulirwa 21:2 bano balina okuba nga bagondera Omwoyo Omutukuvu.

 

Isaaya 52:1

Zuukuka,zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby’obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu: kubanga okuva leero temukyayingiramu mu ggwe nate atali mukomole n’atali mulongoofu.

 

Okubikkulirwa 21:2

Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng’omugole ayonjereddwa bba.

 

Ekibuga Babulooni :

 

Kitegeeza bantu oba abaana ba sitaani abazimbibwa  ne bazimba ku musingi ogulina enkola, ennono n’okukulakulanya obufuzi bwa sitaani obw’obwonoonyi n’obujeemu (obulimba) be bantu bonna abagondera sitaani; abatalokokanga; abalokole ab’omu madiini, abaalokoka ne babivaamu, ab’ekibugumirize, abaaseseetuka (mu bufuunze abatagondera mwoyo mutukuvu) kubanga ye akulembera  ekkanisa.

Ekibuga Babulooni ebyakyo kibikolera mu kyama, bya kizikiza ate nga kibifuula nga eby’omusana mu ngeri y’okukulakulanya abantu naye nga ebigendererwa bya sitaani kwe kufuga nga afugira  mu bantu.

 

Eby’okulabirako :

 

Sitaani yakozesa abantu nga bakyalina olulimi lumu n’enjogera emu ne bazimba omunaala mbu bakulakulane waleme  n’okubaawo ekibalema  (munsi yonna) benkane ne Katonda, olwo sitaani afuge ensi yonna: naye Katonda n’ayungula eggye ne bamenya omunaala  n’okugusanyaawo.Olubereberye 11:1-9

 

Olubereberye 11:1-9

1N’ensi zonna zaalina olulimi  n’enjogera emu. 2 Awo, bwe baali batambula ebuvanjuba , ne balaba olusenyi mu nsi sinaali; ne batuula omwo. 3 Ne bagambagana nti  kale nno, tukole amatoffaali, tugokere ddala. Awo ne baba n’amatoffali mu kifo ky’amayinja, n’ebitosi mu kifo ky’ennoni. 4 Ne boogera nti kale nno, twezimbire ekibuga  n’ekigo, ( ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu,era twefunire erinnya; tuleme okusaasaanira ddala ewala ku nsi zonna. 5 Mukama n’akka okulaba ekibuga n’ekigo, abaana b’abantu bye bazimba. 6 Mukama n’ayogera nti Laba, abo ly’eggwanga limu, era bonna balina olulimi lumu; era kino kye batanula okukola: ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola. 7 Kale nno, tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegeera enjogera  yaabwe bokka na bokka. 8 Bw’atyo Mukama n’abasaasanyiza ddala okuva eyo okubuna ensi zonna: ne baleka okuzimba ekibuga. 9 Erinnya lyakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi zonna: n’okuva eyo Mukama n’abasasaanyiza ddala okubuna ensi zonna.

 

Ate sitaani bwe yalaba nga okuwambira mu bantu bonna tekyasoboka n’aleeta enkola ey’okukozesa omukulembeze ne basimba ekifaananyi ekyole mu lusenyi lwe Duula, abantu bonna ne basinza; naye Katonda ne yesigalizaawo eggye eritaasinza era n’awangula olutalo nasigaza ekitiibwa. Danyeri 3

 

Danyeri 3:1-30

1Nebukadduneeza  kabaka yakola ekifaananyi ekya zaabu, obuwanvu bwakyo emikono nkaaga, n’obugazi bwakyo emikono mukaaga: n’akiyimiriza mu lusenyi lwa Duula, mu ssaza ery’e Babulooni. 2 Awo Nebukadduneeza Kabaka n’atuma okukungaanya abaamasaza, n’abamyuuka, n’abafuga, n’abalamuzi, n’abawanika, n’abakungu, n,abamateeka, n’abakulu bonna ab’omu masaza,  bajje eri ekifaananyi Nebukadduneeza Kabaka kye yayimiriza bwe kiriwongebwa. 3 Awo abamasaza, n’abamyuka, n’abafuga, n’abalamuzi, n’abawanika, n’abakungu, n’abamateeka, n’abakulu bonna ab’omu masaza, ne bakungaana olw’okuwonga ekifaananyi Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza: ne bayimirira mu maaso g’ekifaananyi Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza. 4 Awo omulangirizi n’ayogerera waggulu nti mmwe mulagirwa, mmwe abantu, amawanga, n’ennimi, 5 bwe munawulira eddoboozi ly’akagoombe, n’endere, n’ennanga, n’amadiinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, ne mulyoka muvuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza: 6 era buli anaalema okuvuunama n’okusinza  mu kiseera ekyo alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro. 7 Awo abantu bonna bwe baawulira eddoboozi ly’akagoombe, n’endere, n’ennanga, n’amadiinda, n’ekidoongo, na buli ngeri yonna evuga, abantu bonna amawanga, n’ennimi, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza. 8 Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bajja, ne  baloopa Abayudaaya. 9 Ne baddamu ne bagamba Nebukadduneeza kabaka nti Ai kabaka, obeerenga omulamu emirembe gyonna. 10 Ggwe, Ai kabaka, wateeka etteeka, nti buli anaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadiinda, n’ekidoongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, anaavuunama n’asinza ekifaananyi ekya zaabu: 11 era buli anaalema okuvuunama n’okusinza alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro. 12 Waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu bigambo by’essaza ery’e Babulooni, Saddulaaki,Misaaki ne Abeduneego: abasajja abo, ai kabaka tebakulowoozezza: tebaweereza ba katonda bo, so tebasinza kifaananyi kya zaabu kye wayimiriza. 13 Awo Nebukadduneeza n’alyoka asunguwala ne yeejuumuula n’alagira okuleeta Saddulaaki, Misaaki ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga kabaka. 14 Nebukadduneeza n’addamu n’abagamba nti mmwe Saddulaaki, Mesaaki ne Abeduneego, mukigenderedde bugenderezi obutaweereza  katonda wange, n’obutasinza kifaananyi kya zaabu kye nnayimiriza. 15 Kale nno, bwe munakkiriza nga muwulidde eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadiinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga,okuvuunama n’okusinza ekifaananyi kye nnakola, kale: naye bwe mutaasinze,  mu kiseera ekyo munaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro: era katonda aluwa oyo anaabawonnya mu mikono gyange? 16 Saddulaaki, Mesaaki ne Abeduneego ne baddamu ne bagamba kabaka nti Ai Nebukadduneeza, tekitugwanira kuddamu mu kigambo ekyo. 17 Bwe kinaaba bwe kityo, Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n’omuliro: era anatuwonya mu mukono gwo, ai kabaka. 18 Naye bwe  kitaabe bwe kityo, tegeera, ai kabaka, nga tetugenda kuweereza ba katonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wa yimiriza. 19 Awo Nebukadduneeza kabaka n’alyoka yeejuumuulira ddala, n’engeri y’amaaso ge n’ewanyisibwa eri Saddulaaki, Mesaaki ne Abeduneego: n’ayogera n’alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okukira bwe kyali kyase. 20 N’alagira ab’amaanyi abamu ab’omu  ggye lye okusiba Saddulaaki, Mesaaki ne Abeduneego, okubasuula mu kikoomi ekyaka n’omuliro. 21 Awo abasajja abo ne balyoka babasiba nga bambadde  Seeruwale zaabwe, n’ebizibawo byabwe n’eminagiro gyabwe, n’engoye zaabwe endala, ne babasuula wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro. 22 Awo kubanga kabaka yabakuutirira ddala , n’ekikoomi  nga kyase nnyo, ennimi z’omuliro ne zitta abasajja abo abaakwata Saddulaaki, Mesaaki ne Abeduneego. 23 N’abasajja abo abasatu, Saddulaaki, Mesaaki ne Abeduneego ne bagwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro, nga basibiddwa. 24 Awo Nebukadduneeza kabaka n’alyoka yeewuunya, n’ayanguwa  n’agolokoka: n’ayogera n’agamba abakuungu be nti Tetusudde abasajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro? Ne baddamu ne bagamba kabaka nti mazima, ai kabaka. 25 N’addamu n’ayogera nti Laba, nze ndaba  abasajja bana nga basumuluddwa,  nga batambulira wakati mu muliro, so nga tebaliiko kabi: n’okufaanana kw’owokuna  kulinganga omwana wa bakatonda. 26 Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’ekikoomi ekyaka n’omuliro:  n’ayogera nti Saddulaaki, Mesaaki ne Abedduneego, mmwe abaddu ba Katonda ali waggulu ennyo, mufulume mujje wano. Saddulaaki, Mesaaki ne Abedduneego ne balyoka bafuluma wakati mu muliro. 27N’abamasaza, n’abamyuka, n’abafuga, n’abakuungu ba kabaka ne bakungaana ne balaba basajja abo, ng’omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n’enviiri z’oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga teziwanyisibbwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubabaddeko. 28 Nebukadduneeza n’ayogera nti Katonda wa Saddulaaki, Mesaaki ne Abedduneego yebazibwe, atumye malayika we era awonnyezza abaddu be abamwesize ne bawanyisa ekigambo kya kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe, baleme  okuweereeza newakubadde okusinza katonda  yenna, wabula Katonda wabwe bo. 29 Kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n’eggwanga, n’olulimi, abanayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaaki ne Abedduneego balitemebwatemebwa, ne nnyumba zaabwe zirifuulibwa , olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo. 30 Kabaka n’alyoka akuza Saddulaaki, Mesaaki ne Abedduneego, mu ssaza ery’e Babulooni.

 

Sitani yasigala atwala enteekateeka ye mu maaso okwezza ensi agifuge n’okutuuka ku mulembe gwaffe kaakati nga akolera mu bufuzi bwa mirundi esatu.

 

Ensolo ey’amayembe abiri ( obufuzi bw’amawanga abiri ag’ekinywi ) Bungereza ne America  Okubikkulirwa 13:11-14.

 

Okubikkulirwa 13:11-14

11Ne ndaba ensolo endala ng’eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng’ag’omwana gw’endiga, n’eyogera ng’ogusota. 12 N’ekoza obuyinza bwonna obw’ensolo ey’olubereberye mu maaso gaayo. N’esinzisa  ensi n’abatuulamu ensolo ey’olubereberye, eyawona ekiwundu eky’okufa. 13 N’ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g’abantu. 14 N’erimba abatuula ku nsi olw’obubonero bwe yaweebwa  okukola mu maaso g’ensolo; ng’egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky’ekitala n’eba nnamu.

 

Ekifaananyi eky’ensolo (obufuzi obw’akakiiko akamawaanga amagatte) Okubikkulirwa 13:15-17

 

Okubikkulirwa 13: 15-17

15 N’eweebwa okuwa ekifaananyi eky’ensolo okussa omukka, ekifaananyi eky’ensolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi kya nsolo. 16 N’ewaliriza bonna, abato n’abakulu, n’abagagga n’abaavu, n’abeddembe n’abaddu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe; 17 era omuntu yenna aleme okuyinza  okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okutekebwaako akabonero, erinnya ly’ensolo oba omuwendo gw’erinnya lyayo.

 

Omukazi omwenzi atudde ku nsolo (obufuzi obwekweese mu diini-Abaruumi) Okubikkulirwa 17:1-5

 

Okubikkulirwa 17:1-5

1Ne wajja omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n’ayogera nange, ng’agamba nti Jjangu wano, nange nnaakulaga omusango gw’omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi; 2 bakabaka b’ensi gwe baayenda naye, n’abo abatuula ku nsi ne batamiira omwenge ogw’obwenzi bwe. 3 N’antwala mu ddungu mu mwoyo: ne ndaba omukazi, ng’atudde ku nsolo emmyufu, ng’ejjudde amannya ag’obuvvoozi ng’erina emitwe musanvu n’amayembe kkumi. 4  omukazi ng’ayambadde olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ayonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne  luulu, ng’alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, ye mpitambi ey’obwenzi bwe, 5 ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa    nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, NNYINA W’ABENZI  ERA  OW’EMIZIZO GY’ENSI.

 

Okugaziyaako katono: 

 

Ensolo ey’amayembe abiri y’efuula nnyo nga eyamba oba enunula (kwe kwefaananyiriza  ng’omwana  gw’endiga ) naye nga ebikolwa byayo bya sitani.

Akamwa akogera ng’ogusota; abatuula ku nsi abasinga obungi bagitya nnyo olwa Tekinologiya n’ebirala, era abantu balimbiddwa nnyo ne  bava ku Katonda olw’enkulakulana n’obuyambi: n’abalokole abasinga tebakyalina kunoonya Katonda wabula okuggyako okubeera ku zi kompyuta nga bazitaganjula ku mikutu gya Intaneti nga banoonya obuyambi oba kye twandiyise okuwammanta ol’obutamanya kya kukola.

 

  1. Ekifaananyi eky’ensolo bwe bumu bw’abantu nga bazimbibwa oba okukulemberwa sitani nga bwe bwewagguzi okuva ku Katonda, kubanga ekifaananyi kitegeeza kugezaako, okwefaananyiriza oba okufaanana, bwa sookera Babeeri. Olubereberye 11 era ne buddamu okusimbaekifaananyi e Babbulooni mu lusenyi olw’e Duula. Danyeri 3 n’agenda mu maaso okuyita mu bufuzi musanvu nga Bungereza y’esembayo bwe bwafuna obunafu okulemererwa (ekiwundu) Ate America n’ewagira n’ensiimbi okumatiza amawanga amalala; okwegatta n’okuyamba (okussa omukka) ate ekifaananyi ne kisimbibwa nga ke kakiiko k’amawanga  amagatte (UN) Okubikkulirwa 13:14-15

Okubikkulirwa 13:14-15    

14 N’erimba abatuula ku nsi olw’obubonero bwe ya weebwa okukola mu maaso g’ensolo; ng’egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky’ekitala n’eba nnamu. 15 N’ewebwa okuwa ekifaananyi eky’ensolo okussa omukka, ekifaananyi ky’ensolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi kya nsolo.

 

3.Omukazi omwenzi attudde  ku nsolo ze ddiini  nga nazo zigenda zeegatta mu magezi mbu zijjawo enjawukana nga zikulemberwa ba ssenkulu ba Paapa okusinziira e Rooma; era na buno bufuzi bwa nsi obwekweese: amawanga agamu omukulembeze n’omumyuka we kutekwa okubeerako  omurooma mu nzikiriza (Mukatuliki).

Bino by’onsatule byeteeseteese era biri bumu mu nteekateeka z’ekyalo ekimu  okukaka abatuula   ku nsi okukola ebigulumiza sitani gamba nga okukulembeza amawanga okugawa obuyambi naye nga galina okukkiriza emize emibi nga ebisiyaga, obwa malaaya n’ebikolwa eby’obuseegu n’ebirala ebiri nga ebyo, okuteekebwa mu zi Ssemateeka w’ensi zaago, waleme okubeerawo abawakanya kubanga bw’awakanya aba awakanya mateeka ga nsi yonna: kiretere buli omu omukulu n’omuto okutekebwako enkovu ku mukono ogwa ddyo, omukono ogwa ddyo kitegeeza omutima (omwoyo) emitima gy’abantu abalokole abatalina Kigambo kya Katonda n’amaanyi; mu kyo balina okutya n’okwekkiriranya n’obulimba oba obujeemu olw’obwetaavu eri obulamu mu kifo ky’okusaba Katonda obuyambi oba okununulwa okuyita mu mwana we omu yekka Yesu Kristo.

Era obukulemmbeze obwo  bw’onsatule babugulumiza nti bwe buleera emirembe nga eyo (y’enkovu) ku mukono ogwa ddyo ate ekyenyi kwe baawulira omuntu ku munne era buli an’ekkiriranya wa kumanyibwa mu lutalo, n’oluvannyuma  lwe lutalo lwa Katonda, obuwanguzi bwa Katonda mu ntalo. Nnebaza nnyo Katonda eyawaayo omwana we omu yekka Yesu Kristo okutununula ate n’atuwa n’ekirabo eky’omwoyo omutukuvu, amaanyi n’omuliro nga tuyita mu kigambo kye:  abeera ku ludda lwaffe ne tuwangula buli lutalo lwonna nga bwe  ya wanguza balwanyi banaffe e Babulooni. Danyeri 3 era ne ku mulembe gwaffe bwe kiri. Okubbikkulirwa 17:14-17;18:19,Danyeri8:14.

 

Okubikkulirwa 17:14-17

14 Abo balirwana n’omwana gw’endiga, n’omwana gw’endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abesigwa. 15 N’angamba nti amazzi ge walabye, omwenzi w’atudde, be bantu n’ebibiina n’amawanga n’ennimi. 16 N’amayembe ekkumi ge walabye, n’ensolo, bano balikyawa omwenzi, balimulekesaawo, balimufuula obwereere, balirya ennyama ye, era bali mwokera ddala omuliro. 17 Kubanga Katonda yassa mu mitima gyabwe okukola kye ya teesa, n’okuteesa awamu, n’okuwa ensolo obwakabaka bwabwe, okutuusa ebigambo bya Katonda lwe birituukirira.

 

Okubikkulirwa 18:19

Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera  nti zikisanze, zikisanze ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu saawa emu gwa zikirira.

 

Danyeri 8:14

N’angamba nti Birituusa  amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu; awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.

 

                       KATONDA AYITA OMULEMBE OMUGGYA OKUMUWEEREZA

 

Mukama yandagira nga 4 omwezi ogw’omwenda mu mwaka 2009 Mbikkule ekyama ekiri mu mutima gwe kye yali yambuulira edda, nti agenda kukozesa abaweereza abatamanyiddwa era abataweebwa  na kitiibwa. 1Samwiri 16:6-12, Matayo 21:23-27.

 

1Samwiri 16:6-12

6 Awo olwatuuka nga batuuse  n’atunuulira  Eriyaabu n’ayogera nti mazima Mukama gw’afukako amafuta ali mu maaso ge. 7 Naye Mukama n’agamba Samwiri nti Totunuulira maaso ge newakubadde embala ye bw’eri empanvu; kubanga  mugaanyi: kubanga Mukama talaba nga abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.8 Awo Yese n’alyoka ayita Abinadabu n’amuyisa mu maaso ga Samwiri.  N’ayogera nti so nooyo simulonze. 9 Awo Yese n’ayisaawo Samma. N’ayogera nti so nooyo Mukama tamulonze. 10 Yese N’ayisa mu maaso ga Samwiri musanvu ku batabani be. Samwiri n’agamba Yese nti Mukama talonze abo. 11 Samwiri n’agamba Yese  nti  abaana bo bonna bali wano? N’ayogera nti Ekyasigaddeyo omuto, era, laba, alunda endiga. Samwiri n’agamba Yese nti tuma bamukime: kubanga tetutuule okutuusa lw’anajja eno.12 N’atuma n’amuyingiza. Era yali mumyufu n’amaaso ge nga malungi era eyegombebwa okutunuulirwa. Mukama n’ayogera nti Golokoka omufukeko amafuta: kubanga ye wuuyo.

 

Matayo 21;23-27

23 N’ayingira mu Yekaalu, bakabona abakulu n’abakadde b’abantu ne bajja gy’ ali ng’ayigiriza, ne bagamba nti Buyinza ki obukukoza bino? Ani eyakuwa obuyinza buno?  24 Yesu n’addamu n’abagamba nti Nange kambabuuze ekigambo kimu, bwe munaakunzivuunula, era nange n’ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? mu ggulu nantiki mu bantu? Ne beebuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti bwe tunagaamba nti mu ggulu: anatugamba nti kale kiki ekyabalobera okumukkiriza? 26 Naye bwe tunagamba nti mu bantu: tutya abantu; kubanga bonna bamulowooza Yokaana nga nnabbi. 27 Ne baddamu Yesu  ne bagamba nti Tetumanyi. Naye n’abagamba nti Era nange sibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.

 

Era n’abo abamanyiddwa nga b’abitiibwa naye nga bateekwa okw’eyambula ebitiibwa byabwe n’okukakkana enyo okuva mu  malala. Isaaya 2:11-12 Olwo Katonda  Y’aba agulumizibwa mu mwana we omu yekka Yesu Kristo.

 

Isaaya 2:11-12

11 Okulalambala kw’abantu kuliwanulibwa, n’amalala g’abantu gali kutamizibwa ku lunaku olwo. 12 Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow’eggye eri ebyo byonna eby’ekuza ebirina amalala, n’eri byonna ebigulumizibwa; era biriwanulibwa.

 

Abaweereza b’omulembe guno omugya nga gwe gw’oluvannyuma b’akutendekebwa mu ngeri ya kikugu nnyo. Engero 21:22; 2:1-7, Isaaya 11:1-3 Olw’okwetikka omusalaba eri obubi bwonna  obw’ensangi zino.

 

Engero 21:22      

Omuntu ow’amagezi alinnya mu kibuga eky’abamaanyi, n’akakkanya amaanyi g’obugumu bw’akyo.

 

Engero2:1-7

1Mwana wange, Bw’onokkirizanga ebigambo byange, N’oterekanga ebiragiro byange ewuwo;

2 N’okutega n’otega okutu kwo eri amagezi

N’ossangayo omutima gwo eri okutegeera;

3 Weewawo bw’onokaabiranga okumanya, N’oliriranga okutegeera.

4 Bw’onoganoonyanga nga feeza, N’ogakenneenyanga ng’eby’obugagga ebyakwekebwa;

5 Kale lw’olitegeera okutya Mukama, N’ovumbula okumanya Katonda.

6 Kubanga Mukama awa amagezi; Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n’okutegeera:

7 Aterekera abagolokofu amagezi  amatuufu,

Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona;

 

Isaaya 11:1-3

1 Era mu kikolo kya Yese muliva ensibuka, n’ettabi eririva mu mmizi gye liribala ebibala: 2 n’omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo ogw’amagezi n’okutegeera, omwoyo ogw’okuteesa, n’amaanyi; omwoyo ogw’okumanya n’okutya Mukama; 3 n’okutya Mukama kw’ali sanyukira: so taasalenga misango ng’okulaba kw’amaaso ge bwe kunaabanga, so taanenyenga ng’okuwulira kw’amatu ge bwe kunaabanga:

 

2 Abakkolinso 10:3-6

3 Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri 4 ( kubanga eby’okulwanyisa eby’entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw’okumenya ebigo); 5 nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekigulumizibwa okulwana n’okutegeera kwa Katonda, era nga tujemula buli kirowoozo okuwulira Kristo; 6 era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku butagonda bwonna, okugonda  kwammwe bwe kulituukirira.

 

Abaebulaniya 12:25-29

25 Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe batalokoka, bwe ba mugaana oyo eyabalabula ng’ayima mu ggulu talisinga nyo obutalokoka: 26 eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kakaano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu Ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n’eggulu. 27 N’ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke biberewo. 28 Kale, bwe tuweebwa  obwakabaka obutakankanyizibwa, tubeenga n’ekisa, kituweerezese  okuweereza okusiimibwa Katonda n’okw’egendereza n’okutya: 29 kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.

 

1Abakkolinso 1:18-20

18 Kubanga ekigambo ky’omusalaba bwe busirusiru eri abo ababula; naye eri ffe abalokolebwa ge maanyi ga Katonda. 19 Kubanga kyawandiikibwa nti Ndizikiriza  amagezi g’abagezigezi, N’obukabakaba bwa bakabakaba ndi buggyawo.

20 Omugezigezi aluwa ? Omuwandiisi aluwa? Katonda teyasiruwaza magezi ga nsi?

 

Naye olw’ekisa kye mu Yesu Kristo buli an’agonda wa kuwona entabukatabuka n’emitawaana, (ebibonyoobonyo ) Okubikkulirwa17:1-14 ne 18.

 

Okubikkulirwa 17:1-14

1 Ne wajja omu ku ba malayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n’ayogera nange, ng’agamba nti Jjangu wano, nange n’akulaga omusango gw’omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi; 2 bakabaka b’ensi gwe b’ayenda naye, n’abo abatuula ku nsi ne batamiira omwenge gw’obwenzi bwe. 3 N’antwala mu ddungu mu mwoyo: ne ndaba omukazi, ng’attudde ku nsolo emyufu, ng’ejjudde amannya ag’obuvoozi, ng’erina emitwe musanvu n’amayembe kkumi. 4 Omukazi ng’ayambadde olw’effulungu n’olumyufu, era n’ayonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu, ng’alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, ye mpitambi ey’obwenzi bwe, 5 ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti EKYAMA,BABULOONI EKINENE, NNYINA W’ABENZI ERA OW’EMIZIZO GY’ENSI.

6 Ne ndaba omukazi oyo ng’atamidde omusaayi ogw’abatuukirivu, n’omusaayi gw’abajulirwa ba Yesu.

Bwe nnamulaba, ne neewuunya okwewuunya Kunene. 7 Malayika n’angamba nti kiki  ekikwewunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky’omukazi, n’ekyensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi. 8 Ensolo gye walabye yaliwo era tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya n’okugenda mu kubula. N’abo abatuula ku nsi balyewunya, abataawandiikibwa linnya lyabwe mu kitabo  ky’obulamu kasokedde ensi etekebwawo, bwe baliraba ensolo nga yaliwo era nga tekyaliwo ate erijja 9 Awo we wali omwoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu z’ensozi omusanvu, omukazi zatuddeko; 10 era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w’ali omulala tannaba kujja, era bw’alijja,  kimugwanira okumala ebiro bitono. 11 N’ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w’omunaana, naye ye w’oku musanvu, era agenda kubula. 12 N’amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa bwa kabaka; naye baaweebwa obuyinza bwa bakabaka,  awamu n’ensolo okumala esaawa emu.13 Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n’obuyinza. 14 Abo balirwana n’omwana gw’endiga, n’omwana gw’endiga alibawangula, kubanga Ye Mukama w’abaami era Ye kabaka wa bakabaka; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, ab’esigwa.

 

 

Okubikkulirwa 18:1-24

1Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba Malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’ alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi mbi ekyayibwa, 3 Kubanga olw’omwenge ogw’obusuungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde ; ne bakabaka b’ensi ne bayenda naye, n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe. 4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga ly’ogera nti mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 5  kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye.6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula  , era mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bweyegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala ; kubanga ayogera mu mutima gwe nti ntudde nga kabaka, so siri nnamwandu, so siriraba nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja olunaku lumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’ensi, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti zikisanze, zikisanze, ekkibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu saawa emu omusango gwo gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omunsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe; 12 obuguzi obwa zaabu, ne feeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, ne bbafuta ennungi, n’olugoye olw’effulungu, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kintu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’eky’ekikomo, n’eky’ekyuma, n’eky’ejjinja eddungi; 13 n’eky’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubbaane, n’omuzigo ogw’omugavu, n’envuumbo, n’omwenge, n’amafuta, n’obutta obulungi, n’engaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera nti zikisanze, zikisanze, ekubuga ekinene,ekyayambazibwa bafuta ennungi n’olugoye olweffulungu  n’olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! 17 Kubanga mu saawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunyanja ne bonna abakola emirimu egy’omu nnyanja, ne bayimirira wala, 18  ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti kiruwa ekifaanana ng’ ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne  boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye baagaggawalirangamu  abalina ebyombo mu Nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu saawa emu gwazikirira. 20 mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu, nammwe abatume nammwe ba nnabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe.

21 Malayika ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene ng’olubengo olunene, n’alisuula mu Nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga  ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emirere n’abafuuwa amakoondeere  teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w’emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe;  newakubadde eddoboozi ly’olubeengo teririwulirwa nate mu ggwe. 23 newakubadde okutangaala kw’ettabaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’awasa omugole n’eryomugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna galimbibwa. 24 Era n’omusaayi gwa ba nnabbi  n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalakika mu ye.

 

Ebigambo eby’amagezi 

 

Awali Katonda tewali kibuuzo kitalina kuddibwamu.

Tewali kizibu kitagonjoolwa.

Buli Yesu lwe yabuliranga mu ngero oba mu bufuunze abayigirizwa bayaayaananga nnyo okubuuza bamanye amakulu oba obulambulukufu.

Yokaana omubatiza bwe yabuliranga abantu baggyanga ne babuuza eky’okukola. Lukka 3:10

 

Lukka 3:10

Ebibiina ne bamubuuza nga bagamba nti kale  tukole ki?

OKULABULA ERI EGGWANGA UGANDA OLW’OBUSAMIZE, AMALALA N’OBUKENUZI.

Mukama yandaga mu  kw’olesebwa  oluvanyuma  lw’okwegayirira ku lwe Ggwanga  lyaffe mu kiro ekyakeesa olwa nga 20 omwezi ogw’omwenda omwaka 2009.

Nnalaba omuti gw’omuyembe nga gulabika bulungi nnyo era nga gwa kiragla bulungi naye nga tekuli  muyembe n’ogomu ( tegwabala ) gwalina amatabi mangi naye nga ku matabi ataano (5) , kwali kusibiddwako amayembe ataano (5) nga makadde nnyo era nga gonna gaali gaatunula oludda lumu. Omwoyo wa Mukama eyali mu nze n’angamba nti ago galeese nnyo enjala, entabukatabuka n’obwavu mu Ggwanga olw’obusamize, obukenuzi n’amalala naye ngenda ku gazikiriza obutaddayo ku galabako. Isaaya 2:1-22, Abaebulaniya 12:26-27

Isaaya 2:1-22

1 Ekigambo Isaaya omwana wa Amozi  kye yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.

2 Awo olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, olusozi lw’ennyumba ya Mukama luli nywezebwa ku ntikko y’ensozi era luli gulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo. 3 Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti mujje , twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda  wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunatambuliranga mu mpenda ze: kubanga mu Sayuni mwe mulifuluma  amateeka, n’ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 4 Era aliramula mu mawanga,era  alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo; eggwanga teriyimusa kitala, eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate. 5 Mmwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu musana gwa Mukama. 6 Kubanga waleka abantu bo ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde empisa ezaava ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era  bakubagana mu ngalo n’abaana b’aba’mawanga. 7 Era ensi yaabwe ejjudde efeeza n’e zaabu, so n’obugagga bwabwe tebuliiko gye bukoma; era ensi yaabwe ejjudde embalaasi, so n’amagaali gaabwe tegaliiko gye gakoma. 8 Era ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi; basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo, engalo zaabwe bo gwe  zaakola. 9 Omukopi n’avuunama, n’omukulu yeetoowaza: kyova olema okubasonyiwa. 10 Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g’ekitiibwa ky’obukulu bwe. 11 okulalambala kw’abantu  kuliwanulibwa, n’amalala g’abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. 12 Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow’eggye eri ebyo byonna ebyekuza ebirina amalala, n’eri byonna ebyekuza ebirina amalala, n’eri byonna ebigulumizibwa; era biriwanulibwa: 13 n’eri enfugo zonna eza Lebanooni,empanvu ezigulumizibwa, n’eri emivule gyonna egya Basani; 14 n’eri ensozi zonna empanvu, n’eri obusozi bwonna obugulumizibwa; 15 n’eri buli kigo ekiwanvu, n’eri buli bbugwe aliko ekkomera; 16 n’eri ebyombo byonna eby’e Talusiisi, n’eri ebifaananyi byonna eby’okwesiima. 17 Era okugulumizibwa  kw’abantu kulikutamizibwa, n’amalala g’abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. 18 N’ebifaananyi  biriggwerawo ddala. 19 Era abantu baligenda mu mpuku ez’amayinja, ne mu bunya obw’ettaka, okuva mu maaso g’entiisa ya Mukama , ne mu maaso  g’ekitiibwa ky’obukulu bwe, bw’aligolokoka  okukankanya ensi n’amaanyi.20 Ku lunaku olwo omuntu alisuulira ddala ebifaananyi bye eby’effeeza n’ebifaananyi bye ebya zaabu, bye baamukolera okusinzanga, eri emmese n’eri ebinnyira; 21 bagende mu mpuku ez’amayinja, ne mu nkoonko ez’amayinja amaatifu, okuva mu maaso g’entiisa ya Mukama, ne mu maaso g’ekitiibwa ky’obukulu bwe, bw’oligolokoka okukakkanya ensi n’amanyi. 22 Muleke abantu, omukka gwabwe guli mu nyindo zaabwe: kubanga ekinaaba kibalowoozesa kiki?

Abaebulaniya 12:26-29

26 Eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti  Ekyasigaddeyo omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n’eggulu. 27 N’ekyo, nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu, Kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubeenga n’ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n’okwegendereza n’okutya: 29 Kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.

OKUNNYONNYOLA AMAKULU AGASOOKA AGALI MU MUYEMBE OGW’ALI MU KWOLESEBWA.

  1. Omuyembe gukiikirira eGgwanga Uganda.
  2. Amatabi ataano (5) amayembe kwe gaasibibwa, bye bibinja ebitaano nga bya

maanyi mu by’enfuna, obukuumi, obufuzi bwabyo n’ebirala.

3.Amayembe kitegeeza maanyi ga kizikiza oba obujeemu obw’amaanyi eri                okwagala kwa Katonda.

4.Okuba ogwa kiragala amakoola era nga malungi nnyo, Buli alaba eGgwanga         Uganda alyegomba naye nga lijjudde obunnanfuusi n’obukenuzi.

5.Obutaba na muyembe n’ogumu kitegeeza njala, bwaavu  n’okutabukatabuka.

6.Okusibibwa n’okunywezebwa kwa buli jjembe ku ttabi, kitegeeza obunyunyuunsi oba obukenuzi obw’ekika ekya waggulu.

7.Okutunula ku ludda olumu, kitegeeza ebigendererwa n’ebikolwa ebimu gamba nga okufuna obugagga n’ebitiibwa so si kulumirirwa na kukolerera Ggwanga oba abantu.

8.Okubeera amakadde ennyo, kitegeeza nti ebiseera bituuse Katonda yennyini asanyeewo amayembe  ago gonna n’ebigendererwa  awamu n’ebikolwa by’ago.

                               OKUNNYONNYOLA AMAKULU AG’OKUBIRI

 

Ejjembe erisooka, litegeeza busamize obw’amaanyi ate nga n’amayembe agasinga g’akola dda endagaano nalyo gasobole okunywezebwa  mu bikolwa n’ebigendererwa byago.

Ejjembe ery’okubiri, littegeeza bufuzi bwa matwaale okuyita mu bagwiira abakya tutambuliza ku ntoli zaabwe olw’ebigendererwa byabwe ebyekweese, Baibuli ky’eyita ekyama ky’obujeemu, nga baba nga abatuyamba ate nga bwe bafuga, batubbako eby’obugagga, okutukaka n’okutuyingizaamu empisa n’emize  emibi, basaana babeeko newebakokoma.

Ejjembe ery’okusatu, bwe bufuzi bw’amatwale obwa wano mu Ggwanga okuviira ddala ku maama w’eGgwanga Uganda ayitibwa Buganda, n’okutuusa kati Omukulembeze gyava eggwanga lye, ab’ekika kye, eddini ye, ekibiina kye be babeera ba nnyini buyinza ku buli kimu n’okugabana oby’obugagga n’eby’enfuna okwo  kw’ogatta enfuga ey’obwa nnaakyemalira.

Ejjembe ery’okuna, ze nzikiriza z’amadiini, nga nago gakenula n’okubuza abantu, abantu babulubuttira mu kizikiza kubanga tebagala era tebakkiriza bya mwoyo ate nga Katonda Mwoyo. Yokaana 4:24, Abaruumi8:14, 1Abakkolinso 2:10-16.

Yokaana 4:24

Katonda gwe mwoyo: n’abo abamusinza kibagwanira okusinzanga  mu mwoyo n’amazima.

Abaruumi 8:14

Kubanga bonna abakulemberwa omwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda.

1Abakkolinso 2:10-16

10 Naye ffe Katonda yatubikkulira ku bw’omwoyo: kubanga omwoyo anoonya byonna era n’ebitategerekeka ebya Katonda. 11 kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu wabula omwoyo gw’omuntu oguli mu ye? Era bwe kityo ne bya Katonda siwali abitegeera wabula omwoyo gwa Katonda. 12 Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegereenga Katonda by’a tuwa obuwa. 13 N’okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g’abantu bye bayigiriza, wabula omwoyo by’ayigiriza; bwe mugerageranya eby’omwoyo n’eby’omwoyo. 14 naye omuntu ow’omukka obukka takkiriza eby’omoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gyali; era tayinza kubitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo.15 Naye omuntu ow’omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takebera muntu yenna. 16 Kubanga ani eyali ategedde okulowooza  kwa Mukama waffe,  alyoke amuyigirize? Naye ffe tulina okulowooza.

Ejjembe ery’okutaano z’ekkanisa ez’omwoyo oba ekkanisa ya Kristo (abalokole ab’obwoyo) eyaseeseetuka edda nga yaziba amaaso ag’omwoyo, kati nga eri mu kukenula olw’okuyayaanira eby’obugagga n’ebitiibwa mu nnaku zino ez’oluvannyuma; wadde nga  obugagga n’ekitiibwa bya bwa Katonda, naye tebiteekwa kufunibwa mu ngeri eyo, okuyita mu nkayana, okwewaggula, n’okuvuganya: mu nsangi zino okulaga abakristayo n’abantu Katonda omutuufu  ow’obutuukirivu n’obutukuvu n’ebirala biryoke bijje oluvannyuma, ebyo tebikyaliwo. Kati kukulakulana kwokka era abalokole oba abakristayo baafuuka batembeyi mu makanisa nga ekibatambuza kubulwa mazima era tebalina ddembe.  Yokaana 8:32

Yokaana 8:32

Era mulitegeera amazima, n’amazima  galibafuula ba  ddembe.

Kati Katonda atulagira kwenenya tudde emabega tutandike bupya okukola okwagala kwe.  Ebikolwa by’Abatume17:30, Lukka3:3-14

alenga

Ebikolwa by’Abatume17:30

Kale Katonda ebiro eby’obutamanya teyabitunuulira; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya,

Lukka 3:3-14

3 N’ajja mu nsi yonna eriranye Yoludaani, ng’abulira okubatizibwa okw’okwenenya olw’okujjibwako ebibi; 4 nga bwe kyawandikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti

Eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti

Mulongoose oluguudo lwa Mukama,

Mulungamye amakubo ge.

5 Buli kiwonvu kirijjuzibwa,

Na buli kasozi n’akasozi biritereezebwa:

N’ekikyamye kirigololwa,

N’amakubo agatali masende galitereezebwa,

6 N’abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.

7 Awo n’agamba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa ye nti mmwe abaana  b’emisota, ani eyabalabula okudduka  obusungu obugenda okujja? 8 Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina Jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliranga Ibulayimu abaana. 9 Ne kaakano embazzi etekeddwa ku kikolo ky’emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro. 10 Ebibiina ne bamubuuza nga bagamba nti kale tukole ki? 11N’addamu n’abagamba nti Alina ekkanzu ebbiri amuweeko emu atalina, n’alina emmere akole bw’atyo. 12 N’abawooza ne bajja okubatizibwa, ne bamugamba nti tukole ki? 13 N’abagamba nti Temusoloozanga kussukkiriza okusinga bwe mwalagirwa. 14 Era basserikale ne bamubuuza, nga bagamba nti naffe tukole ki? N’abagamba nti Temujooganga muntu so so temukanganga; era empeera yammwe ebamalenga .

Tewali musaayi gulibeera ku bulamu bwange. Ezeekyeri 3:16-24

Ezeekyeri 3:16-24

16 Awo olwatuuka ennaku musanvu bwe zayitawo, ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 17 nti omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: Kale wulira ekigambo eky’omu kamwa kange, obawe okulabula okuva gye ndi. 18 Bwe ngamba omubi nti Tolirema kufa: naawe n’otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 19 Era naye bw’olabula omubi, n’atakyuka okuleka obubi bwe newakubadde  okuva mu kkubo lye ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye  ggwe nga owonyezza emmeeme yo. 20 Nate omuntu omutuukirivu bw’akyuka okuleka obutuulirivu bwe, n’akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka ankonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde,alifiira mu kibi kye, n’ebikolwa bye ebituukirivu bye yakola tebirijjukirwa; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 21 Era naye bw’olabula omuntu omutuukirivu, omutuukirivu aleme okukola ekibi n’atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng’owonyezza ammeeme yo. 22 Awo omukono gwa Mukama ne guba ku nze eyo; n’angamba nti Golokoka ofulume ogende mu lusenyi, nange ndyogera naawe eyo. 23 Awo ne ngolokoka ne nfuluma ne ngenda mu lusenyi: kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kiyimiridde eyo, ng’ekitiibwa bwe kyali kye nnalaba ku lubalama lw’omugga Kebali: ne nvuunama amaaso gange. 24 Awo omwoyo ne guyingira mu nze ne gunnyimiriza ku bigere byange, n’ayogera nange n’angamba nti Genda we ggalire mu nnyumba yo.

                                           OKULABULA OKW’AMANGU

Nga ennaku z’omwezi 10 omwezi ogw’omusanvu mu mwaka 2010,nafuna eddoboozi mu kirooto nga lingamba nti omuddu wange Muwanguzi Jubilee tegeeza abantu bange bye  ngenda okukola mu bwangu x 3 ennyo nga bwekisoboka ngenda kutuukiriza byonna bye nnakayogera okuyita mu bannabbi bange nga bwe kiragibwa mu, Yeremiya 25:3-17

Yeremiya 25:3-17

3 nti okuva mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogwa Yosiya mutabani wa Amoni  kabaka wa Yuda ne leero, emyaka egyo amakumi abiri mu esatu, ekigambo kya Mukama kyanjijira nga ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; naye mmwe temuwulirizanga.4 Era Mukama yabatumiranga abaddu be bonna bannabbi, ng’agolokoka mu makya ng’abatuma; naye mmwe temuwulirizanga so temuteganga kutu kwammwe okuwulira; 5 ng’ayogera nti mukomewo nno buli muntu ng’aleka ekkubo lye ebbi n’obubi obw’ebikolwa byammwe, mubeere mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne ba jjajjammwe, yabawa mmwe ne bajjajja mmwe, okuva edda n’okutuusa emirembe gyonna: 6 so temugobereranga ba katonda abalala okubaweerezanga n’okubasinzanga, so temunsunguwazanga n’omulimu ogw’emikono gyammwe; nange siribakola bubi. 7 Era naye temumpuliranga, bwayogera Mukama; munsunguwaze n’omulimu ogw’emikono gyammwe olw’okwerumya mwekka. 8 Mukama w’eggye kyava ayogera bw’ati nti kubanga temuwulidde bigambo byange, 9 laba, ndituma ne nzirira ebika byonna oby’obukiika obwa kkono; bw’ayogera Mukama, era nditumira Nebukudduneeza kabaka w’e Babulooni omuddu wange,ne mbaleeta okutabaala ensi eno n’abo abali omwo n’amawanga gano gonna ageetoolodde; era ndibazikiririza ddala ne mbafuula eky’ewuunyo; n’okusozebwa n’amatongo ag’olubeerera. 10 Era nate ndibagyako eddoboozi ely’okusannyuka n’eddoboozi ery’okujaguza, eddoboozi ly’awasa omugole n’eddoboozi ery’omugole, okuvuga kw’olubengo n’okwaka kw’etabaaza. 11N’ensi eno yonna eriba matongo n’ekyewunyo; n’amawanga gano galiweereza kabaka w’eBabulooni emyaka musanvu. 12 Awo olulituuka emyaka ensanvu bwe girituukirira, ne ndyoka mbonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga eryo bw’ayogera Mukama, olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’ensi ey’Abakaludaaya, era ndigifuula amatongo ennaku zonna. 13 Era ndireeta ku nsi eyo ebigambo byange byonna bye nnagyogerako, byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino Yeremiya kye yalagula eri amawanga gonna. 14 Kubanga amawanga mangi ne bakabaka abakulu abalibafuula abaddu, abo be balifuula abaddu: era ndibasasula ng‘ebikolwa byabwe bwe biri era ng’omulimu gw’emikono gyabwe bwe guli.

15 Kubanga bw’ati Mukama Katonda wa Isiraeri bw’angamba nti Toola ekikompe eky’omwenge gw’ekiruyi kino mu mukono gwange, oginyweseeko omawanga gonna gye nkutuma. 16 Kale balinywa ne batagata ne balaluka olw’ekitala kye ndiweereza mu bo.17 Awo ne ntoola ekikompe mu mukono gwa Mukama, ne nnyweesa amawanga gonnaMukama gye yantuma:

Kubanga nze siri muntu okulimba  era siri mwana wa muntu okwejjusa. Okubala 23:19

Okubala 23:19

Katonda si muntu, okulimba; so si mwana wa muntu, okwejjusa: Ayogedde, n’okukola  talikola? Oba agambye, n’okutuusa talituusa?

“ Ate tewali ayinza kunziyiza ku buli kye njagala okukola”

Isaaya 43:11-12; 45:23, Yobu 42:1-2

Isaaya 43:11-12

11 Nze, nze mwene, nze Mukama; so tewali mulokozi wabula nze.

12 Nze nabuulira era nnalokola era nnalaga, so tewabanga mu mmwe Katonda mulala: kye muberedde abajulirwa bange, bw’ayogera Mukama, nange ndi Katonda.

Isaaya 45:23

Neerayiridde mwene, e kigambo kivudde mu kamwa kange mu butuukirivu so tekirikomawo, nga nze buli vviivi lirinfukaamirira, buli lulimi lulirayira nze.

 

Yobu 42:1-2

1 Awo Yobu n’addamu Mukama n’ayogera nti

2 Mmanyi nga ggwe oyinza byonna, Era nga tewali kigambo kye wateesa ekiziyizika.

Ngenda kuleeta okuzikirira ku nsi eno ey’obujeemu (buli kya bujeemu) kiwalarize buli muntu  okumanya nti nze Katonda omuyinza w’ebintu byonna; n’eri abalina omubiri buli omu ayige okunsinza nzekka n’obutaddayo kungattako katonda mulala.

                           OKUBIKKULA OBUJEEMU OBA ABAJEEMU

 

Mukama yangamba nga ennaku z’omwezi 30 omwezi gw’omusanvu omwaka 2011; lwali lunaku lwa mukaaga ekiro mu kwolesebwa,  nnalaba, nga nyambadde esaati njeru n’empale nzirugavu; nga eriko ensawo bbiri emabega bwe nnakwata mu nsawo  ey’omukono ogwa ddyo ne nzigyamu obupapula obuliko ebifananyi n’amanya g’abantu abenjawulo, amawanga gye babeera, n’obuweereza bwabwe oba emirimu gyabwe, Abalokole n’abatali balokole.

Omwoyo omutuuvu n’ayogera nti Nze Omwoyo wa Mukama ow’obunnabbi owa bannabbi era abikkula ebyama byonna n’ebiri ebuziizi; ngenda kubikkula obwereere bwa buli muntu era nja kutandikira mu nju yange (ekkanisa) ey’abalokole nga bwe nnakola Kabaka Dawudi, 2Samwiri12:11-12 kubanga munvumaganyiza erinnya lyange mu b’ensi: mujja kuswala n’entiisa ya Katonda enedda mu mitima gyammwe era munangulumiza n’ensi engulumize.

2Samwiri 12:11-12

11 Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Laba ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazi bo mu maaso go ne mbawa muliraanwa wo, era alisula ne bakazi bo  mu maaso g’enjuba eno. 12 Kubanga gwe wakikola mu kyama: naye nze ndikola ekigambo ekyo mu maaso ga Isiraeri yonna ne mu maaso g’enjuba.

 

Okubikkulirwa 10:1-11

1 Ne ndaba Malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu, ng’ayambadde ekire; ne musoke ng’ali ku mutwe gwe n’amaaso ge ng’enjuba, n’ebigere bye ng’empagi ez’omuliro; 2 era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n’ekya kkono ku nsi; 3 n’ayogerera waggulu ne ddoboozi ddene ng’empologoma bw’ewuluguma; bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo. 4 Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ngenda okuwandiika : ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika. 5 Malayika gwe nnalaba nga ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n’ayimusa omukono gwe  oga ddyo eri eggulu, 6 n’alayira oli aba omulamu emirembe n’emirembe, eyatonda  eggulu n’ebirimu, n’ensi n’ebirimu n’ennyanja n’ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate: 7 naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba nga agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda  ne kiryoka kituukirira, ng’enjiri bw’eri je yabuulira abaddu be bannabbi. 8 N’eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi. 9 Ne ngenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N’angamba nti twala, okamire; era kanakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu ng’omubisi gw’enjuki,10 Ne ntwala akatabo ne nkajja mu mukono gwa malayika, ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu nga omubisi gw’enjuki:  bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukayizibwa. 11 Ne bangamba nti kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n’amawanga n’ennimi ne bakabaka abangi.

Mukama akuwe  omukisa bw’osoma n’oteeka mu nkola era nkusaba otuuse ne ku mulala amawulire gano ag’obulamu.


OBUBAKA BWA KATONDA OBW’OBUNNABBI ERI ENSI 2014

 

Omwaka nkumi bbiri mu kumi n’ena (2014) mwaka gwa Katonda  ogw’okyusa obukulembeze mu buweereza bwonna naddala mu Kkanisa ey’omwoyo(Pentecostal) olw’obuweereza obw’omulembe omuggya mu  linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

Ezeekyeri 21:26-27

Ezeekyeri 21:26-27

26 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Ggyako enkufiira otikkule engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikkakanye, okakkanye ebigulumizibwa.  27Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n’ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo, lw’alijja, era ndikimuwa.

Entegeka ya Katonda kwe kuyisa abantu bonna mu kukyusibwa okuteeka obufuzi bwona wansi w’obufuzi bw’obwa kabaka bwe. Okubikkulirwa 3:7-12, Zabbuli 110:1-7, Danyeri 7:9-14

Okubikkulirwa 3:7-12

7 Era eri malayika ow’ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti Bw’ati bw’ayogera  oyo omutukuvu, ow’amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, so tewali aggalawo, aggalawo, so tewali muntu aggulawo, 8 nti mmanyi ebikolwa byo ( laba, nnateeka mu maaso go oluggi olugguddwawo, omuntu yenna lw’atayinza kuggalawo)ng’olina amaanyi matono, n’okwata ekigambo kyange, so teweegaana linnya lyange. 9  Laba, ngaba ab’omu kkungaaniro lya setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okujja okusinza mu maaso g’ebigere byo, era ndibamanyisa nga nnakwagala. 10 Kubanga weekuuma ekigambo eky’okugumikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi. 11Njija mangu: nyweza ky’olina, omuntu yenna aleme okutwala engule yo. 12 Awangula ndimufuula empagi mu yekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika  ku ye erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n’erinnya lyange eriggya.

 

 

Zabbuli 110:1-7

1 Mukama agamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.

2 Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi go okuva mu Sayuni:

Ggwe fugira wakati mu balabe bo.

3 Abantu bo beewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo:

Mu bulungi obw’obutukuvu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo, oguva mu lubuto lw’enkya.

4 Mukama yalayira, so talyejjusa, Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna

Ng’engeri ya Merukizeddeeki bweri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo, Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusuungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga, Alijjuza ebifo emirambo; Alifumita omutwe mu nsi ennyingi.

7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo: kyaliva ayimusa omutwe.

 

Danyeri 7:9-14

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaatekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga gw’omuliro ne gutiirika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuwereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera : ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13 Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omuggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 14 N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga ne nnimi, bamuweerezenga okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwawo, n’obwakabakaba bwe bwe butalizikirizibwa.

Amakulu agalimu kigambo okukyusibwa       

 

1.Gwe mutendera oba ekiseera eky’okukyusa embeera, emirimu, ebifo,ekitundu oba eddaala, enkola okudda mu birala.

2.Kwe kusomoka oba okuyita mu mbeera, obukwakkulizo, okutegana mu                 birowoozo ne mu mitendera egy’ennamula n’obutuukirivu n’ebirala. Isaaya9:6-9, Isaaya40:27-28, Abaruumi 11:33, Abaebulaniya 12:13.

Isaaya 9:6-9

6 Kubanga omwana atuzaliddwa ffe, omwana ow’obulenzi awereddwa ffe; n’okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n’erinnya lye  liriyitibwa nti wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow’amaanyi, Kitaffe ataggwawo, omukulu ow’emirembe. 7 Okufuga kwe n’emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku ntebe ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe, okubunyweza, n’okubuwanirira n’omusango n’obutukirivu okuva leero n’emirembe n’emirembe. Obunyikivu bwa Mukama ow’eggye bulituukiriza ekyo.

8 Mukama yaweereza Yakobo ekigambo, ne kigwa ku Isiraeri.

9 Era abantu bonna balimanya Efulayimu n’abatuula mu Samaliya aboogera n’amalala n’obukakanyavu bw’omutima.

Isaaya 40:27-28

27 Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n’ogamba ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n’omusango gwange guyise ku Katonda wange? 28 Tonnamanya? Tonnawulira? Katonda ataliggwawo, Mukama, omutonzi w’enkomerero z’ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganonyezeka.

 

Abaruumi 11:33

Obuziba bw’obugagga obw’amagezi n’obw’okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! Emisango gye nga tegikeberekeka, n’amakubo ge nga tegekkanyizika!

Abaebulaniya 12:1-13

1 Kale nnaffe, bwe tulina olufu lw’abajulirwa olwenkana awo olutwetoolodde, twambulenga buli kizitowa n’ekibi ekyegatta naffe, tuddukanenga n’okugumiikiriza okuwakana okutekeddwa mu maaso gaffe, 2 nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w’okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo,  olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda. 3 Kubanga mu mulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez’abakola ebibi ku bo bennyini, mulemenga okukoowa, nga muddirira mu mmeeme zammwe. 4 Temunawakana okutuusa ku musaayi nga mulwana n’ekibi: 5 era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, ekyogera nammwe ng’abaana nti mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, so toddiriranga bw’akunenyanga; 6 kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw’akkiriza. 7 Olw’okukkangavvulwa kyemunavanga mugumikiriza; Katonda abakola ng’abaana; kuba mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? 8 Naye bwe munabeeranga awatali kukangavvulwa, okugwana okututukako fenna , muli beboolereze so si baana. 9 Naffe twalina ba kitaffe  ab’omubiri gwaffe abatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa: tetulisinga nnyo okugonderanga Kitaawe w’emyoyo, ne tuba abalamu? 10 Kubanga bo baatukangavvulanga ennaku si nnyingi olw’okwegasa bo; naye oyo atukangavvula olw’okutugasa, tulyoke tufune omugabo ku butukuvu bwe. 11 okukangavvulwa  kwonna  mu biro ebya kakaano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvanyuma kubala ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo, bye by’obutuukirivu. 12 Kale mugololenga emikono egirengejja, n’amaviivi agakoziimba; 13 era mukubirenga ebigere byammwe amakubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi.

Omutendera guno guli mu ngeri bbiri okutoowazibwa ennyo n’okugulumizibwa ennyo.

Zabbuli 75:6-10, Ezekyeri 21:26-27 ne Lukka 1:50-53.

Zabbuli 75:6-10

6 Kubanga okugulumuzibwa tekuva buvanjuba, Newakubadde obugwanjuba, newakubadde obukiika oba ddyo,

7 Naye Katonda ye mulamuzi: Atoowaza ono, n’oli amugulumiza

8 Kubanga mu mukono gwa Mukama  ekikompe mwe kiri, n’omwenge gw’amu guliko ejjovu;

Kijjudde ogutabuddwamu, n’akifuka;

Mazima ebbonda lyagwo ababi  bonna ab’ensi balirikutamira, balirinywa.

9 Naye nze naabuuliranga emirembe gyonna,

Naayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo. 10 Era n’amayembe gonna ag’ababi  naagazikirizanga;

Naye amayembe g’abatuukirivu ganaagulumizibwanga.

 

Ezeekyeri 21:26-27

26 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Ggyawo enkufiira otikkuleko engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikakkanye,  okkakanye ebigulumizibwa. 27 Ndikivunika, ndikivunika, ndikivunika: so n’ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo lw’alijja, era ndikimuwa.

Lukka 1:50-53

50 N’ekisa kye kiri mu bamutya; Emirembe n’emirembe.

51 Alaze amaanyi n’omukono gwe;

Asaasanyizza abalina amalala mu kuterera kw’omu mitima gyabwe,

Agulumizizza abeetoowaze

53 Abalina enjala abakkusizza ebirungi;

N’abagagga  abagobye  nga  tebalina kintu.

 

Mu mutendera guno

1.Ebintu ng’emirimu, entegeka, enteeketeeka n’ebirala bigenda kubeera ku    bunkeenke  eri  abantu  abamu. Amosi 2:13-16, Abaebulaniya 12:26-27

Amosi 2:13-16

13 Laba, ndibanyigiriza mu kifo kya mmwe, ng’eggali erijjudde ebinywa bwe linyigiriza. 14 Awo okudduka kulibula ow’embiro, so n’ow’amaanyi talyongera maanyi ge, so n’omuzira talyewonya: 15 so n’oyo akwata omutego taliyimirira, era n’omuddusi w’embiro taly’ewonya wadde n’oyo eyebagala embalaasi talyewonya; 16 n’oyo alina obugumu mu b’amaanyi alidduka ng’ali bweerere ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama.

Abaebulaniya 12: 26-27

26 Eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyenya,si nsi yokka, naye era n’eggulu. 27 N’ekyo nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo.

 

  1. Amagezi g’ensi gagenda kuzikirizibwa era n’abantu bagenda kulemererwa okutuusa nga beewaddeyo. 1Abakkolinso 1:19-28, Abafiripi 2:10-11.

1Abakkolinso 1:19-28

19 Kubanga kyawandiikibwa nti

Ndizikiriza amagezi g’abagezigezi,

N’obukabakaba bw’abakabakaba ndi buggyawo.

20 Omugezigezi aluwa? Omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi ow’omu nsi muno aluwa? Katonda teyasiruwaza magezi ga nsi? 21 Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw’amagezi gaayo bw’etaategeera Katonda, Katonda n’asiima olw’obusirusiru obw’okubuulira okwo okulokola abo abakkiriza. 22 Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n’Abayonaani banoonya amagezi: 23 naye ffe tubuulira Kristo eyakomerewa, eri Abayudaaya nkonge, n’eri abamawanga busirusiru; 24 naye eri abo abayite Abayudaaya era n’Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda. 25 Kubanga obusirisiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi. 26 Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe , aboluganda, ng’abamagezi ag’omubiri si bangi abaayitibwa, ab’amaanyi si bangi, ab’ebitiibwa si bangi: 27 naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ensonyi eby’amaanyi; 28 n’ebikopi byensi  n’ebinyoomebwa Katonda yabironda era n’ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo.

Abafiripi 2:10-11

10 Buli vviivi lifukamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omuggulu n’eby’oku nsi n’ebya wansi w’ensi,11 era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo  ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

  1. Abantu abamu bagenda kusalirwa omusango, bagenda kubonerezebwa oba okufa olw’okubonyaabonya abaavu, ba nnamwandu, ba mulekwa n’abateeyinza, abataasoma n’abalala okubamalako eddembe lyabwe. Engero 22:22-23, Engero 23:10-11, Isaaya 10:1-4.

Engero 22:22-23

22 Tonyaganga  mwavu kubanga mwavu, so tojooganga abonyaabonyezebwa mu mulyango:

23 Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga ali banyagako obulamu.

Engero 23:10-11

10 Tojjululanga kabonero ka nsalo ak’edda; so toyingiranga mu nnimiro z’abatalina bakitaabwe:

11 Kubanga omununuzi wabwe wa   maanyi; Anawozanga ensonga yaabwe naawe.

 

Isaaya 10: 1- 4

1 Zibasanze abo abateeka amateeka agatali  ga butuukirivu, n’abawandiisi abawandiika obukyamu: 2 okugoba abanaku baleme okusalirwa omusango, n’okubannyagako ebyabwe abaavu ab’omubantu bange, bannamwandu babeere munyago gwabwe, era abafiiriddwa ba kitaabwe babafuule omuyiggo gwabwe! 3 Era mulikola mutya  ku lunaku olw’okujjirwa, ne mukuzikirizibwa okkuliva ewala? Muliddukira eri ani okubeerwa? Era mulireka wa ekitiibwa kyammwe? 4 Balikutama bukutami wansi w’abasibe, era baligwa wansi w’abattiddwa. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.

  1. Ekiruyi ky’obusungu bwa Mukama kigenda kuttonya kw’abo abaafuna oba abaatwala ebintu n’obugagga bw’a bantu abalala nga bakozesa olukujjukujju n’amaanyi n’okuwa enguzi olw’ebigendererwa byabwe; bagenda ku bisesema ka bagale oba bagaane. Yobu 20;15-29

Yobu 20:15-29

15  Yamira obugagga, era anaabusesemanga nate: Katonda anabujjanga mu lubuto lwe.

16 Anaanuunanga  obusagwa bw’embalasaasa: olulimi lw’omusota lunamuttanga.

17 Taatunuulirenga  migga, Emigga egikulukuta egy’omubisi gw’enjuki n’omuzigo.

18 Kye yateganiranga anaakizzanga, so taakimirenga: so taasanyukenga nga bwe biri byafunye.

19 Kubanga ya jooga abaavu n’abaleka: Yaggyawo ennyumba olw’amaanyi so tagizimbenga.

20 Kubanga teyamanya kutereera munda ye, Taawonyenga kintu ku ebyo by’asanyukira.

21 Tewasigala kintu ky’atalya; omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw’olubeerera.

22 Mu lufulube lw’ebintu ebisukkirira anaalabanga ennakku;

Omukono gwa buli muntu aliko obuyinike gunaamutukangako.

23 Bw’aba ng’anatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anamusuulangako ekiruyi kye ekingi, Era anakitonyesanga ku ye ng’alya.

24 Anaddukanga eky’okulwanyisa eky’ekyuma, N’omutego ogw’ekikomo gunamufumitanga.

25 Aguggyamu ne guva mu mubiri gwe; Weewawo omumwa gwagwo ogumasamasa guva mu mususa gwe;

26 Ekizikiza kyonna kyaterekerwa ebibye eby’obugagga: omuliro ogutakumibwa bantu gunaamwokyanga; Gunaamalangawo ebyo ebisigadde mu weema ye.

27 Eggulu linaabikkulanga ku butali butuukirivu bwe, N’ensi enemugolokokerangako.

28 Ekyengera eky’omu nnyumba ye kinaavangawo, Ebintu bye binaabuliranga ku lunaku olw’obusungu bwe.

29 Ogwo gwe mugabo gw’omuntu omubi oguva eri Katonda, N’obusika Katonda bwe yamuteekerawo.

  1. Omusaayi ogwayiibwa gugenda kw’ogera era gulondoole abo ab’ayiwa omusaayi gw’abantu. Ezeekyeri 16:38, Ezeekyeri 35:6, Ezeekyeri 36:18, Kabakuuku 2:12-14

Ezeekyeri 16:38

Era ndi kusalira omusango ng’abakazi abatta obufumbo ne bayiwa omusaayi  bwe basalirwa omusango; era ndikuleetako ogw’ekiruyi n’obuggya.

 

Ezeekyeri 35:6

Kale, nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n’omusaayi guli kucocca: tewakyawa musaayi, omusaayi kye guliva gukucocca.

 

Ezeekyeri 36:18

Kyennava mbafukako ekiruyi kyange, olw’omusaayi bo gwe baali bafuse ku nsi, era kubanga baali bagyonoonye n’ebifaananyi byabwe.

 

Kabakuuku 2:12-14

12 Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi, n’anyweza ekibuga n’obutali butuukirivu! 13 Laba, tekyava eri Mukama w’eggye abantu okutengejjera omuliro, n’amawanga okweyooyeseza obutaliimu? 14 Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja.

  1. Ebintu nga ettaka, ebizimbe, yafeesi, emmotoka ssente n’ebintu ebirala bigenda kwogera eri abantu, zi gavumenti, ebitongole, n’ebirala abo abaafuna oba abaatwala obuyinza mu makubo  amakyamu okutuusa nga babiddizza bannyini byo awatali bukwakkulizo bwonna.  Kabakuuku 2:9-15, 1Samwiri 6:1-21

Kabakuuku 2:9-15

9 Zimusanze oyo afunira ennyumba ye amagoba amabi, azimbe ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw’obubi! 10 Oteserezza ennyumba yo ensonyi, ng’omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe. 11 Kubanga ejjinja liry’ogerera waggulu nga liyima mu kisenge, n’omuti guliriddamu nga guyima mu kisekese. 12 Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi, n’anyweza ekibuga n’obutali butuukirivu! 13 Laba, tekyava eri Mukama w’eggye abantu okutengejjera omuliro,  n’amawanga okweyooyeseza obutaliimu? 14 Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja.

15 Zimusanze oyo awa munne ebyokunywa, n’oyongerako n’obutwa bwo, n’okutamiiza n’omutamiiza olyoke otunuliire ensonyi zaabwe!

 

1Samwiri 6:1-21

1 Awo Ssanduuko ya Mukama yamala emyezi musanvu ng’eri mu nsi ey’Abafirisuuti. 2 Awo Abafirisuuti ne bayita ba kabona n’abafumu, nga boogera nti  Tunaakola tutya essanduuko ya Mukama? Tutegeeze bwe tuba tugiweereza okugenda mu kifo kyayo. 3 Ne bogeera nti Bwe munasindika essanduuko ya Katonda wa Isiraeri okugenda, temugisindika njereere; naye temulema okumuweereza ekiweebwayo olw’omusango: ne mulyoka muwona, era kiritegeerwa mmwe ekirobera okubaggyako omukono gwe. 4 Awo ne boogera  nti Ekiweebwayo olw’omusango kye tulimuweereza kiriba ki? Ne boogera nti Ebiziimba ebya zaabu bitaano n’emisonso egya zaabu etaano, ng’abaami b,Abafirisuuti bwe benkana omuwendo; Kubanga ekibonoobono ekimu kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe. 5 kyemunaava mwekolera ebifaananyi by’ebiziimba byammwe n’ebifaananyi by’emisoonso gyammwe egyonoona ensi; era muliwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri: mpozzi aliggya omukuno gwe ku mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe. 6 Kale mukakanyaliza ki emitima ggyammwe, nga Abamisiri ne Falaawo bwe baakakanyaza emitima ggyabwe? Bwe yamala okukola mu bo eby’ekitalo, tebakkiriza bantu kugenda  ne bagenda? 7 Kale nno muddire eggaali empya mugyeteekereteekere, n’ente bbiri eziramurwa, ezitateekebwangako kikoligo, musibe ente ku ggaali, muziggyeko ennyana zaazo muzizze eka: 8 muddire essanduuko ya Mukama, mugiteeke ku ggali; muteeke ebintu ebya zaabu, bye mumuweereza okuba ekiweebwaayo olw’omusango, mu bbweta ku mabbali gaayo; mugisindike egende. 9 Awo mutegeere, bw’eryambuka mu kkubo ery’ensalo yaayo okugenda e Besusemeesi, awo nga ye yatukoze ekibi kino ekinene: naye bwe kitaliba bwe kityo, awo tuitegeera nga omukono gwe si gwe gwatukuba; kyatugwiira bugwiizi. 10 Abasajja ne bakola bwe batyo; ne baddira ente bbiri eziramulwa, ne bazisiba ku ggali, n basiba ennyana zaazo eka: 11 ne bateeka eSsanduuko ya Mukama ku ggaali, n’ebbweeta erimu emisonso egya zaabu n’ebifaananyi bye biziimba byabwe. 12 Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemeesi; zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku mukono ogwa kkono; abaami b’Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo ey’e Besusemeesi. 13 N’Ababesusemeesi baali nga bakungula engaano yaabwe mu kiwonvu: ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba essanduuko ne basanyuka okugiraba. 14 Eggali n’ejja mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemeesi n’eyimirira eyo, awaali ejjinja eddene: ne baasa emiti egy’eggali, ne bawaayo ente ezo okuba ekiweebwaayo ekyokebwa eri Mukama. 15 Awo Abaleevi ne bassa essanduuko ya Mukama n’ebbweta eyali nayo omwali ebintu ebya zaabu, ne babiteeka  ku jjinja eryo eddene: Ababesusemeesi ne bawaayo ebiweebwaayo ebyokebwa ne basala Ssadaaka ku lunaku olwo eri Mukama. 16 N’abaami abataano ab’Abafirisuuti  bwe baakiraba, ne baddayo e Ekkulooni ku lunaku olwo. 17 N’ebiziimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza Mukama okuba ekiweebwayo olw’omusango bye bino: Ekya Asudodi kimu, ekya Gaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi kimu, ekya Ekuloni kimu; 18 n’emisonso eggya zaabu ng’ebibuga byonna eby’Abafirisuuti eby’abaami abataano bwe byenkana omuwendo, ebibuga ebiriko enkomera era n’embuga ez’omu byalo: okutuusa ku jjinja eryo eddene, kwe bassa ssanduuko ya Mukama, eririwo na guno gujwa mu nnimiro ya Yoswa omubesusemeesi. 19 N’atta ku Babesusemeesi, kubanga baali balingizizza mu Ssanduuko ya Mukama, n’atta ye ku bantu abasajja obukumi butaano mu nsanvu: abantu nne banakuwala, kubanga Mukama yatta abantu olutta lunene. 20 Ababesusemeesi ne boogera nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? era eri ani gy’alirinnya ng’atuvuddeko? 21 Ne batumira abo abaatuula mu Kiriyasuyalimu ababaka, nga boogera nti  Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama; muserengete mmwe, mugikime erinnye gye muli.

  1. Abantu abamu naddala abakulembeze ab’engeri zonna bagenda kulya ku kasasiro oba okusabiriza okumala essabbiiti musanvu, emyezi musanvu, emyaka musanvu oba okusibibwa obulamu bwabwe bwonna. Danyeri 4:1-37, Zabbuli 110:4-7

Danyeri 4:1-37

1 Nebukadduneeza kabaka nze mbawandiikidde abantu bonna, amawanga, n’ennimi, abatuula mu nsi zonna: emirembe gyeyongere gye muli. 2 Ndabye nga kirungi okulaga obubonero n’eby’amagero Katonda Ali wagulu ennyo bye yakola gyendi. 3 obubonero bwe nga bukulu! N’ebyamagero bye nga by’amaanyi! Obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n’okufuga kwe kwa mirembe namirembe.

4 Nze Nebukadduneeza nnali mpumulidde mu nnyumba yange, era nga njeerera mu lubiri lwange. 5 Ne ndaba ekirooto ekyantiisa; n’ebyo bye nnalowolezanga ku kitanda kyange, n’omutwe gwange bye gwayolesebwa, ne binneeraliikiriza. 6 Kyennava nteeka etteka okuyingiza gye ndi abagezigezi bonna ab’e Babulooni ba ntegeeze amakulu g’ekirooto. 7 Awo ne bayingiza abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi: ne njatulira ekirooto mu maaso gaabwe: naye nebatantegeeza makulu gaakyo. 8 Naye oluvannyuma Danyeri n’ayingira gye ndi, erinnya lye Berutesazza, ng’erinnya ly’abakatonda bange bwe liri era omuli omwoyo gwa ba Katonda abatukuvu; ne njatulira ekirooto mu maaso ge nti 9 Ggwe Berutesazza, omukulu w’abasawo, kubanga mmanyi ng’omwoyo gw’aba katonda abatukuvu guli mu ggwe, so nga tewali kyama ekikweraliikiriza, mbulira bye nnayolesebwa mu kirooto kyange kye ndabye, n’amakulu gaakyo. 10 Omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange byali bwe biti: natunula, era, laba omuti wakati mu nsi, n’obuwanvu bwagwo bunene. 11 Omuti ne gukula, ne guba gwa maanyi, n’obuwanvu bwagwo ne butuuka mu ggulu, n’okulengerwa kwagwo ne kutuuka ku nkomerero y’ensi zonna. 12 Amalagala gagwo malungi, n’ebibala  byagwo bingi, era mu gwo mwalimu emmere emala bonna: ensolo ez’omu nsiko zeggamanga mu kisikirize kyagwo, n’enyonyi ez’omu ggulu ne zi tuula ku matabi gaagwo, ne byonna ebirina omubiri ne bigulyangako. 13 Nalaba mu ebyo omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange, era laba, omutunuzi era omutukuvu n’akka ng’ava mu ggulu. 14 N’ayogerera waggulu, n’agamba bw’ati nti temera ddala omuti, ogutemeko amatabi gaagwo, ogukunkumuleko amalagala gaagwo,  osaasanye ebibala byagwo: ensolo zive wansi wagwo, n’ennyonyi ku matabi gagwo. 15 Era naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omugonvu ogw’omunsiko: era kitobenga omusulo ogw’omu ggulu, n’omugabo gwe gubeenga n’ensolo mu muddo ogw’ensi:16 Omutima gwe guwanyisibwe obutaba gwa muntu, aweebwe omutima gw’ensolo: era ebiseera omusanvu bimuyiteko.17 Omusango ogwo guvudde mu tteeka ery’abatunuzi, n’okuteesa okwo kuvudde mu kigambo ky’abatukuvu: abalamu balyoke bategeere ng’oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu, era ng’abuwa buli gw’ayagala, era ng’akuza ku bwo asinga abantu bonna obunaku. 18 Ekirooto ekyo nze kabaka Nebukadduneeza nakirabye: naawe ggwe Berutesazza tegeeza amakulu, kubanga abagezigezi bonna ab’omubwakabaka bwange tebayinza kuntegeeza makulu: naye gwe oyinza, kubanga omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu gwe.19 Awo Danyeri, erinnya lye Berutesazza, n’alyoka yewuunya akaseera, n’ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza, kabaka n’addamu n’ayogera nti Berutesazza, ekirooto kireme okukweelariikiriza newakubadde amakulu. Berutesazza n’addamu n’agamba nti Mukama wange, ekirooto kibe eri abo abakukyawa, n’amakulu gakyo eri abalabe bo. 20 Omuti gwe walabye ogwameze ne guba gw’amaanyi, obuwaanvu bwaagwo ne butuuka mu ggulu, n’okulengerwa kwagwo mu nsi zonna: 21 amalagala gaago malungi, n’ebibala byagwo bingi,era mu gwo mulimu emmere emala bonna: n’ensolo ez’omunsiko ne zibeera wansi wagwo,n’enyonyi ez’omuggulu ne zituula ku matabi gaagwo, 22 ye ggwe, ai kabaka, akuze n’oba wa maanyi: kubanga obukulu bwo bukuze, ne butuuka mu ggulu, n’okufuga kwo ku nkomerero y’ensi zonna.23 Era kubanga kabaka yalabye omutunuzi era omutukuvu ng’akka ng’ava mu ggulu, era ng’ayogera nti Temera ddala omuti, oguzikirize: era naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kirekere mu ttaka: nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omugoonvu ogw’omu nsiko: era kitobenga n’omusulo ogw’omu ggulu, n’omugabo gwe gubeenga n’ensolo ez’omu nsiko: okutuusa ebiseera omusanvu lwe birimuyitako: 24 amakulu ge gano, ai kabaka, era lye tteeka ly’Oyo Ali waggulu ennyo, erijjidde mukama wange kabaka: 25 ng’oligobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n’ensolo ez’omu nsiko, era oliriisibwa omuddo ng’ente era olitoba omusulo ogw’omuggulu, era ebiseera musanvu birikuyitako: okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’ayagala. 26 Era kubanga balagidde okuleka ekikonge ky’ekikolo ky’omuti: obwakabaka bwo bulinyweera gy’oli bw’olimala okutegeera ng’eggulu lye lifuga. 27 Kale, ai kabaka okuteesa kwange kukkirizibwe mu maaso go, era omalire ddala ebibi byo ng’olikola eby’obutuukirivu, n’ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu ng’osaasira abaavu, mpozzi okuwummula kwo kwongerweko. 28 Ebyo byatuuka ku kabaka Nebukadduneeza. 29  Emyezi kkumi n’ebiri bwe gyayitawo, yali atambula mu lubiri lw’e Babulooni. 30 Kabaka n’ayogera nti kino si Babulooni ekikulu, kye nnazimba okuba ennyumba ya kabaka n’amaanyi ag’obuyinza bwange n’olw’ekitiibwa eky’obukulu bwange? 31 Ekigambo kyali nga kikyali mu kamwa ka kabaka, eddoboozi ne ligwa nga liva mu ggulu, nti Ggwe kabaka Nebukadduneeza, kyogerwa eri ggwe: Obwakabaka bukuvuddeko. 32 Era onogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n’ensolo ez’omu nsiko; era oliriisibwa omuddo ng’ente, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’ayagala. 33 Mu ssawa eyo ekigambo ne kituukirira Nebukadduneeza: n’agobebwa okuva mu bantu, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’omu ggulu, okutuusa enviiri ze lwe zaakula nga ebyooya by’empungu, n’enjala ze nga enjala ez’ennyonyi. 34 Ennaku ezo bwe zaggwa nze Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne ganziramu, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe, kubanga okufuga kwe kwe kufuga okutaliggwawo, n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe: 35 n’abo bonna abatuula mu nsi abalowooza nga si kintu: era akola nga bw’ayagala mu ggye ery’omuggulu, era ne mw’abo abatuula mu nsi: so siwali ayiinza okuziyiza omukono gwe, newakubadde okumuganba nti okola ki? 36 mu kiseera ekyo amagezi gange ne ganziramu: n’olwekitiibwa ky’obwa kabaka bwange, obukulu bwange n’okumasamasa kwange ne binziramu: n’abakungu n’abaami bange ne bannonya; ne nnywezebwa mu bwakabaka bwange, n’obukulu obungi ennyo ne bunnyongerwako. 37 Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza era mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w’eggulu: kubanga emirimu gye gyonna mazima, n’amakubo ge ga nsonga: n’abo abatambulira mu malala ayinza okubajeeza.

           

Zabbuli 110:4-7

4 Mukama yalayira, so talyejjusa, Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna.

Ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku lwe olw’obusuungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga,

Alijjuza ebifo emirambo;

Alifumita emitwe mu nsi nnyingi.

7 Alinnywa mu nsulo eri mu kkubo:

Kyaliva ayimusa omutwe.

  1. Abantu abamu bagenda kuba nga abalalu balyoke basobole okubikkula ebyama ebyakisibwa eby’amaanyi g’obusamize n’ebyo bye baakola. Isaaya 44:25, Isaaya 28:18-20 ne Mikka 5:12-15

 

Isaaya 44: 25

Atta obubonero bw’abaliimba era alalusa abalogo; akyusa abagezigezi okudda ennyuma ne nsiruwaza amagezi gaabwe:

 

Isaaya 28:18-20

18 N’endagaano gye mwalagaana n’okufa erijjulukuka, so n’okutabagana kwammwe kwe mwatabagana n’amagombe tekulinnywera; ekibonyoobonyo ekiryaanjaala bwe kiriyitamu, ne kiryoka kiribalinnyirira wansi. 19 Buli lwe kinaayitangamu, kinaabakwatanga; kubanga buli lukya kinaayitangamu emisana n’ekiro: era okutegeera ebibulilwa kuliba ntiisa nsa. 20 Kubanga ekitanda kimpi omuntu n’okuyinza n’atayinza kukyegololerako; n’eky’okwebikkako kyako kifuunda n’okuyinza n’atayinza ku kyebikka.

Mikka 5:12-15

12 Era ndiggyamu obulogo mu mokono gwo; so toliba na baganga nate; 13 era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n’empagi zo; so tolisinza nate emirimu gy’engalo zo. 14 Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo. 15 Era ndiwalana eggwanga n’obusungu n’ekiruyi ku mawanga agatawulira.

 

  1. Katonda agenda kukozesa engeri z’amagye nnya (4)

(a)Eggye ery’omu bbanga ne mu bwengula okuzingiza n’okuwamba mu bitundu ebimu:okusinziira ku ntegeka y’olutalo, era bye bino:-

Enjuki, enzige, n’ebiwuka ebirala, ebinnyonyi, eraddu, omuyaga ogw’amaanyi, ekyeeya eky’amaanyi, enkuba ey’amaanyi, omuzira n’olufu olukwafu ennyo okumala essawa ssatu (3), okubula kw’ennyonyi, okuvaaako kw’ensaniya n’emirongooti gy’empuliziganya oba okubeera ku bukeenke okumala ebiseera; n’obunnyogovu  oba obutiti obw’amaanyi n’ebirala.

(b)Eggye ery’okuttaka nga lya kukola kye kimu nga:-

Okuyigukulukuka kw’e ttaka, enfuufu ey’amaanyi nga esitulibwa omuyaga, ebitonde okugolokoka gy’obeera biralu mu bitundu ebimu n’eri abantu abamu, emmere n’ebyokunywa okukaayira abamu, Omuliro, okwejjako kw’amasanyalaze n’ebyuma okumala essawa 2, 3, 4, 5, 6 mu lunaku aba ekiro; n’omuzira ogw’amaanyi n’ebirala.

(c)Eggye ery’omu mazzi nga lya kukola kye kimu gamba nga :-

Ebitonde eby’omu mazzi okuzingiza n’okusaasaana okwetoolola ku migga, ennyanja, agayanja aganene okumala essawa eziwerako; amazzi agamu okufuuka amamyufu n’amaddugavu, amakyafu nga ate gakaawa okumala essaawa eziwerako oba ennaku eziwerako n’amataba n’ebirala.

(d)Eggye erya wansi mu ttaka nga lya kukola kyekimu gamba nga:-

Musisi, amazzi okuva mu ttaka mu ntobazi ze baayiwamu ettaka okuzikaliza, ettaka okwasama ne limira amayumba n’abantu n’ebirala.

  1. Katonda agenda kutabula abasirikale oba amagye okwetoolola ensi n’ebyokulwanyisa bigenda kukwama naddala mu biseera by’entalo, nga bikwata omuliro, nga byeggirako ddala oba nga biganira ddala emirimbe gyonna: abamu bagenda kutabalagana bokka na bokka era ekyo kigenda kubawaliriza okutuula wansi basalewo okuzikiriza ebyokulwanyisa bingi. Isaaya 11:4-10, Isaaya 9:5-7, Mikka 4:3.

 Isaaya 11:4-10

4 Naye anasaliranga abaavu emisango gyansonga, era ananenyanga n’obutuukirivu olw’abawombefu abali mu nsi: era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke, era alitta omubi n’omukka ogw’omu mimwa gye. 5 N’obutuukirivu buliba lukoba lwa mu kiwato kye, n’obwesigwa buliba lukoba lwa mu mugongo gwe. 6 N’omusege gunasulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo eneegalamiranga wamu n’omwana gw’embuzi; n’ennyana n’omwana gw’empologoma n’ekya ssava wamu; n’omwana omuto alizikaantiriza. 7 N’ente n’eddubu ziririira wamu; n’empologoma erirya omuddo ng’ente.8 N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’ensweera, n’omwana eyakava ku mabeere aliteeka omukono gwe mu mpampagama y’e ssalambwa. 9 Tebaliruma newakubadde okuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu lwonna: kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng’amazzi bwe gasaasanira ennyanja.

10 Awo olulituuka ku lunaku luli akikolo kya Yese, ekiyimirira okuba ebendera ey’amawanga, eri oyo amawanga gye bananoonyanga; n’ekifo kye eky’okuwummuliramu kiriba kitiibwa.

 

Isaaya 9:5-7

5Kubanga ebyokulwanyisa byonna eby’Oyo Alina ebyokulwanyisa mu luyogaano, n’ebyambalo ebikulukunyizibwa mu musaayi, biriba bya kwokebwa bwokebwa, okuba enku ez’omuliro.6 Kubanga omwana atuzaliddwa ffe, omwana ow’obulenzi aweereddwa ffe n’okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n’erinnya lye liriyitibwa nti wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow’amaanyi, Kitaffe ataliggwawo, omukulu ow’emirembe. 7 Okufuga kwe n’emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku ntebe ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe okubunyweza, n’okubuwanirira n’omusango n’obutuukirivu okuva leero n’emirembe n’emirembe. Obunyiikivu bwa Mukama ow’eggye bulituukiriza ekyo.

 

Mikka 4:3

Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala, era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n’amafumu gabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teriyimusa ekitala ku ggwangatebayigenga kulwaana nate.

 Mu bufuunze Katonda agenda kukozesa engeri zonna ezisoboka okulwanirira   omufuzi bwe mu nyingo zino ekkumi ez’entekateeka y’olutalo. Okubikkulirwa 17:14, Danyeri 7:9-14, Zabbuli 2:1-12, Zabbuli 110:1-7, Abakkolinso 15:23-27, Abaebulaniya12;26, Okubikkulirwa 21:24, Abafiripi 2;10-11.

 

Okubikkulirwa 17:14

Abo balirwana n’omwana gw’endiga n’omwana gw’endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami era ye kabaka w’abakabaka;era naabo abali awamu naye , abayitibwa, abalonde,abeesigwa.

Danyeri 7:9-14

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula; ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne ba nnamaziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga gw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13 Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 14 N’awebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.

Zabbuli 2:1-12

1Kiki ekibagugumusizza abamawanga,

N’abantu kiki ekibalowoozesezza ebitaliimu?

2 Bakabaka b’e nsi beteeseteese, n’abafuga bateesezza ebigambo wamu,

Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti

3 Katumenyemenye enjegere zaabwe;

Tusuule wala emigwa gyabwe.

4 Atuula mu ggulu  aliseka, Mukama alibaduulira.

5 Mu biro biri alibagamba mu busuungu bwe,

Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:

6 Naye naateeka kabaka wange

Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.

7 Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yangamba nti Ggwe oli mwana wange; Leero nkuzadde.

8Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo,

N’ensonda ez’ensi okubeera amatwale go.

9 Olibimenya n’omuggo ogw’ekyuma;

Olibyasayasa ng’entamu ey’omubuumbi.

10 Kale kaakano mubeere n’amagezi , mmwe bakabaka:

Muyige, mmwe abasala omusango gw’ensi.

11 Muweereze Mukama n’okutya, Era musanyuke n’okukankana.

12 Munywegere  omwana, aleme okusunguwala  nammwe  ne  mubula

Mu kkubo,

Kubanga  obusuungu  bwe  bulibuubuka mangu.

Balina omukisa bonna abamweyuna ye.

Zabbuli 110:1-7

1 Mukama agamba Mukama wange nti

Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,

Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe

y’ebigere byo.

2 Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi go okuva mu sayuuni:

Ggwe fugira wakati mu balabe bo.

3Abantu bo beewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo:

Mu bulungi bw’obutukuvu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo,

Oguva mu lubuto olw’enkya.

4 Mukama yalayira,

 so talyejjusa,

Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna

Ng’engeri ya Merukizeddeki bw’eri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusuungu  bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga,

Alijjuza ebifo emirambo;

Alifumuta omutwe mu nsi nyingi.

7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo:

Kyaliva ayimusa omutwe.

1Abakkolinso 15:23-27

23 Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe. 24 Enkomerero n’eryoka etuuka bw’aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye kitaawe; bw’aliba ng’amaze okujjawo okufuga kwonna n’amaanyi gonna n’obuyinza. 25 Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. 26 Omulabe ow’enkomerero aliggibwawo, kwe kufa.

27 Kubanga kyawandiikibwa nti yassa byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegerekeka ng’oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we.

Abaebulaniya 12:26

Eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu ndinyeenya si nsi yokka, naye n’eggulu.

Okubikkulirwa 21:24

N’amawanga ganatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.

Abafiripi 2:10-11

10 Buli viivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ey’eby’omu ggulu n’eby’oku nsi n’ebya wansi w’ensi, 11 era buli lulimi lwatulenga nga Yesu kristo ye Mukama waffe, Katonda kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Omuwendo ogw’ekkumi (10) mu Bayibuli  ku nsonga  eno gutegeeza:-

 

(a)  Okutegana oba okugezesebwa, Danyeri 1:11-15   }

(b)  Okuyita mu kubonaabona, Okubikkulirwa 2:10    }  Okubikkulirwa 3:10

(c)  Okufuukira ddala ekivume Yobu 19:3                   }

 

Danyeri 1:11-15

11 Danyeri n’alyoka agamba omusigire, omukulu w’abalaawe gwe yafuza Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya: 12 nti okemere abaddu bo ennaku kkumi, nkwegayiridde; batuwenga ebijanjaalo okulya, n’amazzi okunywa. 13Amaaso gaffe galyoke gakeberwe wooli, n’amaaso g’abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka: era nga bw’oliraba, okole bw’otyo eri abadu bo. 14 Awo n’abawulira mu bigambo ebyo, n’abakemera enekku kkumi. 15 Awo ennaku kkumi bwezaggwa, amaaso gaabwe negafaanana bulungi, era bali nga bagezze omubiri, okusinga abavubuka  bonna  abaalyanga  ku  mmere ya kabaka.

Okubikkulirwa 2:10

Totya by’ogeenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu  mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabona ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey’obulamu.

Yobu 19:3

Mwakanvumira emirundi kkumi: Temukwatiddwa nsonyi okunzitoowerera.

Okubikkulirwa 3:10

Kubanga weekuuma ekigambo eky’okugumikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi.

Lwaki Katonda akola ebintu ebiri nga bino?

 

Olw’ensonga zino ettaano (5) :-

  1. Amalala agasukkiridde, obukenuzi n’obusamize n’emize gyonna egy’obugwenyufu.
  2. Abalokole n’abatali balokole balimbiddwa ne bannyagibwa olw’abalala okwekkusa.
  3. Abalokole n’abatali balokole bangi bababuzizza, batabuddwa nga tebesobola na kwawula ani mutuufu, kiki ekituufu, oba Katonda ki omutuufu?
  4. Kubanga abaavu, bannamwandu, bamulekwa, abateyiinza n’abataasoma bannyigiriziddwa nnyo buli we babeera.
  5. Katonda ayagala utereeza oba kuteeka obufuzi bwonna obwa buli ngeri wansi w’obufuzi bw’obwakabaka bwe.

Zabbuli 2:1-12, Zabbuli 110:1-7, Danyeri 7:9-14, Okubikkulirwa 19:15-16 ne Okubikkulirwa 21:24.

Zabbuli 2:1-12

1 Kiki ekibagugumusizza abamawanga, n’abantu kiki ekibalowoozesezza ebitaliimu?

2 Bakabaka b’ensi beeteseteese, N’abafuga batesezza ekigambo wamu ku

Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti

3 Ka tumenyeemenye enjegere zaabwe,

Tusuule wala emigwa gyabwe.

4 Atuula mu ggulu aliseka,

Mukama alibaduulira.

5 Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe,

Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:

6 Naye naateeka kabaka wange

Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.

7 Ekiragiro ndikibuulira;

Mukama yangamba nti gwe oli mwana wange;

Leero nkuzadde.

8 Onsabe nze nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo;

N’ensonda z’ensi okubeera amatwale go.

9 Olibimenya n’omuggo ogw’ekyuma;

Olibyasayasa ng’entamu ey’omubuumbi.

10 Kale kaakano mubeere n’amagezi, mmwe bakabaka:

Muyige, mwe abasala omusango gw’ensi.

11Muweereze Mukama n’okutya,

Era musanyuke n’okukankana.

12 Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo,

Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu,

Balina omukisa bonna abamweyuna  ye.

Zabbuli 110:1-7

1 Mukama agamba Mukama wange nti

Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,

Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe  y’ebigere byo.

2 Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi  go okuva mu Sayuuni:

Ggwe fugira wakati mu balabe bo.

3Abantu bo beewayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo:

Mu bungi bw’obutukuvu, olina omusulo ogw’obovubuka bwo,

Oguva mu lubuto olw’enkya.

4 Mukama yalayira, so talyejjusa, Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna

Ng’engeri ya Merikizeddeeki bw’eri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga, Alijjuza ebifo emirambo;

7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo:

Kyaliva ayimusa omutwe.

Danyeri 7:9-14

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne ba nnamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13 Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwna w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 14 N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga ne nnimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.

 

Okubikkulirwa 19:15-16

15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu  bw’obukambwe bwa Katonda omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’EBAAMI.

Okubikkulirwa 21:24

N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.

 

Engeri y’okuteekawo obufuzi obuggya naddala okusookera mu kkanisa

1.Nga atuma bannabbi okunoonya, okufukako amafuta, okwanjula n’okulangirira abantu oba abaweereza b’alonze. 1 Samwiri 16:1-13

1 Samwiri 16:1-13

1 Awo Mukama n’agamba Samwiri nti olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okubeera kabaka wa Isiraeri?

Jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, naakutuma eri Yese Omubeserekemu: kubanga nerabidde kabaka mu batabani be. 2 Samwiri n’ayogera nti Nnyinza ntya okugenda ? Sawulo bw’alikiwulira, alinzita. Mukama n’ayogera nti twala ente enduusi ogende nayo oyogere  nti Nzize okuwayo ssaddaaka eri Mukama. 3 N’oyita Yese ajje ku ssaddaaka, nange ndikulaga bw’olikola: era olinfukira amafuta ku oyo gwe ndikwaatulira erinnya. 4 Awo Samwiri n’akola ekyo Mukama kye yayogera n’ajja e Besirekemu. Abakadde b’ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana ne boogera nti ozze mirembe? 5 N’ayogera nti mirembe: nzize okuwayo saddaaka eri Mukama: Mwetukuze mujje nange tugende ku ssaddaaka. N’atukuza Yese ne batabani be n’abayita okujja ku ssaddaaka. 6 Awo olwatuuka nga batuuse n’atunuulira Eriyaabu n’ayogera nti mazima Mukama gw’afukako amafuta ali mu maaso ge . 7 Naye Mukama n’agamba Samwiri nti Totunuulira maaso ge Newakubadde embala ye bw’eri empanvu; kubanga  mmugaanyi ; kubanga Mukama talaba ng’abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufanaana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima. 8 Awo Yese n’alyoka ayita Abinadaabu n’amuyisa mu maaso ga Samwiri. N’ayogera nti so n’oyo Mukama tamuloonze. 9 Awo Yese n’ayisaawo Samma. N’ayogera nti so n’oyo Mukama tamuloonze. 10 Yese n’ayisa mu maaso ga Samwiri musanvu ku batabani be Samwiri n’agamba Yese nti Mukama taloonze abo. 11 Samwiri n’agamba Yese nti Abaana bo bonna bali wano? N’ayogera nti Ekyasigaddeyo  omuto era, laba, alunda endiga. Samwiri n’agamba Yese nti Tuma bamukime kubanga tetuutuule okutusa lw’anajja eno. 12 N’atuma n’amuyingiza. Era yali mumyufu n’amaaso ge nga malungi era eyeegombesa okutunuulirwa. Mukama n’ayogera nti Golokoka  omufukeko amafuta: kubanga ye wuuyo, 13 Awo Samwiri n’alyoka addira ejjembe  ery’amafuta, n’amufukako amafuta wakati mu baganda be: omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n’amaanyi okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo. Awo Samwiri  n’agorokoka n’agenda  e Laama.

  1. Nga akozesa okwolesebwa, ebirooto, entegeka, embeera enzibu, okuvvuunula nga engeri y’okutemera ekkubo abo abasobola.

Olubereberye 41:1-6’28-49’53-56.

Olubereberye 41:1-6,28-49,53-56

1 Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Falaawo n’aloota; era, laba, yali ayimiridde ku mugga 2 Era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu ennungi eza ssava; ne ziriira mu lusa. 3 Era, laba, ente endala musanvu ne ziziddirira ne ziva mu mugga, embi enkovvu; ne ziyimirira ku mabbali g’omugga awali ente endala.4 N’ente embi enkovvu ne zirya ente omusanvu ennungi eza ssava. Kale Falaawo n’azuukuka. 5 Ne yebaka n’aloota omulundi ogw’okubiri: era, laba, ebirimba by’engaano musanvu ne bimera ku kiti kimu,ebigimu ebirungi. 6 Era,laba, ebiriimba musanvu ebitono ebikaze n’empewo eze buvanjuba ne bibiddirira ne bimera. 28 Ekyo kye kigambo kye mbulidde Falaawo: Katonda byagenda okukola yabiraga Falaawo. 29 Laba, girijja emyaka musanvu egy’ekyengera ekingi mu nsi yonna ey’e Misiri: 30 Oluvannyuma lw’ebyo giribaawo emyaka musanvu egy’enjala; n’ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey’emisiri; n’enjala erizikiriza ensi; 31 n’ekyengera tekirimanyibwa mu nsi olw’enjala erikiddirira; kubanga eriba nnyingi nnyo. 32 Era kubanga ekirooto kyayongererwa Falaawo emirundi ebiri, kyekyava kyongerwa kubanga ekigambo kinywezebwa  Katonda, era Katonda alikituukiriza mangu. 33 Kale nno Falaawo anoonye omusajja omukabakaba  ow’amagezi, amuwe okufuga ensi ey’eMisiri. 34 Falaawo akole bw’atyo, era assewo abalabirizi ku nsi, atereke ekitundu eky’ekkumi eky’ensi  ey’emisiri mu  myaka  omusanvu egy’ekyengera. 35 Era  bakunganye emmere yonna  ey’emyaka gino emirungi egijja, batereke engaano mu kibuga mu mukono gwa Falaawo, bagikuume. 36 N’emmere eyo eriba eggwanika ery’ensi olw’emyaka omusanvu egy’enjala, egiribaawo mu nsi ey’emisiri; ensi ereme okufa enjala. 37 N’ekigambo ekyo kyali kirungi mu maaso ga Falaawo, ne mu maaso g’abaddu be bonna. 38 Falaawo n’agamba abaddu be  nti tuliyinza okulaba omusajja afaanana ng’oyo, omusajja omuli omwoyo gwa Katonda? 39 Falaawo n’agamba Yusufu nti  kubanga Katonda akulaze ebyo byonna , tewali  mukabakaba era ow’amagezi nga ggwe: 40 gw’olifuga ennyumba yange, era ng’ekigambo kyo bwe kiri abantu bange bonna banaafugibwanga: naye kyokka ku ntebe yange nze naakusinganga ggwe obukulu. 41 Falaawo n’agamba Yusufu nti  laba, nkuwadde okufuga ensi yonna ey’e misiri. 42 Falaawo  neyeenanula empeta ye  ey’akabonero ku ngalo ye, n’anaanika Yusufu ku ngalo ye, n’amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n’ateeka omukufu ogwa zaabu mu bulago bwe. 43 N’amutambuliza mu ggaali ery’okubiri  lye yalina; ne balangira mu maaso ge nti Mufukamire: n’amuwa okufuga ensi yonna ey’e misiri.  44 Falaawo n’agamba Yusufu nti nze ndi Falaawo, era awatali nze tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere kye mu nsi yonna ey’e misiri. 45 Falaawo n’atuuma Yusufu erinnya  Zafenasipaneya: n’amuwa Asenaasi  omwana wa Potefaali kabona owe Oni okumuwasa. Yusufu n’atambula n’abunya ensi ey’e misiri.46 Era Yusufu yali yakamaze emyaka asatu bwe yayimirira mu maaso  ga Falaawo kabaka w’e misiri Yusufu  n’ava eri Falaawo, n’atambula n’abunya  ensi ey’e misiri. 47 Ne mu  myaka  omusanvu  egy’ekyengera  ensi n’ebala emmere  mu bungi. 48 N’akunganya emmere  yonna  ey’emyaka omusanvu  egyabaawo mu nsi ey’e misiri, n’aterekeranga emmere mu kibuga: emmere  ey’omu nnimiro ezaali zeetoolodde buli kibuga, yagiterekeranga  mu ekyo. 49Yusufu n’atereka  engaano  ng’omusenyu ogw’ennyanja,  nnyingi nnyo, okutuusa lwe yaleka okubala; kubanga  teyabalika.

53-56

53 Emyaka musanvu egy’ekyengera egyabaawo mu nsi ey’e misiri  ne giggwaako.54 Emyaka omusanvu egy’enjala  ne gitanula okujja, nga Yusufu bwe y’ayogera; enjala n’egwa mu nsi zonna;  naye mu nsi yonna ey’e misiri emmere nga mweri. 55 Era ensi yonna ey’e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw’emmere: Falaawo n’agamba abamisiri nti mugendenga eri Yusufu; by’anabagambanga  mukolenga bwe mutyo. 56 Enjala n’ebuna ensi zonna: Yusufu n’aggulawo amawanika gonna, n’aguzanga Abamisiri; enjala n’eba nnyingi mu nsi ey’e Misiri.

  1. Nga alonda era ng’atendeka abaweereza abeetowaze abaggya b’anazza mu bifo. Eseza 1, 2

 

 

Eseza 1:1-22

1Awo olwatuuka ku mirembe gya Akaswero ( ye Akaswero oyo  eyafuga okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopiya, amasaza kikumi mu amakumi abiri mu musanvu.) 2 awo ku mirembe egyo, Kabaka Akaswero bwe yatuula ku ntebe  y’obwakabaka bwe  eyali mu lubiri lw’e  Susani, 3 mu mwaka ogw’okusatu ogw’okufuga kwe y’afumbira embaga abakungu be bonna  n’abaddu be;  Obuyinza bw’e Buperusi n’e Bumeedi, abakungu  n’abakulu b’amasaza  nga bali mu maaso ge : 4 n’ayolesebwa ennaku nnyingi  obugagga obw’obwakabaka bwe obw’ekitiibwa n’ettendo ery’obukulu bwe obutasingika, ennaku kikumi mu kinaana. 5 Awo ennaku bwe zaatuukirira, kabaka n’afumbira embaga abantu bonna abaali bali awo mu lubiri  lw’e Susani, abakulu n’abato, ennaku musanvu, mu luggya olw’olusuku olw’olubiri lwa kabaka : 6 waaliwo ebitiimbe eby’engoye  olweru n’olwa nnawandagala  n’olwa kaniki , nga bisibiddwa n’emigwa  egya bafuta ennungi n’olweffulungu  n’empeta eza ffeeza n’empagi ez’amayinja aganyirira: ebitanda byali bya zaabu ne ffeeza ku mayinja amaariire aganyirira, amamyufu n’ameeru  n’agakyenvu n’amaddugavu. 7 Ne  babanywesa mu bintu ebya zaabu, ( ebintu nga tebifaanana byokka na byokka,)  n’omwenge ogwa kabaka  mungi nnyo, ng’obugabi bwa kabaka bwe bwali. 8 N’okunywa ne kuba ng’amateeka bwe gali; nga tewali ayinza okuwaliriza: kubanga kabaka bwe yali alagidde bw’atyo abaami bonna ab’omu nnyumba ye bakolenga buli muntu nga bw’ayagala. 9 Ne Vasuti Kaddulubaale  n’afumbira abakazi embaga  mu nnyumba ya kabaka, eya kabaka Akaswero . 10 Awo ku lunaku olw’omusanvu, omwoyo gwa kabaka  bwe gwa sanyuka olw’omwenge, n’alagira Mekumani ne Kalubona ne Bigusa ne Abagusa ne Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaweerezanga  mu maaso ga Akaswero Kabaka. 11Okuleeta Vasuti Kaddulubaale mu maaso ga Kabaka  ng’atikkidde engule ey’obwakabaka okwolesa  amawanga n’abakungu obulungi bwe: kubanga yali mulungi  okutunuulira. 12 Naye Kaddulubaale Vasuti n’agaana okujja  olw’ekiragiro kya kabaka bwe yamulagiriza  abalaawe: kabaka kyeyava asunguwala  ennyo, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu ye. 13 Awo kabaka n’agamba abagezi abaategeera ebiro, ( kubanga eyo ye yali empisa ya kabaka  eri bonna abaamanya amateeka n’emisango; 14 ne Kalusena ne Sesali ne Adumaasa ne Talusiisi ne Meresi ne Malusema ne Memukani, abakungu musanvu ab’e Buperusi n’e Bumeedi, abaalabanga amaaso ga kabaka  era abatuulanga ku ntebe ez’okumwanjo mu bwakabaka , abo ne ba muddirira:) 15 nti tunakola tutya  Kaddulubaale vasuti ng’amateeka bwe gali, kubanga takoze ekyo kabaka  Akaswero ky’amulagirizza abalaawe? 16 Awo Memukani n’addamu mu maaso ga kabaka  n’abakungu nti Vasuti Kaddulubaale tayonoonye kabaka yekka era naye n’abakungu bonna n’amawanga gonna agali mu masaza gonna aga Kabaka Akaswero. 17 Kubanga ekikolwa kino ekya Kaddulubaale kiryaatiikirira mu bakazi bonna okunyoomesanga ba bbabwe mu maaso gaabwe bwe kinabuulirwanga nti Kabaka Akaswero yalagira Vasuti kaddulubaale okuletebwa   mu maaso ge naye n’atajja. 18 Awo ku lunaku luno abakyala ab’e Buperusi ne Bumeedi abawulidde ekikolwa kya kaddulubaale banaagamba bwe batyo abakungu bonna ab’akabaka. Kale walibaawo okunnyooma kungi n’obusuungu. 19 Kabaka bw’anaasiima bw’atyo, alaalike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Baperusi n’Abameedi era kireme okuwanyisibwa, Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga kabaka Akaswero; era n’obukulu bwe obwa kaddulubaale kabaka abuwe  omulala amusiinga obulungi. 20 Awo bwe banaalaalika etteeka lya kabaka ly’a nateeka okubunya obwakabaka bwe bwonna, ( kubanga bunene, ) kale abakazi bonna banassangamu ekitiibwa ba bbaabwe, abakulu n’abato. 21 Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka n’abalangira; Kabaka n’akola ng’ekigambo kya Memukani bwe kyali: 22 kubanga yaweereza ebbaluwa mu masaza gonna aga kabaka, mu buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, na buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali, na buli musajja afugenga mu nnyumba ye, era akiralike ng’olulimi lw’abantu be bwe lwali.

Eseza 2:1-23

1 Awo oluvannyuma lw’ebyo, obusungu bwa kabaka Akaswero bwe bwa kakkana, n’alyoka ajjukira Vasuti n’ekyo kye yakola n’ekyo ekyateekebwa  eri ye. 2 Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti Banonyeze kabaka abawala abato abalungi abatamanyi musajja: 3 era kabaka atekewo abaami mu masaza  gonna ag’omu bwakabaka bwe, bakunganyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba  y’abakazi, mu mukono gwa Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w’abakazi; era ebintu byabwe eby’okuloongosebwa babiweebwe: 4 awo omuwala kabaka gw’alisiima abe Kaddulubaale mu kifo kya Vasuti. Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; n’akola bw’atyo. 5 Waaliwo omuyudaaya mu Susani mu lubiri, erinnya lye Moluddekaayi Mutabani wa Yayiri Mutabani wa Simeeyi Mutabani wa Kiisi Omubenyamini; 6 eyaggibwa mu Yerusaalemi wamu n’abasibe abaatwalirwa awamu ne  Yekoniya  kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni gwe yatwala. 7 N’alera Kadassa, ye Eseza muwala wa kitaawe omuto: kubanga teyalina kitaawa newakubadde nnyina, era omuwala oyo yali mulungi nnyo; awo nnyina ne kitaawe bwe baafa, Moluddekaayi n’amutwala okuba omwana we ye. 8 Awo olwatuuka ekiragiro kya kabaka  n’etteeka lye bwe byawulirwa, n’abawala bangi nga bakunganidde e Ssusani mu lubiri mu mukono gwa Kegayi , awo Eseza n’atwalibwa mu nnyumba ya kabaka mu mukono gwa Kegayi omukuumi w’abakazi. 9 Awo omuwala oyo n’amusanyusa, n’afuna ekisa eri ye; n’ayanguwa okumuwa ebintu bye eby’okuloongosa wamu n’emigabo gye  n’abawala  omusanvu abaagwanira okubamuwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka: n’amujjulula ye n’abawala be n’abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba y’abakazi. 10 Eseza yali tategeezanga abantu bwe baali newakubadde ekika kye: kubanga Moluddekaayi yali amukuutidde obutakitegeeza. 11 Era Moluddekaayi n’atambuliranga buli lunaku  mu maaso g’oluggya lw’ennyumba y’abakazi, okumanya Eseza bw’ali, era ky’alibeera. 12 Awo oluwalo olwa buli muwala bwe lwajja okuyingira eri kabaka Akaswero, ng’amaze okukolerwa ng’etteeka ly’abakazi bwe liri emyezi kkumi n’ebiri, ( kubanga ennaku ez’okuloongosa kwabwe zatuuliriranga bwe zityo, emyezi mukaaga amafuta ag’omugavu, n’emyezi mukaaga eby’akaloosa n’ebintu eby’okuloongoosa abakazi,) 13 kale bw’atyo omuwala nalyoka ajja eri kabaka kyonna  kye yayagala n’akiweebwa okugenda naye ng’ava mu nnyumba ey’abakazi ng’agenda mu nnyumba  ya Kabaka. 14 Yagenda akawungeezi n’akomawo enkya mu nnyumba ey’abakazi ey’okubiri mu mukono gwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana: teyayingira nate eri kabaka,  wabula nga kabaka amusanyukidde  era nga ayitiddwa n’erinnya. 15 Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe  wa Moluddekaayi omuto eyamutwala okuba omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyariiko kyeyetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe  wa kabaka, omukuumi w’abakazi, bye yalagira. Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna  abamutunuulira. 16 Awo Eseza n’atwalibwa  eri  kabaka  Akaswero mu nnyumba ye eya kabaka mu mwezi ogw’ekkumi, gwe mwezi Tebesi mu mwaka ogw’omusanvu ogw’okufuga kwe. 17 Awo kabaka n’ayagala Eseza  okusinga abakazi bonna, n’alaba ekisa n’okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna: n’okuteeka n’ateeka engule ey’obwakabaka ku mutwe gwe n’amufuula kaddulubaale mu kifo kya Vasuti. 18 Awo kabaka n’alyoka afumbira  abakungu be bonna  n’abaddu be embaga  enkulu, embaga ya Eseza; n’awa amasaza  okusonyiyibwa, n’agaba ebirabo,  ng’obugabi bwa Kabaka bwe bwali. 19 Awo abawala bwe baali bakungaanye  omulundi ogw’okubiri, awo Moluddekaayi n’atuula mu mulyango gwa kabaka. 20 Eseza yali tategeezanga ekika kye bwe kyali newakubadde abantu be; nga Moluddekaayi bwe yamukuutira:  kubanga Eseza yakola ekiragiro kya Moluddekaayi nga bwe yakolanga bwe yali ng’akyamulera. 21 Awo mu biro ebyo, Moluddekaayi ng’atudde mu mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka,  Bigusani ne Teresi, ku abo abaakumanga oluggi, ne basunguwala ne bagezaako okukwata kabaka Akaswero. 22 Awo ekigambo ekyo ne kimanyibwa Moluddekaayi n’akibuulira Eseza kaddulubaale; Eseza n’abuulira kabaka mu linnya lya Moluddekaayi. 23 Awo ekigambo ekyo bwe bakikenneenya, ne kirabika nga bwe kyali bwe kityo, bombi ne bawanikibwa ku muti : awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo ebya buli lunaku mu maaso ga kabaka.

  1. Nga avuunika, avuunika, avuunika ( okutabulwa ) nga atikkula era nga atikkira engule abantu abatuufu mu bifo byabwe. Ezeekyeri 21:26-27

Ezeekyeri 21:26-27

26 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Ggyawo enkufiira otikkule engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikkakkanye, okkakkanye ebigulumizibwa. 27 Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n’ekyo tekiriba nate, okutuusa  nnyini  kyo lw’alijja, era ndikimuwa.

  1. 5. Nga aleeta abaalemererwa okwegatta, okubayamba, nabo okukolera wansi w’amafuta n’okukola endagaano okuweereza n’abo ab’amaanyi n’okubalaga eky’okukola okuyita mu kigambo kya Katonda. Ekyabalamuzi 11:1-11, 2 Samwiri 2:1-4, 2 Samwiri 5:1-5, 1 Ebyomumirembe 12:14-18

Ekyabalamuzi 11:1-11

1Era Yefusa omugereyaadi yali musajja w’amaanyi muzira, era  yali mwana w’omwenzi: Gireyaadi ye yazaala Yefusa. 2 Omukazi ow’e Gireyaadi n’amuzaalira abaana  ab’obulenzi; abaana ba mukazi we bwe baakula, ne bagoba Yefusa, ne bamugamba nti Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw’oli mwana wa mukazi mulala. 3 Awo Yefusa n’alyoka adduka baganda be,  n’abeera mu nsi ye Tobu: abasajja abataliiko kye bagasa  ne bakungaana  eri Yefusa, ne batabaalanga naye. 4 Awo olwatuuka ekiseera bwe kyayitawo  abaana ba Amoni  ne balwana ne Isiraeri. 5 Awo olwatuuka  abaana ba Amoni bwe baalwana ne Isiraeri, abakadde abe  Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa okumujja mu nsi y’e Tobu: 6 ne bagamba Yefusa nti Jjangu  obeere  omukulu waffe, tulwane n’abaana ba Amoni. 7 Yefusa n’abagamba abakadde abe Gireyaadi  nti Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange ? kale ekibaleese gye ndi kaakano kiki nga muli mu nnaku? 8 Abakadde abe Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti kyetuvudde  tukukyukira nate  kaakano ogende naffe olwane n’abaana ba Amoni, naawe oliba mukulu waffe afuga bonna abatuula mu Gireyaadi. 9 Yefusa n’agamba abakadde  abe  Gireyaadi nti bwe mulinkomyawo  ewaffe okulwana n’abaana ba Amoni  Mukama n’abagabula  mu maaso gange, ndiba mukulu wammwe? 10 Abakadde abe Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti  Mukama ye anabanga omujulirwa wakati waffe; mazima ng’ekigambo kyo bwe kiriba bwe tulikola bwe tutyo. 11 Awo Yefusa n’alyoka  agenda Nabakadde ab’e Gireyaadi, abantu ne bamufuula  omukulu wabwe abafuga: Yefusa n’ayogera ebigambo bye byonna  mu maaso ga Mukama mu Mizupa.

2 Samwiri 2:1-4

1Awo olwatuuka  oluvannyuma  lw’ebyo  Dawudi  n’abuuza  Mukama ng’ayogera nti  nyambuke  mu kyonna ku bibuga bya Yuda?  Mukama n’amugamba nti yambuka. Dawudi n’ayogera nti  Naayambuka wa? N’ayogera nti e Kebbulooni. 2 Awo Dawudi n’ayambukayo, era ne bakazi be bombi, Akinoamu  Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi  wa Nabali omukalumeeri. 3 N’abasajja be abaali  naye  n’abambusa, buli muntu n’abomu  nnyumba ye : ne babeera mu bibuga  eby’omu Kebbulooni. 4 Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira amafuta eyo ku Dawudi akuba kabaka  w’ennyumba  ya Yuda.

2 Samwiri 5:1-5

1Awo ebika byonna ebya Isiraeri  ne bajja  eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti laba, tuli magumba go  era mubiri gwo 2 Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka  waffe, gwe  wafulumya n’oyingiza Isiraeri: Mukama n’akugamba nti Ggwe olilunda abantu bange  Isiraeri, era ggwe oliba omukulu wa Isiraeri. 3 Awo Abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja  eri kabaka e Kebbulooni;  kabaka Dawudi  n’alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama: ne bamufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri. 4 Dawudi yali yakamaze emyaka asatu bwe yatanula  okufuga, n’afugira  emyaka  ana. 5 Yafugira Yuda e Kebulooni  emyaka musanvu  ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi yafugira  Isiraeri yenna ne Yuda emyaka  asatu mu esatu.

1 Ebyomumirembe 12:14-18

14 Abo ab’oku baana ba Gaadi be baali abakulu b’eggye;  omuto nga yenkana ekikumi,  n’omukulu nga  y’enkana  olukumi. 15 Abo be basomoka Yoludaani mu mwezi ogw’olubereberye, nga gumaze okwanjaala ku ttale lyagwo lyonna: ne bagoba abo bonna  ab’omu  biwoonvu, ebuvanjuba era n’ebugwanjuba. 16 Awo ku baana ba Benyamini ne Yuda ne  kujja mu kiddukiro eri Dawudi.17  Dawudi n’afuluma okubasisinkana, n’addamu n’abagamba  nti oba nga muzze gye ndi mirembe  okunnyamba,  omutima gwange gunegatta  nammwe : naye oba nga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, nga tewali kabi mu mikono gyange, Katonda wa bajjajjaffe akitunuulire, akinenye. 18 Awo  omwoyo  ne gulyoka  gujja ku Amasaayi, eyali omukulu w’abo  amakumi asatu, n’ayogera nti Tuli babo, Dawudi, era tuli ku lulwo, ggwe mutabani wa Yese: emirembe, gibe gyoli , era emirembe gibe eri abo abakuyamba; kubanga Katonda wo akuyamba. Awo Dawudi n’abaaniriza, n’abafuula abaami b’ebitongole.  

  1. Nga aleeta abo ababadde beeyita ab’amanyi so nga balimba era kungaaniro lya Sitaani, okwewaayo, okwenenya era  nga basinziza mu maaso  g’ebigere  by’abaweereza  abatuufu. Okubikkulirwa  3:7-11

Okubikkkulirwa 3:7-11

7 Era  eri malayika  ow’ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti Bw’ati bw’ayogera oyo omutukuvu, ow’amazima alina ekisumuluzo kya Dawudi , aggulawo , so tewali muntu aliggalawo, aggalawo so tewali muntu aliggulawo, 8 nti mmanyi ebikolwa byo ( laba, nateeka mu maaso go oluggi olugguddwawo, omuntu yenna lw’atayinza kuggalawo) ng’olina amaanyi matono, n’okwata ekigambo kyange  so tewegaana linnya lyange. 9 Laba, ngaba ab’omu kungaaniro  lya setaani ab’eyita Abayudaaya, so , si bo naye baliimba; laba, ndibaleeta okujja okusinza mu maaso g’ebigere byo, era ndibamanyisa nga  nnakwagala.

10 Kubanga w’ekuuma ekigambo ky’okugumikiriza kwange, era nange ndikukuuma  obutayingira mu kiseera eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi. 11 Njija mangu: nyweza ky’olina, omuntu yenna aleme okutwala  engule yo.

  1. Nga akozesa abantu abalala okujjukira abantu oba abaweereza abatuufu, olw’ebyo bye baakola mu buweereza , okuweebwa ekitiibwa oba okuttikirwa engule. Eseza 6:1-11

Eseza 6:1-11

1 Awo mu kiro ekyo kabaka n’atayinza  kwebaka;  n’alagira okureeta ekitabo ekijjukiza  eky’ebigambo  ebya buli lunaku, ne babisomera mu maaso ga kabaka. 2 Awo ne basanga nga kiwandiikiddwa  nga Moluddekayi  yabulira ebigambo bya Bigusaani ne Teresi, babiri ku balaawe ba kabaka ku abo abakuumanga oluggi, abageezaako okukwata kabaka Akaswero. 3 Awo kabaka n’ayogera nti kitiibwa ki era bukulu ki Moluddekaayi bwe yaweebwa  olw’ekyo?  Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti Tewali kintu ky’awereddwa. 4 Awo kabaka n’ayogera nti Ani ali mu luggya? Kale Kamani yali atuuse mu luggya olw’ebweeru olw’oku nnyumba ya kabaka, okwogera ne kabaka  okuwanika Moluddekaayi ku kittikiro kye yali amusiimbidde . 5 Awo abaddu ba kabaka ne bamugamba nti laba, Kamani ayimiridde mu luggya. Kabaka n’ayogera nti ayingire. 6 Awo Kamani n’ayingira . Kabaka n’amugamba  nti omusajja kabaka gw’asanyukira  okumussaamu ekitiibwa anaakolebwa ki? Awo Kamani n’ayogera mu mutima gwe nti Ani kabaka gwe yandisannyukidde okumussaamu ekitiibwa okukira nze ? 7 Awo Kamani n’agamba kabaka nti omusajja kabaka gw’asanyukira okumussaamu ekitiibwa,  8 baleete ebyambalo bya kabaka, kabaka by’ayambala, n’embalaasi kabaka gye yebagala  era attikirwe engule ey’obwakabaka: 9 bawe ebyambalo n’embalaasi mu mukono gw’omu ku bakungu  ba kabaka abasinga ekitiibwa, bambaze n’ebyo omusajja kabaka gw’asanyukira okumussaamu ekitiibwa, era bamwebagaze embalaasi okuyita mu luguudo  olw’ekibuga, era balangirire mu maaso ge nti  Bw’atyo bw’anakolebwa  omusajja kabaka gw’asanyukira okumussaamu ekitiibwa. 10 Awo kabaka n’agamba Kamani nti Yanguwa oddire ebyambalo  n’embalaasi  nga bw’oyogedde, Okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka: waleme okubulako n’ekimu  ku ebyo byonna by’ogedde. 11 Awo Kamani n’addira ebyambalo n’embalaasi, n’ayambaza Moluddekayi, n’amwebagaza okuyita mu luguudo lw’ekibuga n’alangirira mu maaso ge  nti Bw’atyo bw’anakolebwa  omusajja kabaka gw’asanyukira  okumussaamu ekitiibwa.

Danyeri 2:47-49

47 Kabaka n’addamu Danyeri n’ayogera nti Mukama Katonda  wammwe ye Kabaka wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka, era ye mubikkuzi w’ebyama, kubanga oyinzizza okubikkulira ekyama ekyo . 48 Kabaka n’alyoka afuula  Danyeri okuba omukulu , n’amuwa abirabo bingi  ebinene, n’amuwa okufuga  essaza lyonna ery’e Babulooni, era okuba omwami omukulu ow’abagezigezi bonna ab’e Babulooni. 49 Danyeri n’asaba kabaka, n’akuza Saddulaki, Mesaki ne Abeduneego, mu bigambo  eby’essaza ery’e Babulooni: naye Danyeri n’abeera  mu wankaaki  wa kabaka.

  1. Nga akozesa abakulembeze okuyimusa n’okukuza abazibizi, ab’amaanyi mu ku kkiriza, abatekkiriranya era abeesigwa mu bwakabaka bwa Katonda . Danyeri 3: 29-30

Danyeri 3: 29-30

29 Kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n’eggwanga, n,olulimi  abanayoogeranga obubi bwonna  ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, balitemebwatemebwa, n’ennyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo : kubanga tewali katonda  mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo. 30 Kabaka n’alyoka  akuza Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, mu ssaza ery’e Babulooni.

 

Kiki  ky’olina okukola nga omuntu sekkinnoomu?

Nga sekinnoomu weetaga mu buntu  okulembeka oba okusisinkna  n’amaanyi era n’amafuta ag’omulembe, okusimbibwa, okukulakulana, obumu n’obutebenkevu bw’omwoyo  n’omubiri okuyita mu nnono ssatu (3)

OLUGERO

 

Lwali lumu waaliwo kabaka  eyalina mutabani  we eyali omuvubi  omulungi n’agenda ku nnyanja okuvuba, abantu ne bajja gyali, omu yali nga mugezi n’omulala nga musirusiru; omusiru bulijjo yayagalanga  nyo okumuwa  eky’ennyanja  era nga aweebwa ; ate omugezi yayagalanga nnyo  okuyiga okuvuba  ebyennyanja era n’ayiga .

Lwali lumu omulenzi n’agenda ; kale omusirusiru n’alumwa enjala era n’ayavuwala nnyo. Naye omugezi ne yeeyongeranga  okuvuba eby’ennyanja  n’agaggawala nnyo era n’akulakulana nnyo.

 

Ennono ziri ezayogeddwako okusooka essatu (3) zinywezeddwa mu musaayi gwa Yesu Kristo ne mu maanyi ag’omwoyo omutukuvu, nga ekisumuluzo ekitandika omulembe omuggya okuyita mu buweereza buno: era zaabo bokka  abawoombeefu oba abeetowaze  abassamu Katonda ekitiibwa oba abayinza okumunoonya  olw’ebyama ebyakisibwa  oba ebikisiddwa.

 

 

Ennono essatu ze zino:

 

1.Ensigo: okuviira ddala ku ntobo y’omutima oba okuwa nga bw’omaliridde olw’okweyongera yongera n’okwerula emikisa mu byonna. 2 Abakkolinso 9:5-11

 

2Abakkolinso 9;5-11

5Kyenvudde ndaba nga kingwanidde okwegayirira ab’oluganda, bankulembere okujja gye muli, basooke balongoose omukisa gwammwe gwe mwasubiza edda , gulyoke gweteeketeeke, ng’omukisa,so si ng’ekisoloozebwa.

6 Naye kyenjogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi alikungula nnyingi. 7 Buli muntu akolenga nga bw’amaliridde  mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw’okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’e ssanyu.8 era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna  gye muli: mmwe   nga mulina ebibamala  byonna ennaku zonna, mu bigambo byonna  mulyoke musukkirirenga mu bikolwa  byonna ebirungi: 9 nga bwe kyawandiikibwa nti

Yasaasaanya, yagabira abaavu;

Obutuukirivu bwe  bwa lubeerera emirembe gyonna.

10 Era oyo awa ensigo omusizi n’emmere ey’okulya, anaabawanga anaabongerangako ensigo zammwe, era an’ayazanga ebibala eby’obutuukirivu bwammwe: 11 nga mugaggawazibwa mu byonna  mukolenga obugabi bwonna , obwebazisa Katonda mu ffe.

 

2.Ekibereberye: oba ekyo ekisoose mu ngalo zo amangu nga otegedde ensonga eno, olw’okusimbibwa mu buweereza bw’omulembe omuggya. Engero 3:9-10

 

Engero 3:9-10

9 Ossangamu Mukama ekitiibwa  n’ebintu byo,

N’ebibereberye ku bibala byo byonna:

10 Amawanika go bwe ganajjulanga  bwe gatyo ekyengera,

Namasogolero go ganayiikanga omwenge omusu.

 

3.Ennaku musanvu (7) ez’okusiiba n’okusaba essaawa (12) buli lunaku:

Okuweebwa amaanyi n’obusobozi mu bujjuvu; okuweereza obulungi mu ngeri ennungamu, mu butukuvu ne mu butuukirivu  mu linnya lya Yesu Kristo: mu maanyi ag’omwoyo omutukuvu n’amafuta. Zabbuli 96:4-13.

 

Zabbuli 96:4-13

4 Kubanga Mukama Mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo:

Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna.

5 Kubanga ba katonda bonna ab’amawanga bye bifaananyi:

Naye Mukama ye yakola eggulu.

6 Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge:

Amaanyi n’obulungi biri mu watukuvu we.

7 Mumuwe Mukama, mmwe  ebika eby’amawanga,

Mumuwe Mukama  ekitiibwa n’amaanyi.

8 Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye:

Muleete ssaddaka, mujje mu mpya ze.

9 Kale mumusinze  Mukama mu bulungi  obw’obutuukirivu.

Mukankane mumaaso ge, mmwe ensi zonna.

10 Mwogerere mu mawanga nti Mukama afuga:

Era n’ensi enyweera n’okuyinza n’eteyinza kusagaasagana:

Alisalira amawanga emisango egy’ensonga.

11 Eggulu lisanyuke, era n’ensi ejaguze;

Ennyanja ewuume, n’okujjula kwayo;

12 Ennimiro ejaguze, n’ebigirimu byonna;

Emiti gyonna egy’omukibira ne giryoka giyimba olw’essanyu;

13 Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja;

Kubanga ajja okusalira ensi emisango:

Alisalira ensi emisango egy’ensonga,

Aliramula amawanga n’amazima ge.

 

Ennaku  omusanvu (7) ez’okusaba n’okusiiba z’amaanyi n’amafuta.

 

1.Amanyi n’amafuta agakuteekateeka okugenda okusisinkana be wasobya  okutabagana nabo. Olubereberye 33:3-4, Matayo 5:23

 

Olubereberye 33:3-4

3 Naye ye yennyini n’akulembera mu maaso gaabwe, n’avuunama emirundi  musanvu, okutuusa lwe yasemberera muganda we. 4 Esawu n’addukana mbiro okumusisinkana, n’amukwata mu ngalo , n’amugwa mu kifuba, n’amunywegera: ne bakaaba amaziga.

 

Matato 5:23-24

23 Kale bw’obanga oleese ssaddaaka yo ku Kyoto, bw’oyima eyo n’omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, 24 leka awo ssaddaaka yo mu maaso g’ekyoto, oddeyo, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.

 

2.Amaanyi n’amafuta okukyuka mu mwoyo ne mu mubiri. Okubala 12:14, 2 Bassekabaka 5:1-19.

 

Okubala 12:14

Mukama n’agamba Musa nti Kitaawe singa amuwandidde amalusu obulusu mu maaso, ensonyi tezandimukwatidde enakku musanvu? Asibirwe ebweru w’olusiisira  ennaku musanvu, kale oluvannyuma alyoke ayingizibwe nate.

 

 

2 Bassekabaka 5:1-19

1 Awo Naamani omukulu w’eggye lya Kabaka w’e Busuuli yali musajja mukulu eri mukama we era wa kitiibwa, kubanga ku bw’oyo Mukama yali awadde o Busuuli okuwangula: era musajja w’amaanyi muzira, naye yali mugenge. 2 Awo abasuuli baali batabadde bibiina, ne bajja mu nsi ya Isiraeri omuwala omuto; awo n’aweerezanga muka Naamani. 3 Awo n’agamba mugole we nti singa mukama wange ali ne nnabbi ali mu Samaliya ;  kale yandiwonye ebigenge bye. 4 Awo newaba ayingira n’abuulira mukama we nti bw’ati bwati  bw’ayogedde omuwala ow’omu nsi ya Isiraeri. 5 Awo kabaka w’e Busuuli n’ayogera nti kale nno nnaweereza kabaka wa Isiraeri ebbaluwa. N’agenda n’atwala ttalanta kkumi eza ffeeza n’ebitundu kakaaga ebya zaabu n’emiteeko gy’ebyambalo kkumi. 6 N’aletera kabaka wa Isiraeri ebbaluwa ng’ayogera nti kale nno ebbaluwa eno bw’eriba ng’etuuse gy’oli, laba, nkutumidde Naamani  omuddu wange omuwonye ebigenge bye. 7 Awo olwatuuka kabaka  wa Isiraeri bwe yasoma ebbaluwa, n’ayuza ebyambalo bye n’ayogera nti Nze Katonda nzite era nnamye, omusajja ono n’okutuma n’antumira okuwonya omuntu ebigenge bye? Naye mulowooze, mbegayiridde, mutegeere bw’anoonya ky’anannanga  okuyomba nange. 8 Awo olwatuuka Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nga kabaka wa Isiraeri ayuzizza eyambalo bye  n’atumira kabaka ng’ayogera nti Lwaki okuyuza ebyamnalo byo?  Ajje no gye ndi, kale anaamanya nga mu Isiraeri mulimu nnabbi. 9 Awo Naamani n’ajja n’embalaasi ze n’amagaali ge, n’ayimirira ku luggi lw’ennyumba ya Erisa. 10 Erisa n’amutumira omubaka ng’ayogera nti Genda onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, kale omubiri gwo gulidda gy’oli, naawe oliba mulongoofu. 11 Naye Naamani n’asunguwala, ne y’eddirayo n’ayogera nti Laba, mbadde ngamba nti taleme kufuluma gy’endi n’ayimirira n’asaba erinnya lya Mukuma Katonda  we n’ayisayisa engalo awali ekifo, n’awonya omugenge. 12 Abana ne Falufaali emigga egy’e Damasiko tegisiinga bulungi amazzi gonna aga Isiraeri? Siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu? Awo n’akyuka n’agenda nga aliko ekiruyi. 13 Awo abaddu be ne basembera ne boogera naye nti kitange, nnabbi singa akulagidde  okukola ekigambo ekikulu, tewandikikoze? Kale toosinge nnyo bw’akugambye nti naaba obe mulongoofu? 14 Awo n’aserengeta ne yennyika mu Yoludaani emirundi musanvu ng’ekigambo bwe kyaali eky’omusajja wa Katonda: omubiri gwe ne gudda  nate ng’omubiri gw’omwana omuto, n’aba mulongoofu. 15 Awo n’addayo eri omusajja wa Katonda, ye n’ekiibiina kye kyonna, n’ajja n’ayimirira mu maaso ge: n’ayogera nti laba nno ntegedde nga tewali Kayonda mu nsi zonna wabula mu Isiraeri: kale nno nkwegayiridde, toola ekirabo ku muddu wo. 16 Naye n’ayogera nti nga Mukama bw’ali omalamu  gwe nnyimirira mu maaso ge, siitole kyonna. N’amutayirira okukitoola ; naye n’agaana. 17 Awo Naamani n’ayogera nti oba tootoole, naye nkwegayiridde omuddu wo aweebwe ettaka ery’etikkibwa n’ ennyumbu bbiri; kubanga omuddu wo takyawaayo okuva leero abiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka eri bakatonda abalala wabula eri Mukama.18 Mukama asonyiwe omuddu wo mu kigambo kino; mukama wange bw’anaayingiranga mu kiggwa kya Limmoni okusinzizaayo ne yeesigama ku mukono  gwange ne nkutama mu kiggwa kya Limmoni, bwe nnakutamanga mu kiggwa kya Limmoni, Mukama asonyiwenga omuddu wo mu kigambo ekyo. 19 N’amugamba nti Genda mirembe. Awo ne baawukana  n’atambulako akabanga.

 

3.Amaanyi n’amafuta okuwangula abalabe bo n’okuddukira mu makubo musanvu. Ekyamateeka 28:7

 

Ekyamateeka 28:7

Mukama anaakubiranga mu maaso go  abalabe bo abakugolokokerako: banaafulumanga okukutabaala mu kkubo limu, ne baddukiranga  mu maaso go  mu makubo musanvu.

 

4.Amaanyi n’amafuta okukutegekera  n’okukuteekera mu nkola olw’obusika bwo. Ezera 7:14-18, Yeremiya 29:11

 

Ezera 7:14-18

14 Kubanga otumiddwa kabaka  n’abateesa naye  omusanvu okubuuza ebigambo bya Yuda ne Yerusaalemi, ng’amateeka bwe gali aga Katonda wo agali mu mukono gwo; 15 n’okutwaala ffeeza ne zaabu kabaka n’abateesa naye gye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isiraeri, ekifo kye ky’abeeramu kiri mu Yerusaalemi, 16 ne ffeeza yonna ne zaabu gy’olisanga mu ssaza lyonna ery’e Babulooni, wamu n’ekiweebwayo ku bwabwe eky’abantu n’ekya bakabona, nga bawaayo ku bwabwe olw’ennyumba ya Katonda wabwe eri mu Yerusaalemi; 17 kyoliva onyiikira ennyo okugula ebintu bino  ente, endiga ennume, abaana b’endiga, n’ebiweebwayo byakyo eby’obutta, n’ebiweebwayo  byakyo eby’okunywa, era olibiweerayo ku Kyoto eky’omu nnyumba ya Katonda wammwe eri mu Yerusaalemi. 18 Era kyonna kyonna kyemulisiima okukola  effeeza eriffikkawo ne zaabu ggwe ne baganda bo, ekyo mukikolanga nga Katonda wammwe bw’ayagala.

 

Yeremiya 29:11

Kubanga mmanyi ebirowoozo by’endowooza gye muli, bw’ayogera Mukama, ebirowoozo eby’emirembe sso si bya bubi, okubawa okusuubira enkomerero yammwe ey’oluvannyuma.

 

5.Amaanyi n’amafuta okukomyaawo ebintu, obugagga, abaana, amaka, obukulembeze,ebifo, yafeesi n’ebirala. 1Samwiri 6:1-16

 

1Samwiri 6:1-16

1 Awo essanduuko ya Mukama yamala emyezi musanvu ng’eri mu nsi ey’Abafirisuuti . 2 Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona  n’abafumu, nga boogera nti tunakola tutya essanduuko ya Mukama? tutegeeze bwe tuba tugiweereza okugenda mu kifo kyayo. 3 Ne boogera nti bwe munasindika essanduuko ya Katonda  wa Isiraeri okugenda, Temugisindika njereere, naye temulema kumuweereza  ekiweebwayo olw’omusango: ne mulyoka muwona, era kiritegeerwa mmwe ekirobera  okubaggyako omukono gwe. 4 Awo ne boogera nti ekiweebwayo olw’omusango kyetuliweereza  kiriba ki? Ne boogera nti Ebiziimba ebya zaabu bitaano n’emisonso egya zaabu etaano, ng’abaami b’abafirisuuti bwe benkana omuwendo: kubanga ekibonoobono  ekimu kyali ku mmwe mwenna ne  ku baami               bammwe. 5 Kyemunaava mw’ekolera  ebifaananyi by’ebizimba byammwe n’ebifaananyi by’e misonso gyammwe egyonoona ensi; era muliwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri: mpozzi aliggya omukuno gwe ku mmwe  ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe. 6 Kale mukakanyaliza ki emitima gyamwe, nga Abamisiri ne Falawo bwe baakakanyaza  emitima gyabwe? Bwe yamala okukola mu bo  eby’ekitalo, tebakkiriza bantu okugenda ne bagenda? 7 kale nno muddire eggaali empya mugyeetekereteekere, n’ente bbiri eziramulwa, ezitateekebwangako kikoligo, musibe ente ku ggaali, muziggyeko ennyana zaazo muzizze eka:8 muddire essanduko ya Mukama, mugiteeke ku ggaali; muteeke ebintu ebya zaabu, bye mumuweereza okuba ekiweebwayo  olw’omusango, mu bbweta ku mabbali gaayo;  mugisindike egende. 9 Awo mutegeere , bw’eryambukira mu kkubo ery’ensalo yaayo  okugenda e Besusemeesi, awo nga ye yattukoze ekibi kino ekinene: naye bwe kitaliba bwe kityo, awo tulitegeera nga omukono gwe si gwe gwa tukuba kyatugwiira bugwizi. 10Abasajja ne bakola bwe batyo; ne baddira ente bbiri eziramuulwa, ne bazisiba ku ggaali, ne basiba ennyana  zaazo eka: 11 ne baleeta essanduuko ya Mukama ku ggaali n’ebbweta erimu emisonso egya zaabu  n’ebifaananyi by’ebizimba byabwe. 12 Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemeesi;  zaayita mu luguudo, nga  zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono;  abaami b’abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa  ku nsalo ey’e Besusemeesi. 13 N’aba Besusemeesi  baali nga bakungula engaano  yaabwe mu kiwoonvu: ne bayimusa amaaso gabwe ne balaba e ssanduuko ne basanyuka okugiraba. 14 Eggaali n’ejja mu nimuro ya Yoswa  Omubesusemeesi n’eyimirira eyo, awali ejjinja eddene: ne baasa emiti egy’eggaali, ne bawaayo ente ezo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri  Mukama. 15 Awo abaleevi ne bassa essanduuko ya Mukama n’ebbweta eyali nayo omwali ebintu ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eryo eddene: Ababesusemeesi ne bawaayo  ebiweebwayo eby’okebwa ne basala ssaddaaka ku lunaku olwo eri Mukama. 16 N’abaami abataano ab’Abafirisuuti bwe baakiraba, ne baddayo e Ekuloni ku lunaku olwo.

 

6.Amaanyi n’amafuta okukusiimba mu kigambo kya Katonda ne mu kugezesebwa. Zabbuli 12:6

 

Zabbuli 12:6

Ebigambo bya Mukama bye bigambo ebirongoofu; Nga ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi,

Erongoosebwa emirundi musanvu.

 

7.Amaanyi n’amafuta ag’okusanyukira obutuukirivu. Zabbuli 119:164, Zabbuli 23:1-4, Abaebulaniya12:4-13.

 

Zabbuli 119:164

Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza;

Olw’emisango gyo egy’ensonga.

 

Zabbuli 23:1-4

1Mukama ye musumba wange; seetaagenga.

2 Angalamiza mu ddundiro ery’omuddo omuto;

Antwala ku mabbali ag’amazzi amateefu.

3 Akomyawo emmeeme yange:

Annungamya mu makubo ag’obutuukirivu ku lwe rinnya lye.

4 Era newakubadde nga ntambulira mu kiwoonvu eky’ekisiikirize

Eky’olumbe,

Siritya kabi konna kubanga ggwe oli nange:

Oluga lwo n’omuggo gwo bye binsanyusa.

 

Abaebulaniya 12:4-13

4 Temunawakana okutuusa ku musaayi nga mulwana n’ekibi:

5 era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, eky’ogera nammwe nga abaana

nti

mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,

so toddiriranga bw’akunenyanga;

6 Kubanga Mukama gw’ayagala  amukangavvula,

Era akuba buli mwana gw’akkiriza.

7 Olw’okuukangavvulwa kye munavaanga mugumiikiriza; Katonda abakola ng’abaana;

Kuba mwana ki kitaawe gwatakangavvula?

8 Naye bwe munabeeranga awatari kukangavvulwa, okugwana

Okututukako ffenna, muli beebolereze so si baana. 9 Nate twalina ba kitaffe ab’omubiri gwaffe abatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa: tetulisinga nnyo okugonderanga kitaawe w’emyoyo ne tuba balamu? 10 Kubanga bo batukangavvulanga ennaku si nnyingi olw’okwegasa  bo; naye oyo atukangavvula olw’okutugasa, tulyoke tufune omugabo ku butukuvu bwe. 11 okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby’emirembe eri abo  abayigirizibwa mu bwo, bye by’obutuukirivu. 12 Kale mugololenga emikono egiringejja, n’amaviivi agakozimba;  13 era mukubirenga ebigere byammwe amakubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu,naye awonenga buwonyi.

 

8.Amaanyi n’amafuta ag’okuziika omulembe n’ebirala.

1Ebyomumirembe 10:12-1

 

1Ebyomirembe 10:12-14

12 Abazira bonna ne bagolokoka ne bajjayo omulambo gwa Sawulo n’emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne baziika amagumba gabwe wansi w’omwera e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu. 13 Bw’atyo Sawulo n’afa o- lw’okusobya kwe kwe yasobya Mukama, olw’ekigambo ky’atakwata; era kubanga yalagulwa eri eyaliko omuzimu, okumubuulizaamu, 14 n’atalagulwa eri  Mukama: kyeyava amutta, n’akyusa obwakabaka  eri Dawudi mutabani wa Yese.

 

9.Amaanyi n’amafuta  agokukusindikanga mu kusiga.

Omubulizi 11:2-6

 

Omubulizi 11:2-6

2 Owenga musanvu  omugabo, weewaawo, munaana: kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba mu nsi. 3 Ebire bwe bijjula enkuba,  ne biyiika ku nsi; n’omuti bwe gugwa okwolekera obukiika obwa ddyo oba obwa kkono, mu kifo omuti we gugwa we gulibeera. 4 Alabirira embuyaga talisiga; n’oyo atunuulira ebire talikungula. 5 Nga bw’otomanyi ekkubo ery’empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw’oyo ali olubuto; era bw’otyo bw’otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna. 6 Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.

 

10.Amaanyi n’amafuta ag’okuwonyezebwa kw’omubiri n’omwoyo okw’amangu. Isaaya 30:23-26

 

Isaaya 30:23-26

23Era alitonyesa enkuba ey’ensigo zo, z’olisiga mu ttaka;  era aligaba emmere  ey’ekyengera eky’ettaka, era eriba ngimu era nnyingi: ku lunaku luli ebisibo byo biririira mu malundiro amagazi. 24 Era ente n’endogoyi ento ezirima ettaka zinalyanga eby’okulya ebirimu omunnyo, ebyawewebwa n’olugali n’ekiwujjo. 25 Era ku buli lusozi olugulumivu ne ku buli kasozi akawanvu kuliba ensulo n’emigga gy’amazzi, ku lunaku olw’okutta abangi, ebigo bwe birigwa. 26 Era omusana gw’omwezi guliba ng’omusana gw’enjuba, n’omusana gw’enjuba guly’eyongera emirundi musanvu, ng’omusana gw’ennaku omusanvu, ku lunaku Mukama lw’alisibirako ekinuubule eky’abantu be n’awonya ekiwundu eky’okufumitibwa kwabwe.

 

11.Amaanyi n’amafuta ag’amagezi, okumanya n’okutegeera okusomesa abalala. Engero 9:1-6, 1Bassekebaka3:2-15, 1 Bassekabaka10:1-29.

 

Engero 9:1-6

1 Amagezi gaziimbye ennyumba yaago, Gatemye empagi zaago musanvu:

2Gasse ensolo zaago, gatabudde omwenge gwago;

Era gategese emeeza yaago.

3 Gasindise abawala baago, googerera waggulu

Ku bifo eby’omu kibuga ebisinga obugulumivu,

4 Nti buli atalina magezi akyamire muno:

Oyo abulwa okutegeera gamugamba nti

 Mujje mulye ku mmere yange, Era munywe ku mwenge gwe ntabudde.

6 Mulekenga, mmwe abatalina magezi, mubeerenga abalamu;

Era mutambulirenga mu kkubo ery’okutegeera.

 

1Bassekabaka 3:2-15

2 Kyokka abantu ne baweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga tewaali nnyumba eyazimbibwa erunnya lya Mukama okutuusa ku biro ebyo. 3 Sulemaani n’ayagala Mukama, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe: kyokka yaweerangayo ssaddaaka era yayokeranga obubaane mu bifo ebigulumivu. 4 Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka; kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu ekikulu: Sulemaani n’aweerayo ku Kyoto  ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi. 5 Mukama n’alabikira Sulemaani e Gibyoni mu kirooto ekiro: Katonda n’ayogera nti saba kye mba nkuwa. 6 Sulemaani n’ayogera nti Wamukola bulungi nnyo omuddu wo Dawudi kitange, nga bwe yatambula mu maaso go mu mazima  ne mu butuukirivu  ne mu bugolokofu bw’omutima wamu naawe; era wamuterekera ekisa kino ekinene kubanga omuwadde omwana ow’okutulanga ku ntebe ye, nga bwe kiri leero.7 Era nno, ai Mukama  Katonda wange, ofudde omuddu wo kabaka mu kifo kya Dawudi kitange: nange ndi mwana muto: simanyi kufuluma newakubadde okuyingira. 8 Era omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga eddene,eritayinzika kubalibwa newakubadde okugattibwa obungi. 9 Kale muwe omuddu wo omutima omutegeevu okusalanga emisango gy’abantu bo, njawulemu ebirungi n’e bibi: kubanga ani ayinza okusala emisango gy’eggwanga lyo  lino ekkulu? 10 Awo ebigambo ebyo ne bisanyusa Mukama, kubanga Sulemaani asabye ekyo. 11 Katonda n’amugamba nti kubanga osabye  kino, so tewesabidde kuwangaala; so tewesabidde bugagga, so tewesabidde bulamu bwa balabe bo: naye  wesabidde obutegeevu okwawulamu emisango: 12 laba, nkoze ng’ekigambo kyo bwe kiri:  laba,nkuwadde omutima omugezigezi era omutegeevu; obutabangawo akwenkana okusooka ggwe, so n’oluvannyuma lwo tewaligolokoka akwenkana. 13 Era nkuwadde n’ebyo by’otosabye, obugagga n’ekitiibwa, obutabangawo mu bakabaka n’omu akwenkana enakku zo zonna. 14 Era bw’onotambuliranga mu makubo gange, okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yatambula, awo ndyongera ku nnaku zo. 15 Awo Sulemaani n’azuukuka, era, laba, kyali kirooto: n’ajja e Yerusaalemi n’ayimirira mu maaso g’essanduko ey’endagaano ya Mukama, n’awaayo ebiweebwayo eby’okebwa n’awaayo ebiweebwayo olw’emirembe, n’afumbira abaddu be bonna embaga.

 

1 Bassekabaka 10:1-29

1Awo kabaka omukazi bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani olw’erinnya lya Mukama, n’ajja okumukema n’ebibuuzibwa ebizibu. 2 N’ajja e Yerusaalemi ng’alina abaddu bangi nnyo ne ngamira ezeettasse eby’akaloosa n’ezaabu nyingi nnyo n’amayinja ag’omuwendo omungi; awo bwe yajja eri Sulemaani, n’ateesa naye ebyo byonna ebyali mu mutima gwe.3 Awo Sulemaani n’amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewaali kintu ekyakwekebwa kabaka ky’atamutegeeza. 4 Awo kabaka omukazi w’e Seeba bwe yamala okulaba omagezi gonna aga Sulemaani n’ennyumba gye yazimba, 5 n’emmere eyo ku mmeeza ye n’okutuula kw’abaddu be n’okuweereza kw’abaweereza be n’ebyambalo byabwe n’abasenero be n’olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu nnyumba ye Mukama; kale nga temukyasigadde mwoyo mu ye. 6 N’agamba kabaka nti Ekigambo kye nnawulira mu nsi yange kyali kya mazima eky’ebikolwa byo n’amagezi go. 7 Era naye ssakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe nnajjaamaaso gange ne gakiraba: era, laba, ssaabuulirwa kitundu: amagezi go n’omukisa gwo bisinga ettutumo lye nnawulira. 8 Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa,  abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go. 9 Mukama Katonda wo yebazibwe akusanyukira okukuteeka ku ntebe ya Isiraeri: kubanga Mukama yayagala Isiraeri emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okukola eby’ensonga n’eby’obutuukirivu. 10 Awo n’awa kabaka zaabu talanta  kikumi mu abiri, n’eby’akaloosa bingi nnyo nnyini  n’amayinja ag’omuwendo omungi: tewajja lwa kubiri bya kaloosa bingi ebyenkanidde awo ng’ebyo kabaka omukazi w’e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani. 11 Era n’empingu ya Kiramu eyaleeta zaabuokuva e Ofiri emitoogo mungi nnyo n’amayinja ag’omuwendo omungi. 12 Kabaka n’afuula emitoogo empagi z’ennyumba ya Mukama n’ennyumba ya kabaka,  n’ennanga n’entongooli z’abayimbi: tewajja mitoogo egifaanana bwe gityoso tegyalabika ne leero. 13 Awo kabaka Sulemaani n’awa kabaka omukazi w’e Seeba byonna bye yayagala,  buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwaolw’ekisa kye ekya kabaka. Awo n’akyukan’addayo mu nsi ye ye, ye n’abaddu be.14 Era zaabu eyajja eri Sulemaani mu mwaka ogumu obuzito bwayo bwali talantalukaagamu nkaanga mu mukaaga, 15 obutassaako eyo abasubuuzi gye baaleetanga n’abatunzi gye baatundanga ne bakabaka bonna ab’eggwanga ettabule n’abakulu b’ensi. 16 Era kabaka Sulemaani n’aweesa obugabobikumi bibiri bwa zaabu mpeese: buli kagabo n’akawaako sekeri za zaabu lukaaga. 17 N’akola engabo ebikumi bisatu bya zaabu mpeese; buli ngabo n’agiwaako laateri ssatu: kabaka n’azitereka mu nnyumba ey’ekibira kya Lebanooni. 18 Era kabaka  n’akola entebe ey’obwakabaka ennene ya Masanga n’agibikkako zaabu nnungi nnyo nnyini. 19 Entebe yaliko amadaala  mukaaga, era entebe waggulu waayo yali  nnekulungirivu ennyuma; era yaliko emikono eruuyi n’eruuyi  awatuulibwa, n’empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono. 20 N’empologoma kkumi na bbiri zayimirira eruuyi n’eruuyi ku madaala omukaaga: tewali eyakolebwa mu bwakabaka bwonna okugifaanana. 21 Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani  eby’okunnyweramu byali bya zaabu, n’ebintu byonna eby’omu nnyumba ey’ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu nnongoofu:  tewaali bya ffeeza; teyalowoozebwa nga kintu ku mirembe  gya Sulemaani. 22 kubanga kabaka yalina ku nnyanja empingu  eya Malikebu  ey’e Talusiisi wamu n’empingu ya Kiramu; empingu eye Talusiisi yajjanga omulundi gumu buli myaka esatu ng’ereeta zaabu ne Feeza, amasanga n’enkobe ne bamuzinge . 23 Awo kabaka Sulemaani  n’asiinga bakabaka bonna ab’ensi obugagga n’amagezi. 24 Ensi yonna ne banoonya amaaso ga Sulemani okuwulira amagezi ge,  Katonda ge yali atadde mu mutima gwe. 25 Ne baleeta buli muntu ekirabo kye, ebintu ebya Feeza n’ebintu ebya zaabu n’e byambalo n’ebyokulwanyisa n’ebyakaloosa, embalaasi ne nnyumbu, ebyasalibwa ebya buli mwaka. 26 Sulemaani n’akunganya amagaali n’abasajja abeebagala embalaasi; era yalina  amagaali lukumi mu ebikumi bina n’abasajja abeebagala embalaasi  kakumi mu enkumi bbiri be yateeka mu bibuga eby’amagaali n’awaali kabaka e Yerusaalemi. 27 Kabaka n’afuula ffeeza okuba amayinja mu Yerusaalemi, n’emivule n’agifuula okuba  ng’ emisukomooli egiri mu biwonvu olw’obungi. 28 N’embalaasi Sulemaani ze yalina  zaggibwa mu Misiri: n’abasubuzi ba kabaka ne baziweebwanga  bisibo, buli kisibo n’omuwendo gwakyo. 29 Era aggaali lyalinnyanga nga liva mu Misiri nga lijjirira sekeri lukaaga eza ffeeza, n’embalaasi ng’ejjirira kikumi mu ataano; era bakabaka bonna ab’Abakiiti bwe batyo ne bakabaka abe Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe.  

 

  1. Amaanyi n’amafuta ag’okukulembela mu kusonyiwanga n’okusonyiyibwanga ddala olw’ekisa kya Mukama. Lukka 17:4

 

Lukka 17:4

Era bw’akwonoonanga emirundi musanvu ku lunaku lumu, era emirundi omusanvu n’akukyukira ng’agamba nti  Nnenenyezza; omusonyiwamga.

 

13.Amaanyi n’amafuta ag’okuzingiza ebigo n’okubizikiriza olw’okukkiriza n’ebikolwa. Abaebulaniya 11:30

 

Abaebulaniya 11:30

Olw’okukkiriza bbugwe wa Yeriko n’agwa, nga kimaze okw’ebungululwa ennaku musanvu.

 

14.Amaanyi n’amafuta ag’okulongoosa n’okutukuza emyoyo gyaffe, nga ebyoto bya Katonda olw’obuweereza obulungi. Okuva29:30

 

Okuva 29:30

Omwana alimuddirira okuba kabona  anaabyambalanga  ennaku musanvu, bw’anayingiranga mu weema ey’okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu.

 

 15.Amaanyi n’amafuta okubikkulirwa ebyama n’okutwala obubaka bwa Katonda buli wamu nga omubaka. Ezeekyeri 3:16-22

 

Ezeekyeri 3:16-22

16 Awo olwatuuka ennaku omusanvu bwe zayitawo, ekigambo kya Mukama  ne kinjijira nga  kyogera 17 nti omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo ky’omu kamwa kange, obawe okulabula okuva gy’endi. 18 Bwe ngamba omubi nti Tolirema kufa; naawe n’otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe.

Omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana ku mukono gwo. 19 Era naye bw’olabula omubi, n’atakyuka okuleka obubi bwe  newakubadde okuva mu kkubo lye ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng’owonyezza emeeme yo. 20 Nate omuntu omutuukirivu bw’akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n’akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n’ebikolwa bye ebituukirivu bye yakola  tebirijjukirwa ; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mokono gwo. 21 Era naye bw’olabula omuntu omutuukirivu, omutuukirivu aleme okukola ekibi n’atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng’owonyezza emeeme yo. 22 Awo omukono gwa Mukama ne guba ku nze eyo; n’angamba nti Golokoka ofulume ogende mu lusenyi, nange ndy’ogerera nawe eyo.

 

16.Amaanyi n’amafuta okutuyinzisa okugaba ate ne tuddidizibwa mu bungi ( ebisuukundiddwa eby’omuyiika) okuva eri Mukama. Matayo 15:36-37

 

Matayo 15:36-37

36 n’atoola emigaati musanvu n’ebyennyanja; ne yebaza n’amenyamu n’awa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina,37  Ne balya bonna, ne bakutta: ne bakungannya obukunkumukwa  obwasigalawo, ebisero musanvu ebyajjula.

 

  1. Amaanyi n’amafuta okutwala n’okugabana eby’obusika bwaffe. Yoswa 18:1-6, Makko 10:28-31, Ebikolwaby’Abatume 2:45-46

 

Yoswa 18:1-6

1 N’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri  ne bakungaanira mu Siiro, ne basiimba eyo eweema  ey’okusisinkanirangamu:  ensi nejeemulukuka mu maaso gaabwe. 2 Era waasigalawo mu Isiraeri ebika musanvu, ebitanagabana busika bwabyo. 3 Yoswa n’agamba abaana ba Isiraeri nti Mulituusa wa okugayaala okuyingira  okulya ensi, Mukama Katonda wa ba jjajjammwe gye yabawa? 4 Mwerondere abantu basatu buli kika: nange ndibatuma, nabo baligolokoka ne batambula mu nsi yonna, ne bagiwandiika bw’efaanana ng’obusika bwabwe  bwe buli; ne balyoka bajja gye ndi. 5 Era baligigaba ebitundu musanvu; Yuda alibera mu nsalo ye ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo, n’ennyumba ya Yusuufu eribeera mu nsalo yaabwe ku luuyi olw’obukiika obwa kkono. 6 Era muliwandiika ensi mu bitundu musanvu, ne muleeta gye ndi ( byemuwandiise): nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe.

 

Makko 10:28-31

28 Awo Peetero n’atanula okumugamba nti Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera. 29 Yesu n’agamba nti mazima mbagamba nti Tewali eyaleka ennyumba , oba aboluganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba  abaana, oba ebyalo,  ku lwange n’olwenjiri 30 ataliwebwa emirundi kikumi mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n’aboluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n’abaana, n’e byalo, n’okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwawo.31 Naye bangi ab’olubereberye abaliba ab’oluvannyuma; n’aboluvannyuma abaliba ab’olubereberye.

 

Ebikolwaby’Abatume 2:45-46

45 eby’obugagga byabwe bye baali nabyo ne babitunda nebagabiranga bonna nga buli muntu bwe yali yeetaga, 46 Nabo nga banyikiranga bulijjo  n’omwoyo gumu mu yeekaalu, nga bamenya emigaati mu nnyumba  eka, ne balyanga emmere n’assanyu n’omutima ogutalina bukuusa,

 

18.Amaanyi  n’amafuta ag’okusimbibwa n’okusiisira.

Ebyabaleevi 23:42-43, Matayo 5:5, Ebikolwab’Abatume 13:19

 

Ebyabaleevi 23:42-43

42 Munaamalanga  ennaku musanvu mu nsiisira: enzaalwa  bonna ab’omu Isiraeri banaatuulanga mu nsiisira: 43 emirembe gyammwe giryoke gimanyenga nga natuuza abaana ba Isiraeri mu nsiisira, bwe nabaggya mu nsi ya  Misiri: nze Mukama Katonda  wammwe.

 

Matayo 5:5

Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.

 

Ebikolwaby’Abatume 13:19

Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n’abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka  ebikumi bina mu ataano.

 

19.Amaanyi n’amafuta okutereeza  ensoga  n’obwegendereza.

Ebikolwaby’Abatume 6:1-3

 

 

 

Ebikolwaby’Abatume6:1-3

1Awo mu nnaku ezo,abayigirizwa bwe beeyongera  obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti, ku Baebulaniya, kubanga bannamwandu baabwe babafissanga mu kuweereza  okwa bulijjo. 2 Ekkumi n’ababiri ne bayita ekibiina ky’abayigirizwa, ne bagamba nti Tekiwooma ffe okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku mmeeza. 3 Kale, ab’oluganda, muloonde abantu mu mmwe abasiimibwa musanvu, abajjudde omwoyo omutukuvu n’amagezi, be tunateeka ku mulimu guno;

 

20.Amaanyi n’amafuta okusembezebwa n’essanyu.

Ebikolwaby’Abatume 28:14

 

Ebikolwaby’Abatume 28:14

gye twasanga ob’oluganda ne batuyita okumala wamu nabo ennaku musanvu: awo bwe tutyo ne tutuuka e Ruumi

 

21.Amaanyi n’amafuta okwaniriza oba okusembezebwa.

Okuva 2:16-21.

 

Okuva 2:16-21

16 Ne Kabona ow’e Midiyaani yalina abawala musanvu: ne bajja ne basena amazzi, ne bajjuza ebyesero ne bazinywesa endiga za kitaabwe. 17 Abasumba ne bajja ne babagoba: naye Musa n’agolokoka n’abayamba, n’anywesa ebisibo byabwe. 18 Bwe bajja eri Leevi kitaabwe, n’ayogera nti Nga muzze mangu  leero? 19 Ne boogera nti omuntu omumisiri y’atuwonnyezza mu mikono gy’abasumba, nate n’atusenera amazzi, n’anyweesa ekisibo. 20 N’abagamba bawalabe nti Ali luuyi wa? Kiki ekibalesezza omuntu oyo?  Mumuyite alye emmere. 21 Musa n’akkiriza okutuula n’omuntu oyo: n’amuwa  Musa  muwala we Zipola.

 

22.Amaanyi n’amafuta agafuula ebikolimo omukisa. Okubala23, Okubala 24, Ezeekyeri 8:13-17

 

Okubala 23:1-30

1Balamu n’agamba Balaki nti Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n’endiga ennume musanvu. 2 Balaki n’akola nga Balamu bwe yayogera; Balaki ne Balamu ne baweerayo ku buli kyoto ente n’endiga ennume.3 Balamu n’agamba Balaki nti  Yimirira awali ekyokebwa ky’owaayo, era nagenda; mpozzi Mukama anajja  okusisinkana  nange : era buli ky’anandaga naakubuulira. N’agenda ku lusozi aweeru. 4 Katonda n’asisinkana ne Balamu: n’amugamba nti  ntegese  ebyoto musanvu, era mpereddeyo ente n’endiga ennume ku buli Kyoto. 5 Mukama n’ateeka ekigambo mu kamwa ka Balamu, n’agamba nti ddayo eri  Balaki, era bw’otyo bwonoyogera. 6 N’addayo eri ye, era yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo,ye n’abakulu bonna aba Mowaabu. 7 N’agera olugero lwe,n’ayogera nti

Balaki yanziya mu Alamu,

Kabaka wa Mowaabu yanziya mu nsozi ez’Ebuvanjuba:

Jjangu onkolimirire Yakobo,

Era jjangu osoomoze Isiraeri.

8 Naakolimira ntya oyo Katonda gw’atakolimiranga?

Naasoomoza nya oyo Katonda gw’atasoomoozanga:

9 Kubanga nnyima ku ntikko y’amayinja okumulaba,

Ne ku nsozi okumulengera:

Laba, be bantu ababeera bokka,

So tebalibalibwa mu mawanga.

10 Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo,

Oba okubala ekitundu eky’okuna ekya Isiraeri?

Nfe ng’omutuukirivu bw’afa,

N’enkomerero yange ey’oluvannyuma ebe ng’eyiye!

11Balaki n’agamba Balamu nti onkoze ki? Nkututte okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa. 12Naddamu n’agamba nti Tekingwanira kwekuuma kwogera ekyo Mukama ky’ateeka mu kamwa kange? 13 Balaki n’amugamba nti Jjangu nange nkwegayiridde, mu kifo ekirala,w’onoyinza okuyima okubalengera; onoolaba ekitundu kyabwe ekyenkomerero kyokka, n’otobalaba bonna: n’oyima eyo okubankolimirira. 14 N’amutwala mu ttake lya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimba ebyoto musanvu, n’aweerayo ente n’endiga ennume ku buli Kyoto. 15 N’agamba Balaki nti yimirira wano awali ekyokebwa ky’owayo, nze nga bwe nnaasisinkana ne Mukama eyo. 16 Mukama n’asisinkana ne Balamu, n’ateeka ekigambo mu kamwa ke, n’agamba nti ddayo eri Balaki, era bw’onooyogera bw’otyo. 17 N’ajja gyali,era, laba, yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo,  n’abakulu ba Mowebu wabu naye. Balaki n’amugamba nti Mukama ayogedde  ki? 18 N’agera olugero lwe n’ayogera nti Golokoka , Balaki, owulire; Ntegera okutu, ggwe mutabani wa Zipoli: 19 Katonda si muntu, okulimba; so si mwana wa muntu, okwejjusa: Ayogedde n’okukola talikola?

Oba agambye , n’okutuusa talituusa?

20 Laba, ndagiddwa okuwa omukisa:

Naye awadde omukisa, nange siyinza kugujjulula.

21 Talabye butali butuukirivu bwa Yakobo,

So talabye bubambaavu ku Isiraeri:

Mukama Katonda we ali naye.

N’okwogerera wagulu okwa kabaka  kuli mu bo.

22 Katonda abajja mu misiri;

Alina amaanyi nga ag’embogo.

23 Mazima tewali ddogo eri Yakobo,

So tewali bulaguzi awali Isiraeri:

Kaakano kinayogerwanga  ku Yakobo ne ku Isiraeri,

Nti Katonda nga akoze!

24 Laba, abantu bagolokoka ng’ empologoma enkazi

Era beyimusa ng’empologoma ennume:

Taagalamire okutuusa lw’analya ku muyiggo,

N’anywa omusaayi gw’abo abattibwa.

25 Awo Balaki n’agamba Balamu nti Tobakolimiranga n’akatono,so n’omukisa tobasabiranga mukisa n’akatono. 26 Naye Balamu n’addamu n’agamba Balaki nti saakubuulira nti byonna Mukama by’ayogera, ebyo kingwanira okubikola? 27 Balaki n’agamba Balamu nti Jjangu nno, naakutwala awalala; Mpozzi Katonda anaasiima ggwe okuyima eyo okubankolimirira. 28 Awo Balaki n’alinnyisa Balamu ku ntikko ya Peori, kw’oyima okulengera eddungu. 29 Balamu n’agamba Balaki nti Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere ente n’endiga ennume musanvu. 30 Balaki n’akola nga Balamu bwe yayogera, n’aweerayo ku buli Kyoto ente n’endiga ennume.

 

Okubala 24:1-25

1Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri  eri omukisa, n’atagenda, ng’olulala, okunonya eddogo, naye n’ayolekeza amaaso ge olukoola. 2 Balamu n’ayimusa amaaso, n’alaba Isiraeri nga batudde ng’ebika byabwe bwe byali; omwoyo gwa Katonda ne gumujjako. 3 N’agera olugero lwe, n’ayogera nti

Balamu mutabani wa Byoli,

Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera:

4 Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda,

Alaba okwolesebwa kw’omuyinza w’ebintu byonna,

Ng’agwa wansi,n’amaaso ge nga gatunula:

5 Nti eweema zo nga nnungi,

ggwe Yakobo,

Ennyumba zo, ggwe Isiraeri!

6 Zeeyaliridde ng’ebiwonvu,

Ng’ensuku eziri  ku lubalama lw’omugga,

Ng’emiti egy’omugavu Mukama gye yasimba,

Ng’emiti emyerezi egiri ku lubulama lwa mazzi.

7 Amazzi ganakulukutanga  okuva  mu nsuwa ze,

N’ensigo ze zinaabanga awali amazzi amangi,

Ne kabaka we anaasinganga Agagi obugulumivu, N’obwakabaka bwe bunagulumizibwanga.

8 Katonda amuggya mu misiri;

Alina amaanyi nga ag’embogo.

Aliriira ddala amawanga abalabe be,

Era alimenyaamenya amagumba gaabwe,

N’abakuba okubafumita n’obusaale bwe.

9 Yabwama, yagalamira ng’empologoma ennume,

Era ng’empologoma enkazi; ani anamusaggula?

Aweebwenga omukisa buli anakusabiranga omukisa,

Era akolimirwenga buli anakukolimiranga.

10 Awo obusuungu bwa Balaki ne bubuubuukira Baramu,

n’akuba mu ngalo: Balaki n’agamba Baramu nti Nakuyita okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule.

11Kale nno dduka oddeyo ewuwo: mbadde njagala okukukuza obeere n’ekitiibwa kingi nnyo; naye, laba, Mukama akuziyizza okuba n’ekitiibwa.

12 Balamu n’agamba Balaki nti Era saagamba n’ababaka bo be wantumira 13 nti Bw’alyagala okumpa ennyumba ye ng’ejjudde effeeza n‘ezaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi n’ewakubadde ebibi, nga nnyima ku magezi  gange nze; Mukama ky’anaayogera era nange kye nnayogera? 14 Era kaakano, laba, ngenda eri abantu bange: jjangu nkutegeeze abantu bano kyebalikola mu nnaku ez’oluvannyuma, 15N’agera olugero lwe, n’ayogera nti

Balamu mutabani wa Byoli ayogera:

16 Oyo ayogera awulira ebigambobya Katonda,

Era amanyi okumanya kw’oyo ali wagguli ennyo,

Alaba okwolesebwa kw’omuyinza w’ebintu byonna,

Ng’agwa wansi, n’amaaso nga gatunula:

17 Nti mmulaba,naye si kaakano:

Mmutunuulira, naye tandi kumpi:

Muliva emmunyeenye mu Yakobo,

N’omuggo ogw’abwakabaka guliyimuka mu Isiraeri,

Gulikubira ddala ensonda  za Mowabu,

Gulimenyera ddala abaana bonna ab’oluyoogaano.

18Kale Edomu aliba butaka,abaali abalabe be;

Isiraeri ng’akola eby’obuzira.

19 Era muliva mu Yakobo omu aliba n’okufuga,

Alizikiriza abalifikkawo mu kibuga.

20 N’atunuulira Amaleki, n’agera  olugero lwe n’ayogera nti

Amaleki yali wa lubere berye mu mawanga;

Naye enkomerero ye ey’oluvannyuma erituuka mu kuzikirira.

21 N’atunuulira Omukeeni, n’agera olugero lwe n’ayogera nti

Ekifo kyo eky’okutuulamu kya maanyi,

N’ekisu kyo kyateekebwa ku lwazi.

22 Naye Kayini alinyagibwa,

Okutuusa Asuuli lw’alikutwala mu busibe.

23 N’agera olugero lwe  n’ayogera nti

Zitusanze, ani aliba omulamu Katonda bw’alikola kino?

24 Naye ebyombo biriva mu ttale ly’e Kitimu,

Biribonereza  Asuuli, biri bonerezane Eberi,

Era naye alituuka mu kuzikirira.

25 Balamu n’agolokoka, n’agenda  n’addayo mu kifo kye: ne Balaki  n’addayo.

 

Ezeekyeri 8:13-17

13 Era n’angamba nti Era onoolaba nate n’emizizo emirala emikulu gye  bakola. 14 Awo n’andeeta eri oluggi olw’omulyango ogw’ennyumba ya Mukama ogwayolekera obukiika obwa kkono; awo, laba, abakazi nga battudde eyo nga bakabiira Tammuzi. 15 Awo n’angamba nti olabye, omwana w’omuntu? Era onolaba nate emizizo egisiinga gino obukulu. 16 Awo n’andeeta mu luggya olw’omunda olw’e nnyumba Mukama, kale, laba,  ku luggi olwa Yeekalu ya Mukama wakati w’ekisasi n’ekyoto nga waliwo abasajja  ng’amakumi abiri mu bataano,  abakubye enkoona yekaalu ya Mukama n’amaaso gabwe nga gatunuulira ebuvanjuba; era nga basinza enjuba nga batunuulira  ebuvanjuba. 17 Awo n’angamba nti olabye,  omwana w’omuntu?Kigambo kyangu eri ennyumba ya Yuda nga bakola emizizo gye bakolera  wano? Kubanga bajjuzizza ensi ekyejo,era bakyuse nate okunsunguwaza: era, laba,basembeza ettabi ku nyindo yabwe.

 

23.Amaanyi n’amafuta okusimbula, okuzikiriza n’okusuula ebyoto bya setaani oba obwakabaka n’okuteekateeka okusimba, okunyweza ebyoto bya Katonda. Ekyabalamuzi 6:25-32, Yeremiya 1:4-10.

 

Ekyabalamuzi 6:25-32

25 Awo olwatuuka mu kiro ekyo Mukama n’amugamba nti Ddira ente ya kitaawo, ye nte ey’okubiri eyakamaze emyaka omusanvu, osuule ekyoto kya Baali kitaawo ky’alina, otemeeteme ne Asera akiri okumpi: 26 ozimbe okyoto eri Mukama Katonda wo waggulu ku kigo kino, ng’empisa bwe yalagirwa, oddire ente eyo ey’okubiri, oweeyo ekiweebwayo ekyokebwa  n’omuti gwa Asera gw’onootematema. 27 Awo Gidiyooni n’atwaala abasajja kkumi ku baddu be, n’akola nga bw’amulagidde: awo olwatuuka, kubanga yali atidde ab’ennyumba ya kitaawe n’abasajja ab’omu kibuga n’atayinza kukola bwatyo emisana , kyeyava akola ekiro. 28 Abasajja  ab’omu kibuga bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, ekyoto kya Baali nga kimenyesemenyese, ne Asera akibadde okumpi,nga atemeddwatemeddwa, n’ente eyo ey’okubiri ng’eweereddwayo ku byoto ebizimbiddwa. 29 ne bagambagana nti ani akoze kino? Awo bwe baabuuza ne bakemereza, ne boogera nti Gidiyoni mutabani wa Yowasi ye akoze kino. 30 Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagamba Yowasi nti Fulumya mutabani wo afe: kubanga amenyeemenye  akyoto kya Baali, era kubanga atemyetemye ne Asera akibadde okumpi. 31 Yowasi n’agamba bonna abamuyimiridde mu maaso ge nti mwagala okuwolereza Baali  Oba mwagala okumulokola? Ayagala okumuwolereza, bamutte nga (bukyali)  bwa nkya: oba nga ye Katonda, yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye. 32 Ku lunaku olwo kyeyava amuyita Yerubbaali, ng’ayogera nti Baali amuwawabire kubanga amenyeemenye ekyoto kye.

 

Yeremiya 1:4-10

4 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira 5 nti bwe nnali nga sinnakubuumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava   mu lubuto nakutukuza; nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga. 6 Awo nze ne ndyoka njogera nti woowe, Mukama Katonda laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto. 7 Naye Mukama  n’angamba  nti Toyogera nti Ndi mwana muto:kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky’onoyogeranga. 8 Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonyanga, bw’ayogera Mukama. 9 Awo Mukama n’agolola omukono gwe n’akoma ku kamwa  kange; Mukama n’angamba nti Laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko: 10 laba leero nkutaddewo okuba omukulu w’amawanga era ow’amatwale gabakabaka, okusimbula n’okumenya n’okuzikiriza  n’okusuula; n’okuziimba n’okusiimba.

 

24.Amaanyi n’amafuta agaweebuula ebizibu n’emitawaana. Olubereberye 8:1-11

 

Olubereberye 8:1-11

1Katonda n’ajjukira Nuuwa na buli kiramu na buli nte eyali awamu naye mu lyato: Katonda n’aleeta empewo ziyite ku nsi, amazzi ne gaweebuuka; 2 era n’ensulo ez’ennyanja n’ebituli eby’omuggulu  ne biggalirwa, enkuba ey’omuggulu n’eziyizibwa; 3 amazzi ne gadda okuva ku nsi obutayosa: ne gaweebuuka amazzi oluvannyuma ennaku kikumi mu ataano bwe zaayitawo. 4 mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi eryato ne lituula ku nsozi eza Alalati. 5 Amazzi ne gaweebuuka obutayosa okutuusa ku mwezi ogw’ekkumi: ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi entikko z’ensozi ne zirabika. 6 Awo oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’asumulula ekituli eky’eryato kye yakola: 7 n’atuma namungoona n’afuluma n’addingananga okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi; 8 N’atuma ejjiba okuva w’ali alyoke alabe ng’amazzi gaweebuuse  ku ngulu ku nsi; 9 naye ejjiba teryalaba bbanga wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali ku ngulu kunsi yonna: n’afulumya omukono gwe, n’alikwata n’aliyingiza mw’ali mu lyato. 10 N’ayosawo ennaku musanvu nate; n’atuma ejjiba okuva mu lyato; 11ejjiba ne rikomawo olweggulo mw’ali, laba,mu kamwa kalyo ne muba akalagala akabisi ak’omuzeyituni: Nuuwa n’alyoka amanya nti amazzi gaweebuuse okuva ku nsi.

 

25.Amaanyi n’amafuta aganyweza obujulizi ku bibyo. Olubereberye 21:25-30

 

Olubereberye 21:25-30

25Ibulayimu n’anenya  Abimereki olw’oluzzi lw’amazzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw’amaanyi. 26 Abimereki n’ayogera nti simumanyi bw’ali eyakola bw’atyo; so tombulirangako, so siwulirangako era, wabula leero. 27 Ibulayimu  n’addira endiga n’ente,n’abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi. 28 Ibulayimu n’ateeka endiga enduusi musanvu ez’omu kisibo wamu zokka. 29 Abimereki n’agamba Ibulayimu  nti  Endiga ezo enduusi  omusanvu z’otadde awamu zokka amakulu gaazo ki? 30 N’ayogera nti endiga ezo enduusi omusanvu on’oziwebwa  mu mukono gwange , ekyo kibeere  omujulirwa nga nze nnasima oluzzi olwo.

 

26.Amaanyi n’amafuta ag’okusumululwa, okudda obuggya n’okubeera obulungi mu bukadde bwo bwonna. Luusi 4:13-15.

 

Luusi 4:13-15

13Awo Bowazi n’atwala Luusi, nate n’amufumbirwa; n’ayingira gy’ali, Mukama n’amuwa olubuto, n’azaala omwana wa bulenzi : 14 Abakazi ne bagamba Nawomi nti Mukama yebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye ly’atiikirire mu Isiraeri. 15 Era alibeera gy’oli akomyawo obulamu era aliisa obukudde bwo: kubanga mukamwana wo akwagala, akusanyusa okusinga abaana ab’obulenzi musanvu, abamuzaliddwa.

 

27.Amaanyi n’amafuta agaggyawo obugumba obwa buli kika.

1Samwiri2:5

 

1Samwiri 2:5

Abakkutanga bapakasizza olw’emmere;

N’abo abalumwanga enjala bakomye:

Weewawo, omugumba azadde musanvu;

N’oyo alina abaana abangi ayongobera.

 

28.Amaanyi n’amafuta  ag’okukutemera ekkubo na buli kimu okugira nga kiyimirira ku lulwo. 1Samwiri 16:10-13

 

1Samwiri 16:10-13

10 Yese n’ayisa mu maaso ga Samwiri musanvu ku batabani be. Samwiri n’agamba Yese nti Mukama talonze abo. 11 Samwiri n’agamba Yese nti abaana bo bonna bali wano? N’ayogera nti Ekyasigaddeyo omuto, era, laba alunda endiga. Samwiri n’agamba Yese nti tuma bamukime: kubanga tetutuule okutuusa lw’anajja eno.12 N’atuma n’amuyingiza. Era yali mumyufu n’amaaso ge nga malungi  era eyegombebwa okutunuulira. Mukama n’ayogera nti golokoka omufukeko amafuta: kubanga ye wuuyo. 13 Awo Samwiri n’alyoka addira ejjembe ery’amafuta, n’amufukako amafuta wakati mi baganda  be: omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n’amaanyi okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo. Awo Samwiri n’agolokoka  n’agenda e Laama.

 

29.Amaanyi  n’amafuta agazuukiza emikisa. 1Bassekabaka 18:43-46

 

1Bassekabaka 18:43-46

43 N’agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N’alinnya n’alengera n’ayegera nti Tewali kintu. N’ayogera  nti Genda nate emirundi musanvu. 44 Awo olwatuuka omulundi ogw’omusanvu n’ayogera  nti laba, ekire kirinnya  nga kiva mu nnyanja  ekiringa omukono gw’omuntu obutono. N’ayogera nti yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggali lyo , oserengete, enkuba ereme okukuziyiza. 45 Awo olwatuka  ekiseera kitono bwe kyayitawo, eggulu ne libindabiinda ebire ne mbuyaga, ne waba enkuba nnyingi. Akabu n’alinya mu ggaali n’agenda  e Yezuleeri. 46 Omukono gwa Mukama e guba ku Erisa; ne yeesiba  ekimyu n’addukira mu maaso ga Akabu okutuusa  awayingirirwa e Yezuleeri.

 

30.Amaanyi n’amafuta ag’okwanganga n’okuwangula abalabe  ba Katonda.

1Bassekabaka 20:29-30, Zabbuli 110:1-7

 

1Bassekabaka 20:29-30

29 Awo ne basiisira  nga basulaganako ne bamala ennaku musanvu. Awo olwatuuka ku lunaku lw’omusanvu ne balumbagana; abaana ba Isiraeri ne batta ku basuuli  abasajja abatambula n’ebigere kasiriivu ku lunaku lumu. 30 Naye abalala ne baddukira  e Afeki mu kibuga; awo bbugwe n’agwa ku basajja obukumi bubiri  mu kasanvu  abaasigalawo. Ne Benikadaadi b’adduka n’atuuka mu kibuga  eky’omunda.

 

Zabbuli 110:1-7

1 Mukama agamba mukama wange nti

Tuula ku mukon o gwange ogwa ddyo,

Okutuusa lw’e ndifuula abalabe bo

 entebe y’ebigere byo.

2 Mukama alisindiika omuggo  ogw’amaanyi go okuva mu Sayuuni:

Ggwe fugira wakati mu balabe bo.

3 Abantu bo beewayo n’omwoyo ogutawalirazibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo: Mu bungi bw’obutukuvu, olina omusulo  ogw’obuvubuka bwo,

Oguva mu lubuto olw’enkya.

4 Mukama yalayira, so talyejjusa, Nti ggwe oli kabona emirembe gyonna

 Ng’engeri ya Merukizeddeki bw’eri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka  ku lunaku  olw’obusungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga,

Alijjuza ebifo emirambo;

Alifumita omutwe mu nsi nnyingi.

7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo: Ky’aliva ayimusa omutwe.

 

31.Amaanyi n’amafuta ag’okukuzuukiza okuva mu kufa okwa buli kika. 2 Bassekabaka 4:35-37, Yokaana 20:1-8, Ebikolwaby’Abatume2: 31

 

2 Bassakebaka 4:35-37

35 Awo n’akomawo n’atambula mu nnyumba omulundi ogumu  eruuyi n’omulundi gumu eruyi; n’alinnya ne yeegololera ku ye: omwana n’ayasimula emirundi musanvu, omwana n’azibula amaaso. 36 N’ayita Gekazi n’ayogera nti Muyite Omusunamu oyo. Awo n’amuyita. Awo ng’ayingidde gy’ali n’ayogera nti situla omwana wo. 37 Awo n’avuunama  ku bigere bye  n’akutama wansi; n’asitula omwana  we  n’afuluma .

 

Yokaana 20:1-8

1 Awo ku lunaku olusooka mu nnaku  omusanvu, Maliyamu Magudaleene n’ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n’alaba ng’ejjinja liggiddwa ku ntaana. 2 Awo n’addukana, najja eri Simooni  Peetero, n’eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yagalanga, n’abagamba nti Baggyemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde. 3 Awo Peetero n’afuluma , n’omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana. 4 Ne  baddukana bombi wamu; n’omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda  n’ayisa Peetero, n’asooka okutuuka ku ntaana: 5 n’akutama n’alingizamu, n’alaba engoye ez’ekitaani nga ziteekeddwa awo; naye n’atayingira. 6 Awo ne Simooni Peetero n’ajja ng’amugoberera, n’ayingira  mu ntaana; n’alaba engoye ez’ekitaani nga ziteekeddwa awo. 7 n’ekiremba eky’ali ku mutwe nga tekiteekeddwa wamu na ngoye za kitaani, naye nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali. 8 Awo n’omuyigirizwa oyo omulala eyasooka okujja ku ntaana, n’ayingira, n’alaba, n’akkiriza.

 

Ebikolwaby’Abatume 2:31

Bwe yalaba olubereberye, n’ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa mu magombe so nga n’omubiri gwe tegwavuunda.

 

32.Amaanyi n’amafuta ag’okuzibula amaaso g’omwoyo n’omubiri okuzuula oba okulaba buli kya mugaso. 2 Bassekebaka 4:35, Olubereberye 2:21-24, Yokaana 20:1-18, Okubikkulirwa 1: 9-11

 

2 Bassekabaka 4:35

Awo n’akomawo n’atambula mu nnyumba omulundi gumu  eruuyi n’omulundi  ogumu eruuyi; n’alinnya ne yeegololera ku ye: omwana n’ayasimula emirundi musanvu, omwana  n’azibula amaaso.

 

Olubereberye 2: 21- 24

21 Mukama Katonda n’aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n’amuggyamu olubiriizi lumu, n’azzaawo ennyama mu kifo  kyalwo. 22 Mukama Katonda n’azimba olubiriizi, lw’ajje mu muntu, okuba omukazi, n’amuleeta eri omuntu. 23 omuntu n’ayogera nti ono nno ly’eggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja. 24 omusajja ky’anavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.

 

Yokaana 20:1-18

1 Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene  n’ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, nalaba ng’ejjinja liggiddwa ku ntaana. 2 Awo n’addukana n’ajja eri Simooni Peetero, n’eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga , n’abagamba  nti Baggyemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde. 3 Awo Peetero n’afuluma, n’omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana. 4 Ne baddukana bombi wamu; n’omuyigirizwa oyo omulala  n’ayisa Peetero, n’asooka okutuuka ku ntaana:5 n’akutama n’alingizaamu, n’alaba engoye z’ekitaani  nga ziteekeddwa awo; naye n’atayingira. 6 Awo ne Simooni Peetero n’ajja ng’amugoberera, n’ayingira mu ntaana;  n’alaba engoye z’ekitaani nga ziteekeddwa awo. 7 n’ekiremba ekyali ku mutwe gwe nga tekitekeddwa wamu na ngoye z’ekitaani, naye nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali. 8 Awo n’omuyigirizwa oyo omulala  eyasooka okujja ku ntaana, n’ayingira, n’alaba n’akkiriza. 9 kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti kimugwanira okuzuukira mu bafu. 10 Awo nate abayigirizwa ne baddayo ewabwe eka. 11 Naye Malyamu yali ayimiridde ebweru awaali entaana ng’akaaba: awo bwe yali ng’akaaba, n’akutama n’alingiza mu ntaana; 12 n’alaba ba malayika babiri nga bambadde enjeru, nga batudde, omu emitwetwe, omulala emirannamiro, omulambo gwa Yesu we gwaali guteekeddwa.13 Abo ne bamugamba nti Omukyala, okaabira ki? N’abagamba nti Kubanga baggyemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde. 14 Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akyuka ennyuma, n’alaba Yesu ng’ayimiridde, n’atamanya nga ye Yesu. 15 Yesu n’amugamba nti Omukyala, okaabira ki? Onoonya ani? Ye ng’alowooza nti ye mukuumi w’olusuku, n’amugamba nti ssebo , oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy’omutadde, nange nnaamuggyayo. 16 Yesu n’amugamba nti Malyamu. N’akyuka n’amugamba mu lwebbulaniya nti Labbooni; amakulu gaakyo  muyigiriza. 17 Yesu n’amugamba nti tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti nninya eri kitange, era kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe. 18 Malyamu magudaleene n’ajja n’abuulira abayigirizwa nti Ndabye Mukama waffe; era bw’amugambye ebigambo bino.

 

Okubikkulirwa 1:9-11

9 Nze Yokaana muganda wammwe era assa ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeeza kwa Yesu. 10 Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ddene, ng’ery’akagombe, 11 nga koogera nti ky’olaba, wandiika mu kitabo, okiweereze ekkanisa omusanvu; eri Efeeso, n’eri Sumuna, n’eri Perugamo, n’eri Suwatira, n’eri Saadi, n’eri Firaderufiya, n’eri Lawodikiya.

 

33.Amaanyi n’amafuta ag’okusumululwa okwa nnamaddala. Yobu 42:8-17

 

Yobu 42:8-17

8 Kale nno mwetwalire ente ennume musanvu n’endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwaayo ekyokebwa; era omuddu wange Yobu  anaabasabira; kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng’obusirusiru bwammwe bwe buli; kubanga temunjogeddeko  kigambo ekirina ensonga ng’omuddu wange Yobu bw’ayogedde. 9 Awo Erifaazi omutemani ne Birudadi omusuki ne Zofali omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwabalagidde: kale Mukama n’akkiriza  Yobu. 10 Awo Mukama n’akyusa obusibe bwa Yobu, bwe yasabira mikwano gye: Mukama n’awa Yobu okusinga emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye. 11Awo baganda be bonna ne bajja gy’ali ne bannyina bonna n’abo bonna beyamanyagana nabo olubereberye, ne baliira emmere wamu naye mu nnyumba ye: ne bamukaabira ne bamukubagiza olw’obubi bwonna Mukama bwe yamuleetako: era buli muntu n’amuwa ekitundu ekya ffeeza, na buli muntu empeta eya zaabu. 12 Awo Mukama n’awa omukisa enkomerero ya Yobu  okukira entandikwa ye: n’aba n’endiga kakumi mu enkumi nnya, n’engamira kakaaga, n’emigogo gy’ente lukumi n’endogoyi enkazi  lukumi. 13 Era yalina abaana ab’obulenzi  musanvu n’abobuwala basatu. 14 N’owolubereberye n’amutuuma erinnya  Yemima; n’owokubiri erinnya lye Keeziya; n’owokusatu erinnya lye Kerenukappuki. 15 Awo mu nsi yonna ne watalabika abakazi abalungi okwenkana abawala ba Yobu: kitaabwe n’abawa obusika mu baganda baabwe. 16 Awo oluvannyuma lw’ebyo Yobu n’awangaala emyaka kikumi mu ana, n’alaba batabani be n’abaana ba batabani be, bannakasatwe. 17 Awo Yobu n’afa nga mukadde ng’awazezza ennaku nnyingi.

 

34.Amaanyi n’amafuta g’ekiwummulo ky’omwoyo. Olubereberye 2:1-2, Matayo 11:28-30

 

Olubereberye 2:1-2

1 Ne biggwa okukola eggulu n’ensi n’eggye ryabyo byonna. 2 Katonda n’amalira ku lunaku olw’omusanvu emirimu gye gyeyakola; n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu mu mirimu gye gyonna gye yakola.

 

 

 

Matayo 11:28-30

28 Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye  era abazitowereddwa, nange nnaabawummuza. 29 Mwetikke ekikoligo kyange muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe. 30 Kubanga ekikoligo kyange  si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.

 

35.Amaanyi n’amafuta ag’okulongoosa ensi. Ezeekyeri 39:11-14, Ebikolwaby’Abatume 3:20-21.

 

Ezeekyeri 39:11-14

11Awo olituuka ku lunaku olwo ndiwa Googi  ekifo eky’okuziikamu mu Isiraeri, ekiwonvu ky’abo abayitamu ku luuyi olw’ennyanja olw’ebuvanjuba: era kiriziyiza bonna abayitamu: era baliziika eyo Googi n’olufulube lwe lwonna: kale balikiyita nti kiwonvu Kamonugoogi. 12 Era ennyumba ya Isiraeri balimala emyezi musanvu nga babaziika; balongoose ensi.13 Weewawo, abantu bonna ab’omu nsi balibaziika; era kiriba kya kaati gye bali ku lunaku lwe ndigulumizibwa, bw’ayogera Mukama Katonda. 14 Era balyawulamu abasajja okuba n’omulimu ogw’olutata, abanaayitanga mu nsi okuziikanga abo abaliyitamu,  abalisigala ku maaso g’ensi, okugirongoosa: emyezi musanvu nga giweddeko balinoonya.

 

Ebikolwaby’Abaatume 3:20-21

20 naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu, 21 eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby’okulongoosezamu byonna,  Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu  abaaliwo okuva ku lubereberye .

         

36.Amaanyi n’amafuta agayimusa okuva mu kugwa oba aba agudde. Engero 24:16

 

Engero 24:16

Kubanga omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu nayimuka nate:

Naye ababi obuyinike bubasuula.

 

37.Amaanyi n’amafuta agayimiriza omuweereza mu mbeera enzibu n’atekkiriranya na kibi oba omulabe setaani  ate negaleeta okumuyimusa. Danyeri 3:10-30

 

Danyeri 3:10-30

10 Ggwe, ai kabaka, wateeka etteeka nti buli anawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadiinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, anaavunama n’asinza ekifananyi ekya zaabu: 11 era buli anaalema okuvuunama n’okusinza  alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro. 12 Waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu bigambo eby’essaza ery’e Babulooni, Saddulaaki, Mesaki,  ne Abeduneego: abasajja abo, ai kabaka, tebakulowoozezza: tebaweereza ba katonda bo, so tebasinza  kifaananyi kya zaabu kyewayimiriza. 13 Awo Nebukadduneeza n’alyoka asunguwala  ne yeejuumula  n’alagira okureeta Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga kabaka.14 Nebukadduneeza n’addamu n’abagamba nti Mmwe Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, mukigenderedde bugenderezi obutaweereza katonda wange, n’obutasinza kifaananyi kya zaabu kye nnayimiriza. 15 Kale nno, bwe munakkiriza nga muwulidde eddobozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga n’amadiinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, okuvuunama n’okusinza ekifaananyi kye nnakola, kale: naye bwe mutaasinze, mu kiseera ekyo munasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro: era katonda aluwa oyo anaabawonya mu mikono gyange? 16 Saddulaaki, Mesaki, ne  Abeduneego ne baddamu ne bagamba kabaka nti, ai Nebukadduneeza, tekitugwanira kukuddamu mu kigambo ekyo. 17 Bwe kinaaba bwe kityo, Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n’omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo ai kabaka. 18 Naye bwe kitaabe bwe kityo , tegeera, ai kabaka , nga tetugenda kuweereza ba katonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu  kye wayimiriza. 19 Awo Nebukadduneeza n’alyoka yeejuumuulira ddala, n’engeri y’amaaso ge n’ewanyisibwa eri Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego: n’ayogera, n’alagira ekikoomi kyake emirundi omusanvu okukira bwe kyali kyase. 20 N’alagira ab’amaanyi abamu ab’omu ggye lye okusiba Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, okubasuula mu kikoomi ekyaka n’omuliro. 21 Awo abasajja abo ne balyoka babasiba nga  bambadde seruwale zaabwe,  n’ebizibawo  byabwe n’eminagoro gyabwe, n’engoye zaabwe endala, ne babasuula wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro. 22 Awo kubanga kabaka yabakuutirira ddala, n’ekikoomi nga kyase  nnyo, ennimi z’omuliro ne zitta abasajja abo abakwaata Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. 23 n’abasajja abo abasatu, Saddulaaki, Mesaki ne Abedduneego ne bagwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro, nga basibiddwa. 24 Awo Nebukadduneeza kabaka n’alyoka yeewuunya, n’ayanguwa n’agolokoka: n’ayogera n’agamba abakungu  nti Tetusudde abasajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro?  Ne baddamu ne bagamba kabaka  nti mazima ai kabaka. 25 N’addamu n’ayogera nti  Laba, nze ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambula wakati mu muliro, so nga tebaliiko kabi; n’okufaanana  kw’owokuna kulinganga omwana wa bakatonda. 26 Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’e kikoomi ekyaka n’omuliro: n’ayogera nti Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, mmwe abaddu ba Katonda ali waggulu ennyo, mufulume mujje wano. Sadulaaki,Mesaki ne Abeduneego ne balyoka bafuluma wakati mu muliro. 27 N’abamasaza, n’abamyuka, n’abafuga, n’abakungu ba kabaka ne  bakungaana ne balaba abasajja abo, ng’omuliro tegubayinzizza mibiri gyagwe, so n’enviiri ez’okumitwe gyabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga teziwannyisibbwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubabaddeeko. 28 Nebukadduneeza n’ayogera nti Katonda  wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we era awonnyezza abaddu be abamwesize ne bawanyisa ekigambo kya kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe, baleme okuweereza  newakubadde  okusinza katonda yenna, wabula Katonda waabwe bo. 29 Kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n’eggwanga, n’olulimi, abanaayogeranga obubi bwonna ku Katonda  wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, balitemebwatemebwa, n’ennyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo. 30 Kabaka n’alyoka akuza Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, mu ssaza ery’e Babulooni.

 

38.Amaanyi n’amafuta og’okukutegekera abaddu n’abazaana( abayambi) Eseza 2:9

 

 

Eseza 2:9

Awo omuwala oyo n’amusanyusa, n’afuna ekisa eri ye;  n’ayanguwa okumuwa ebintu bye eby’okulongoosa wamu n’emigabo gye n’abawala omusanvu abaagwanira okubamuwa nga baggibwa  mu nnyumba ya kabaka:  n’amujjulula ye n’abawala be n’abayingiza  mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey’abakazi.

 

39.Amaanyi n’amafuta og’okukutwala oba okukusindika mu kuwonga oba okwanjula eby’enfuna oba eby’obugagga,  emirimu, amaka, obuweereza n’ebirara eri Katonda. 2 Ebyomumirembe 7:8-10, 1 Bassekabaka 8:63

 

2 Ebyomumirembe 7:8-10

8 Awo Sulemaani n’afumba embaga mu biro ebyo ey’ennaku musanvu,ne Isiraeri yenna wamu naye ekibiina ekinene  ennyo,  okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak’e Misiri.9 Awo ku lunaku olw’omunaana ne bakungaana okukungaana okutukuvu;  kubanga  embaga ey’okuwonga ekyoto  baagikwatira ennaku musanvu, n’embaga ennaku musanvu,10 Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ssatu olw’omwezi ogw’omusanvu n’asindika abantu mu weema zaabwe,  nga basanyuse era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be.

 

1 Bassekabaka 8:63

Sulemaani n’awaayo okuba ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe gye yawaayo eri Mukama ente obukumi bubiri mu enkumi bbiri n’endiga kasiriivu mu obukumi bubiri. Bwe batyo kabaka n’abana ba Isiraeri bonna ne bawoonga  ennyumba ya Mukama.

 

40.Amaanyi n’amafuta agw’okwawula ekkanisa, enjigiriza, omulokole omutuufu, ebituufu n’ebitali bituufu. Isaaya 4:1, Ebikolwaby’Abatume 19:14-20,Okubikkulirwa 3:9,17-20.

 

Isaaya 4:1

Era abakazi omusanvu balwekwata ku musajja omu ku lunaku luli, nga boogera nti Tunalyanga emmere yaffe ffe, era tunayambalanga ebyambalo byaffe ffe: kyokka tutuumibwe erinnya lyo; otuggyeko ekivume kyaffe.

 

Ebikolwaby’Abatume19:14-20

14 Awo waaliwo abaana musanvu aba Sukeewa omuyudaaya kabona omukulu, abaakola bwe batyo. 15 Dayimooni n’addamu n’abagamba nti Yesu mmutegeera ne Pawulo mmumanyi; naye mmwe be ani? 16 Omuntu eyaliko Dayimooni n’ababuukira n’abasinga bonna n’abayinza, n’okudduka ne badduka okuva mu nnyumba eri nga bali bwereere nga balina ebiwundu. 17 Ekyo ne kitegeerwa bonna Abayudaaya n’Abayonaani abaatuulanga mu Efeeso; entiisa n’ebakwata bonna, erinnya lya Mukama waffe Yesu ne ligulumizibwa. 18 Era bangi ku bo abakkiriza ne bajja, ne baatula ne bategeeza ebikolwa byabwe. 19 Era bangi ku bo abaakolanga eby’obufumu ne bakungaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gabwe bonna: ne babala omuwendo gwabyo ne balaba ebitundu bya ffeeza obukumi butaano. 20 Bwe kityo ekigambo kya Mukama waffe ne kyeyongeranga mu maanyi ne  kiwangula.

 

Okubikkulirwa 3:9, 17-20

9Laba ngaba ab’omukungaaniro  lya setaani  abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okujja okusinza mu maaso g’ebigere byo, era ndibamanyisa   nga  nnakwagala.

 

17-20

17 Kubanga oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so siriiko kye nneetaaga,  so tomanyi ng’oli munnaku ggwe era osaasirwa era omwavu era omuzibe w’amaaso era ali obweerere: 18  nkuwerera amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, n’engoye enjeru, olyoke oyambale, era ensonyi ez’obwereere bwo zireme okulabika; n’eddagala ery’okusiiga ku maaso ge, olyoke olabe. 19 Nze bonna benjagala mbanenya , era mbabuulirira: kale nyikira weenenye. 20 Laba, nyimiridde ku luggi, nneeyanjula:  omuntu yenna bwawulira eddoboozi lyange, n’aggulawo oluggi, nnaayingira gy’ali, era naalira wamu naye, naye nange.

 

41.Amaanyi n’amafuta ag’okuvvunuka emiteeru oba embeteza. Olubereberye 41:2-7,49,50-57, Okubikkulirwa 22:1-2.

 

Olubereberye 41:2-7,49,50-57

2 Era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu ennungi eza ssava; ne ziriira mu lusa. 3 Era, laba, ente endala musanvu ne ziziddirira ne ziva mu mugga, embi enkovvu; ne ziyimirira ku mabbali g’omugga awali ente endala. 4 N’ente embi enkovvu  ne zirya ente omusanvu ennungi eza ssava. Kale Falaawo n’azuukuka. 5 Neyebaka n’aloota omulundi ogw’okubiri: era, laba, ebiriimba by’e ngaano musanvu ne bimera ku kiti kimu, ebigimu ebirungi. 6 Era, laba, ebiriimba musanvu ebitono ebikaze n’empewo ez’ebuvanjuba ne bibiddirira ne bimera. 7 Ebiriimba ebitono ne bimira ebiriimba omusanvu ebigimu ebinene. Falawo n’azukuka, era, laba, kibadde kirooto.

 

49,50-57

49 Yusufu n’atereka engaano ng’omusenyu gw’ennyanja, nnyingi nnyo okutuusa lwe yaleka okubala; kubanga teyabalikika. 50 Abaana babiri ne bazalirwa Yusufu omwaka gw’enjala nga tegunnatuuka, Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow’e Oni be yamuzaalira. 51 Yusufu n’atuuma omubereberye erinnya Manase: nti kubanga Katonda annerabizza okutegana kwange n’ennyumba ya kitange yonna. 52 N’owokubiri n’amutuuma erinnya Efulayimu: nti kubanga Katonda yanjaliza mu nsi ey’okubonaabona kwange. 53 Emyaka omusanvu egy’ekyengera egyabaawo mu nsi ey’e Misiri ne giggwaako. 54 Emyaka omusanvu egy’enjala  ne gitanula okujja,  nga Yusufu bwe yayogera;  enjala n’egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey’e Misiri emmere nga mweri. 55 Era ensi yonna ey’e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw’emmere: Falaawo  n’agamba Abamisiri bonna nti mugendenga eri Yusufu; by’anaabagambanga mukolenga bwe mutyo. 56 Enjala n’ebuna ensi zonna: Yusufu n’aggulawo amawanika gonna, n’aguzanga Abamisiri; enjala n’eba nnyingi mu nsi ey’e Misiri. 57 N’abe nsi zonna ne bajjira Yusufu mu Misiri  okugula engaano; kubanga enjala  yali nnyingi mu nsi zonna.

 

Okubikkulirwa 22:1-2

1 N’andaga omugga og’amazzi ag’obulamu, ogumasamasa ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda  n’eyOmwana gw’endiga, 2 Wakati w’olugudo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti ogw’obulamu, ogubala ebibala ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga.

 

42.Amaanyi n’amafuta ag’okuwangula n’okufuga abalabe nga  bakkakkanye okutuuka okuwa ebirabo oba emisolo n’okusanyawo eby’okulwanyisa byabwe. Ezeekyeri 39:7-10, 1 Ebyomumirembe 18:1-4.

 

Ezeekyeri 39:7-10

7 Era ndimanyisa erinnya lyange ettukuvu wakati mu bantu bange Isiraeri; so siriganya erinnya lyange ettukuvu okulivuma nate: kale amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri.8 Laba, kijja era kirikolebwa, bw’ayogera Mukama Katonda: luno lwe lunaku lwe nnayogerako. 9 N’abo abatuula mu bibuga bya Isiraeri balifuluma; ne babissaako omuliro eby’okulwanyisa, engabo era n’obugabo, emitego n’obusaale, n’emiggo gy’omu mukono n’amafumu, balibissizaako omuliro emyaka musanvu: 10 n’okutyaba ne batyaba  enku mu ttale so tebalituuma nku zonna  mu kibira, kubanga balibissaako omuliro ebyokulwanyisa: era era balinyaga abo abaabanyaganga, era balibaggyako abo abaabaggyangako, bw’ayogera Mukama Katonda.

 

1 Ebyomumirembe 18:1-4

1 Awo oluvannyuma lw’ebyo olwatuuka Dawudi n’akuba Abafirisuuti  n’abawangula, n’aggya Gaasi n’ebyalo byako mu mukono gw’Abafirisuuti. 2 N’akuba Mowaabu; Abamowabu ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuleteranga ebirabo. 3 Dawidi n’akuba Kadalezeri w’e Zoba okutuusa e Kamasi, bwe yali ng’a agenda okunyweza okufuga kwe ku mugga Fulaati. 4 Dawudi n’amunnyagako amagaali lukumi, n’abebagala embalaasi kasanvu, n’abatambula n’ebigere obukumi bubiri: Dawudi n’azitema enteega embalaasi zonna ez’amagaali,  naye n’aterekako ez’amagaali lukumi.

 

43.Amaanyi n’amafuta ag’okuzikiriza olulimi lw’omulabe oba omubi. Isaaya 11:15

 

Isaaya 11:15

Era Mukama alizikiririza ddala olulimi lw’ennyanja ey’e Misiri; era alikunkumulira omukono gwe  ku mugga n’empewo ye ekaza, n’agukuba n’agufuula  emigga  musanvu, n’asomosa abantu nga tebatobye  bigere.

 

44.Amaanyi n’amafuta ag’okukusimba mu bukulembeze nga olina n’amagezi ag’okuddabiriza oba okulongoosa. 2 Bassekabaka11:21, 2Ebyomumirembe 24:1-4

 

2 Bassekabaka 11:21

Yekoyaasi yali yakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga.

 

2 Ebyomumirembe 24:1-4

1 Yowaasi yali yakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga; n’afugira emyaka  amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow’e Beeruseba. 2 Yowasi n’akola ebyali mu maaso ga Mukama  ebirungi  ennaku zonna eza Yekoyaada kabona. 3 Yekoyaada n’amuwasiza abakazi babiri; n’azaala abaana ob’obulenzi n’abobuwala. 4 Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebyo Yowaasi  n’ayagala  okuddabiriza  ennyumba  ya Mukama.

 

45.Amaanyi n’amafutaag’okukola endagaano ne Mukama olw’obuweereza.  2Ebyomumirembe 29:10-11,20-21, Isaaya 19: 21

 

2 Ebyomumirembe 29:10-11

10 Era kiri mu mutima gwange okulagaana endagaano ne Mukama Katonda wa Isiraeri, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kituveeko. 11 Baana bange , temutenguwanga nno: kubanga Mukama abalonze okuyimirira  mu maaso ge okumuweerezanga,  era muberenga baweereza be, mwotezenga obubaane.

 

20-21

20 Awo Kezekiya kabaka n’agolokoka enkya mu  makya, n’akungaanya abakulu b’ekibuga, n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama. 21 Ne baleeta ente musanvu  n’endiga ennume musanvu n’abaana b’endiga musanvu  n’embuzi ennume musanvu okuba ekiweebwayo olw’ekibi olw’obwakabaka n’olwekiggwa n’olwa Yuda. N’alagira  bakabona  batabani ba Alooni okubiweerayo ku Kyoto kya Mukama.

 

Isaaya 19:21

Era Mukama alimannyibwa Misiri, n’Abamisiri balimanya  Mukama ku lunaku  luli; weewawo balisinza ne ssaddaaka n’ebitone, era balyeyama obweyamo eri Mukama era balibutuukiriza.

 

46.Amaanyi n’amafuta ag’okukulembera okuyingira mu kiwummulo eky’emirembe  n’emirembe. Abaebulaniya 4:4-11

 

Abaebulaniya 4:4-11

4 Kubanga  waliwo w’ayogerera ku lunaku olw’omusanvu bw’ati, nti Katonda n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu mu mirimu gye gyonna; 5 era nate ne mu kino nti

Tebaliyingira mu kiwummulo  kyange.

6 Kale kubanga kisigadeyo abalala okukiyingiramu, n’abo abaasooka okubuulirwa enjiri  ne batayingira olw’obutagonda, 7 nate ayawula olunaku gundi, ng’ayogera mu Dawudi oluvannyuma lw’ebiro ebingi bwe biti, nti leero, nga bwe kyogeddwa olubereberye,

Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe. 8 Kuba singa Yoswa yabawummuza, teyandyogedde ku lunaku lulala oluvannyuma lw’ebyo. 9 Kale wasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda. 10 Kubanga ayingidde mu kiwummulo kye, era naye ng’awummudde mu mirimu gye, nga Katonda bwe yawummula mu gigye. 11 Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna aleme okugwa mu ngeri eyo ey’obutagonda.

 

47.Amaanyi n’amafuta ag’okusimattuka enjala n’emitawaana oba obulumbaganyi.

Olubereberye 31:20-24, 2 Bassekabaka 8:1-6.

 

Olubereberye 31:20-24

20 Yakobo n’agenda mu kyama Labbaani omusuuli nga tamanyi, kubanga teyamubuulira ng’adduka. 21 Bw’atyo n’adduka ne byonna bye yalina; n’agolokoka n’awunguka omugga, n’akyusa amaaso ge eri olusozi olwa Gireyaadi.

22 Ne babuulira Labbaani ku lunaku olw’okusatu nga Yakobo yadduka. 23 N’atwala  naye baganda be, n’amugoberera olugendo lwa nnaku musanvu; n’amutuukakako ku lusozi Gireyaadi. 24 Katonda n’ajjira Labbaani omusuuli mu kirooto eky’ekiro, n’amugamba nti  Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi.

 

2 Bassekabaka 8:1-6

1 Era Erisa yali agambye omukazi gwe yazuukiriza omwana we ng’ayogera nti Golokoka ogende  ggwe n’ennyumba yo obeere yonna yonna gy’oliyinza okubeera:  kubanga Mukama ayise enjala;  kale n’okugwa erigwa ku nsi emyaka musanvu. 2 Awo omukazi n’agolokoka n’akola ng’ekigambo bwe kyali eky’omusajja wa Katonda : n’agenda n’ennyumba ye n’abeera mu nsi y’abafirisuuti emyaka musanvu. 3 Awo olwatuuka emyaka musanvu bwe gyayitawo, omukazi n’akomawo  ng’ava mu nsi y’Abafirisuuti: n’afuluma okukaabirira  Kabaka olw’ennyumba ye n’ekyalo kye. 4  Awo kabaka yali ng’ayogera ne Gekazi  omuddu w’omusajja wa Katonda ng’agamba nti Nkwegayiridde, mbuulira ebikulu byonna Erisa bye yakola. 5 Awo olwatuuka bwe yali nga’abuulira kabaka  bwe yazukiza oyo eyali afudde, laba, omukazi gwe yazukiriza omwana we  n’akaabirira kabaka  olw’ennyumba ye  n’ekyalo kye. Gekazi n’ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, ono ye mukazi noono ye mwana we Erisa gwe yazuukiza.  6 Awo kabaka bwe yabuuza omukazi n’amubuulira. Awo kabaka n’amuteekako omumbowa omu ng’ayogera nti muddize byonna ebyali ebibye n’ebirala byonna eby’ebyalo okuva ku lunaku  lwe yaviiramu mu nsi  okutuusa leero.

 

48.Amaanyi n’amafuta  ag’okwawula obulamu bwaffe okuba ssaddaaka entukuvu.

Olubereberye 7:1-3, Olubereberye 8:20-22, Zabbuli15, Abaruumi 12:1

 

Olubereberye 7:1-3

1 Mukama n’agamba Nuuwa nti Yingira ggwe n’ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu maaso gange mu mirembe gino. 2 Mu buli nsolo nnongoofu twala musanvu musanvu ensajja n’enkazi yaayo; era ne mu nsolo ezitali nnongoofu bbiri ensajja n’enkazi yaayo; 3 era ne mu bibuuka waggulu, musanvu musanvu, ekisajja n’ekikazi: ezzadde liryoke libe eddamu ku nsi yonna.

 

Olubereberye 8:20-23

20 Nuuwa n’azimbira Mukama  ekyoto; n’alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n’aweerayo ebiweebyayo ebyokebwa ku Kyoto. 21 Mukama n’awulira evvuumbe eddungi Mukama n’ayogera mu mutima gwe nti Ensi  sikyagikolimira nate oluvannyuma ku lw’omuntu; kubanga okulowooza okw’omu mutima gw’omuntu kubi okuva mu buto bwe;  so sikyakuba nate oluvannyuma buli kiramu,  nga bwenkoze. 22 Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’okukungula, era empewo n’ebbugumu, era ekyeya n’ettogo, era emisana n’ekiro tebiggwengawo.

 

Zabbuli 15:1-5

1 Mukama anaatuulanga mu weema yo yaani?

Anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu yaani?

2 Oyo atambuulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Era ayogera eby’amazima mu mutima gwe.

3 Atawayiriza n’olulimi lwe, so mukwano gwe tamukola bubi,

So takkiriza kibi ku muliraanwa we.

4 Amaaso ge ganyooma omubi;

Naye abatya Mukama abassamu ekitiibwa.

Bw’alayira ne bw’afiirwa, takyuka.

5 Atawolera bintu bye magoba.

So taweebwa mpeera ku atalina musango.

Oyo akola ebyo taasagaasaganeenga emirembe gyonna.

 

Abaruumi 12:1

Kyenvudde mbegayirira, aboluganda, olw’okusaasira kwa Katonda; okuwaayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza  kwammwe  okw’amagezi.

 

  1. Amaanyi n’amafuta ag’okukuwa okubikkulirwa n’okusobola okulaba ekkanisa bweyimiridde oba ensonga endala yonna. Okubikkulirwa 1:1-11

 

Okubikkulirwa 1:1-11

1 Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be  ebigwanira okubaawo amangu: n’abuulira mu Malayika we ng’amutuma eri omuddu we Yokaana, 2 eyateegeza ekigambo kya Katonda n’okutegeeza kwa Yesu Kristo, byonna bye yalaba. 3 Alina omukisa oyo asoma, n’abo abawulira ebigambo by’obunnabbi buno, era abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi. 4 Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez’omu Asiya: ekisa kibeerenga nammwe n’emirembe ebiva eri oyo abaawo era yabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye; 5 era abiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w’abafu, era afuga bakabaka b’omu nsi. Atwagala era eyatusumulula mu bibi  byaffe olw’omusaayi gwe; 6 n’atufuula obwakabaka,  bakabona eri Katonda kitaawe; ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe , Amiina. 7 Laba, ajja n’ebire; era buli liiso lirimulaba, n’abo abaamufumita; n’ebika byonna eby’omu nsi birimukubira  ebiwoobe. Weewawo, Amiina.

8 Nze ndi Alufa ne Omega, bw’ayogera Mukama Katonda, abaawo era yabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w’ebintu byonna. 9 Nze Yokaana muganda wammwe era assa ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kiziinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeeza kwa Yesu. 10 Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ddene, ng’ery’akagombe, 11 nga koogera nti Kyolaba, wandiika mu kitabo, okiweereze ekkanisa omusanvu; eri Efeso, n’eri Sumuna, n’eri Perugamo, n’eri Suwatira, n’eri Saadi, n’eri Feraderufiya, n’eri Lawodikiya.

 

50.Amaanyi n’amafuta ag’emikisa omusanvu oba egituukiridde oba okukulakulana, Olubereberye 12:1-4, Okubikkulirwa 5:9-12.

 

Olubereberye 12:1-4

1 Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti Va mu nsi yannyo, era awali ekika kyo, n’ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gyendikulaga; 2 nange ndikufuula eggwanga ddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe: 3 nange naawanga omukisa abanakusabiranga ggwe omukisa, n’oyo anakukolimiranga nnaamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby’omu nsi  mwe biriweerwa omukisa. 4 Bw’atyo Ibulaamu n’agenda, nga  Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n’agenda naye: Ibulaamu yali yaakamaze

emyaka nsanvu mu etaano bweyava mu Kalani.

 

Okubikkulirwa 5:9-12

9Ne bayimba oluyimba luggya, nga boogera nti osaanidde okutoola ekitabo n’okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n’ogulira  Katonda olw’omusaayi gwo mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga, 10 n’obafuula eri  Katonda waffe obwakabaka  era bakabona; era abafuga ku nsi. 11 Ne  ndaba ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi abeetorodde entebe n’ebiramu n’abakadde; n’omuwendo gwabwe gwali obukumi emirundi ebikumi, mu enkumi emirundi enkumi. 12 nga bogeera n’eddoboozi ddene nti Asaanidde omwana gw’endiga eyattibwa okuweebwa obuyiinza n’obugagga n’amagezi n’amaanyi n’ettendo n’ekitiibwa n’omukisa.

 

Oluvannyuma lw’okuweebwa amaanyi n’amafuta ag’emirundi ataano (50) tulina ate okuzzaako eddaala eddala ery’okuwandiikibwa mu kitabo ky’eggulu n’okugattibwa ku lukalala  lw’abaweereza abagenda okuweereza mu manyi mu mulembe guno ogusembayo era n’okuweebwa obuyinza bw’okuweereza  mu mulembe guno mu butongole.

Ekirala ky’olina okukola ku nsonga eno kwe kusaba n’okusiiba okumala ennaku bbiri nga tolya kintu kyonna wadde okunywa ekintu kyonna;  ezo nno zibeera essaawa ana mu munaana (48) (okugeza  nga okuva ku lunaku lw’okusatu ku makya okutuuka ku lunaku olw’okutaano ku makya) n’okuwa omusolo gwa Shs 5000/= ( enkumi ttaano) guno nga gwe gukuweesa obuyinza n’okutekebwa ku lukalala lw’abaweereza b’omulembe guno ogw’oluvannyuma.

 

Kakati ate ekirala ekikufuula omuweereza  ng’omaze okukola ebyo  kwe kukkakana wansi n’oyigirizibwa n’okutendekebwa obulungi abasomesa abaayigirizibwa  ne batendekebwa  bulungi. Awo nno oluvannyuma  lw’okukakasa nti oyiggiriziddwa  era otendekeddwa  bulungi olwo nno n’olyoka osabirwa n’okkirizibwa okuweereza mu butongole.

 

Mukama waffe Yesu Kristo bwe yatandika obuweereza bwe yalonda abayigirizwa kkumi na babiri (12)  n’amala nabo ekiseera nga kya myaka esatu (3) ng’abayigiriza oluvannyuma y’abatuma  mu butongole ne batandika okuweereza eri amawanga gonna. Matayo 10:1-8, Makko 6:7-13, Makko 16:15-20.

Matayo 10:1-8

1N’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, n’abawa obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n’okuwonyanga endwadde zonna n’obunafu bwonna.

2Abo ekkumi n’ababiri, amannya gabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Petero, ne  Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we; 3 Firipo, ne Battolomaayo; Tomasi, ne Matayo omuwooza; Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo; 4Simooni omukananaayo, ne Yuda Isukalyoti,  ye yamulyamu olukwe. 5 Yesu n’abatume abo ekkumi n’ababiri n’ababulirira , ng’agamba nti

Temugendanga mu makubo g’ab’amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by’Abasamaliya; 6 naye wakiri mugende eri endiga ezaabula ez’omu nnyumba ya Isiraeri. 7 Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw’omu ggulu bunatera okutuuka. 8 Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.

 

Makko 6:7-13

7 N’ayita gyali ekkumi n’ababiri, n’atanula okubatuma kinnababirye; n’abawa obuyinza ku dayimooni; 8 n’abalagira obutatwala kintu kya mu kkubowabula omuggo gwokka; si mmere newakubadde emmere, newakubadde ensawo, newakubadde ebikomo mu nkoba zaabwe, 9 naye nga banaanise engatto; era temwambalanga kkanzu bbiri. 10 N’abagamba nti Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 11 Na bulu kifo kyonna ekitalibakkiriza, obutabawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gye  bali. 12  Ne bagenda ne babuulira okwenenya. Ne bagoba dayimooni mungi, ne basiiga amafuta ku balwadde bangi ne babawonya.

 

Makko 16:15-18

15 N’abagamba nti  Mugende mu nsi zonna,  mubuulire enjiri eri ebitonde byonna. 16 Akkiriza n’abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga. 17 Era obubonero buno bunaagendanga naabo abakkiriza:  banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya; 18 banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta,  tekiibakolenga kabi n’akatono; banassangako  emikono abalwadde, nabo banaawonanga.

 

Tugenda kukulakulana emirundi ebiri mu buli kimu era Katonda waffe ye mutandisi wa buli kimu era ye yatandika  okubala agenda  kukubisaamu.

 

Okubikkulirwa 5:9-12                                     Zekkaliya 9:11-12

                                 7                          2  =14 ekikiikirira 2014 (omwaka kku

                                                                                     mi n’ena )

 

Okubikkulirwa 5:9-12

9 Ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti osaanidde  okutoola ekitabo n’okubembula obubonero  bwakyo: kubanga wattibwa n’ogulira Katonda olw’omusaayi gwo  mu  buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga, 10 n’obafuula  eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona; era bafuga ku nsi. 11 Ne ndaba ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi abeetoolodde entebe n’ebiramu n’abakadde; n’omuwendo gwabwe gwali obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi; 12 nga boogera n’eddoboozi ddene nti Asaanidde omwana gw’endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n’obugagga n’amagezi n’amaanyi n’ettendo n’ekitiibwa n’omukisa.

 

Zekkaliya 9:11-12

11Era naawe, olw’omusaayi ogw’endagaano yo, nziyemu abasibe bo  mu bunnya omutali mazzi. 12 Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi; ku lunaku lwa leero mbuulira nti ndikuddiza emirundi ebiri.

 

Ekyama ekyambikkulirwa olw’ekisa kya Mukama waffe; mpereddwa nnyo omukisa  singa tukwatagana era n’obuweereza buno; kubanga Katonda yambikkulira ekyama ky’omuti  oba emiti gy’obulamu, ogw’okuwonya ekkanisa n’ensi oba amawanga Okubikkulirwa, 22:1-2.

 

Okubukkulirwa 22:1-2

1Nandaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu, ogumasamasa ng’endabirwamu nga guva mu ntebe ya Katonda  n’eyOmwana gw’endiga, 2 wakati w’olugudo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti  ogw’obulamu, ogubala ebibala ekkumi n’ebiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga.

 

Emiti oba omuti gw’obulamu gubala ebibala kkumi na bibiri (12) , buli mwezi era mu bufuunze kitegeeza:

 

(a)Ennono kkumi na bbiri(12)  nga lye ddagala ery’okuwonya ekkanisa n’ensi ( amawanga)  Okubikkulirwa 22:1-2, Ebikolwa by’Abatume 3:20-21.

 

Okubikkulirwa 22:1-2

1 Nandaga omugga  ogw’amazzi  ag’obulamu ogumasamasa ng’endabirwamu  nga guva mu ntebe ya Katonda  n’eyOmwana gw’endiga, 2 Wakati  w’olugudo lwakyo. Era  eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti ogw’obulamu, ogubala ebibala ekkumi n’ebibiri, oguleta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya  amawanga.

 

Ebikolwaby’Abatume 3:20-21

20 naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu, 21 eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu  okutuusa mu biro eby’okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogerera mu kamwa  ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye.

 

(b)Bye bisumuluzo ekkumi n’ebibiri ebisumulula n’okusiba ebikwatagana n’eggulu. Matayo 16:19

 

Matayo 16:19

Ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omuggulu: kyonna kyonna ky’olisiba ku nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna kyolisumulula ku nsi kirisumululwa mu ggulu.

 

(c)Bye by’okulwanyisa ekkumi n’ebibiri ebimenya ebigo ebigulumivu n’okujeemula buli kirowoozo okugondera Yesu Kristo. 2 Abakkolinso 10:3-6, Abafiripi 2:10-11, Zabbuli 110:1-7, 1 Abakkolinso 15:23-27, Danyeri 7:9-14.

 

2 Abakkolinso 10:3-6

3 Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri 4( kubanga eby’okulwanyisa  by’entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw’okumenya ebigo);  5 nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n’okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemula buli kirowoozo okuwulira Kristo; 6 era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku butagonda bwonna, okugonda kwammwe bwe kulituukirira.

 

Abafiripi 2:10-11

10 buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omu ggulu n’e by’oku nsi n’eby’a wansi w’e nsi,11 era buli lulimi lwatulenga nga  Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda kitaffe aweebwe ekitiibwa.

 

Zabbuli 110:1-7

1 Mukama agamba Mukama wange nti

Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,

Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.

2 Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi go okuva mu sayuni.

Ggwe fugira wakati mu balabe bo.

3 Abantu bo beewayo n’omyoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo:

Mu bulungi obw’obutuukirivu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo,

Oguva mu lubuto lw’enkya.

4 Mukama yalayira so talyejjusa,

Nti ggwe oli kabona emirembe gyonna.

Ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga,

Alijjuza ebifo emirambo;

Alifumita omutwe munsi ennyingi.

7 Alinnywa ku nsulo eri mu kkubo

Kyaliva ayimusa omutwe.

 

1 Abakkolinso 15:23-27

23 Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe. 24 Enkomerero n’eryoka etuuka  bw’aliwaayo obwakabaka  eri Katonda ye kitaawe; Bwaliba nga amaze okujjawo okufuga kwonna n’amaanyi gonna n’obuyinza. 25 Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw’alissa  abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. 26 Omulabe ow’enkomerero aliggibwawo, kwe  kufa. 27 Kubanga kyawandiikibwa nti Yassa byonna wansi w’ebigere bye.

Naye bw’ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegeerekeka ng’oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we.

 

Danyeri 7:9-14

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi  n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’okumutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi z’amuliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga gw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi  baayimirira mu maaso ge : omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwaako: naye obulamu bwazo ne  bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13 Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba,ne wajja omu eyafaanana ng’Omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 14 N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga ne nnimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga  okw’emirembe gyonna okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.

 

(d) Gye miryango kkumi n’ebiri mu kibuga ekiggyaYerusaalemi oba ekkanisa ey’okuteekebwatekebwa  oba ey’okuyonjebwa obulungi ng’omugole. Okubikkulirwa 21:21, Okubikkulirwa 19:7-8.

 

Okubikkulirwa 21:21

N’emiryango kkumi n’ebiri luulu kkumi na bbiri,buli gumu ku miryango gwali gwa luulu emu:  n’oluguudo olw’ekibuga Zaabu ennungi, ng’endabirwamu etangalijja.

 

Okubikkulirwa 19:7-8

7  Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga Obugole bw’Omwana gw’endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese. 8 N’aweebwa okwambala bbafuta entukuvu ennungi: kubanga bbafuta eno bye bikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu

 

(e) Gy’e misiingi ekkumi n’ebiri  n’amayinja ag’omuwendo ekkumi n’abiri mu kibuga ekiggya Yerusaalemi. Okubikkulirwa 21:14, Isaaya 54:11

 

Okubikkulirwa 21:14

Ne bbugwe w’ekibuga yalina emisingi kkumi n’ebiri, ne kubaako amannya kkumi n’abiri ag’abatume ekkumi n’ababiri ab’omwana gw’endiga.

 

Isaaya 54:11

Ggwe abonyaabonyezebwa, asuukundibwa n’omuyaga so tosanyusibwa, laba, nditeeka amayinja go mu mabala amalungi, ne nsimba emisingi gyo ne safiro.

 

(f) Entebe  ezaateekebwawo okuva mu ggulu- (bufuzi bwa Katonda ) omukadde eyaakamala  ennaku ennyingi n’atuula ( enteekateeka ya Katonda  nga bwe yali mu lubereberye ey’omuti gw’obulamu ) Olubereberye 2:15-17

 

Olubereberye 2:15-17

15 Mukama Katonda n’atwala omuntu, n’amuteeka mu lusuku Adeni  alulimenga alukuumenga. 16 Mukama Katonda n’alagira omuntu  n’amugamba nti Buli  muti  ogw’omu lusuku  olyangako nga bw’onoyagalanga: 17 naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi  togulyangako: kubanga olunaku lw’oli gulyako tolirema kufa.

 

Okuyita mu mukadde waliwo amaanyi, omuliro n’ekitala okutta, okwokya n’okuzikiriza ensolo oba obumu obuwakanya Kristo. Danyeri 7:9-11, Okubikkulirwa 17:14, Okubikkulirwa 18:6-24

 

Danyeri 7:9-11

7 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe  ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maso ge : enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge:  Omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzukirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro.

 

Okubikkulirwa 17-14

Abo balilwana n’omwana gw’endiga , n’Omwana gw’endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami , era ye Kabaka wa bakabaka; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa.

 

Okubikkulirwa 18:6-24

6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye  bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga  bwe yegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti  Ntudde nga kabaka,  so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda w’amaanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’e nsi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa  kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze,ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo  gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu  akyagula obuguzi bwabwe; 12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu ne bbafuta ennungi, n’oluguye olw’effulungu, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kuntu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’eky’ekikomo, n’eky’ekyuma, n’ekyejjinja eddungi; 13 n’eky’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane,n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge, n’amafuta, n’obutta obulungi,  n’engaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma  n’ ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisa y’okubanaabona kwe,  nga  bakaaba  nga banakuwala; 16 nga boogera nti Zsikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bbafuta  ennungi n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ekiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu!17 Kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja  ne bonna abakola emirimu egy’omunnyanja,  ne bayimirira wala 18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw’okwokebwa   kwe, nga boogera nti kiruwa ekifaanana  ng’ekibuga ekinene?  19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwalanga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kyebagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi , kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 20 Mumusanyukire, eggulu, nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe ba nnabbi; kubanga Katonda  amusalide omusango gwammwe. 21 Malayika ow’ammanyi n’asitula ejjinja eddene ng’olubengo olunene,  n’alisuula mu nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene,  bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe. 23 newakubadde okutangaala kw’ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe;  newakubadde eddoboozi  ly’awasa omugole n’eryomugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalumbibwa. 24 Era n’omusaayi gw’abannabbi n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.

 

Okugaziyaako katono ebikwata ku nsolo, okuttibwa n’omubiri gwayo okuzikirizibwa n’okwokebwa omuliro. Danyeri 7:11,  Okubikkulirwa 17:14, Okubikkulirwa 18:1-24

 

Danyeri 7:11

Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ely’ebigambo  ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, N’eweebwayo okwokebwa omuliro.

 

Okubikkulirwa 17:14

14 Abo balirwana n’omwana gw’endiga, n’omwana gw’endiga  alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami,era ye kabaka wabakabaka; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa.

 

Okubikkulirwa 18:1-24

1 Oluvannyuma lw’ebyo n’e ndaba Malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti kigudde, kigudde Babbulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi mbi ekyayibwa. 3 Kubanga olw’omwenge gw’obusuungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’e nsi ne bayenda naye,  n’abatunzi b’e nsi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe. 4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa  ku bibonyoobonyo bye: 5 kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye. 6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mu mwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bwe yeegulumiza n’akabawala,  mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala: kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala,;  era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’ensi, abayenda ne bakabawala  naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 10  nga bayimiridde wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze  ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwe; 12 obuguzi obw zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu,  ne bafuta ennungi, n’olugoye  olw’effulungu , ne aliiri, n’olugoye olumyufu;    na buli muti  ogw’omugavu, na buli kintu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’eky’ekikomo, n’ekyekyuma, n’ekyejjinja eddungi; 13 n’eby’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubbaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge, n’amafuta n’obutta obulungi, n,engaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna  ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisay’okubonaabana kwe, nga bakaaba nga banakuwala, 16 nga boogera nti Zikisanze, zikisanze ekubuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ekiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu!17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy’omunnyanja, ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka  ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti kiruwa  ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze , ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu   abaalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 20 Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda  amusalidde omusango gwammwe. 21 Malayika ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene ng’olubengo olunene, n’alisuula mu nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emireren’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w’emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’olubengo teririwulirwa nate mu ggwe 23 newakubadde okutangaala kw’ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’awasa omugole n’eryomugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali alangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna galimbibwa. 24 Era n’omusaayi gwa bannabbi  n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa  ku nsi gwalabika mu ye.

 

Kitegeeza ebibina bisatu ebikiikirirwa mu Baibuli omuwendo mukaaga emirundi esatu( 666).

Wano omuwendo mukaaga (6) gukiikirira amagezi g’e nsi,  okutegeera kwayo, obusobozi, amaanyi,obuyinza n’amafuta g’omubi(setaani) mu bufuzi bw’abantu. Okubikkulirwa 13:4

 

Okubikkulirwa 13:4

Ne basinza ogusota, kubanga gwawa ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga boogera nti Ani afaanana ng’ensolo?  Era ani ayinza okulwana nayo?

 

 

Ate omuwendo musanvu (7) gukiikirira kusukkuluma, bujjuvu,emirembe oba ekiwummulo, amagezi g’eggulu, okutegeera,  okumanya,  obusobozi, amaanyi, obuyinza n’amafuta ag’omwoyo omutukuvu mu bantu ( abalokole). Yesu Kristo omulangira  w’emirembe oba Katonda eyatonda buli kimu.

6 – Gukiikirira (Bungereza ne America) ly’ejjembe ery’e nsolo  eriyimiridde kulw’obufuzi bwonna obwasooka okufuga ensi yonna.

Danyeri 7:1, Okubikkulirwa 13: 3, 11-14

 

Danyeri 7:1

Mu mwaka ogw’olubereberye  ogwa  Berusaza kabaka w’e Babulooni Danyeri n’aloota ekirooto n’omutwe gwe bye gwayolesebwa ku kitanda kye: n’alyoka awandiika ek irooto n’ayatula ebigambo nga bigattibwa wamu.

 

Okubikkulirwa 13:3, 11-14

3 Kale jjukira bwe waweebwa ne bwe wawulira; okwate weenenye. Kale bw’otalitunula , ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli.

 

11-14

11 Njjija mangu: nyweza ky’olina, omuntu yenna aleme okutwala engule yo. 12 Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika nu ye erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’e kibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n’erinnya lyange eriggya. 13 Alina okutu awulire omwoyo ky’agamba ekkanisa . 14 Era eri malayika ow’ekkanisa ey’omu Lawodikiya wandiika nti Bw’ati bw’ayogera oyo Amiina; omujulirwa omwesigwa era ow’amazima,  olubereberye  lw’okutonda kwa  Katonda,

 

6- Akakiiko k’amawanga amagatte (Uited Nations), kye kifaananyi  eky’ensolo.  Okubikkulirwa 13:15

 

Okubikulirwa 13:15

N’eweebwa okuwa ekifaananyi eky’ensolo okussa omukka, ekifaananyi eky’ensolo kiryoke  ky’ogere , era kisse bonna abatasinza kifaananyi  kya nsolo.

 

6- Gukiikirira okwegatta kw’amadiini (Inter Religious Council) nga geekwese mu bufuzi bw’ensi obw’a Baruumi nga bukulemberwa ba Paapa – Ye  Mukazi atudde ku nsolo  nga ayambadde olw’effulungu. Okubikkulirwa 17:1-13

 

Okubikkulirwa 17:1-13

1 Ne wajja omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n’ayogera nange, ng’agamba nti  Jjangu wano, nange nnaakulaga omusango gw’omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi; 2 bakabaka b’e nsi gwe baayenda naye, n’abo abatuula ku nsi ne batamiira  omwenge gw’obwenzi bwe. 3 N’antwala mu ddungu mu mwoyo: ne ndaba omukazi, ng’atudde ku nsolo emmyufu, ng’ejjudde amannya ag’obuvvoozi, ng’erina emitwe musanvu n’amayembe kkumi. 4 Omukazi ng’ayambadde olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ayonjebwa  ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi, ne luulu, ng’alina , mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, y’e mpitambi ey’obwenzi bwe, 5 ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti EKYAMA, BABULOONI  EKINENE, NNYINA W’ABEENZI  ERA  OW’EMIZIZO GY’ENSI.

6 Ne ndaba omukazi oyo ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, n’omusaayi gw’abajulirwa ba Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewunya okweewuunya okunene. 7 Malayika n’angamba nti kiki ekikwewunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky’omukazi, n’eky’ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi. 8 Ensolo gye walabye  yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obatakoma  n’okugenda mu kubula N’abo abatuula ku nsi balyewunya,   abataawandiikibwa linnya lyabwe mu kitabo ky’obulamu kasookedde ensi eteekebwawo, bwe balilaba ensolo nga yaliwo era  nga tekyaliwo ate erijja. 9 Awo we wali owoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu z’ensozi omusanvu, omukazi z’atuddeko; 10 era be bakabaka omusanvu; abataano  baagwa,  omu w’ali, omulala tannaba kujja; era bw’alijja kimugwanira okumalawo ebiro bitono. 11 N’ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w’omunaana,  naye  ye w’okumusanvu, era agenda kubula. 12 N’amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi,  abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n’ensolo, okumala essaawa emu. 13 Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gabwe n’obuyinza.

 

Ebibiina bino ebisatu ekigendererwa kyabyo kulwanyisa mazima ga Baibuli oba Yesu Kristo omulangira ow’emirembe. Byefuula buli kiseera ebitabaganya oba ebireeta emirembe naye nga birimba  bantu;  zi Gavumenti  oba obwakabaka okusobola okubyesiga, okubikkiririzamu n’okubyesigamako mu kifo ky’okw’esiga, okukkiriza n’okw’esigama ku bwakabaka bwa  Katonda. Naye enkomerero yaabyo etuuse kubanga tewali we binasimattukira. Okubikkulirwa 17:14, Danyeri 7:9-14, Mikka 4:1-4,8, 11-13, Abaebulaniya 12:26-29, Okubikkulirwa 18 ne 19.

 

Okubikkulirwa 17-14

Abo balirwana n’omwana gw’endiga, n’Omwana gw’endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami, era Kabaka wabakabaka; era n’abo abali awamu naye, abalonde, abeesigwa.

 

Danyeri 7:9-14

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’okumutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo  muliro ogwaka. 10 Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira  mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa  n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulumu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13 Ne ndaba mw’ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omuggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusemberera mu maaso ge. 14 N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga ne nnimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.

 

Mikka 4:1-4,8,11-13

1 Naye mu  nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi lw’ennyumba ya Mukama luliba lunnywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusiinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu. 2 Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti mujje twambuke   eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n’ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi; aggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga, so tebayigenga kulwana nate. 4 Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini  gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama w’eggye ke kakyogedde.

8 Era naawe ggwe ekigo eky’ekisibo,akasozi ak’omuwala wa Sayuuni, kulituuka gyoli; weewawo okufuga okw’edda kulidda, obwakabaka obw’omuwala wa Yerusaalemi.

11 Ne kaakano amawanga mangi agakungaana okulwana naawe, agoogera nti Ayononeke, era amaaso gaffe gatunuulire ebyo bye gaagala nga bituuse ku Sayuuni. 12 Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga  abakungaanyizza  ng’ebinnywa  by’engaano ku gguuliro lye.

13 Yimuka, owuule,  ggwe omuwala wa Sayuuni;  kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n’ebintu byabwe eri Mukama w’ensi zonna.

 

Abaebulaniya 12:26-29

26 Eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka naye era n’eggulu. 27 N’ekyo nti ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo  kw’ebyo ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubeenga n’ekisa, kituweerezese okuweereza n’okutya: 29 kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.

 

Okubikkulirwa 18:1-24 

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba Malayika  omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye.2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi mbi ekyayibwa. 3 Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka  b’e nsi ne bayenda naye, n’abatunzi b’e nsi  ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe. 4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu  n’ebibi  bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 5 kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyoonono bye. 6 mumusasule  oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng’e bikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bwe yeegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala;  kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde  nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssirilaba nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja mu lunaku lumu ebibonyoobonyo bye  okufa, n’ennaku, n’enjala;  era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda   w’amaanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’e nsi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe balilaba  omukka ogw’okwokebwa  kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe,  nga boogera nti Zikisanze, zikisanze , ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu saawa emu omusango gwo gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe  kubanga tewali muntu akyagula  obuguzi bwabwe; 12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n’olugoye olw’effulungu, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu,  na buli kintu eky’essanga na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo,  n’ekyekikomo n’ekyekyuma,  n’eky’ejjinja  eddungi; 13 n’eky’akaloosa  n’ebinzaali, n’obubbane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge, n’amafuta, n’obutta obulungi, n’engaano, n’ente n’endiga; obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera nti  Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene  ekyayambazibwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ekiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! 17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy’omunnyanja ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu  bwe baalaba omukka ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti kiruwa ekifaanana  ng’ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 20 Mu musanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe  abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe. 21 Malayika ow’amaanyi n’asitula ejjinja ddene ng’olubengo olunene, n’alisuula mu nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene , bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so  tekirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga  n’abafuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w’emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’olubengo teririwulirwa nate mu ggwe 23 newakubadde okutangaala kw’ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’awasa omugole n’ery’omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa. 24 Era n’omusaayi gwa bannabbi n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.

 

Okubikkulirwa 19:1-21

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira eddoboozi eddene ery’ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; obulokovu, n’ekitiibwa, n’obuyinza bye bya Katonda waffe: 2 kubanga emisango gye gy’a mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n’obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly’omusaayi gw’abaddu be mu mukono gw’oyo. 3 Omulundi ogw’okubiri ne boogera nti Aleruuya . N’omukka gwe bunyooka emirembe n’emirembe. 4 N’abakadde amakumi abiri mu bana n’ebiramu ebinane bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya. 5 N’eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti mumutendereze Katonda waffe, mmwe mmwenna  abaddu be, abamutya, abato n’abakulu. 6 Ne mpulira ng’eddoboozi ly’amazzi amangi, era ng’eddoboozi ly’okubwatuka okw’amaanyi, nga boogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w’ebintu byona afuga. 7 Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw’omwana gw’endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese. 8 N’aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi:  kubanga bafuta eno bye  bikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu. 9 N’angamba nti wandiika nti Baweereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga y’obugole bw’omwana gw’endiga. N’angamba nti Ebyo bye bigambo eby’amazima ebya Katonda. 10 Ne nvuunama mu maaso g’ebigere bye okumusinza. N’angamba nti laba tokola bw’otyo: ndi muddu munno era ow’omubaganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo ogw’obunnabbi.

11 Ne ndaba eggulu nga libikkusse; era,  embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisamgo era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng’alina erinnya eriwandiikiddwa , omuntu yena ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: N’erinnya lye ne liyitibwa kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omuggulu ne  limugoberera ku mbalaasi enjeru , nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi  ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero  lyomwenge gw’obusungu  bw’obukambwe bwa Katonda omuyinza w’ebintu byonna 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI. 17 Ne ndaba Malayika nga ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukungaane ku mbaga enkulu  eya Katonda; 18 mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n’ennyama ey’abagabe, n’ennyama ey’abamaanyi, n’ennyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama ey’abonna ab’eddembe  era n’abaddu, n’abato n’abakulu. 19 Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’e nsi, n’eggye lyabwe nga bakungaanye okulwana n’oyo eyali atudde ku mbalaasi n’eggye lye. 20Ensolo n’ekwatibwa era awamu nayo nnabbi ow’obuliimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y’ensolo, n’abo abakkiriza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey’omuliro eyaka  n’ekibiriiti: 21 n’abasigalawo ne battibwa n’ekitala ky’oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa  ke:  n’ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe.

 

Ekiragiro: Buli omu, abakulembeze, obukulembeze n’obumu bwabwo muteekeddwa buteekwa okukakkana n’okugonda okutambulira mu musana gw’ekibuga ekiggya Yerusaalemi; oba ekkanisa ey’ekitiibwa ey’oluvannyuma  (ey’abalokole b’omwoyo)  n’okuleeta eby’obugagga oba okusasula emisolo oba ebiweebwayo eri Katonda omulamu mu linnya lya Yesu Kristo. Malaki 3:7-12, ((Kaggayi 2:6-9, Abaebulaniya 12:26-29), ( Mikka 4:1-3,8,11-13, Okubikkulirwa 21:23-26).

 

Malaki 3:7-12

7 Okuva ku nnaku z’abajjajja mmwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gy’endi, nange nadda gye muli, bw’ayogera Mukama oweggye. Naye mwogera nti tunadda tutya?8 Omuntu alinnyaga Katonda? Naye mmwe mmunnyaga nze. Naye mwogera nti  Twakunnyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby’ekkumi n’ebiweebwayo . 9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze, eggwanga lino lyonna.10 Muleete ekitundu eky’ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo bwayogera Mukama w’eggye,  oba nga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya. 11 Era ndinenya  omuli ku lwammwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n’omuzabibbu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinatuuka, bw’ayogera Mukama w’eggye. 12 Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw’ayogera Mukama w’eggye.

 

Kaggayi 2:6-9

6 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye eggulu n’e nsi n’ennyanja n’olukalu; 7 ndikankanya amawanga gonna, n’ebyo eby’egombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw’ayogera Mukama w’eggye. 8 Effeeza yange n’ezaabu yange, bw’ayogera Mukama w’eggye. 9 Ekitiibwa ky’ennyumba eno eky’oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw’ayogera Mukama w’eggye: era mu kifo kino mwe ndiwa emirembe, bwayogera Mukama w’eggye.

 

Abaebulaniya 12:26-29

26 eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakao yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya si nsi yokka naye era n’eggulu. 27 N’ekyo nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu, kitegeeza okuggibwaawo kw’ebyo Ebikankanyizibwa , ng’ebyakolebwa,  ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n’ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n’okwegendereza n’okutya: 29 Kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.

 

Mikka 4:1-3,8,11-13

1Naye mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galirukulukutiramu. 2 Era amawanga mangi agaligenda , ne googera nti mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n’ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n’amafumu gabwe okuba  ebiwabyo; eggwanga teririyimusa  kitala ku ggwanga, so tebayigenga kulwana nate.

8Era naawe, ggwe ekigo eky’ekisibo, akasozi ak’omuwala wa Sayuuni , kulituuka gy’oli; weewawo, okufuga okw’edda kulidda, obwakabaka obw’omuwala wa Yerusaalemi. 11 Ne kaakano amawanga mangi agakungaana okulwana naawe, agoogera  nti Ayoneneke, era amaaso gaffe gatunuulire ebyo bye gaagala  nga bituuse ku Sayuni. 12 Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga abakungaanyizza ng’ebinnywa by’engaano ku guuliro lye. 13 Yimuka owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n’ebintu byabwe eri Mukama w’e nsi zonna.

 

Okubikkulirwa 21:23-26

23 So ekibuga teky’etaaga njuba newakubadde omwezi, okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n’ettabaaza yaakyo ye mwana gw’endiga. 24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’e nsi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga  n’akatono emisana ( kubanga eyo ekiro tekibengayo); 26 era balireeta ekitiibwa n’ettendo ery’amawanga mu kyo:

 

Baibuli eyigiriza mu Malaki 3:8-9  ku ky’okubba ebimu eby’ekkumi n’ebiweebwayo nti kiba kikolimo, y’ensonga lwaki Yesu Kristo yayimirira okumpi n’eggwanika; yeetegereze empisa y’okuwaayo. Lukka 21:1-4. Naye kennyini yalina abakyala abayambanga obuweereza bwe. Lukka 8:1-3. Omubuulizi10:19 agamba nti ffeeza eyanukulira byonna naye mu nkola ennungamu era entuufu ate era mu kifo ekituufu.

 

Malaki 3:8-9

8 Omuntu alinnyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti twakunyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby’ekkumi n’ebiweebwayo. 9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga  nze, eggwanga lino lyonna.

 

Lukka 21:1-4

1 Awo n’ayimusa amaaso, n’alaba abagagga abaali basuula ebirabo byabwe mu ggwanika. 2 N’alaba nnamwandu omu omwavu ng’asuula omwo ebitundu by’epeesa bibiri. 3 N’agamba nti mazima mbagamba nti Namwandu ono omwavu asudde bingi okusinga bonna: 4 kubanga abo bonna basuddemu ku bibaffikiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by’ali nabyo, bwe  bulamu bwe bwonna.

 

Lukka 8:1-3

1 Awo olwatuuka oluvannyuma katono n’atambula mu bibuga ne mu mbuga ng’abuulira ng’atenda enjiri y’obwakabaka bwa Katonda, bali ekkumi n’ababiri nga bali naye, 2 n’abakazi abawonyezebwako dayimooni n’endwadde, Malyamu eyayitibwa Magudaleene, eyavaako dayimooni omusanvu, 3 ne Yowaana muka Kuza, omuwanika wa Kerode, ne Susaana, n’abalala bangi abaabaweerezanga n’ebintu bye baalina.

 

Omubuulizi 10-19

Embaga bagifuumbira kuleeta nseko, n’omwenge gusanyusa obulamu: ne ffeeza eyanukulira byonna.

 

Okuyita mu mukadde eyaakamala ennaku ennyingi; obukulembeze bwa kukkakana, bugonde n’okusasula emisolo eri  obwakabaka bwa Katonda ow’abalokole. Danyeri 7:12-14, Zekkaliya 14:6-17, Kaggayi 2:9, Okubikkulirwa 21:24.

  

Danyeri 7:12-14

12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13 Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana  ng’Omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 14 N’awebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.

 

 

Zekkaliya 14:6-17

6 Awo olulituuka ku lunaku luli omusana teguliba na kumasamasa na kizikiza, 7 naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro: naye olulituuka akawungezi walibeera omusana. 8 Awo olulituuka ku lunaku luli amazzi amalamu galiva e Yerusaalemi; ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey’obuvanjuba n’ekitundu kyago mu nnyanja ey’ebugwanjuba; kiriba bwe kityo mu kyeeya ne mu ttogo. 9 Era Mukama aliba kabaka w’e nsi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu  n’erinnya rye limu. 10 Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni n’o luuyi olw’obukiika obwa ddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka  kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango ogwa Benyamini  okutuuka ku kifo eky’omulyango ogw’olubereberye, ku mulyango ogw’ensonda; n’okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. 11 Era abantu balibeera mu kyo, so nga tewakyali kikolimo; naye Yerusaalemi kiribeerawo  mirembe. 12 Na kino kye kibonoobono Mukama kyalibalwaaza amawanga gonna agalirwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n’amaaso gabwe galivundira mu bunnya bwa go, n’ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe. 13 Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama  kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne, n’omukono gwe guliyimuka okukuba omukono gwa munne. 14 Era ne Yuda alirwana  ne Yerusaalemi; era obugagga obw’amawanga gonna agaliraanyeewo bulikungaana, Zaabu n’e ffeeza n’ebyambalo, bingi nnyo nnyini. 15 Era bwe kityo bwe kiriba ekibonoobono eky’embalaasi n’eby’ennyumbu n’eby’engamira n’ebyendogoyi n’ensolo zonna eziriba mu bisulo biri, ng’ekibonoobono ekyo bwe kiriba. 16 Awo olulituuka buli muntu alisigalawo ku mawanga gonna agajja okulwana ne Yerusaalemi anaayambukanga buli mwaka okusinza kabaka, Mukama w’eggye, n’okukwata embaga ey’ensiisira. 17 Awo olulituuka buli muntu mu bika byonna eby’ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza kabaka, Mukama w’eggye, enkuba teri mutonnyera.

 

Kaggayi 2:9

Ekitiibwa eky’ennyumba eno eky’oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw’ayogera Mukama w’eggye era mu kifo kino mwe ndiwa emirembe, bw’ayogera  Mukama  w’eggye.

 

Okubikkulirwa 21:2

N’amawanga gaanatambuliranga mu musana gwakyo ne bakabaka b’e nsi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.

 

Mu nnono zino essatu oli wa ddembe okutandikira oba okutandika n’ekisooka naye nga ebiweebwaayo ebisooka ebibiri ( Ensigo n’ekibereberye) olina kuwa oba kusiga mu buweereza buno; naye weegendereze singa toyagala, tobitegeera oba nga tobikkiririzaamu, sigala nga bwoli okutuusa nga okooye. Wefuge wekka oleme okuvoola omwoyo omutukuvu. Matayo 12:36-37, Makko 3:29-30.

 

 

 

 

Matayo 12:36-37

36 Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw’omusango. 37 Kubanga ebigambo byo bye biri kuweesa obutuukirivu, n’ebigambo byo bye birikusinza omusango.

 

Makko 3:29-30

29 Naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n’emirembe, naye azziza omusango ogw’ekibi eky’emirembe n’emirembe: 30 kubanga baayogera nti Alina dayimooni.

 

N’ebyawandiikibwa bigenda kutuukirira mu mulembe gwaffe ku bantu oba abaweereza ba Katonda abamu mu kkanisa naddala nga abaali ab’oluvannyuma bafuuse ab’olubereberye. Makko 10:23-31, Matayo 7:24-25 ne 1Bakkolinso 1:18-31.

 

Makko 10:23-31

23 Awo Yesu ne yeetooloza amaaso, n’agamba abayigirizwa be nti Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 24 Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n’addamu nate, n’abagamba nti Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 26 Ne bawunikirira nnyo, ne bamugamba nti kale ani ayinza okulokoka? 27 Awo Yesu n’abatunuulira n’agamba  nti  mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri  Katonda. 28 Awo Peetero n’atanula okumugamba nti laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera. 29  Yesu n’agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali eyaleka ennyumba, oba ab’oluganda, oba bannyina oba nnyina, oba kitaawe, oga abaana, oba ebyalo,  ku lwange n’olw’enjiri, 30 ataliweebwa emirundi kikumi mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n’aboluganda, ne bannyina ne bannyabwe, n’abaana, n’ebyalo, n’okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwawo. 31Naye bangi ab’olubereberye abaliba ab’oluvannyuma; n’aboluvannyuma abaliba ab’olubereberye.

 

Matayo 7:24-25

24 Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n’amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi: 25 enkuba n’etonya, mukoka n’akulukuta, kibuyaga n’akunta, ne bikuba enju eyo; so n’etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi.

 

Abakkolinso 1:18-31

18 Kubanga ebigambo by’omusalaba bwe busirusiru eri abo ababula; naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.19 Kubanga kyawandiikibwa nti

Ndizikiriza amagezi g’abagezigezi,

N’obukaba bwa bakabakaba ndibuggyawo.

20 Omugezigezi aluwa? Omuwandiisi aliwa? Omuwakanyi ow’omu nsi muno aluwa? Katonda teyasiruwaza magezi ga nsi? 21 Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw’amagezi gaayo bw’etaategeera Katonda, Katonda n’asiima olw’obusirusiru obw’okubuulira okw’okulokola abo abakkiriza. 22 Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n’Abayonaani banoonya amagezi: 23 naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge, n’eri abamawanga busirusiru; 24 naye eri abo abayite Abayudaaya era n’Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda era magezi ga Katonda. 25 Kubanga obusirisiru bwa Katonda businga abantu amagezi;  n’obunafu bwa Katonda  businga  abantu  amaanyi.

26 Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab’oluganda, ng’ab’amagezi ag’omubiri si bangi abayitibwa, ab’amaanyi si bangi, ab’ebitiibwa si bangi: 27 naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; 28 n’ebikopi by’e nsi n’ebinyoomebwa Katonda yabironda era n’ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo: 29 omubiri gwonna gulemenga okwenyumiriza mu maaso ga Katonda. 30 Naye ku bw’oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, era n’obutuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa: 31 nga bwe kyawandiikibwa  nti  Eyenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama.

 

Kino kitandika ddi?

 

Amangu ddala ng’otegedde obubaka buno Katonda agenda  kukulaga ekkubo era akuggulirewo ebituli by’eggulu okusinziira ku kigambo kye. Isaaya 55:6-11, Ekyamateeka 28:18 ne 12, Matayo 7:7.

Isaaya 55:6-11

6 Munoonye Mukama nga bwakyayinzika okulabika, mumukaabirire  nga bw’akyali okumpi: 7 omubi aleke ekkubo lye, n’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.

8 Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n’amakubo gammwe si makubo gange, bw’ayogera Mukama. 9 Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe. 10 Kuba enkuba nga bwekka n’omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n’omuli  eby’okulya; 11 bwe kityo bwe kinabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kyenjagala,  era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumira.

 

Ekyamateeka28:1, 8, 12

1Awo olunaatuukanga, bw’ononyikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda  wo, okukwata ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga, Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi.

8Mukama anaalagiranga omukisa okuba ku ggwe mu mawanika go, ne mu byonna by’oteekako omukono gwo; era anaakuweranga omukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

12 Mukama anakuggukirangawo etterekero lye eddungi eggulu okugaba enkuba y’ensi yo mu budde bwayo, n’okuwa omukisa omulimu gwonna ogw’omukono gwo: era onoowolanga  amawanga  mangi, so teweewolanga.

 

Matayo 7:7

Musabe muliweebwa; munoonye, muliraba: mweyanjule, muliggulirwawo.

 

Wa awokutereka oba okuteeka?

 

Olina okubeera omugezi ennyo nga Kabaka Sulemaani; yasinzizanga mu bifo bya Katonda ebigulumivu bingi naye lumu yazuula  ekifo ekyali kisinga obugulumivu: olw’ekigendererwa n’ateeka oba n’atereka eyo. 1 Bassekabaka 3:2-15

 

1Bassekabaka 3:2-15

2 Kyokka abantu ne baweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga tewaali nnyumba eyazimbibwa erinnya lya Mukama okutuusa ku biro ebyo. 3 Sulemaani n’ayagala Mukama, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe: kyokka yaweerangayo ssaddaaka era yayokeranga obubbaane mu bifo ebigulumivu. 4 Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerangayo ssaddaaka;  kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu ekikulu: Sulemaani n’aweerayo ku Kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi. 5 Mukama n’alabikira Sulemaani e Gibyoni mu kirooto ekiro: Katonda n’ayogera nti saba kyemba nkuwa. 6 Sulemaani n’ayogera nti Wamukola bulungi nnyo omuddu wo Dawudi kitange, nga bwe yatambula mu maaso go mu mazima ne mu butuukirivu ne mu bugolokofu bw’omutima wamu naawe; era wamuterekera ekisa kino ekinene kubanga omuwadde omwana ow’okutuulanga ku ntebe ye, nga bwe kiri leero.7 Era nno ai Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo kabaka mu kifo kya Dawudi kitange: nange ndi mwana muto: simanyi kufuluma newakubadde okuyingira. 8 Era omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga eddene okugattibwa obungi. 9 Kale muwe omuddu wo omutima omutegeevu okusalanga emisango gy’abantu bo, njawulengamu ebirungi n’ebibi: kubanga ani ayinza okusala emisango gy’eggwanga lyo lino ekkulu. 10 Awo ebigambo ebyo ne bisanyusa Mukama, kubanga Sulemaani asabye ekyo. 11 Katonda n’amugamba nti kubanga osabye kino, so tewesabidde kuwangaala; so tewesabidde bugagga, so tewesabidde  bulamu bw’abalabe bo naye wesabidde obutegeevu okwawulamu emisango: 12 Laba, nkoze ng’ekigambo kyo bwe kiri: laba, nkuwadde omutima omugezigezi era omutegeevu; obutabangawo akwenkana okusooka ggwe, so n’oluvannyuma lwo tewaligolokoka  akwenkana. 13 Era nkuwadde  n’ebyo by’otosabye, obugagga n’ekitiibwa, obutabangawo mu bakabaka  n’omu akwenkana ennaku zonna. 14 Era bw’onotambuliranga mu makubo gange, okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yatambula, awo ndyongera ku nnaku zo. 15 Awo Sulemaani n’azuukuka era, laba, kyali kirooto: n’ajja e Yerusaalemi n’ayimirira mu maaso g’essanduko  ey’endagaano ya Mukama, n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’awaayo ebiweebwayo olw’emirembe, n’afumbira abaddu be bonna embaga.

 

Yokaana omubatiza y’agamba nti tewali ayinza kukola, kubuulira, kutukiriza ky’ataweebwa Katonda oba nga teyafukibwako mafuta. Yokaana 3:27

 

Yokaana 3:27

Yokaana  n’addamu n’agamba nti omuntu tayinza kuganya kigambo kyonna wabula ng’akiwereddwa okuva mu ggulu.

 

 

 

 

Wegendereze oba wetegereze

 

Katonda yaggalawo dda omulembe oba essuula era n’aggulawo omulala omuggya mu buweereza bumu nga ge massekkati era omunaala ogulungamya, y’ensonga lwaki obuweereza bwammwe obumu, emirimu, obufuzi, okwolesebwa, okubikkulirwa, obunnabbi nga bubagamba nti ebisumuluzo, yafeesi, ennyumba,  ebibanja, pamiti,  amabaluwa, ebyapa by’ettaka, pasipoota, endaga muntu, enguudo, akawunta za banka, obuweereza, obukulembeze n’ebirala biggaddwawo, bisaziddwamu, bisaliddwako, bitwaliddwa, bisibiddwa, mu mwoyo ne mu mubiri.

Okwagala okutaggwawo, emirembe, ekisa n’okusaasira bigenda kubeera ku abo  abeewerayo ddala eri Katonda. Era  ennono ziri essatu ezaayogeddwako zigenda kunyweza obuweereza bw’omu mikisa gya Katonda omusanvu mu musaayi gwa Yesu Kristo nga ensibuko  y’enkwatagana  olw’omulembe omuggya.

Okubikkulirwa 5:9-13, Zekkaliya 9:11-12.

 

Okubikkulirwa 5:9-13

9 Ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti osaanidde okutoola ekitabo n’okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n’ogulira Katonda olw’omusaayi gwo mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga, 10 n’obafuula eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona;  era bafuga ku nsi. 11 Ne ndaba ne mpulira eddoboozi  lya bamalayika abangi abeetolodde entebe n’ebiramu n’abakadde; n’omuwendo gwabwe gwali obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi; 12 nga boogera n’eddoboozi ddene  nti Asaanidde Omwana gw’endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n’obugagga n’amagezi n’amaanyi n’ettendo n’ekitiibwa n’omukisa. 13Na buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi, ne wansi w’ensi, ne mbiwulira byonna nga byogera nti Eri oyo atudde ku ntebe, n’eri omwana gw’endiga, omukisa gubenga n’ettendo n’ekitiibwa n’amaanyi emirembe n’emirembe.

 

Zekkaliya 9:11-12

11 Era naawe, olw’omusaayi gw’endagaano yo, nziyemu abasibe bo mu bunnya omutali mazzi. 12 Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi; ku lunaku lwa leero mbuulira nti ndikikuddiza emirundi ebiri.

 

1.Abamu ku mmwe  oba obuweereza bwammwe, emirimu, abaana, obufuzi; mugenda kuwola  abantu, ebitongole, amawanga n’ebirala. Ekyamateeka 28:12.

 

Ekyamateeka 28:12

 

12 Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi eggulu okugaba enkuba y’ensi yo mu budde bwayo, n’okuwa omukisa omulimu gwona ogw’omukono gwo: era onoowolanga amawanga mangi, so teweewolenga.

 

2.Abamu ku mmwe oba obuweereza bwammwe mugenda kufuuka batendesi b’abatendesi.

  1. Abamu ku mmwe oba buweereza mugenda kufuuka bawi b’amagezi b’abakulembeze mu kkanisa, mu mirimu, mu bufuzi ne mu bwakabaka n’awalala.

 

  1. Abamu ku mmwe oba obuweereza, abaana mugenda kufuuka abategesi abakulu ( master planners) mu buweereza n’ebirala.

 

  1. Abamu ku mmwe oba obuweereza, emirimu, abaana, mugenda kwesigisibwa n’ebyama, eby’obugagga n’obugagga.

 

  1. Entiisa ya kugwa ku buli omu, buli ggwanga, buli lulimi, buli lwe tuneeyongeranga mu kigambo kya Katonda oba enjiri. 2Ebyomumirembe 17:7-13, Zabbuli 18:43-45, Danyeri 7:10.

 

2Ebyomumerembe17:7-13

7 Era mu mwaka ogw’okusatu ogw’okufuga kwe n’atuma  abakungu be, Benikayiri ne Obadiya ne Zekkaliya ne Nasaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda; 8 era wamu nabo Abaleevi, Semaya ne Nesaniya ne Zebadiya ne Asakeeri ne Semiramoosi ne Yekonasaani ne Adoniya ne Tobbiya ne Tobadoniya, Abaleevi; era wamu nabo Erisaama ne Yekolaamu, bakabona.9 Ne bayigiriza mu Yuda nga balina ekitabo ekyamateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu. 10 Entiisa ya Mukama n’egwa ku bwakabaka bwonna obw’ensi ezeetolodde Yuda, n’okulwana ne batalwana ne Yekosafaati. 11 Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo ne ffeeza okuba omusolo; era n’Abawalabu ne bamuleetera embuzi, endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n’embuzi ennume kasanvu mu lusanvu. 12 Yekosafaati n’aba mukulu nnyo nnyini n’azimba mu Yuda ebigo  n’ebibuga eby’okuterekeramu. 13 Era yalina  emirimu mingi mu bibuga bya Yuda; n’abasajja abalwanyi n’abasajja ab’amaanyi abazira mu Yerusaalemi.

 

Zabbuli 18:43-45

43 Omponyezza mu kuyomba kw’abantu;

Onfudde omutwe  gw’amawanga;

Abantu be ssamanyanga balimpeereza.

44 Bwe  baliwulira  ebigambo byange, ne balyoka bangondera:

Bannaggwanga  balinjeemulukukira.

45 Bannaggwanga  baliggwawo,

Baliva mu bifo byabwe  eby’okwekwekamu nga bakankana.

 

Danyeri 7:10

Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira  mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa.

 

  1. Katonda agenda kwebikkula era yeerage mu bamu ku ffe mu buli ngeri nga Katonda yekka ow’amazima n’amaanyi ku ba katonda.

 

Zuukuka Uganda! Olw’omulembe nga eggwanga eddonde era obeere n’amagezi kubanga Baibuli egamba nti nnabbi taba na kitiibwa mu nsi yeewaabwe; kale abantu oba abaweereza bagenda kuva mu mawanga ag’ewala beetwalire omukisa, Matayo 13:53-58

 

Matayo 13:53-58

53 Awo olwatuuka  Yesu bwe yamala engero zino, n’avaayo. 54 Bwe yatuuka mu nsi y’ewaabwe n’abayigiriza mu kkungaaniro ly’abwe, n’okuwuniikirira ne bawuniikirira ne bagamba nti ono yaggya wa amagezi gano, n’eby’amaanyi bino? 55 Ono si ye mwana w’omubazzi? Nnyina si gwe bayita Malyamu? Ne baganda be Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni, ne Yuda? 56 Ne bannyina bonna tebali waffe? Kale nno yaggya wa ebigambo bino byonna? 57 Ne bamunyiigira. Naye Yesu n’abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y,ewaabwe. 58 so teyakolayo bya magero bingi olw’obutakkiriza bwabwe.

 

 

                                                    

 

 

 

                                                    UGANDA MU BUTONGOLE

 

(a)Ekkanisa y’Omwoyo eri mu kkubo okwegatta oba okuba obumu okutandika mu Uganda, era tekyali kuddamu  kwerangirira nga abasajja n’abakyala ab’amaanyi okuggyako okulangirira Yesu Kristo.

 

Okulabula eri ekkanisa:

Eby’obugagga bijja mu bungi naye abanabba, obutalabirira n’okubikozesa obubi Omwoyo Omutukuvu yangamba  nti  agenda kubatta.

Ebikolwaby’Abatume 5:1-11.

 

Ebikolwaby’Abatume 5:1-11

1 Naye omuntu erinya lye Ananiya ne Safira mukazi we n’atunda ebibye, 2 ne yeeterekerako ku muwendo, Mukazi we naye ng’amanyi, n’aleetako kitundu butundu n’ateeka ku bigere by’abatume. 3 Naye Peetero n’agamba nti Ananiya, Setaani akujjulizza ki omutima gwo okulimba  Omwoyo Omutukuvu, ne weeterekerako ku muwendo gw’ennimiro? 4 Bwe yali eyo, teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Kiki ekikuteesezza mu mutima  okukola bw’oti? Tolimbye  bantu naye Katonda. 5 Ananiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n’agwa n’atondoka. Entiisa nnyingi n’ekwata bonna abaawulira ebyo. 6 Abalenzi  ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika. 7 Awo olwatuuka waali wayiseewo essaawa ssatu mukazi we naye n’ayingira nga tamanyi bwe bibadde. 8 Peetero n’amuddamu  nti mbulira, mwatunda ennimiro omuwendo bwe gutyo? Nagamba nti weewaawo, bwe guti. 9 Naye Peetero n’amugamba nti kiki ekibatabaganyisizza okukema Omwoyo gwa Mukama? Laba, ebigere byabwe abaziise balo biri ku luggi, banakutwaala naawe. 10 Amangu ago n’agwa ku bigere bye, n’atondoka: abalenzi bwe baayingira ne bamusanga ng’a fudde, ne bamutwala ne bamuziika wamu ne bba. 11 Entiisa nnene n’ekwata  ekkanisa yonna ne bonna abawulira ebyo.

 

(b) Okusonyiyibwa

 

1.Ekkanisa ya Kristo ey’Omwoyo emaze okusonyiyibwa egenda kukyusibwa era edde  mu kifo kyayo ( eky’ekitiibwa) era kati y’egenda okubeera mu kifo ekisooka mu nsi. Danyeri 7:27, Kaggayi 2:6-9, Okubikkulirwa 15:1-4, Okubikkulirwa 21:1-2,23-27.

 

Danyeri 7:27

N’obwakabaka n’okufuga n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu lyonna, abantu n’abatukuvu b’oyo Ali waggulu ennyo balibiweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwawo, n’amatwale gonna galimuweereza galimuwulira.

 

Kaggayi 2:6-9

6 Kubanga bw’ati  bw’ayogera Mukama Katonda w’eggye nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye eggulu n’ ensi n’ennyanja n’olukalu; 7 ndikankanya amawanga gonna; n’ebyo ebyegombebwa amawanga  gonna, birijja,  era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw’ayogera Mukama w’eggye. 8 Effeeza yange ne zaabu yange, bw’ayogera Mukama w’eggye. 9 Ekitiibwa eky’ennyumba eno eky’oluvannyuma kirisiinga kiri ekyasooka, bw’ayogera Mukama w’eggye.

 

Okubikkulirwa 15:1-4

1 Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak’ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby’enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukirira. 2 Ne ndaba ng’ennyanja y’endabirwamu etabuddwamu omuliro;  abava eri ensolo n’ekifaananyi kyayo n’omuwendo gw’erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y’endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda. 3 Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’endiga, nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna: ga butuukiriva era ga mazima amakubo go, ggwe kabaka ow’emirimbe n’emirembe.

 

Okubikkulirwa 21:1-2, 23-27

1 Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi  empya: kubanga eggulu  ery’olubereberye n’ensi ey’olubereberye nga bigenze: n’ennyanja nga tekyaliwo. 2 Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng’omugole ayonjereddwa bba. 23 So ekibuga tekyetaaga njuba newakubadde omwezi, okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n’ettabaaza yaakyo ye mwana gw’endiga. 24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga n’akatono emisana (kubanga eyo  ekiro tekiibengayo ) ; 26 era balireeta ekitiibwa n’ettendo ery’amawanga mu kyo: 27 so temuliyingira mu kyo n’akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newakubadde akola eky’omuzizo n’obulimba: wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu eky’Omwana gw’endiga.

 

2.Buganda emaze okusonyiyibwa egenda  kukyusibwa okuva mu busamuze ( okusiinza n’okuweereza ba lubaale) n’ebirala era ezziddwa mu kifo ekisooka mu Uganda nga ge makula ga Uganda.

 

3.Uganda emaze okusonyiyibwa egenda kukyusibwa okuva mu busamuze, obufuzi obulimu kyekubiira mu bibiina, eddiini, amawanga n’ebirala  kati ge makula g’e nsi yonna.

 

4.Katonda amaze okujja ekivume ku Kkanisa, Buganda ne Uganda era n’abikyusa n’amannya  n’abizza buggya nga bwe yakola Yakobo n’amufuula Isiraeri. Olubereberye 35:9-11, Okubikkulirwa 2:17, Okubikkulirwa 3:12

 

Olubereberye 35:9-11

9 Katonda n’alabikira nate Yakobo, bwe yava mu Padanalamu, n’amuwa omukisa. 10 Katonda n’amugamba nti Erinnya lyo Yakobo: erinnya lyo tokyayitibwa nate Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo : n’amutuuma erinnya Isiraeri. 11 Katonda n’amugamba nti Nze Katonda  Omuyinza w’ebintu byonna: oyale weeyongerenga; eggwanga n’ekibiina eky’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo;

 

Okubikkulirwa 2:17

Alina okutu awulire Omwoyo ky’agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja ejjeru, era ku jjinja kuwandiikiddwako erinnya eriggya, omuntu yenna ly’atamanyi wabula aweebwa.

 

Okubikkulirwa 3:12

Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ry’ekibuga kya Katonda wange,Yerusaalemi ekiggya ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n’erinnya lyange eriggya.

 

(a)Ekkanisa – Ekkanisa empya ey’emirembe oba ey’ekitiibwa. New Eden Church

                        ( NEC )

 

( b)Buganda – Buganda empya ey’emirembe oba ey’ekitiibwa. New Eden Buganda

                         ( NEB)

 

( C)Uganda – Uganda ey’emirembe oba ey’ekitiibwa. New Eden Uganda ( NEU )

 

Oluganda Katonda alutongozza n’alufukako amafuta okufuuka olulimi olunnansi mu Ggwanga Uganda n’eri amawanga.

 

Enjigiriza

 

1.Abantu bonna nga ssekinnoomu, amaka, amakanisa, amakampuni, abakulembeze, amasomero n’ebirala biteekwa okuddamu okubiyigiriza nga enteekateeka y’omulembe guno bweri  era nga etegekeddwa okuva mu Baibuli mu masomo eg’enjawulo, okusobola okukyusa, okuwonya, okukulakulanya awamu n’okutwala amawulire gano  ag’oluvannyuma eri amawanga. Mikka 4:1-3, Malaki 3:1-6, Okubikkulirwa 10:7-11, Okubikkulirwa 21:23-24, Okubikkulirwa 22:1-3.

 

Mikka 4:1-3

1 Naye mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunnywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi;  era amawanga galirukulukutiramu. 2 Era  amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’engudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n’ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n’amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.

 

Malaki 3:1-6

1 Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja,bw’ayogera Mukama w’eggye.2 Naye ani ayinza okugumikiriza olunaku lw’okujja kwe? era ani aliyimirira ye  bwalirabika? Kubanga alinganga omuliro gw’oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni w’aboozi: 3 era alituula ng’oyo alongoosa effeeza n’agimalamu amasengere , era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza: awo baliwaayo eri Mukama  ebiweebwayo mu butuukirivu. 4 Awo ekiweebwayo kya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayitawo. 5 Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo, n’eri abenzi n’eri abalayira eby’obulimba; n’eri abo abaly’azaamanya omupakasi empeera  ye, nnamwandu n’atalina kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw’ayogera Mukama w’eggye. 6 kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.

 

Okubikkulirwa 10:7-11

7 naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba ng’agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng’enjiri bweri je yabuulira abaddu  be bannabbi. 8 N’eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika  ayimiridde  ku nnyanja ne ku nsi. 9 Ne ngenda eri malayika,  nga mmugamba kumpa akatabo . N’angamba nti twala, okamire; era kanakaaya olubuto lwo,  naye mu kamwa ko kanaaba  kawoomerevu ng’omubisi gw’enjuki. 10 Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika, ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng’omubisi  gw’enjuki:bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukaayizibwa. 11 Ne bangamba nti kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n’amawanga ne  nnimi ne bakabaka  bangi.

 

Okubikkulirwa 21:23-24

23 So ekibuga tekyetaaga njuba newakubadde omwezi; okukyakira kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n’ettabaaza yaakyo ye Mwana gw’endiga. 24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.

 

Okubikkulirwa 22:1-2

1 N’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu ogumasamasa nga endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n’eyOmwana gw’endiga, 2 Wakati w’oluguudo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti ogw’obulamu , ogubala ebibala ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga.

 

2.Amasomero enjigiriza egenda kukyusibwa okuva  mu bikwate okudda mu bikolwa okutandika okuyigiriza  obusobozi ( ebitone oba ebirabo) obwa buli muntu oba muyizi olw’okufuuka eggwanga eriyina amagezi, okutegeera n’okumanya.

Isaaya 11:1-3, Danyeri 1:3-4

 

Isaaya 11:1-3

Mu kikolo kya Yese muliva ensibuka, n’ettabi eririva mu mmizi gye liribala ebibala: 2 n’omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo ogw’amagezi n’okutegeera, omwoyo  ogw’okuteesa n’amaanyi, omw’oyo ogw’okumanya n’okutya Mukama; 3 n’okutya Mukama kw’alisanyukira: so taasalenga misango ng’okulaba kw’amaaso ge  bwe kunaabanga:

 

Danyeri 1:3-4

3 Kabaka n’agamba Asupenaazi omukulu w’abalaawe be ayigirize ku baana ba Isiraeri, ab’omu zzadde  lya Kabaka  ne’ry’abakungu: 4 abavubuka abataliiko bulema , wabula ab’amaaso  amalungi era abategeevu mu magezi  gonna, era abakabakaba mu kutegeera, era abamanya ebiyigirizibwa, era abasaanira okuyimirira mu nnyumba ya kabaka: era abayigirizenga amagezi ag’Abakaludaaya n’olulimi lwabwe.

 

3.Enteekateeka ku masomo ga Baibuli ng’okubikkulirwa kw’omulembe  guno omuggya bwe kuli; enteekateka eno eriko w’etuuse oluvannyuma lw’ebbanga, era waliwo abasomesa abamaze okutendekebwa wadde nga batono naye nga basobola bulungi okuyamba mu nsonga eno. Zekkaliya 4:9-10

 

Zekkaliya 4:9-10

9 Emikono gya Zerubabberi girasizza ennyumba eyo; era n’emikono gye girigimala; era olitegeera nti Mukama w’eggye ye yantuma gye muli.10 Kubanga ye ani anyomye olunaku olw’ebitono? Kubanga balisanyuka era baliraba ejjinja erigera mu ngalo za Zerubabberi, bano omusanvu, ge maaso ga Mukama; gaddukanaddukana  munsi  zonna.

 

  1. Uganda egenda kufuuka emu ey’egasse oba Gavumenti ey’ekipooli, ebibiina by’obufuzi bya kufuma bufumi.

Mu bufuunze:

 

1.Enkumi bbiri mu kkumi n’ena (2014) gwe mwaka gw’ekkanisa ogw’okusomoka oba okuvvuunuka n’okukulembera ensi eri okujja kwa Yesu Kristo. Okubikkulirwa 17:14, Okubikkulirwa 21:24, Danyeri 7:9-14.

 

Okubikkulirwa 17:14

Abo balirwana n’Omwana  gw’endiga , n’Omwana gw’endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami, era ye kabaka wa bakabaka; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa , abalonde, abeesigwa.

 

Okubikkulirwa 21:24

N’amawanga ganaatambuliranga  mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.

 

Danyeri 7:9-14

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka.10 Omugga ogw’omuliro  ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’ewebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13 Ne ndaba mu ebyo bye  nnayolesebwa ekiro era, laba,  ne wajja omu eyafaanana  ng’Omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala enakku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 14 N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga:  okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.

  

2.Ekkanisa tegenda kusobola kwenyigira mu bya busamize  ate esobole okukyusa ensi. Mikka 5:10-15, Okubikkulirwa 21:1-2, 23-27, Okubikkulirwa 22:1-2.

 

Mikka 5:10-15

10 Era kiriba ku lunaku luri, bw’ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo ; era ndizikiriza amagaali go; Era ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi ye wammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna; 12 era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate; 13 era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n’empagi zo; so tolisinza nate mirimu gy’engalo zo. 14 Era ndisimbula Baasera bo wakati wo ; era ndizikiriza ebibuga byo. 15 Era ndiwalana eggwanga n’obusungu n’ekiruyi ku  Mawanga agatawulira.

 

Okubikkulirwa 21:1-2, 23-27

1 Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya: kubanga eggulu ery’olubereberye n’ensi ey’olubereberye nga bigenze: n’ennyanja nga tekyaliwo. 2 Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng’omugole ayonjereddwa bba.

23 So ekibuga tekyetaaga njuba newakubadde omwezi, okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n’ettabaaza yakyo ye Mwana gw’endiga. 24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga n’akatono emisana ( kubanga eyo ekiro tekibengayo ); 26 era balireeta ekitiibwa n’ettendo ery’amawanga mu kyo: 27 so temuliyingira mu kyo n’akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newakubadde akola eky’omuzizo n’obulimba: wabula abo bokka abawandiikiddwa  mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’endiga.

 

Okubikkulirwa 22:1-2

Ne ndaba  omugga ogw’amazzi ag’obulamu, ogumasamasa ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda  n’eyOmwana  gw’endiga, 2 Wakati w’olugudo lwakyo: Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti ogw’obulamu, ogubala ebibala ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga.

 

3.Buli omu agenda kuyita mu kugezesebwa alyoke atoowazibwe naye eri abatukuvu abesigwa  abamu  be  b’okusimattuka. Okubikkulirwa 3:7-11

 

Okubikkulirwa 3:7-11

7Era eri malayika ow’ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti Bw’ati bw’ayogera oyo omutukuvu, ow’amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo, so tewali muntu aliggalawo, aggalawo, so tewali muntu aggulawo, 8 nti Mmanyi ebikolwa byo( laba, nnateeka mu maaso go oluggi  olugguddwawo, Omuntu yenna lw’atayinza kuggalawo) ng’olina amaanyi matono, n’okwata ekigambo kyange, so tewegaana linnya lyange. 9 Laba, ngaba ab’omu kkungaaniro lya setaani abeeyita Abayudaaya, so si bo, naye balimba; laba, ndibaleeta okujja okusinza mu maaso g’ebigere byo, era ndibamanyisa nga nnakwagala. 10 Kubanga weekuuma ekigambo eky’okugumikiriza  kwange, era nange ndikukuuma obutayingira  mu kiseera eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi. 11 Njija mangu: nnyweza ky’olina , omuntu yenna aleme okutwala engule yo.

 

  1. Ennono ezayogeddwako essatu, ly’ekkubo lyokka eritugatta oba okusisinkana ne Yesu Kristo nga kye kisumuluzo ekitandika omulembe. Okubikkulirwa 21:1-2, Danyeri 7:9-14.

 

Okubikkulirwa 21:1-2

1 Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya: kubanga eggulu ery’oluuberebrye n’ensi ey’olubereberye nga bigenze: n’ennyanja nga tekyaliwo. 2 Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng’omugole ayonjereddwa bba.

 

Danyeri 7:9-14

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala enakku ennyingi n’atuula: ebyambalo  bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro ne bannamuziga baayo muliro  ogwaka. 10 Omugga gw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge : enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakami  baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako  ebbanga  n’ekiseera. 13 Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’Omwana  w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 14 N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikiribwa.

 

5.Ensonga ataano ( 50 ) ezikwata ku maanyi n’amafuta zikiikirira Jjubiri.

Ebyabaleevi 25:9-10

 

Ebyabaleevi 25:9-10

9Awo n’olyoka otambuza ekkondeere ery’eddoboozi eddene ku lunaku lw’ekkumi olw’omwezi ogw’omusanvu; ku lunaku olw’okutangirirako kwe mu natambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna.10 Era munatukuzanga omwaka ogw’ataano, ne mulangirira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna  abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli, era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze.

 

  1. Obukulembeze naddala mu kkanisa ey’omwoyo olw’omulembe omuggya butandikidde wansi (mu banyomebwa) Zabbuli 75:6-7, Lukka1:50-54

 

Zabbuli 75:6-7

6Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba,

Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde ebugwanjuba,newakubadde obukiika  obwa ddyo.

7 Naye Katonda ye Mulamuzi:

Atoowaza ono n’oli amugulumiza.

 

Lukka1:50-54

50 N’ekisa kye kiri mu bamutya;

Emirembe n’emirembe.

51 Alaze amaanyi n’omukono gwe;

Asaasanyizza abalina amalala

Mu kuteerera kw’omu mitima gyabwe.

52 Agobye abafuzi abeekulumbaza ku ntebe zaabwe,

Agulumizizza abeetoowaze

53 Abalina enjala abakkusizza ebirungi;

N’abagagga abagobye nga tebalina kintu.

54 Abedde Isiraeri omuddu we

Ajjukire ekisa kye.

 

7.Ennono essatu zikiikirira amaanyi n’amafuta ag’okufuusibwa.

 Matayo 17:1-8

 

 

Matayo 17:1-8

1 Ennaku mukaaga bwe zaayitawo Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa  ku lusozi oluwanvu bokka: 2 n’afuusibwa mu maaso gabwe: amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng’omusana. 3 Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye. 4 Peetero n’addamu n’agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano: bw’oyagala,nnaazimba wano ensiisira ssatu;  emu yiyo, n’endala ya Musa n’endala ya Eriya. 5 Bwe yali ng’akyayogera, laba,ekire ekimasamasa ne kimusikiriza: laba, eddoboozi  ne liva mu kire, nga ligamba nti, ono ye mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira, ne bagwa nga beevuunise, ne batya nnyo. 7 Yesu n’ajja n’abakomako n’agamba nti Muyimuke  temutya. 8 Ne bayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu, wabula Yesu yekka.

 

                                                OKUMALIRIZA EKITUNDU KINO

 

Nga bwe mpereza Katonda omulamu mu buyinza, amafuta n’amaanyi g’omwoyo omutukuvu, mu linnya lya Yesu Kristo, nsiba obugwagwa bwonna  mu ndowooza, mu bikolwa, mu bigendererwa, mu nteekateeka, mu nnamula, mu ntegeka, mu bumu, mu nkiiko, amaanyi ga setaani n’obwakabaka bwe, Amiina.

Matayo 16:19, Okubikkulirwa  20:1-3

 

Matayo 16:19

Ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu: kyonna  kyonna ky’olisiba mu nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna ky’olisumulula ku nsi kirisumululwa mu ggulu.

 

Okubikkulirwa20:1-3

1 Ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina ekisumuluzo ky’obunnya obutakoma n’olujegere olunene mu mukono gwe. 2 N’akwata ogusota, omusota ogwedda, ye Mulyolyoomi era setaani, n’agusibira emyaka lukumi, 3 n’agusuula mu bunnya obutakoma n’aggalawo n’ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka lukumi lwe girigwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa ebiro bitono.

 

Era nsumulula okuteesa kwa Katonda mu mafuta n’amaanyi amasukkulumu ag’omwoyo omutukuvu okutambulira mu maanyi amangi nga akola ebyamagero, obubonero, ebyewunyo, ebikyamula mu Katonda, okuddamu okutonda, okuwonya, okumeza, okusiimba,okujjukiza, okuyamba, okusomesa, okubuulira, okulagula, okukulembera, okuwabula, okujjuza amafuta, okukulaakulana,oba kukulaakulanya, okugabirira, okusitula, okugatta, okutabaganya, okukuza, okutikkira, okuwa ekitiibwa, okutereeza, okulagira, okussaamu empisa, okubikkula, okuvuunula, okukkakkanya, okuyimusa, okwenkanyankanya, okugabanya, n’okuyita mu misango n’obutuukirivu. Matayo 16:19, Yobu 22:28, Isaaya 44:26-28.

 

Matayo 16:19

Ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omuggulu: kyonna kyonna  kyolisiba ku nsi kilisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna kyolisumulula mu nsi kirisumululwa mu ggulu.

 

Yobu 22:28

Era onolagiranga ekigambo ne kinywera gy’oli;

N’omusana gunayakiranga amakubo go.

 

Isaaya 44:26-28

26 anyweza ekigambo ky’omuweereza we ne ntukiriza okuteesa kw’ababaka be; ayogera ku Yerusaalemi nti Kirituulwamu; ne ku bibuga bya Yuda Birizimbibwa, nange ndigolokosa ebifo  byamu ebyazika: 27 agamba obuziba nti kalira, nange ndikaliza emigga: 28 ayogera ku Kuulo nti Musumba wange era alituukiriza byenjagala byonna: n’okwogera ne njogera  ku Yerusaalemi  nti Kirizimbibwa; era agamba Yeekaalu nti Omusingi gwo guliteekebwawo.

 

Mukama akuwe era atuwe omukisa nga twenenya n’okudda eri Kristo Kabaka wa bakabaka, era  Mukama w’abaami.

Mukama akuwe omukisa, obuweereza bwo, emirimu gyo,obufuzi bwo n’ebirala nga otwegattako mu buweereza nga ekkondeere ly’omulembe wakati mu nsi mu linnya lya Makama waffe Yesu Kristo Amiina.

 

YESU KRISTO AWEEBWE  EKITIIBWA KABAKA WA BAKABAKA MUKAMA W’ABAAMI,  EMIREMBE  N’EMIREMBE, AMIINA!

                                    OBUNNABBI    01/01/2015

 

  ERI, ABAKULEMBEZE MU NSI YONNA ( MU KKANISA NE MU NSI)

                        MU BITIIBWA NE MU BITI BYAMMWE.

 

OKULAGIRA OKUKAKKANA N’OKUGONDERA KABAKA WA BAKABAKA, MUKAMA W’ABAAMI, OMULANGIRA OW’EMIREMBE YESU KRISTO MU MULEMBE OMUGGYA ERA OGUSEMBAYO.

ZABBULI 2:7-12, ISAAYA 45:23, ABAFIRIPI 2:9-11.

 

 

Zabbuli 2:7-12

7 Ekiragiro ndikibuulira:

Mukama yangamba nti Ggwe oli mwana wange:

Leero nkuzadde.

8 Onsabe nze nange ndikuwa amawanga okubeera

Obusika bwo.

N’ensonda ez’ensi okubeera amatwale go.

9 Olibimenya n’omuggo ogw’ekyuma;

Olibyasayasa ng’entamu ey’omubumbi.

10 Kale kaakano mubeere n’amagezi, mmwe bakabaka

Muyige, mmwe abasala  omusango gw’ensi.

11 Muweereze Mukama n’okutya,

Era musanyuke n’okukankana.

12 Munywegere omwana, aleme okusunguwala,

Nammwe ne mubula mu kkubo,

Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu.

Balina omukisa bonna abamweyuna ye.

 

Isaaya 45:23

Nerayidde mwene, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu Butuukirivu so tekirikomawo, nga nze buli vviivi lirinfukamirira, buli lulimi lulirayira nze.

 

Abafiripi 2:9-11

9 Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n’amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; 10 buli vviivi lifukaamirireenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omuggulu n’eby’okunsi n’ebya wasi wensi, 11 era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda kitaffe aweebwe ekitiibwa.

 

Eri abakulembeze bonna mu kkanisa ne mu nsi emirembe n’ekisa kya Katonda kitaffe n’omwana we Yesu Kristo bibe gye muli.

 

Mukama waffe Yesu Kristo yandagira okuyisa ekiragiro ekinywevu era ekitajjulukuka eri buli mukulembeze n’addala ow’okuntikko mu buli Kkanisa, Ggwanga n’obwakabaka nawalala nga kyava mu yafeesi ya Katikkiro w’eggulu Omwoyo Omutukuvu; n’ankozesa nga eddoboozi oba ekkondeere okulanga, okulabula n’okulagira ku lw’obwakabaka  bwa Katonda, kyokka nga nange sisusse muntu mulala yenna maanyi n’amagezi wabula olw’omwoyo we. Danyeri 2:30, Zekkaliya4:6,Ebikolwaby’Abatume10:25-26,1Abakkolinso2:10-15,Okubikkulirwa 19:10, Okubikkulirwa 22:8-9,

 

Danyeri 2:30

Naye nze ekyama kino tekimbikkuliddwa nze olw’amagezi gonna ge nnina okusinga omuntu yenna omulamu, naye kyekivudde kumbikkulirwa Kabaka ategeezebwe amakulu, naawe otegeere ebirowoozo eby’omu mutima gwo.

 

Zekkaliya 4:6

N’addamu nangamba nti kino kye kigambo kya Mukama eri Zirubbaberi nga kyogera nti si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange.

 

Ebikolwaby’Abatume 10:25-26

25 Awo Peetero bwe yali nga anaatera okuyingira Koluneriyo n’amusisinkana, n’amufukaamiirira ku bigere n’asinza. 26 Naye Peetero n’amuyimusa ng’agamba nti Yimirira; nange ndi muntu buntu.

 

1 Abakkolinso 2:10-15

10 Naye ffe Katonda ya tubikkulira  ku bw’Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna  era n’e bitategerekeka ebya Katonda.11 Kubanga muntu ki ategeeza eby’omuntu wabula omwoyo omutukuvu  oguli mu ye? Era bwe kityo n’ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda. 12 Naye ffe tetwaweebwa mwoyo  gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda byatuwa obuwa. 13 N’okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g’abantu bye gayigiriza , wabula omwoyo by’ayigiriza; bwe tugerageranya eby’omwoyo  n’eby’omwoyo. 14 Naye omuntu ow’omukka obukka takkiriza bya mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gyali; era tayinza kubitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo. 15 Naye omuntu ow’omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takeberwa muntu yenna.

 

Okubikkulirwa 19:10

Ne nvuunama mu maaso g’ebigere bye okumusinza. Nangamba nti Laba tokola bw’otyo:  ndi muddu munno era ow’omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo ogw’obunnabbi.

 

Okubikkulirwa 22:8-9

8 Nange Yokaana nze nnawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne nvuunama okusinza mu maaso g’ebigere bya malayika andaga bino. 9 N’angamba nti Laba tokola bw’otyo: ndi muddu munno era ow’omu baganda bo bannabbi, n’abo abakwata ebigambo eby’ekitabo kino: sinza Katonda.

 

EKIRAGIRO EKINYWEVU  ERA  EKITAJJULUKUKA

EZERA6:11-12, DANYERI3:29, DANYERI 6:26, ISAAYA 45:6-7, ISAAYA 46:5, OKUBIKKULIRWA 10:11.

 

Ezera 6:11-12

11 Era nteese etteeka buli anaawaanyisanga e kigambo kino, Omuti guggibwenga mu nnyumba ye, era asitulibwenga asibibwenga okwo; n’ennyumba ye efuulibwenga olubungo olw’ebyo: 12 era Katonda eyabeesaayo erinnya lye asuule bakabaka bonna n’amawanga abanaagololanga emikono gyabwe okuwanyisa ekyo, okuzikiriza ennyumba eno eya Katonda eri e Yerusaalemi. Nze Daliyo nteese etteeka; likolebwe n’okunyikira kwonna.

 

Danyeri 3:29

Kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n’eggwanga, n’olulimi, abanaayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, balitemebwatemebwa, n’ennyumba zabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.

Danyeri 6:26

Nteeka etteeka, mu matwale gonna ag’obwakabaka bwange abantu bakankanenga batyenga mu maaso ga Katonda wa Danyeri: kubanga oyo ye Katonda omulamu, era Omunywevu emirembe gyonna, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa n’okufuga kwe kulituukira ddala ku nkomerero.

 

Isaaya 45:6-7

6 Balyoke bamanye okuva ebuvanjuba n’okuva ebugwanjuba nga tewali wabula nze: nze Mukama so tewali mulala. 7 Nze mmumba omusana era ntonda ekizikiza; ndeta emirembe era ntonda obubi, nze Mukama akola ebyo byonna.

 

Isaaya 46:5

Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingererako tufaanane?

 

Okubikkulirwa 10:11

Ne bangamba nti kigwanidde okubuulira nate eri abantu n’amawanga n’ennimi ne bakabaka abangi.

 

Ekiragiro ekinywevu era ekitajjulukuka eri buli mukulembeze naddala ow’okuntikko mu Kkanisa, mu Ggwanga,bwakabaka n’awalala; otegeezebwa nti okuva nga 08-09/10/2014 obuyinza  obw’obukulembeze bwonna mu nsi yonna bwaddayo mu bujjuvu mu mikono gye, era olagiddwa mu bwangu ddala ng’ofunye amawulire gano era ng’ogategedde bulungi , otandikirewo  okwenenya era n’okukyusiza ddala amagezi, ebikolwa n’ebigendererwa, onoonye eby’obwakabaka bwa Katonda oba okwagala kwe mu mulembe omuggya era ogw’oluvannyuma. Matayo 6:10, Danyeri 2:41-45, Danyeri 7:9-12,22,27. Okubikkulirwa 21:24-26.

 

Matayo 6:10

Obwakabaka bwo bujje. Byoyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.

 

Danyeri 2:41-45

41 Era kubanga walaba ebigere n’obugere, ekitundu kya bbumba ery’omubumbi, n’ekitundu kya kyuma, obwakabaka buliba bwawulemu: naye muliba mu bwo ku maanyi g’ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery’ettosi. 42 Era ng’obugere bwe bwali ekitundu  kya kyuma, n’ekitundu kya bbumba, era n’obwakabaka bwe buliba bwe butyo, ekitundu kya maanyi, n’ekitundu kimenyefu.43 Era kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery’ettosi, baly’etabula n’ezzadde ly’abantu: naye tebaligattagana bokka na bokka, era ng’ekyuma bwe kiteetabula na bumba. 44 Era  mu mirembe gya bakabaka  abo Katonda ow’eggulu alissawo obwakabaka , obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna. 45 Kubanga walaba ejjinja nga lyatemebwa mu lusozi  awatali ngalo, era nga lyamenyameenya ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza,ne zaabu: Katonda omukulu  ategezezza kabaka ebiribaawo oluvannyuma: era ekirooto kya mazima ddala, n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.

 

Danyeri 7:9-12,18,22,27  

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, nenviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe  bye lyayogera: ne  ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwaazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako  ebbanga n’ekiseera.18 Naye abatukuvu b’Oyo  Ali waggulu  ennyo baliweebwa obwakabaka, era balirya obwakabaka emirembe n’emirembe, era n’okutuusa emirembe  n’emirembe, era n’okutuusa emirembe gyonna.

22 Okutuusa omukadde eyaakamala ennaku ennyingi lwe yajja, omusango ne gubasalirwa abatukuvu b’Oyo Ali waggulu  ennyo; ebiro ne bituuka abatukuvu ne balya obwakabaka.

27 N’obwakabaka, n’okufuga n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu lyonna,  abantu abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo balibuweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwawo, n’amatwale  gonna galimuweereza gali muwulira.

 

Okubikkulirwa 21:24-26

24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga n’akatono emisana ( kubanga eyo ekiro tekiibengayo );  26 era balireeta ekitiibwa n’ettendo ery’amawanga mu kyo.

 

                                    OBUYINZA N’OBUFUZI  BWE

 

Obuyinza n’obufuzi bwe yabweddiza n’abuteeka mu kkanisa  ey’oluvannyuma gy’agenda okwanjulira ensi yonna era wa kulwana okutuusa ng’amaze okussa  wansi buli eyeegulumiza, era tewali  n’omusajja okuddayo okweyita omusajja ow’amaanyi oba omukyala ow’amaanyi oba omufuzi ow’amaanyi, olwo ffenna tusobole  okumugulumiza n’okumuvuunamira nga Kabaka wa bakabaka, Mukama w’abaami Omulangira ow’emirembe Yesu Kristo.

Danyeri 2:44-45, Danyeri 7:22,26-27, Mikka 4:1-3, 8-13, Kaggayi 2:6-9,Zekkaliya14:9, 1 Abakkolinso 15:23-28, Abafiripi 2:9-11, Okubikkulirwa 11:15-19, Okubikkulirwa 19:11-16, Okubikkulirwa 21:24-26.

 

 

Mikka 4:1-3,8-13

1 Naye mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba  ya Mukama luliba lunywevu  ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga  obusobozi; era amawanga galirukulukutiramu. 2 Era amawanga mangi agaligenda , ne googera nti mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo, naye alituyigiriza eby’enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n’ekigambo  kya Mukama mu Yerusaalemi. 3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n’amafumu gaabwe  okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa  ekitala ku ggwanga, so tebayigenga kulwana nate. 8 Era naawe, ggwe ekigo eky’ekisibo, akasozi ak’omuwala wa Sayuuni, kulituuka  gy’oli; weewaawo okufuga okw’edda kulidda, obwakabaka obw’omuwala wa Yerusaalemi. 9 Lwaki nno okukaaba ennyo? Tewali kabaka gy’oli, omuteesa wo abula? Obubalagaze ne bukukwata, nga omukazi alumwa  okuzaala. 10 Lumibwa, sindika,ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala, kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babulooni; eyo gy’olirokokera; eyo Mukama gyalikununulira  mu mukono gw’abalabe bo. 11 Ne kaakano amawanga mangi agakungaana okulwana naawe, agoogera nti Ayonooneke, era amaaso gaffe gatunuulire bye gaagala nga  bituuse ku Sayuuni. 12 Naye tebamanyi ebirowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga abakunganyizza ng’ebinywa by’engaano ku gguliro lye. 13 Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma; era ndifuula ebinuulo byo ekikomo naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n’ebintu byabwe eri Mukama w’e nsi zonna.

 

Kaggayi 2:6-9

6 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, nti  Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye eggulu n’ensi n’ennyanja n’olukalu; 7 ndikankanya  amawanga gonna, n’ebyo ebyegombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno  ekitiibwa, bw’ayogera Mukama w’eggye. 8 Effeeza yange ne zaabu yange, bw’ayogera Mukama w’eggye. 9 Ekitiibwa eky’ennyumba eno eky’oluvannyuma kirisiinga kiri ekyasooka, bw’ayogera Mukama  w’eggye.  

 

Zekkaliya 14:9

Era Mukama aliba Kabaka w’ensi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu n’erinnya lye limu.

 

1 Bakkolinso 15:23-28

23 Naye buli muntu mu kifo kye ye : Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe. 24 Enkomerero n’eryoka etuuka bw’aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe;bw’aliba ng’amaze okuggyawo okufuga kwonna n’amaanyi gonna n’obuyinza.25 Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. 26 Omulabe ow’enkomerero aliggibwawo, kwe kufa. 27 Kubanga kyawandiikibwa nti  Yassa byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegeeza ng’oyo teyassibwa wansi  eyassa byonna wansi we. 28 Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n’Omwana yennyini n’alyoka assibwa wansi w’oyo eyassa byonna  wansi we, Katonda  alyoke abeerenga byonna mu byonna.

 

Abafiripi 2:9-11

9 Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo  n’amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; 10 buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omuggulu n’eby’oku nsi n’ebya wansi w’ensi, 11 era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

 

Okubikkulirwa 11:15-19

15Malayika ow’omusanvu n’afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n’emirembe. 16 N’abakadde amakumi abiri mu bana, abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka,  ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda, 17 nga boogera nti Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna, abaawo era  eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi, n’ofuga. 18 Amawanga ne gasunguwala, n’obusungu bwo ne bujja, n’entuuko ez’okusaliramu omusango gw’abafu, n’ez’okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n’abatukuvu, n’abatya erinnya lyo, abato n’abakulu; n’ezo kwononeramu aboonona ensi. 19 Ne Yekaalu ya Katonda  ey’omu ggulu n’ebikkulwa; ne walabika mu Yekaalu  ye essanduuko y’endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka n’ekikankano n’omuzira mungi.

 

Okubikkulirwa 19:11-16

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse, era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi  wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala   eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa  Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti  KABAKA WA BAKABAKA, ERA  MUKAMA W’ABAAMI.

 

Okubikkulirwa 21:24-26

24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga n’akatono emisana ( kubanga eyo ekiro tekibeengayo ); 26 era balireeta ekitiibwa n’ettendo ery’amawanga mu kyo:

 

                                      OKUFUNA OBUYINZA KU LW’OMULEMBE

 

Katonda bwaba aggyawo  omulembe omukadde olw’okuba  nga guba gwonoonye nnyo, agukomya,  obuyinza  bwonna  n’abweddiza era n’alonda omuweereza gw’akwasa obuyinza bwonna ye kennyini oba okuyita mu muweereza abaddewo nga talina na gwe yeebuuzizzaako wadde okuteesa n’omuntu yenna. Matayo 21:23-27.

 

Matayo 21:23-27

23 N’ayingira mu yeekaalu, bakabona abakulu  n’abakadde  b’abantu ne bajja gy’ali ng’ayigiriza, ne bagamba nti Buyinza ki obukukoza bino? Ani eyakuwa obuyinza  buno? 24 Yesu n’addamu n’abagamba nti Nange ka mbabuuze  ekigambo kimu, bwe munaakunzivuunula, era nange naababuulira obuyinza bwe buli  obunkoza bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa ? mu ggulu nantiki mu bantu? Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti bwe tunaagamba nti  mu ggulu: anaatugamba nti kale kiki  ekyabalobera okumukkiriza? 26 Naye bwe tunaagamba nti mu bantu; tutya abantu; kubanga bonna bamulowooza Yakaana nga nnabbi. 27 Ne baddamu Yesu ne bagamba nti Tetumanyi. Naye  n’abagamba nti era nange si babuulire obuyinza bwe buli obunkoza  bino.

 

                                      OBUYINZA ABUGABA MU NGERI  BBIRI

 

ESOOKA:

 

Katonda yennyini nga takozesa muweereza yenna.

 

EY’OKUBIRI:

 

Katonda ng’ akozesa omuweereza abaddewo

 

                                       EBY’OKULABIRAKO MU NGERI  ESOOKA

 

1.Katonda yennyini ye yawa Nuuwa obuyinza  bw’omulembe  ogwo era ye ya mujjuzanga amagezi n’okubikkulirwa enkola ey’okuzimbanga eryato. Oluberebrye 6:1-14

 

Olubereberye 6:1-14

1Awo abantu ne basooka okweyongera ku nsi, ne bazaala abaana  ab’obuwala, 2 abaana ba Katonda ne balaba abawala  b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baloonda. 3 Mukama n’ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n’emirembe, Kubanga naye gwe mubiri: naye enakku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri. 4 Mu biro ebyo waliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b’abantu, ne babazaalira abaana: bano be b’amaanyi abasooka edda, abantu abaayatiikirira. 5 Mukama n’alaba obubi bw’omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.6 Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n’anakuwala mu mutima gwe. 7 Mukama n’ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n’ensolo, n’ekyewalula  n’ekibuuka waggulu; kubanga nejjusizza kubanga nabikola. 8 Naye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.

9 Kuno kwe kuzaala kwa Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye: Nuuwa n’atambulira  wamu ne Katonda. 10 Nuuwa n’azaala abaana basatu, Semu, Kaamu, ne Yafeesi. 11 Ensi n’eyononeka mu maaso ga  Katonda, ensi n’ejjula eddalu. 12 Katonda n’alaba ensi, ng’eyononese; kubanga ekirina omubiri kyonna  kyali nga kimaze okwoonona ekkubo lyakyo ku nsi. 13 Katonda n’agamba Nuuwa nti  Enkomerero ya buli  ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde  eddalu ku lwabwe; kale, laba,ndibazikiriza wamu n’e nsi. 14 Weekolere eryato n’omuti goferi; osalangamu ennyumba mu lyato, osiige munda ne kungulu envumbo.

 

2.Katonda yennyini ye yawa Ibulayimu obuyinza okutandika omulembe ogwavaamu eggwanga  lya Isiraeri. Olubereberye 12:1-7

 

Olubereberye 12:1-7

1Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti Va mu nsi yannyo, era awali ekika kyo, n’ennyumba ya Kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga: 2 nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe: 3 nange nnaabawanga omukisa abanakusabiranga ggwe omukisa, n’oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby’omu nsi mwe biriweerwa omukisa.4 Bw’atyo Ibulaamu n’agenda, nga Mukama  bwe  y’amugamba; ne Lutti naye: Ibulaamu yali yakamaze emyaka nsanvu mu etaano bwe yava mu Kalani. 5 Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n’ebintu byabwe byonna bye baali bakungaanyizza n’abantu be baafunira mu Kalani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani. 6 Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuula mu kifo kya Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanani yali mu nsi mu biro ebyo. 7 Mukama n’alabikira Ibulaamu, n’ayogera nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno: n’azimbira eyo ekyoto eri Mukam eyamulabikira.

 

  1. Katonda ye nnyini ye yawa Musa obuyinza okuggya abaana ba Isirseri mu nsi y’e Misiri okubatwala mu nsi ensubize. Okuva 3:1-14, Okuva4:10-17

Okuva 3:1-14

1 Awo Musa yali ng’alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, Kabona w’e Midiyaani: n’atwala ekisibo emabega  w’eddungu n’atuula ku lusozi lwa Katonda Kolebu. 2 Malayika wa Mukama n’amulabikira  mu lulimi lw’omuliro okuva wakati w’ekisaka: n’atunuulira: laba, ekisaka ekyo ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira.3 Musa n’ayogera nti Ka nneekooloobye kaakati, ndabe ekigambo kino ekikulu , ekisaka kyekivudde kirema okusiriira.4 Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n’amuyita ng’ayima wakati w’ekisaka n’ayogera nti Musa, Musa. N’ayitaba nti  Nze nzuuno. 5 N’ayogera nti tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky’oyimiriddemu y’e nsi entukuvu. 6 N’ayogera nate nti Nze ndi Katonda wa Kitaawo, Katonda wa Ibulayimu , Katonda wa Isaaka, era  Katonda wa Yakobo. Musa n’akweeka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda. 7 Mukama n’ayogera nti Ndabidde ddala okubonaabona  okw’abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwaabwe ku lw’abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe; 8 era nzise okubawonya mu mukono gw’Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri  bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde  amata n’omubisi gw’enjuki; mu kifo ky’omu Kanani, n’eky’omu Kiiti, n’eky’omu Amoli, n’eky’omu Perizi, n’eky’omu Kiivi, n’eky’omu Yebusi. 9 Kale, laba, okukaaba kw’abaana ba Isiraeri  kutuse gye ndi: nate ndabye okubonaabona kwe  bababonyaabonya Abamisiri. 10 Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo, obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri. 11 Musa n’agamba Katonda nti Nze ani agenda eri Falaawo mbaggyeyo abaana ba Isiraeri mu Misiri? 12 N’ayogera nti mazima ndibeera  wamu naawe; era kano kalikubeerera akabonero, nga nze nkutumye: bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, muliweerereza Katonda ku lusozi luno. 13 Musa n’agamba Katonda  nti Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa ba jjajja bammwe yantumye eri mmwe; nabo balyogera nti Erinnya  lye ye ani? ndibagamba ntya?  14 Katonda n’agamba Musa nti NINGA BWE NDI n’ayogera nti  Bw’otyo bw’olibagamba abaana ba Isiraeri nti NDI ye antumye eri mmwe.

 

Okuva 4:10-17

10 Musa n’agamba Mukama nti Ai Mukama nze Siri muntu wa bigambo okuva ddi na ddi, newakubadde okuva lw’oyogedde n’omuddu wo: kubanga soogera mangu, n’olulimi lwange luzito. 11 Mukama n’amugamba nti ani yakola akamwa k’omuntu? Oba ani akola kasiru oba omuzibe w’amatu oba atunula oba muzibe w’amaaso? Si nze Mukama? 12 Kale kaakano genda, nange ndibeera wamu n’akamwa ko, ndikuyigiriza  by’olyogera.13 N’ayogera nti Ai Mukama, tuma nno nkwegayiridde, mu mukono gw’oyo gw’oyagala okutuma. 14 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n’ayogera nti Alooni omuleevi Muganda wo taliiwo? Mmanyi nti ayinza okwogera obulungi. Era, laba, ajja okukusisisnkana: bw’alikulaba, alisanyuka mu mutima gwe. 15 Naawe olimugamba, era oliteeka ebigambo mu kamwa ke: nange ndibeera wamu n’akamwa ko, n’akamwa ke, ndibayigiriza bye mulikola. 16 Naye  alibeera mutegeeza wo eri abantu: awo alikubeerera kamwa, naawe olimubeerera nga Katonda. 17 Naawe olitwala omuggo guno mu mukono gwo, gw’olikoza obubonero.

 

  1. Katonda ye nnyini ye yawa Yokaana omubatiza obuyinza okuteekateeka amajja ga Mukama waffe Yesu Kristo. Matayo 21:23-27, Lukka 3:2-16.

Matayo 21:23-27

23 N’ayingira mu Yeekaalu, bakabona abakulu n’abakadde b’abantu ne baggya gy’ali ng’ayogiriza, ne bagamba nti Buyinza ki obukukoza bino? Ani eyakuwa obuyinza buno? 24 Yesu n’addamu n’abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu, bwe munaakinzivuunula, era nange n’ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino. 25 Okubatiza kwa Yokaana kwaava wa? Mu ggulu nantiki mu bantu?  Ne beebuuzaganya  bokka na bokka, ne bagamba nti Bwe tunagamba nti mu ggulu: anatugamba nti Kale  kiki ekyabalobera okumukkiriza? 26  naye bwe tunagamba nti mu bantu; tutya abantu; kubanga bonna  baamulawooza Yokaana nga nnabbi. 27 N’ebaddamu Yesu  n’ebagamba nti Tetumanyi. Naye n’abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.

 

 

 

Lukka 3:2-16

2 ne Ana ne Kayaafa  bwe baali nga be bakabona abasing obukulu, ekigambo kya Katonda ne kijjira Yokaana  omwana wa Zaakaliya, mu ddungu. 3 N’ajja mu nsi yonna eriraanye Yoludaani, ng’abuulira  okubatizibwa okw’okwenenya olw’okuggibwaako ebibi; 4 nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo  bya nnabbi  Isaaya nti

Eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti

Mulongoose  oluguudo  lwa  Mukama,

Mulungammye  amakubo ge.

5 Buli kiwonvu kirijjuzibwa,

Na buli lusozi n’akasozi biritereezebwa:

N’ekikyamye kirigololwa,

N’amakubo agatali maseende galitereezebwa;

6 N’abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.

7 Awo n’agamba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa ye nti

Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu  obugenda okujja? 8 Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera mu nda zammwe nti jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda yinza amayinja gano akugafuuliramu Ibulayimu  abaana. 9 Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro  . 10 Ebibiina ne bamubuuza nga bagamba nti Kale tukole ki? 11 N’addamu n’abagamba nti Alina ekkanzu ebbiri, amuweeko emu atalina, n’alina emmere akole bw’atyo. 12 N’abawooza ne bajja okubatizibwa, ne bamugamba nti omuyigiriza tukole ki? 13 N’abagamba nti temusoloozanga kusukkiriza okusinga bwe mwalagirwa. 14 Era ba sserikale ne bamubuuza, nga bagamba nti Naffe tukole ki? N’abagamba  nti Temujooganga muntu so te mukanganga; era empeera ya mmwe  ebamalenga. 15 Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza ebigambo bya Yokaana mu mitima gyabwe oba nga  mpozzi ye Kristo; 16 Yokaana n’addamu n’agamba bonna nti Mazima nze mbabatiza n’amazzi; naye ajja y’ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ze:  ye alibabatiza n’Omwoyo n’omuliro:

 

  1. Katonda ye nnyini ye yawa Mukama waffe obuyinza bwonna okuggya okutufiirira n’okutununula mu bibi bye twali tufiiriddemu. Matayo 21:23-27, Okubikkulirwa 5: 1-12

Matayo 21:23-27

23 N’ayingira mu Yeekaalu, bakabona abakulu n’abakadde  b’abantu ne bajja gyali ng’ayigiriza, ne bagamba nti Buyinza ki obukukoza bino?  Ani eyakuwa obuyinza buno? 24 Yesu n’addamu n’abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu,  bwe munaakinzivuunula, era naange n’ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino 25 okubatiza kwa Yokaana kwaava wa?  Mu ggulu  nantiki mu bantu? Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti Bwe tunaagamba nti mu ggulu: anaatugamba nti kale kiki ekyabalobera okumukkiriza? 26 Naye bwe tunagamba nti mu bantu; tutya abantu; kubanga  bonna baamulowooza Yakaana nga nnabbi. 27 Ne baddamu Yesu ne bagamba nti Tetumanyi. Naye n’abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.

 

Okubikkulirwa 5:1-12

1 Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw’oyo eyali atudde ku ntebe ekitabao ekiwandiikiddwa munda ne kungulu, ekisibiddwa ennyo obubonero omusanvu. 2 Ne ndaba malayika ow’amaanyi ng’abuulira n’eddoboozi ddene nti Ani asanidde okwanjuluza ekitabo n’okubembula obubonero bwakyo omusanvu? 3  Ne watabaawo mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w’ensi,  eyayinza okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira. 4 Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabika eyasaanira  okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira: 5 Omu ku bakadde nangamba nti Tokaaba: laba, Empologoma ow’omukika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi,yawangula okwanjuluza ekitabo n’obubonero bwakyo omusamvu. 6 Ne ndaba wakati w’entebe n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, Omwana gw’endiga ng’ayimiridde  ng’afaanana ng’eyattibwa, ng’alina amayembe musanvu, n’amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna. 7 N’ajja n’akiggya mu mukono ogwa ddyo ogw’oyo  atudde ku ntebe. 8 Bwe yatoola ekitabo, ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana ne bavunama mu maaso g’Omwana gw’endiga, buli muntu ng’alina ennanga n’ebibya  ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw’abatukuvu. 9 Ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti Osanidde okutoola ekitabo n’okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n’ogulira Katonda olw’omusaayi gwo mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga, 10 n’obafuula eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona; era bafuga ku nsi. 11 Ne ndaba  ne mpulira eddoboozi lya bamalayika  abangi  abeetoolodde entebe n’ebiramu n’abakadde; n’omuwendo gwabwe gwali obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi; 12 nga boogera n’eddoboozi ddene nti Asaanidde Omwana gw’endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza n’obugagga n’amagezi n’amaanyi n’ettendo n’ekitiibwa n’omukisa.

 

                        EBY’OKULABIRAKO  MU  NGERI  EY’OKUBIRI

 

1.Musa  Katonda gwe yakozesa nga agenda okufa naawa Yoswa obuyinza  okusomosa abaana ba Isiraeri okulya ensi  ensubize emitala wa Yoludaani. Okubala 27:12-23, Ekyamateeka 31:14-15.

 

Okubala 27:12-23

12 Awo Mukama n’agamba Musa nti Linnya ku lusozi luno Abalimu, olengere ensi gye mpadde abaana ba Isiraeri. 13 Kale bw’onomala okugirengera, naawe olikunganyizibwa eri abantu bo, nga Alooni muganda wo bwe yakungannyizibwa: 14 Kubanga mwajeemera ekigambo kyange mu ddungu Zini, mu kuwakana kwe kibiina, okuntukuliza ku mazzi mu maaso gaabwe. ( Ago ge mazzi ag’e Meriba eKadesi mu ddungu Zini.) 15 Mukama n’agamba Musa nti 16 Mukama, Katonda w’emyoyo  gya bonna abalina emibiri, alonde omusajja okufuga ekibiina, 17 anaafulumanga mu maaso gaabwe, era anaayingiranga mu maaso gaabwe, era anaabafulumyanga, era anaabayingizanga; ekibiina kya Mukama kireme okuba ng’endiga ezitalina musumba. 18 Mukama n’agamba Musa  nti Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alina omwoyo, omuteekeko omukono gwo; 19 omuyigirize mu maaso ga Eriyazaali Kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna; omukuutire mu maaso gaabwe. 20 Era on’omuteekako ku kitiibwa kyo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri bawulirenga. 21 Era anaayimiriranga  mu maaso ga Eriyazaali kabona, anaamubuulizanga olw’omusango gwa Ulimu mu maaso ga Mukama: banaafulumanga lwa kigambo kye era banaayingiranga lwa kigambo kye ye n’abaana ba Isiraeri bonna wamu naye, ekibiina kyonna. 22 Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira: n’atwala Yoswa, n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna: 23 n’amuteekako emikono, n’amukuutira, nga   Mukama bwe yayogera n’omukono gwa Musa.

 

Ekyamateeka 31:14-15

14 Mukama n’agamba  Musa nti Laba, ennaku zo ziri kumpi kikugwanire okufa: yita Yoswa, mweyanjule mu weema eyokusisinkanirangamu, ndyoke mmulagire. Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beyanjula mu weema ey’okusisinkanirangamu. 15 Awo Mukama n’alabikira mu mpagi y’ekire: empagi y’ekire n’eyimirira waggulu w’oluggi lw’eweema.

 

  1. Isaaka Katonda gwe yakozesa ng’agenda okufa n’awa mutabani we Yakobo obuyinza, eyavaamu ebika ekkumi n’ebibiri. Olubereberye 27:1-29

Olubereberye 27:1-29

1 Awo lwatuuka Isaaka bwe yamala  okukaddiwa, n’amaaso ge nga gayimbadde n’okuyinza nga takyayinza kulaba, n’ayita Esawu omwana we omubereberye, n’amugamba nti mwana wange n’amugamba nti Nze nzuuno. 2 N’ayogera nti Laba nno, nze nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako. 3 Kale kaakano  nkwegayiridde,  ddira by’oyizza, omufuko gwo n’omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo; 4 era onnongoseze ennyama ey’akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere ndye; obulamu bwange  bukusabire omukisa nga si nnafa. 5 Lebbeka n’awulira Isaaka ng’ayogera ne Esawu omwana we. Esawu n’agenda mu nsiko okuyigga omuyiggo, n’okuguleeta. 6 Lebbeka n’agamba Yakobo  omwana we nti Laba, mpulidde kitaawo ng’agamba Esawu muganda wo nti 7 Ndeetera omuyiggo onnongoseze ennyama ey’akawoowo, ndye nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa. 8 Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange ng’ebyo bwebiri bye nkulagira 9 Genda kaakano  eri embuzi, onkimireyo abaana b’embuzi abalungi babiri nange naazirongooseza Kitaawo okuba ennyama ey’akawoowo, nga bwayagala: 10 naawe on’ogitwalira Kitaawo, alye, alyoke akusabire omukisa nga tanafa. 11 Yakobo n’agamba Lebbeeka nnyina nti Laba, Esawu muganda wange ye musajja ow’obwoya, nange omubiri gwange guseerera. 12 Mpozzi kitange anampeeweetako, nange nnafaanana gyali ng’omulimba; era nneereetako okukolimirwa, so si Mukisa. 13 Nnyina n’amugamba nti Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange, ogende obinkimire. 14 N’agenda, n’abikima, n’abireetera Nnyina: nnyina naaloongoosa ennyama ey’akawoowo, nga kitaawe bwe yayagala. 15 Lebbeeka n’addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n’ayambaza ebyo Yakobo omwana we omuto: 16 n’ateeka amaliba g’abaana b’embuzi ku ngalo ze, ne ku nsiingo awaseerera: 17 n’awa omwana we Yakobo mu ngalo ze ennyama ey’akawoowo n’emmere gye yali alongoosezza. 18 N’ajja eri kitaawe, n’ayogera nti kitange: n’ayogera nti Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange? 19 Yakobo n’agamba Kitaawe nti nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bw’ondagidde: golokoka, nkwegayirira otuule  olye ku muyiggo gwange, obulamu bwo bunsabire omukisa. 20 Isaaka n’agamba omwana we nti kiki ekigukulabisizza amangu  bwe kityo, mwana wange? N’ayogera nti kubanga Mukama Katonda wo ambedde. 21 Isaaka n’agamba Yakobo nti sembera, nkwegayiridde nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala   nantiki si ye wuuyo. 22 Yakobo, n’asemberera Isaaka Kitaawe; n’amuweeweetako, n’ayogera nti Eddoboozi lye ddoboozi lya Yakobo, naye engalo ze ngalo za Esawu. 23 Natamwekkaanya, kubanga engalo ze zaaliko  obwoya, ng’engalo za muganda we Esawu: kale n’amusabira omukisa. 24 N’ayogera nti ggwe mwana wange Esawu ddala ddala? N’ayogera nti Nze nzuuyo. 25 N’ayogera nti Gunsembereze, nange n’alya ku muyiggo gw’omwana wange, obulamu bwange bukusabire omukisa. N’agusembeza gy’ali n’alya; n’amuleetera omwenge n’anywa. 26 Kitaawe Isaaka  n’amugamba nti Sembera kaakano, onnywegere, mwana wange. 27 N’asembera n’awulira akaloosa k’ebyambalo bye, n’amusabira omukisa,  n’ayogera nti

     Laba, akaloosa ak’omwana wange

     Kalinganga akaloosa k’ennimiro Mukama gyawadde omukisa:

28 Era Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu,

     N e ku bugimu obw’ensi,

     Ne ngaano nnyingi n’omwenge mungi:

29Abantu bakuweerezenga

     N’amawanga gakuvuunamirenga:

     Ofugenga baganda bo,

     N’abaana ba nnyoko bakuvuunamire,

     Akolimirwenga akukolimira,

     Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa.

 

  1. Eriya Katonda gwe yakozesa ng’agenda okulinnya mu ggulu, n’awa Erisa obuyinza nga nnabbi eyadda mu kifo kye . 1Bassekabaka 19:19-21, 2Bassekabaka 2:8-14.

1 Bassekabaka 19:19-21

19 Awo n’avaayo n’asanga Erisa mutabani wa Safati eyali ng’alima ng’alina mu maaso ge emigogo gy’ente kkumi n’ebiri, ye ng’alina ogw’ekkumi n’ebiri: awo Erisa n’asomoka okugenda  gy’ali n’amusuulako omunagiro gwe. 20 Awo n’aleka ente, n’adduka mbiro okumugoberera Eriya, n’ayogera nti Nkwegayiridde, ka mmale okunywegera Kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere. Namugamba nti Ddayo kubanga nkukoze ki? 21 N’addayo n’atamugoberera n’addira omugogo gw’ente n’azitta, n’afumba ennyama yaazo n’ebintu eby’ente,  n’agabira abantu ne balya. Awo n’agolokoka n’agoberera Eriya n’amuweereza.

 

2 Bassekabaka 2:8-14

8 Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu eruuyi n’eruuyi  n’okuyita ne bayita bombi ku lukalu. 9 Awo olwatuuka bwe baamala okusomoka  Eriya n’agamba Erisa nti saba kyennaakukolera nga sinnaba kukuggibwako . Erisa n’ayogera nti  Nkwegayiridde emigabo ebiri egy’omwoyo gwo gibeere ku nze. 10 N’ayogera nti osabye kizibu: naye bw’onondaba bwe nnaakuggibwako kinaaba bwe kityo gy’oli; naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo. 11 Awo olwatuuka nga bakyatambula nga balojja, laba, ne walabika eggaali ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n’alinnya mu ggulu n’embuyaga  ez’omuzimu. 12 Era Erisa n’akiraba n’ayogerera waggulu nti Kitange, Kitange, amagaali ga Isiraeri n’embalaasi ze! N’atambula nate : n’akwata ebyambalo n’abiyuzaamu ebitundu bibiri. 13 Era n’alonda n’ekyambalo kya Eriya ky’asudde, n’addayo n’ayimirira ku lubalama lwa Yoludaani. 14 N’addira ekyambalo kya Eriya ky’asudde, n’akuba amazzi n’ayogera  nit Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya awo ng’amaze okukuba amazzi  naye, ne gaawulibwamu eruuyi n’eruuyi: Erisa n’asomoka.

 

Omulembe gwaffe ogusembayo kati nga guyitibwa omuggya nagwo Katonda yagutegekera ye kennyini okwerondera omuweereza n’okumukwaasa obuyinza bwonna nga tayise mu muweereza yenna era n’omukisa  yaguwa Uganda eggwanga eddonde naye mu massekkati gaalyo mu Buganda ku lukalu lwaffe abaddugavu (Africa) kino bannabbi baakiwandiikako nga balaga nnabbi ono.

(1)Nnabbi Isaaya yawandiika ku muweereza ono n’amuyita omulokozi era omukuumi. Isaaya 19:19-20.

 

Isaaya 19:19-20

19 Ku lunaku luli waliba ekyoto eri Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, n’empagi eriba ku nsalo yaayo eri  Mukama.20 Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama  ow’eggye mu nsi y’e Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw’abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola.

 

(2)Nnabbi Malaki yawandiika ku muweereza ono n’amuyita Eriya nnabbi. Malaki 3:5-6

 

Malaki 3:5-6

5Laba, ndibatumira Eriya  nnabbi olunaku olukulu olw’entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. 6 Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n’omutima gw’abaana  eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n’ekikolimo.

 

OKUBIKKULA KU MAGEZI GO KU BW’OMWOYO W’OBUNNABBI  ABIKKULA  EBYAAMA.

 

Mukama waffe Yesu Kristo bwe yali abuulira omukazi omusamaliya nga tabikkulirwa olw’amagezi ag’omubiri kubanga Yesu yali muto nga taludde  nnyo mu buweereza, tamannyiddwa nnyo, yali mukoowu, teyalina kya kusenya mazzi, oluzzi lwaali luwanvu ate nga lulina n’abaalusima edda. ( amakulu, enfaanana y’omuweereza, gy’ava, obuyigirize bwe, obutaba na bya bugagga, obutaba na kitiibwa mu nsi n’obutamanyibwa ) kye kyaagaana omukazi ono okutegeera eyalina ekigambo ky’obulamu naye okutuusa Mukama waffe Yesu Kristo bwe y’amugamba nti ye nze ayogera naawe. Yokaana 4:4-26.

 

Yokaana 4:4-26

4 Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya. 5 Awo n’atuuka mu kibuga eky’e Samaliya, kye bayita Sukali, ekiriranye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu: 6 era mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olugendo, n’amala gatuulirawo ku luzzi, obudde nga ssaawa mukaaga. 7 Omukazi omusamaliya n’ajja okusena amazzi : Yesu n’amugamba nti Mpa nnywe . 8 Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere. 9 Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti Ggwe  Omuyudaaya, kiki ekikusabya okunywa eri nze  omukazi Omusamaliya? ( kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya.) 10 Yesu n’addamu n’amugamba nti Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n’oyo akugamba  nti Mpa  nnywe bw’ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu. 11 Omukazi n’amugamba nti Ssebo, tolina kyakusenya, n’oluzzi luwanvu: Kale oggya wa amazzi ago amalamu?12 Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa  oluzzi luno,eyanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze? 13 Yesu n’addamu n’amugamba nti Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate: 14 naye anywa  amazi ago nze gendimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y’amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. 15 Omukazi  n’amugamba nti Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme okunnumanga, n’okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okusenanga. 16 Yesu n’amugamba nti genda oyite balo, okomewo wano. 17 Omukazi n’amugamba nti sirina baze. Yesu n’amugamba ntu Oyogedde  bulungi nti sirina baze; 18 kubanga walina babalo bataano, naye gw’olina kaakano si balo: ekyo kyoyogedde mazima. 19 Omukazi n’amugamba nti Ssebo, ndaba nti oli nnabbi. 20 Bajjajjaffe baasinzinzanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwaana okusinzizangamu. 21 Yesu n’amugamba nti omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi.22 Mmwe muzinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzaanga Kitaffe mu mwoyo ne n’amazima: kubanga Kitaffe  anoonya abali ng’abo okubeera ab’okumusinzanga. 24 Katonda gwe Mwoyo: n’abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n’amazima.

 

Malaki yayogera ku Eriya nnabbi ow’okusatu era ka twawule ba Eriya.

 

1.Eriya eyasooka ye yaliwo ku mulembe gwa Kabaka Akabu  oyo Erisa nnabbi gwe yaddira mu bigere. 1Bassekabaka 17:1, 1Bassekabaka 18:1,19-20, 1 Bassekabaka 19:19-21, 2 Bassekabaka 2:1,11-14.

 

1Bassekabaka 17:1

Awo Eriya Omutisubi, eyali ku abo abaatuula e Gireyaadi,n’agamba Akabu nti Mukama Katonda wa Isiraeri nga bwaali omulamu gwe  nnyimiririra mu maaso ge,tewaabenga musulo newakubadde enkuba mu myaka gino wabula ng’ekigambo kyange bwe kiri.

 

1 Bassekabaka 18:1,19-20

1 Awo olwatuka ennaku nnyingi bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya mu mwaka ogw’okusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange ndittonyesa enkuba ku nsi.

 

 

 

19-20

19 Kale nno tuma okungaanyize gye ndi Isiraeri yenna ku lusozi Kalumeeri ne bannabbi ba Baali ebikumi bina mu ataano ne bannabbi ba  Baaseri ebikumi bina  abalya ku mmeeza ya Yezebeeri. 20 Awo Akabu n’atumira abaana  ba Isiraeri bonna  n’akungaanyiza  bannabbi  ku lusozi Kalumeeri.

 

1 Bassekabaka 19:19-21

19 Awo n’avaayo n’asanga Erisa mutabani wa Safati eyalinga alima ng’alina emigogo gy’ente kkumi n’ebiri, ye nga alina ogw’ekkumi n’ebiri: awo Eriya  n’asomoka okugenda gy’ali n’amusuulako omunagiro gwe. 20 Awo n’aleka ente n’addukana mbiro okugoberera Eriya, n’ayogera nti Nkwegayiridde  ka mmale okunywegera Kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere. N’amugamba nti Ddayo; kubanga nkukoze ki? 21 N’addayo n’atamugoberera n’addira  omugogo gw’ente n’azitta, n’afumba ennyama yaazo n’ebintu eby’ente, n’agabira abantu ne balya. Awo  n’agolokoka  n’agoberera Eriya n’amuweereza.

 

2 Bassekabaka 2:1, 11-14

1 Awo olwatuuka Mukama bwe yayagala okulinnyisa Eriya n’embuyaga ez’omuzimu mu ggulu, Eriya n’agenda ne Erisa ng’ava e Girugaali.

 

11-14

11 Awo olwatuuka nga bakyatambula nga balojja, laba, ne walabika eggaali ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n’alinnya mu ggulu n’embuyaga ez’omuzimu. 12 Era Erisa n’akiraba n’ayogerera waggulu nti Kitange, Kitange, amagaali ga Isiraeri  n’embalaasi ze! N’atambula nate: n’akwata ebyambalo bye  n’abiyusamu ebitundu bibiri. 13 Era n’alonda n’ekyambalo kya Eriya ky’asudde, n’addayo n’ayimirira ku lubalama lwa Yoludaani. 14 N’addira ekyambalo kya Eriya  Ky’asudde n’akuba amazzi n’ayogera nti ali luuyi wa  Mukama Katonda  wa Eriya? Awo ng’amaze okukuba amazzi naye, ne gaawulibwamu eruuyi n’eruuyi Erisa n’asomoka.

 

 

  1. Eriya ow’okubiri ye Yokaana omubatiza eyategekera Mukama waffe Yesu Kristo okujja mu nsi mu mubiri alyoke afiirire ebibi byaffe. Malaki 3:1, Matayo11:11-14, Matayo 17:10-13, Yokaana 1:29-42.

Malaki 3:1

Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu  maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw’ayogera Mukama w’eggye.

 

Matayo11:11-14

11 Ddala mbagamba  nti Tevanga mu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza: naye omuto mu bwakabaka obw’omuggulu amusinga ye. 12 Okuva ku biro bya Yokaana omubatiza okutuusa leero obwakabaka  obw’omuggulu buwaguzibwa, n’abawaguza babunyaga lwa maanyi. 13 Kubanga bannabbi bonna n’amateeka baalagula okutuusa ku Yokaana. 14 Era oba mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja.

 

Matayo17:10-13

10 Abayigirizwa be ne bamubuuza, ne bagamba nti Kale Kiki ekigambya abawandiisi nti Eriya kimugwanidde okusooka okujja: 11 N’addamu n’agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna: 12 Naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola bwe baayagala. Bw’atyo n’omwana w’omuntu alibonyaabonyezebwa bo. 13 Awo abayigirizwa ne bategeera nti yayogera nabo ku Yokaana omubatiza.

 

Yokaana  1:29-42

29 Olunaku olw’okubiri n’alaba Yesu ng’ajja gy’ali, n’agamba nti Laba, Omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi! 30 oyo gwe nnagamba nti Ennyuma wange ejjayo omuntu ansiinga: kubanga ye yali ow’olubereberye ku nze. 31 Nange Saamumanya:  naye ayolesebwe Isiraeri, Kyennava njija nga mbatiza n’amazzi. 32 Yokaana n’ategeeza ng’agamba nti Nnalaba Omwoyo ng’ava mu ggulu ng’ejjiba n’abeera ku ye. 33 Nange saamumanya: naye eyantuma okubatiza n’amazzi, ye yangamba nti Ggwe oliraba Omwoyo ng’akka ng’abeera ku ye, oyo ye abatiza n’Omwoyo Omutukuvu. 34 Nange ne ndaba, ne ntegeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda. 35 Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n’ab’oku bayigirizwa be babiri; 36 n’atunuulira Yesu ng’atambula, n’agamba nti Laba, Omwana gw’endiga gwa Katonda! 37 Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng’ayogera, ne bagobererra Yesu . 38 Yesu n’akyuka n’abalaba nga bamugoberera, n’abagamba nti Munoonya ki? Ne bamugamba nti Labbi( amakulu  gaakyo bwe kitegeezebwa nti Omuyigiriza) , osula wa?  39 N’abagamba nti Mujje, munaalabawo. Ne bajja ne balaba w’asula; ne  basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwaali nga ssaawa ya kkumi. 40 Andereya, muganda wa Simooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera, ne bamugoberera. 41 Ye n’asooka okulaba muganda we ye Simooni,  n’amugamba nti Tulabye Kristo, amakulu gakyo bwe kitegeezebwa nti Eyafukibwaako amafuta. 42 N’amuleeta eri Yesu. Yesu n’amutunuulira, n’agamba nti ggwe Simooni  omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa, ( amakulu gaalyo bwe litegeezebwa nti Peetero).

 

  1. Eriya ow’okusatu yalina kujja nga Mukama waffe Yesu Kristo amaze okuddayo mu ggulu. Malaki 4:5-6, Ebikolwaby’Abatume 3:19-21

Malaki 4:5-6

5 Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku  olukulu olw’entiisa olwa Mukama nga terunaba  kutuuka. 6 Era alikyusa omutima gwa ba kitaabwe eri abaana, n’omutima gw’abaana eri ba kitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n’ekikolimo.

 

Ebikolwaby’Abatume 3:19-21

19 Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby’okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke; 20 naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu, 21 eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa  mu biro eby’okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be  abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye.

 

(a)Okutegekera n’okubulira ensi ekyokukola ereme okukubwa n’ekikolimo. Malaki 4:1-6, Okubikkulirwa 14:6-12,18-19.

 

Malaki 4:1-6

1 Kubanga, laba, olunaku lujja , lwokya ng’ekikoomi; n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw’ayogera Mukama  w’eggye, obutabalekerawo  kikolo newakubadde ettabi. 2 Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawatiro byayo, kale, muli fuluma ne muligita ng’ennyana   ez’omu kisibo. 3 Era mulirinyirira ababi; kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw’ayogera Mukama w’eggye. 4 Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, ge nnamulagirira ku Kolebu olwa Isiraeri yenna ebiragiro n’emisango. 5 Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw’entiisa  olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. 6 Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana , n’omutima gw’abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n’ekikolimo.

 

Okubikkulirwa 14:6-12,18-19

6 Ne ndaba malayika omulala ng’abuuka mu bbanga ery’omu ggulu ng’alina enjiri ey’emirembe n’emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga  n’ekika n’olulimi n’abantu, 7 ng’ayogera n’eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse: Mumusinze eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja  n’ensulo z’amazzi. 8 Ne malayika omulala ow’okubiri n’agoberera, ng’ayogera nti Kigudde kigudde Babulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwakyo. 9 Ne malayika omulala ow’okusatu n’agoberera, ng’ayogera n’eddoboozi ddene nti Omuntu yenna bw’asinza ensolo n’ekifaananyi kyayo, era bwakkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe, 10 oyo naye alinywa ku mwenge ogw’obusuungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky’obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n’ekibiriiti mu maaso g’aba malayika abatukuvu mu maaso g’Omwana gw’endiga: 11  n’omukka ogw’okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe; so tebalina kuwummula emisana n’ekiro abasinza ensolo n’ekifaananyi kyayo, na buli akkiriza enkovu y’erinnya lyayo. 12 Awo we wali okugumikiriza kw’abatukuvu, abakwata ebiragiro bya Katonda n’okukkiriza kwa Yesu.

18-19

18 Ne malayika omulala n’ava ku Kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba oyo alina ekiwabyo eky’obwogi, ng’ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky’obwogi, onoge ebirimba by’omuzabbibu gw’ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala. 19 Ne malayika n’asuula ekiwabyo kye ku nsi, n’anoga omuzabbibu gw’ensi, n’akisuula mu ssogorero eddene ery’obusungu bwa Katonda.

 

(b) Okutegeka ekkanisa ey’oluvannyuma okudda mu kitiibwa kyaayo, Okubikkulirwa19:7-8, Danyeri 7:18,22,27, Mikka 4:1-3, Malaki 3:3-4, Okubikkulirwa 2:26-27

 

Okubikkulirwa 19:7-8

7 Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitibwa ye: kubanga obugole bw’omwana gw’endiga butuuse, ne mukazi we yeteeseteese. 8 N’aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.

 

Danyeri 7:18,22,27

18 Naye abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, era balirya obwakabaka emirembe n’emirembe era n’okutuusa emirembe gyonna. 22 Okutuusa omukadde  eyaakamala ennaku ennyingi lwe yajja, omusango ne gubasalirwa abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo; ebiro ne bituuka abatukuvu ne balya obwakabaka. 27 N’obwakaba n’okufuga n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu lyonna, abantu ab’atukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo balibiweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n’amatwale gonna galimuweereza galimuwulira.

 

Mikka 4:1-3

1Naye mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu  ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi ;  era amawanga galirukulukutiramu. 2 Era amawanga  amangi  agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n’ekigambo kya Mukama  mu Yerusaalemi. 3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n’amafumu gabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.

 

Malaki 3:3-4

3 era alituula ng’oyo alongoosa effeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani  ba Leevi, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu. 4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaaremi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga munnaku ez’edda era nga mu myaka egyayitawo.

 

Okubikkulirwa 2:26-27

Era awangula n’akwatanga ebiragiro byange okutuusa ku nkomerero, oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga: 27 era alibalunda n’omuggo ogw’ekyuma, ng’ebibya ebibumbe bwe byatikayatika;  era nange nga  bwe  nnaweebwa  Kitange:

 

(c) Okutegekera amadda ga Mukama waffe mu kigambo nga kikola n’obuyinza bwonna obutabaddewo mu murembe ogubaddewo. Danyeri 7:9-14,Malaki 3:1-2, Okubikkulirwa 19:11-16

 

Danyeri 7:9-14

9 Ne  ndaba  okutuusa   entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku nnyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’okumutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro agwaka. 10 Omugga gw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge : Omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’ewebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako:  naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13  Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omuggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 14 N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.

 

Malaki 3:1-2

1 Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira , laba, ajja,bwayogera Mukama w’eggye. 2 Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe? Era ani aliyimirira ye bwalirabika?  kubanga alinganga omuliro gw’oyo alongoosa effeeza, era nga Sabbuni ow’aboozi.

 

Okubikkulirwa 19:11-16

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko,  ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna lyatamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwaako omusaayi : n’erinnya rye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu  ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala  eky’obwogi ateme amawanga nakyo:era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.

 

(d) Okutegeera amadda ga Mukama waffe Yesu Kristo okujja okunona ekkanisa. Okubikkulirwa 22:17

 

Okubikkulirwa 22:17

Era Omwoyo n’omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogera nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa.

 

  EKKANISA YA KRISTO ( EY’OMWOYO  OMUTUKUVU) MU NSI YONNA

 

Abakulembeze mu makanisa gonna mu nsi yonna mutekeddwa okumanya nti buli  omu yayambulwako dda obuyinza bwonna, kimusobozese okuddamu okukkakkana wansi asobole okutendekebwa buto oba buggya, olw’okuweereza kw’omurembe ogusembayo oba omuggya, era buli  Ssekinnoomu w’ofunira amawulire gano n’ogategeera bulungi oweereddwa  ennaku kkumi na nnya  zokka (14) oteeke wansi by’okola byonna onoonye Katonda ennaku ssatu (3)  mu kusiiba n’okusaba kwonna kw’osobola okukalu ( dry) oba ng’osibulukka essaawa ez’olweggulo, Omwoyo Omutukuvu ajja kukubikkulira omulembe n’enkyuukakyuka zaagwo, olwo osobole okwenenya otandike buggya okutendekebwa; anaagana wa kubonaabona okutuuka lwalifa oba okufiirawo mu bwangu era  ekyo kinaayigiriza n’abalala kubanga omusango  gutandikidde mu nnyumba ( mu kkanisa ).  1 Peetero 4:17, 2 Peetero2:1-11, Ezeekyeri 34:1-16, Abaebulaniya 12:25-29, Ebikolwaby’Abatume 3:20-23.

 

1 Peetero 4:17

Kubanga obudde butuuse omusango gutandikire mu nnyumba ya Katonda: Kale, oba nga gusoose gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera  nnjiri ya Katonda?

 

2 Peetero 2:1-11

1 Naye era ne wabaawo ne bannabbi b’obulimba mu ggwanga, era nga ne mummwe bwe waliba abayigiriza b’obulimba, abaliyingiza mu nkiso obukyamu obuzikiriza, era nga beegaana ne  Mukama  waabwe eyabagula, nga beeretera  okuzikirira okwangu. 2 Era bangi baligoberera obukaba bwabwe; abalivumisa ekkubo ery’amazima. 3 Era olw’okwegomba balibaviisaamu amagoba n’ebigambo ebyagunjibwa: omusango gw’abo okuva edda tegulwa, n’okuzikirira kwabwe tekubongoota. 4 Kuba oba nga Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonona, naye n’abasuula mu lukonko n’abawayo eri obunnya obw’ekizikiza okubakuumira omusango; 5 era n’atasonyiwa nsi eyedda, naye n’awonya Nuuwa, omubuulizi w’obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey’abatatya Katonda: 6 era bwe yasirisa ebibuga Sodoma ne Ggomola n’abisalira omusango ng’abazikiriza ng’abifuula ekyokulabirako eri abo abatalitya Katonda; 7 era n’alokola Lutti omutuukirivu, bwe yali nga yeeralikirira nnyo olw’empisa ez’obukaba ez’ababi. 8 ( kubanga omuntu  oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo, olw’okulaba n’olw’okuwulira yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu bulijjo bulijjo  olw’ebikolwa byabwe eby’obujeemu): 9 Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n’okukuuba abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw’omusango; 10 naye okusinga bonna abatambula okugoberera omubiri mu kwegomba okw’obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyavu, tebakankana kuvuma ba bitiibwa: 11 naye bamalayika, newakubadde nga be basiinga amaanyi n’obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri Mukama waffe.

 

Ezeekyeri 34:1-16

1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 2 nti omwana w’omuntu, balagulireko abasumba ba Isiraeri, olagule obagambe, ogambe abasumba nti Bw’ati bw’ayogera Mukama  Katonda nti Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! Abasumba tebandirisizza ndiga? 3 Mulya masavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ebya ssava;  naye ne mutaliisa ndiga.4 Eteeyinza temugissangamu maanyi,  so temuwonyanga erwadde, so temusibanga emenyese, so temunoonyaanga ebuze; naye mwazifugisanga n’amaanyi n’amawaggali.5 Ne zisaasaana  olw’obutabaawo  musumba:  ne ziba kyakulya eri ensolo zonna ez’omu nsiko ne zisaasaana. 6 Endiga zange zaabulubuuttira ku nsozi zonna ne ku buli kasozi akawanvu: weewaawo, endiga zange zaasaasaanira ku maaso g’ensi yonna; so tewali eyazinoonya newakubadde okuzibuuliriza. 7 Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: 8 Nga bwendi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo ez’omu nsiko olw’obutabaawo musumba, so n’abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye abasumba ne beerisa bokka ne bataliisa ndiga; 9 Kale, mmwe abasumba , muwulire ekigambo kya Mukama; 10  bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti laba, ndi mulabe w’abasumba; era ndivunaana  endiga zaabwe, mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo  okuliisa endiga; so n’abasumba tebalyeriisa  bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba eky’okulya  eri bo. 11 Kubanga Mukama Katonda bw’ayogera  bw’ati nti Laba, nze mwene nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuuliriza. 12 Ng’omusumba bw’abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw’abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange;  era ndiziwonya mu bifo byonna gye zasaasaanira ku lunaku olw’ebire olw’ekizikiza. 13 Era ndiziggya mumawanga, ne nzikungaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo; era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri ku lubalama lw’e nsalosalo z’amazzi ne mu bifo byonna ebibeerwamu eby’ensi. 14 ndiziriisa omuddo omulungi, era ku nsozi ez’entikko ya Isiraeri kwe kuliba ekisibo kyabwe: eyo gye zirigalamira mu kisibo ekirungi,  ne ziriira omuddo omugimu ku nsozi za Isiraeri. 15 Nze mwene ndiriisa endiga zange ne nzigalamiza, bw’ayogera Mukama Katonda. 16 Ndinoonya ekyo ekibuze ne nkomyaawo ekyo ekigobeddwa ne nsiba ekimenyese ne nzisaamu amaanyi mu ekyo ekirwadde: n’ebya ssava n’eby’amaanyi  ndibizikiriza;  ndibiriisa  n’omusango.

 

Abaebulaniya 12:25-29

25 Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo atulabula ng’ayima mu ggulu talisinga nnyo obutalokoka: 26  eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n’eggulu 27 N’ekyo , nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka  obutakankanyizibwa, tubenga n’ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n’okwegendereza n’okutya: 29 Kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.

 

Ebikolwaby’Abatume 3:20-23

20 naye atume Kristo eyabaawulirwa  edda  ye Yesu, 21 eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby’okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga  mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo  okuva ku lubereberye. 22 Musa yagamba nti alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga by’alibagamba. 23 Olulituuka buli mwoyo  ogutaliwulira nnabbi oli gulizikirizibwa mu ggwanga.

 

Abalokole twekwasa nnyo nti tuli mu kisa so nga ne jjajjaffe Ibulayimu yagonderanga ebiragiro by’obunnabbi bwe yafunanga okuva eri Katonda nga n’amateeka tegannajja era ne Lutti yali mu kisa naye obudde bwe yaweebwa bwali kuva kawungeezi, enkeera nga bavaayo bawone omuliro. Olubereberye 19:1-2, 12-24

Ate yona ye yalagirwa okulangirira okwenenya obutasussa nakku amakumi ana okuwona okuzikirira. Yona 3:1-10 

 

Olubereberye 19:1-2,12-24

1 Ne bamalayika babiri ne batuuka e Sodoma akawungeezi; ne Lutti yali atudde mu mulyango ogw’e Sodoma: Lutti n’abalaba, n’agolokoka okubasisinkana; n’avuunama amaaso ge  2 n’ayogera nti laba  nno, mwekooloobye, mbegayiridde, mu nnyumba ey’omuddu wammwe, musule okukeesa obudde, munaabe ebigere, mukeere enkya okugolokoka, mwegendere. Ne boogera nti nedda; naye tunaasula mu luguudo okukeesa obudde.

12-24  

12 Abasajja ne bagamba Lutti nti olina nate wano abalala? Mukoddomi wo n’abaana bo, ab’obulenzi n’ab’obuwala, ne bonna b’olina mu kibuga; bafulumye  mu kifo muno: 13 Kubanga tunaazikiriza ekifo kino, kubanga okukaaba kwabwe kweyongedde nnyo mu maaso ga Mukama, era Mukama yatutumye okukizikiriza. 14 Lutti n’afuluma n’ayogera ne bakoddomi  be, abaawasa  abawala be, n’agamba nti mugolokoke muve mu kifo kino; kubanga Mukama anaazikiriza ekibuga. Naye yalinganga asaaga eri bakoddomi be. 15 Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bamwanguyiriza Lutti, nga boogera nti Golokoka,  otwale mukazi wo, n’abaana bo abawala bombi abali wano: oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu  obw’ekibuga. 16 Naye n’alwa; abasajja ne bamukwata ku mukono gwe, ne ku mukono gwa mukazi we, ne ku mukono gw’abaanabe abawala bombi; Mukama nga amusaasira: ne bamuggyamu, ne bamuleeta ebweeru w’ekibuga. 17 Awo bwe baamala okumugyiramu ddala, n’ayogera nti Dduka  oleme okufa; totunula nnyuma wo, so tolwa mu lusenyi lwonna; ddukira mu lusozi,  oleme okuzikirizibwa. 18 Lutti n’abagamba nti Nedda, Mukama wange, nkwegayiridde: 19 laba nno, omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, era agulumizizza okusaasira kwo, kw’ondaze ng’omponya nneme okufa; ne siyinza kuddukira ku lusozi luno, akabi kaleme okuntukako ne nfa: 20 Laba nno, ekibuga ekyo kwe kumpi okukiddukiramu, era kye kibuga ekitono: nkwegayiridde, nzirukire omwo, ( si kitono ? ) n’obulamu bwange buliwona. 21 N’amugamba nti Era nkukkirizza ne mu kibuga ekyo, obutasuula kibuga ky’oyogeddeko. 22 Yanguwako,oddukire omwo; kubanga siyinza kukola kigambo, nga tonnatuuka omwo. Erinnya ly’ekibuga kyeryava liyitibwa Zowaali. 23 Enjuba yali ng’emaze okuvaayo ku nsi Lutti bwe yatuuka mu Zowaali. 24 Mukama n’alyoka attonnyessa ku  Sodoma ne ku Ggomola omuliro n’ekibiriiti nga biva mu ggulu;

 

Yona 3:1-10

1Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yona omulundi ogw’okubiri, nga kyogera  2 nti Golokoka, ogende  e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okibuulre okubuulira kwe nkugamba. 3 Awo Yona n’agolokoka n’agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini olugendo lwa nnaku ssatu okukibunya. 4 Yona n’asooka okuyingira mu kibuga n’atambula olugendo lwa lunaku lumu n’ayogerera waggulu n’agamba nti Ennaku makumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira. 5 Abantu ab’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda ne balangirira okusiiba ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto. 6 Ebigambo ne bituuka  ku  kabaka  ow’e Nineeve, n’agolokoka ku ntebe n’ayambulamu ekyambalo kye ne yeebikkako ebibukutu n’atuula mu vvu. 7 N’alangirira n’abuulira okubunnya Nineeve olw’etteeka lya Kabaka n’abakungu be, n’agamba nti omuntu n’ensolo, eggana n’ekisibo, bireme okulega ku kintu; bireme okulyako n’okunywa amazzi; 8 naye babikkibwe ebibukutu, omuntu era n’ensolo bakaabirire nnyo nnyini Katonda; era bikyuke, buli kintu mu kkubo ebbi ne mu kyejo ekiri mu mikono gyabyo. 9  Ani amanyi nga Katonda alikyusa alyejjusa, n’akyusa okuleka obusungu bwe obukambwe tuleme okuzikirira?  10 Katonda n’alaba emirimu gyabwe nga bakyuse mu kkubo lyabwe ebbi; Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n’atabubakola.

 

  1. ENSI ( ABAKULEMBEZE B’AMAWANGA )

 

Abakulembeze bonna mu nsi yonna ab’amawanga  n’addala ab’oku ntikko na mmwe mwaggibwako  dda obuyinza n’amaanyi era buli anaagonda ne yeenenya n’akkakana ayambibwe, ayigirizibwe, awabulwe era akole endagaano  nga akkiriza okufugira wansi w’omukono gwa Katonda mu mulembe omuggya era ogusembayo, y’anawona omukono gwa Katonda, kubanga yamaze dda okuggulawo olutalo zzisa busolo era ddeka busa eri abakulembeze bonna, era teri ajja kutaasa oba okuyamba munne. Isaaya 31:1-3, Zabbuli 2:1-12, Zabbuli 110:1-7, Isaaya 60:11-12, Danyeri 2:44-45, Danyeri 7:9-12, Yeremiya 25:31, Mikka 5:15, Zekkaliya 14:1-12, Okubikkulirwa 19:11-18, Okubikkulirwa 21:24.

 

Isaaya 31:1-3

1 Zibasanze abo abaserengeta  e Misiri okubeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n’abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri so tebanoonya Makama! 2 Naye era naye w’amagezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye:  naye aligolokokera ku nnyumba  y’abo abakola obubi ne ku buyambi bw’abo abakola ebitali bya butuukirivu. 3 Kale nno Abamisiri bantu buntu so si Katonda; n’embalaasi zaabwe mubiri bubiri so si mwoyo:era Mukama bwaligolola omukono gwe, oyo ayamba alyesittala  era n’oyo ayambwa aligwa, kale bonna baliggweerawo wamu.

 

Zabbuli 2:1-12

1 Kiki ekibagugumussiza abamawanga,

N’abantu kiki ekibalowoozeseza ebitaliimu?

2 Bakabaka ab’ensi beeteeseteese,

N’abafuga batesezza ebigambo wamu,

Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti

3 Ka tumenyemenye enjegere zaabwe,

Tusuule wala emigwa gyabwe.

4 Atuula mu ggulu aliseka,

Mukama alibaduulira.

5 Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe,

Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:

6 Naye naateeka Kabaka wange

Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.

7 Ekiragiro ndikibuulira :

Mukam yangamba nti Ggwe oli mwana wange;

Leero nkuzadde.

8 Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okuba obusika bwo,

N’ensonda z’ensi okubeera amatwale go.

9 Olibimenya n’omuggo ogw’ekyuma;

Olibyasayasa ng’entamu ey’omubumbi.

10 Kale kaakano mubeere n’amagezi, mmwe bakabaka: Muyige,

mmwe abasala omusango gw’ensi.

11 Muweereze Mukama n’okutya,

Era musanyuke  n’okukankana.

12 Munywegere  omwana , aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo,

Kubanga  obusungu  bwe  bulibuubuuka mangu.

Balina omukisa bonna abamweyuna  ye.

 

Zabbuli 110:1-7

1 Mukama agamba Mukama wange nti

Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,

Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo

entebe y’ebigere byo.

2 Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi go

Okuva mu Sayuuni:

Ggwe fugira wakati  mu balabe bo.

3 Abantu beewayo n’omwoyo ogutawalirizibwa

ku lunaku olw’obuyinza bwo.

Mu bulungi obw’obutukuvu, olina

Omusulo ogw’obuvubuka bwo,

Oguva mu lubuto lw’enkya.

4 Mukama yalayira, so talyejjusa,

Nti Ggwe oli Kabona emirembe gyonna

Ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku

olw’obusungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga,

Alijjuza ebifo emirambo;

Alifumita omutwe ku nsi ennyingi.

7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo:

Kyaliva ayimusa omutwe.

 

Isaaya 60:11-12

11 Era n’enzigi zo zinaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo  emisana n’ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw’amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe. 12 Kubanga eggwanga eryo n’obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikirizibwa ddala.

 

Danyeri 2:44-45

44 Era mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kw’abwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabereraanga emirmbe gyonna. 45 Kubanga walaba ejjinja nga lyatemebwa mu lusozi awatali ngalo, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu ategeezezza kabaka ebiribaawo oluvannyuma: era ekirooto kya mazima ddala, n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.

 

Danyeri 7:9-12

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga gw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako : naye obulamu bwazo  ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera.

 

Yeremiya 25:31

Eddoboozi lirijja lirituuka ne kunkomerero y’ensi; Kubanga Mukama alina empaka n’amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; ababi alibawaayo eri ekitala, bw’ayogera Mukama.

 

Zekkaliya 14:1-12

1 Laba, olunaku lwa Mukama lujja, omwandu gwo bwe gugerekebwa mu ggwe wakati. 2 Kubanga ndikungaanyiza amawanga  gonna ku Yerusaalemi okulwana; era ekibuga kirimenyebwa, n’ennyumba zirinnyagibwa, n’abakazi balikwatibwa lw’amaanyi: n’ekitundu ky’e kibuga kiritwalibwa okufugibwa obuddu; n’ekitundu eky’abantu ekirisigalawo tekirimalibwawo mu kibuga. 3 Awo Mukama alitabaala alirwana n’amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo. 4 Era  aliyimirira n’ebigere bye ku lunaku luli ku lusozi lwa Zeyituuni olwolekedde Yerusaalemi ebuvanjuba, n’olusozi olwa Zeyituuni lulyatika wakati waalwo ebuva njuba n’ebugwanjuba, era walibaawo ekiwonvu ekinene ennyo; ekitundu ekimu eky’olusozi kirijjulukuka okugenda obukiika obwa kkono, n’ekitundu kyalwo ekimu okugenda obukiika obwa ddyo. 5 Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu ekyensozi zange; kubanga ekiwonvu eky’ensozi kirituuka ku Azeri: weewaawo, mulidduka nga bwe mwadduka okukankana kw’ensi okwali mu mirembe gya  Uzziya, kabaka wa Yuda: era Mukama Katonda wange  alijja n’abatukuvu bonna wamu naawe.6 Awo olulituuka ku lunaku luli omusana teguliba na kumasamasa na kizikiza, 7 naye walibeerawo olunaku olumu olulimanyibwa Mukama, si musana so si kiro: naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana. 8 Awo olulituuka ku lunaku luli amazzi  amalamu galiva e Yerusaalemi;  ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey’ebuvanjuba n’ekitundu kyayo mu nnyanja ey’ebugwanjuba; kiriba bwe  kityo mu kyeeya ne mu ttogo. 9 Era Mukama aliba Kabaka w’ensi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu n’erinnya lye limu. 10 Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni ku luuyi  olw’obukiika obwa ddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango gwa Benyamini  okutuuka ku kifo eky’omulyango ogw’ensonda; n’okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga Kabaka. 11 Era abantu balibeera mu kyo, so nga tekyali kikolimo; naye Yerusaalemi kiribeerawo mirembe. 12 Na kino kye kibonoobono Mukama ky’alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n’amaaso gaabwe  galivundira mu bunnya  bw’ago,  n’ennimi  zaabwe  zirivundira  mu  kamwa  kaabwe.

 

Mikka 5:15

Era  ndiwalana  eggwanga  n’obusungu  n’ekiruyi  ku mawanga agatawulira.

 

Okubikkulirwa 11:15-18

15 Malayika ow’omusanvu n’afuwa; newabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anafuganga emirembe n’emirembe. 16 N’abakadde amakumi abiri mu bana, abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe  ez’obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda, 17 nga boogera nti Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu  byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi, n’ofuga. 18 Amawanga ne gasunguwala, n’obusungu bwo ne bujja, n’entuuko ez’okusaliramu omusango gw’abafu. N’ez’okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n’abatukuvu, n’abatya erinnya lyo, abato n’abakulu; n’ez’okwonooneramu  aboonoona  ensi.

 

Okubikkulirwa 19:11-18

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka,  ne ku mutwe gwe engule ennyingi; era nga alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi; n’erinnya lye ne liyitibwa kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala  eky’obw’ogi  ateme amawanga  nakyo:  era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya  essogorero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye  ne ku kisambi kye  erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA ERA MUKAMA W’ABAAMI. 17 Ne ndaba malayika ng’a  yimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukungaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18 mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n’ennyama y’abagabe,  n’ennyama y’abamaanyi, n’ennyama y’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama  eya  bonna  ab’eddembe  era  n’abaddu,  n’abato  n’abakulu.

 

Okubikkulirwa 21:24

N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe  mu kyo.

 

  1. OKUGGIBWAKO OBUYINZA

 

Okuggyibwako obuyinza  kisoboka  bulungi, Kabaka Sawulo yali nga akyafuga kyokka nga yaggibwako dda obuyinza era nga Katonda yamusindikira dda omuzimu omubi; era bwe kityo n’abakulembeze ab’ekkanisa abamu abaaliko Omwoyo Omutukuvu yadduka dda kati bakozesa bumanyi n’amagezi gaabwe, abamu n’amaanyi ag’ekizikiza, era ekivuddemu kulwanira bukulu   na bitiibwa n’okuwanyisaganya ebisongovu ate nga ebyo bikyeyongera okuggyayo obweerere bwa buli muweereza; era ebyo bwe bubonero obukakasa nti  okuweebuuka weekuli. 1 Samwiri 15:10-29 ne I Samwiri 16:14-15.

 

1 Samwiri 15:10-29

10 Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Samwiri ng’ayogera  11 nti N’ejjusizza kubanga nnakuza Sawulo okuba Kabaka: kubanga azzeeyo ennyuma obutangoberera so takoze biragiro byange. Awo Samwiri n’asunguwala; n’akaabira Mukama okukesa obudde. 12 Awo Samwiri n’agolokoka mu makya okusisinkana ne Sawulo  enkya; ne bamubuulira  Samwiri nti Sawulo yatuuka ku Kalumeeri, era, laba, ne yesimbira ekijjukizo, n’akyuka n’ayitamu n’aserengeta e Girugaali. 13 Awo Samwiri n’ajja eri Sawulo: Sawulo n’amugamba nti oweebwe Mukama  omukisa: nkoze ekiragiro kya Mukama. 14 Awo Samwiri n’ayogera nti Okubejjagala kuno okw’endiga nno  okuli mu matu gange makulu ki? N’okungoonga kw’ente kwe mpulira? 15 Sawulo n’ayogera nti Baaziggye ku Bameriki ne bazireeta: kubanga abantu baasonyiye ndiga n’ente ezaasinga obulungi,  okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wo; n’ebirala tubizikiririzza ddala. 16 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti sooka oleke nange naakubuulira Mukama byangambye ekiro kino. N’amugamba nti Yogera. 17 Samwiri n’ayogera nti newakubadde nga wali mutono mu maaso go ggwe, tewafuuka mutwe gwa bika bya Isiraeri? Mukama n’akufukako amafuta okuba Kabaka wa Isiraeri: 18 Mukama  n’akutuma olugendo, n’ayogera nti genda ozikiririze ddala  abalina ebibi  abo Abameriki, olwane nabo okutuusa lwe balimalibwawo. 19 Kale kiki nno ekyakulobera okugondera eddoboozi lya Mukama, naye n’ogwa ku munyago, n’okola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama? 20 Sawulo n’agamba Samwiri nti okugondera ngondedde eddoboozi lya Mukama, ne ngenda olugendo Mukama lwe yantuma, ne ndeeta Agagi kabaka wa Ameriki ne nzikiririza ddala Abameriki. 21 Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n’ente, ebyasinga mu ebyo ebyawongebwa, okuweereyo eri Mukama Katonda wo e Girugaali. 22 Samwiri n’ayogera nti Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n’okuwulira kusinga amasavu g’endiga ennume. 23 Kubanga okujeema kulinganga ekibi ky’obufumu, n’obukakanyavu bulinga nga okusinza ebifaananyi n’okusinza baterafi. Kubanga oganyi ekigambo kya Mukama, naye akuganyi okuba  Kabaka. 24  Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti Nayonoona: kubanga nasobya ekiragiro kya Mukama n’ebigambo byo: kubanga natya abantu ne ngondera eddoboozi lyabwe. 25 Kale nno kaakano, nkwegayiridde, sonyiwa ekibi kyange, okyukire wamu nange nate nsinze Mukama. 26 Samwiri n’agamba Sawulo nti siddeyo  naawe: kubanga oganyi ekigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanyi okuba kabaka wa Isiraeri. 27 Awo Samwiri bwe yakyuka okugenda, n’akwata ekirenge ky’ekyambalo kye n’e kiyulika. 28 Awo Samwiri n’amugamba  nti Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isiraeri leero, n’abuwa muliraanwa wo akusinga obulungi. 29 Era maanyi ga Isiraeri  talimba so taly’ejjusa: kubanga si muntu yejjuse.

 

1 Samwiri16:14-15

14 Awo Omwoyo gwa Mukama gwali guvudde ku Sawulo, n’omuzimu omubi ogw’ava  eri Mukama ne gumunakuwaza. 15 Awo abaddu ba Sawulo ne bamugamba  nti  Laba  nno, omuzimu  omubi  oguva  eri  Katonda  gukunakuwaza.

 

(a)Omukulembeze yenna ow’ekkanisa n’eggwanga, obwakabaka n’ebiti ebirala otekeddwa okweenenya mu lujjudde we kyetagisa gamba nga  eri  abantu, kkanisa, ggwanga awamu n’okulagira abakuli wansi  bakole ky’ekimu singa beezuula nga nabo babadde n’enkola y’emu.

 

(b) Abakulembeze b’amawanga mutekeddwa okutabagana n’ababavuganya, okukolera abantu  so si kwekkusa na banganda zammwe era enfuga ebeere y’awamu  so si bubiinabiina bwa  bya bufuzi , amawanga, n’ennimi ebivaamu okutta, okunyaga n’okusosola.

 

(c) Buli mukulembeze w’eggwanga an’ajeema wa kusogolwa mu ssogolero ly’obusungu  obukambwe n’ekiruyi kya Katonda awamu n’abamaka ge, abawagizi be n’abalya mu ngalo ze. Zabbuli 9:1-9, Zabbuli 110:5-6, Okubikkulirwa 14:17-19, Ezekyeri 34:7-10, Ezekyeri 39:4-5, 17-21, Okubikkulirwa 18:9-10, Okubikkulirwa 19:13-18.

 

Zabbuli 2:1-9

1 Kiki ekibagugumusizza aba’amawanga,

N’abantu kiki ekibalowoozesezza ebitaliimu?

2 Bakabaka b’ensi beteeseteese,

N’abafuga bateesezza ebigambo wamu,

Ku Mukama ne ku  Masiya we nga boogera nti

3 Katumenyemenye enjegere zaabwe,

Tusuule wala emigwa gyabwe.

4 Atuula  mu ggulu aliseka,

Mukama alibaduulira.

5 Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe,

Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:

6 Naye naateeka Kabaka wange

Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.

7 Ekiragiro ndikibuulira:

Mukama yangamba nti Ggwe oli mwana wange;

Leero nkuzadde.

8 Onsabe nze, nange ndikuwa

Amawanga okubeera obusika bwo, N’esonda z’ensi okubeera amatwale go.

9 Olibimenya n’omuggo ogw’ekyuma;

Olibyasayasa ng’entamu ey’omubumbi.

 

Zabbuli 110:5-6

5 Mukama ku mukono gwe ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga,

Alijjuza ebifo emirambo;

Alifumita omutwe mu nsi nnyingi.

 

Okubikkulirwa 14:17-19

17 Ne malayika omulala n’ava mu Yeekaalu ey’omu ggulu,

naye ng’alina ekiwabyo eky’obwogi.

18 Ne malayika omulala n’ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba oyo alina ekiwabyo eky’obwogi, ng’ayogera nti

Teekako ekiwabyo kyo eky’obw’ogi, onoge ebirimba by’omuzabbibu gw’e nsi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala. 19 Ne malayika n’asuula ekiwabyo kye ku nsi, n’anoga omuzabbibu gw’e nsi n’akisuula mu ssogolero eddene ery’obusungu bwa Katonda.

 

Ezeekyeri 34:7-10

7 Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: 8 Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo zonna ez’omu nsiko olw’obutabaawo musumba, so n’abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye abasumba ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange; 9 Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama; 10 bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti laba, ndi mulabe w’abasumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n’abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kabwe zireme okuba ekyokulya eri bo.

 

Ezeekyeri 39:4-5, 17-21

4 Oligwa ku nsozi za Isiraeri,  ggwe n’eggye lyo lyonna  n’amawanga agali naawe: ndikuwaayo eri ennyonyi ez’amaddu ez’engeri zonna  n’eri ensolo ez’omu nsiko okuliibwa. 5 Oligwa ku ttale mu bbanga: kubanga nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.

17-21

17 Naawe, Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Yogera n’ennyonyi ez’engeri zonna na buli nsolo ey’omu nsiko nti Mukungaane mujje; mukungaane enjuyi zonna eri ssaddaaka yange gye mbaweerayo, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isiraeri, mulye ennyama munywe omusaayi. 18 Mulirya ennyama ey’ab’amaanyi, ne munywa omusaayi gw’abalangira  ab’e nsi, ogw’endiga ennume n’ogw’abaana  b ‘endiga  n’ogw’embuzi, n’ogw’ente ennume, zonna za ssava eza  Basani. 19 Era mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mutamiira, ku ssaddaaka yange gye mbaweereddeyo. 20 Era mulikkutira mu ddiiro lyange embalaasi n’amagaali, abasajja ab’amaanyi n’abasajja bonna abalwanyi, bw’ayogera Mukama Katonda. 21 Era nditeeka ekitiibwa kyange mu mawanga, n’amawanga gonna galiba omusango gwange gwe ntuukiriza, n’omukono gwange gwe mbataddeko.

 

Okubikkulirwa 18:9-10

9 Era bakabaka b’ensi,  abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwe gutuuse.

 

Okubikkulirwa 19:13-18

13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya lye neriyitibwa Kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru  ennungi.15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala  eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa  Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA  WA BAKABAKA ERA MUKAMA W’ABAAMI.

17 Ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi  zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukungaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18 mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n’ennyama eyabagabe, n’ennyama ey’abamaanyi, n’ennyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama eya bonna ab’eddembe era n’abaddu, n’abato n’abakulu.

 

(d) Buli mukulembeze yasindikkiddwa dda ekibiinja kya bamalayika basatu (3) nga kuliko omu muduumizi, ow’okubiri wa kusiba na kubonyaabonya, ow’okusatu wa kutta oba okuttirawo.

 

(e) Buli mukulembeze wooli weewale  era weekuume obutagenda oba obutaddayo kwefuga  n’okutambulira mu by’obusamize, kubanga tebikyalina maanyi n’akatono mu linnya lya Yesu Kristo.  Mikka 5:9-15, Isaaya 28:14-22,29, Isaaya 44:24-25, Zeffaniya 14:12, Malaki 4:1, Peetero 3:9-12, Okubikkulirwa 3:10.

 

Mikka 5:9-15

9 Omukono gwo guyimuke ku balabe bo; n’abakukyawa bonna bazikirire. 10 Era kiriba ku  lunaku luli, bw’ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go; 11 era ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi ye wammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna;  12 era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate; 13 era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n’empagi zo; so tolisinza nate emirimu gy’engalo zo. 14 Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo. 15 Era ndiwalana eggwanga n’obusungu  n’ekiruyi ku mawanga agatawulira.

 

Isaaya 28:14-22,29

14 Kale, muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abanyooma, abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi: 15 nti kubanga mwogedde nti Tulaganye endagaano n’okufa, era tutabaganye n’amagombe; ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu,  tekiritutuukako; kubanga tufudde eby’obulimba ekiddukiro kyaffe, twekwese wansi w’obukuusa: 16 Mukama  Katonda kyava ayogera nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja okuba omusingi,  ejjinja eryakemebwa ejjinja ery’okunsonda ery’omuwendo omungi erinywezebwa ennyo wansi:  akkiriza talyanguyiriza. 17 Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera,  n’obutuukirivu okuba omugwa ogutereeza; n’omuzira gulyerera ddala ekiddukiro eky’obulimba, n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu. 18 N’endagaano gye mwalagaana n’okufa erijjulukuka, so n’okutabagana kwammwe kwe mwa tabagana  n’amagombe tekulinywera; ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu ne kiryoka kiribalinnyirira wansi. 19 Buli lwe kinayitangamu, kinaabakwatanga; kubanga buli lukya kinayitangamu emisana n’ekiro: era okutegeera ebibulirwa kuliba ntiisa nsa. 20 Kubanga ekitanda kimpi omuntu n’okuyinza n’atayinza kukyegololerako; n’eky’okwebikkako kyako kifunda n’okuyinza  n’atayinza kukyebikka. 21 Kubanga Mukama aligolokoka nga bwe yagolokokera ku lusozi Perazimu, alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu kiwonvu eky’e Gibyoni; akole omulimu gwe, omulimu gwe ogw’ekitalo era atuukirize  ekikolwa kye, ekikolwa kye eky’ekitalo. 22 Kale nno temuba banyoomi, enjegere zammwe zireme okunywezebwa; kubanga okukomekkereza era okwa teesebwa kwe mpulidde okuva eri Mukama ow’eggye, ku nsi yonna.

29 Era n’ekyo kivudde eri Mukama ow’eggye, ow’ekitalo okuteesa ebigambo, asinga bonna amagezi.

 

Isaaya 44:24-25

24 Bw’atyo bw’ayogera Mukama, omununuzi wo, eyakubumba okuva mu lubuto, nti Nze Mukama akola byonna , abamba eggulu nzekka; ayanjuluza ensi; ani ali awamu nange? 25 atta obubonero  obw’abalimba era alalusa  abalogo; akyusa abagezigezi  okudda  ennyuma  ne  nsiruwaza  amagezi gabwe.

 

Zeffaniya 2:11

Mukama aliba wa ntiisa gye bali: kubanga alikozza bakatonda bonna  ab’ensi zonna; kale abantu balimusinza, buli muntu ng’ayima mu kifo kye, ebiziinga byonna eby’amawanga.

 

Malaki 4:1

Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi; n’abamalala bonna n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw’ayogera Mukama w’eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.

 

 

 

2 Peetero 3:9-12

9 Mukama waffe talwisa kye yasubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya. 10 Naye olunaku lwa Mukama waffe lujja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n’okuwuuma okunene n’ebintu eby’obuwangwa  birisanuuka olw’okwokebwa  okungi, n’ensi n’ebikolwa ebigirimu birisirikka. 11 Ebyo  byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda,12 nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga ly’okebwa, n’ebintu eby’obuwangwa ne biseebengerera  olw’ebbugumu  eringi?

 

Okubikkulirwa 3:10

Kubanga weekuuma ekigambo eky’okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi.

 

                                                     ENFUGA Y’AMAWANGA

 

Amawanga gonna gagenda kukyuusa Ssemateeka kwe gabadde gafugira, gatandike okuzimba Ssemateeka ng’azimbibwa ku musingi gwa Baibuli Era eggwanga erinaagana lya kugwa mu katyabaga ak’amaanyi ennyo. Isaaya 60:1-12, Mikka 4:1-3, Mikka 5:10-15, Zekkaliya 14:12, Malaki 4:1, Okubikkulirwa 21:24-26.

 

Isaaya 60:10-12

10 Era bannaggwanga  baliziimba enkomera zo ne bakabaka baabwe  balikuweereza: kubanga nakukuba nga nkwatiddwa obusungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa ekisa. 11 Era n’enzigi zo zinaabanga si nzigale bulijjo; tezigalwengawo misana n’ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw’amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe. 12 Kubanga eggwanga eryo n’obwakabaka obutalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikirizibwa ddala.

 

Mikka 4:1-3

1 Naye mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galilukulukutiramu. 2 Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n’e kigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe  okuba  enkumbi n’amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teriyimusa  ekitala  ku ggwanga, so  tebayigenga kulwana  nate.

 

 

 

Mikka5:10-15

10 Era kiriba ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama , ndikuggyamu wakati embalaasi zo; 11 era ndizikiriza ebibuga by’omu nsi y’ewammwe, ndi suula wansi  ebigo byo byonna; 12 era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate; 13 era ndikuggyamu wakati  ebifaananyi byo ebyole n’empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy’engalo zo. 14 Era ndisimbula baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo. 15 Era ndiwalana eggwanga n’obusungu n’ekiruyi ku mawanga agatawulira.

 

Zekkaliya 14:12

Na kino kye kibonoobono Mukama ky’alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe n’amaaso gaabwe galivundira  mu kamwa kaabwe.

 

Malaki 4:1

1 Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi; n’abamalala bonna n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw’ayogera Mukama w’eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.

 

Okubikkulirwa 21:24-26

24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi balireeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga n’akatono emisana( kubanga eyo ekiro tekiibengayo) ; 26 era balireeta ekitiibwa n’ettendo ery’amawanga mu kyo:

 

 Buli ggwanga, omukulembeze okutuuka ku muntu owa wansi, baakuyigirizibwa enteekateeka ya Katonda mu mulembe guno  nga mwe muli n’okuwa oba okusasula emisolo gy’obwakabaka bwa Katonda, gitambuze emirimu gy’obwakabaka olwo  amawanga gabeere n’omukisa n’emirembe; Isaaya 6:1-12, Mikka 4:13, Kaggayi 2:6-9, Malaki 3:7-12, Okubikkulirwa 21:24-26.

 

Mikka 4:13

Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma,era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri  Mukama, n’ebintu  byabwe eri Mukama w’ensi zonna.

 

Isaaya 60:1-12

1 Golokoka, yaka, kubanga omusana gwo  gutuuse, n’ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo. 2 Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n’ekizikiza ekikkutte kiribikka ku mawanga; naye Mukama alikuviirayo n’ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe. 3 N’amawanga galijja eri omusana gwo, ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo  ng’ovaayo. 4 Yimusa amaaso go omagemage olabe: bonna beekungaayizza wamu, bajja gy’oli: batabani bo balijja nga bava wala, ne bawala bo baliweekerwa ku mbiriizi. 5 Awo n’olyoka olaba n’oyakirwa, n’omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa; kubanga obusukkirivu obuliva mu nnyanja bulikyusibwa gy’oli, obugagga obw’amawanga bulikujjira, 6 olufulube lw’engamira lulikubikkako, engamira ez’e Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba: balireeta ezaabu n’omugavu ne balanga amatendo ga Mukama. 7 Endiga zonna eza Kedali zirikunganyizibwa gy’oli, endiga enume eza Nebayoosi zirikuweereza: zinaalinyanga ku kyoto kyange ne zikirizibwa, era ndissamu ekitiibwa ennyumba y’ekitiibwa kyange. 8 Bano be baani ababuuka ng’ekire era nga bukaamukukulu eri ebituli byabwo? 9 Mazima ebizinga birinnindirira, n’ebyombo eby’e Talusiisi bye birisooka, okuleeta batabani bo okubaggya ewala, effeza yaabwe n’e zaabu yaabwe wamu nabo, olw’erinnya lya Mukama Katonda wo n’olw’omutukuvu owa Isiraeri, kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa. 10 Era bannagwanga baliziimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nakukuba nga nkwatiddwa obusungu, naye nkusaasidde nga nkwattiddwa ekisa. 11 Era n’enzigi zozinaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo emisana n’ekiro; abantu bakuleterenga obugagga  obw’amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe. 12 Kubanga eggwanga eryo n’obwakabaka  obutarikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikirizibwa ddala.

 

Kaggayi 2:6-9

6 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye eggulu n’ensi n’ennyanja n’olukalu; 7 ndikankanya amawanga gonna, n’ebyo ebyegombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw’ayogera Mukuma w’eggye. 8 Effeeza yange ne zaabu yange, bw’ayogera Mukama w’eggye. 9 Ekitiibwa eky’ennyumba eno eky’oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw’ayogera Mukama w’eggye: era mu kifo kino mwe ndiwa emirembe, bw’ayogera Mukama w’eggye.

 

Malaki 3:7-12

7 Okuva mu nnaku za ba jjajja  mmwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gye ndi, nange  nadda gye muli, bw’ayogera Mukama w’eggye. Naye mwogera nti Tunadda tutya? 8 Omuntu alinyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby’ekkumi n’ebiweebwayo. 9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze eggwanga lino lyonna. 10 Muleete ekitundu eky’ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bw’ayogera Mukama w’eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya. 11Era ndinenya omuli ku lwammwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n’omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw’ayogera Mukama w’eggye. 12 Era amawanga gonna galibayita ba  mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw’ayogera  Mukama w’eggye.

 

Okubikkulirwa 21: 24-26

24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe  mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga  n’akatono emisana ( kubanga eyo ekiro tekiibengayo) ; 26 era balireeta ekitiibwa n’ettendo ery’amawanga mu kyo:

 

 

OKULABULA OKW’AMAANYI  ERI ABANTU  FFENNA

 

Omukulembeze wonna mu kkanisa ne mu Ggwanga, obwakabaka n’ebiti ebirala, n’abantu ffenna twewale okulwanyisa, okuwakanya, okwetantala, n’okuziyiza enteeketeeka eno ey’okuleeta emirembe mu nsi yonna: n’obutawagira, okuyamba oba okulwanirira  n’okw’egatta na buli mukulembeze mu kkanisa ne mu nsi; attakkiriza kiragiro kino ekinnywevu era ekitajjulukuka owone okugwa mu mukono gwa Mukama, kubanga olutalo lwaggulwawo dda eri buli mujeemu n’omugwagwa yenna.1 Samwiri 12:15, Ezera 6:12, Yobu 9:12, Yobu 12:14, Isaaya 40:17-18, Isaaya 45:9-10, Isaaya 66:16, Yeremiya 25:31, Danyeri 4:35, Koseya 4:1-9, Malaki 4:1, Abaruumi9:20, Okubikkulirwa 3:10, Okubikkulirwa17:14, 18, 19.

 

1 Samwiri 12:15

Naye bwe mutaawulirenga ddoboozi  lya Mukama, naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, awo omukono gwa Mukama gunalwaananga nammwe nga bwe gwalwana ne bajjajja mmwe.

 

Ezera 6:12

Era Katonda eyabeesaayo erinnya lye asuule  bakabaka bonna n’amawanga aganagololanga emikono gyabwe okuwanyisa ekyo, okuzikiriza ennyumba eno eya Katonda eri e Yerusaalemi. Nze Daliyo nteese etteeka; likolebwe n’okunyiikira kwonna.

 

Yobu 9:12

Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza?

Ani anaamugamba nti okola ki?

 

Yobu 12:14

 Laba, amenya so tekiyinzika kuzimbibwa nate;

Aggalira omuntu so tewayinzika kubaawo kuggulawo.

 

Isaaya 14:27

Kubanga  Mukama ow’eggye ye yateesa, era ani alijjulula? N’omukuno gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?

 

Zabbuli 7:11-13

11 Katonda ye musazi w’emisango omutuukirivu,

Era ye Katonda alina obusungu buli lunaku,

12 Omuntu bw’atakyuka,aliwagala ekitala kye;

Aleeze omutego gwe, aguteeseteese.

13 Era amuteeketeekedde ebintu ebitta;

Emisaale gye  agiteekako omuliro.

 

Isaaya 40:17-18

17 Amawanga gonna galinga si kintu  ddala era nga kirerya. 18 Kale ani gwe mulifaananya  Katonda? Oba kifaananyi ki kye  mulimugererako.

 

Isaaya 45:9- 10

9 Zisanze oyo awakana n’Omutonzi we! Olugyo mu ngyo ez’ensi! Ebbumba ligamba oyo alibumba nti okola ki? Oba omulimu gwo guligamba nti talina ngalo? 10 Zimusanze oyo agamba kitaawe nti Ozaala ki? Oba omukazi nti olumwa kuzaala ki?

 

Isaaya 66:16

Kubanga Mukama aliwoza na muliro era na kitala kye eri bonna balina omubiri; era Mukama balitta baliba bangi.

 

Yeremiya 25:31

Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y’ensi; kubanga Mukama alina empaka n’amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; ababi alibawaayo eri ekitala, bw’ayogera Mukama.

 

Danyeri 4:35

N’abo bonna abatuula mu nsi abalowooza nga si kintu: era akola nga bw’ayagala mu ggye ery’omu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi: so siwali ayinza okuziyiza omukono gwe, newakubadde okumugamba nti okola ki ?

 

Koseya 4:1-9

1Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri: kubanga Mukama alina empaka n’abo abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde okusasira newakubadde okumanya Katonda mu nsi: 2 Tewali kintu wabula okulayira n’okumenya endagaano n’okutta n’okubba n’okwenda; bawaguza, n’omusaayi gukoma ku musaayi . 3 Ensi ky’eriva ewuubaala, na buli muntu agituulamu aliyongobera, wamu n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omubbanga; weewaawo, n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja biriggibwawo. 4 Era naye waleme okubeerawo omuntu  awakana so waleme okubaawo anenya: kubanga abantu bo bali ng’ abo abawakanya Kabona. 5 Era oly’esittala emisana, era ne nnabbi alyesittala wamu naawe ekiro; era ndizikiriza nnyoko. 6 Abantu bange bazikiridde olw’okubulwa okumanya: kubanga ogaanyi okumanya, nange ndikugaana ggwe, olemenga okubeera Kabona gye ndi: kubanga werabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo. 7 Nga bwe baayala, bwe batyo bwe bannyonoona: ndiwanyiisa ekitiibwa kyabwe okuba ensonyi. 8 Ekibi ky’abantu bange ye mmere yaabwe, ne beegomba obutali butuukirivu bwabwe. 9 Awo olulituuka ng’abantu bwe bali ne Kabona bw’atyo: era ndibabonereza olw’amakubo gaabwe, era ndibasasula ebikolwa byabwe.

 

Malaki 4:1

Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi; n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw’ayogera Mukama w’eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.

 

 

 

Abaruumi 9:20

Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awakana ne Katonda? Ekibumbe kirigamba eyakibumba nti kiki ekyakunkoza bw’oti?

 

Okubikkulirwa 3:10

Kubanga weekuuma ekigambo eky’okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu  kiseera eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna okukema abo abatuula ku nsi.

 

Okubikkulirwa 17:14

Abo balirwana n’omwana gw’endiga n’Omwana gw’endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami era ye kabaka wa bakabaka ; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa , abalonde, abeesigwa.

 

Okubikkulirwa 18:1-24

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi embi  ekyayibwa. 3 Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe  amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’ensi ne bayenda naye, n’abatunzi b’ensi ne bayenda naye, n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe. 4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva  mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu  abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 5 Kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye. 6 Mumusasule  oyo nga naye bwe yasasula,  era mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bweyeegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so  ssiriraba nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva  bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo  bye, okufa, n’ennaku, n’enjala;  era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama  Katonda w’amaanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’ensi,  abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe,bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti  Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwe gutuuse. 11 N’abatuunzi ab’omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga  tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe; 12 obuguzi  obwa zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n’olugoye olw’effulungu, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kintu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’eky’ekikomo, n’eky’ekyuma, n’eky’ejjinja eddungi; 13 n’eky’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubbaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge n’amafuta, n’obutta obulungi, n’engaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera nti Zikisanze, zikisanze ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi   n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ekiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! 17  kubanga mu ssaawa emu bweti obugagga obungi  nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambulira wonna wonna  mu lyato n’abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy’omu nnyanja, ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti Kiruwa ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 20 Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi;  kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe. 21 Malayika ow’amaanyi n’asitura ejjinja ddene ng’olubengo olunene, n’alisuula mu nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emirere n’abafuuwa amakoondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w’emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’olubeengo teririwulirwa nate mu ggwe 23 newakubadde okutangaala kw’ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’awasa omugole n’ely’omugole teririwulirwa  nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa. 24 Era n’omusaayi gwa bannabbi n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabikira mu ye.

 

Okubikkulirwa 19:1-21

1 Oluvanyuma lw’ebyo ne mpulira ng’eddoboozi eddene ery’ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera  nti Aleruuya; obulokovu, n’ekitiibwa, n’obuyinza bye bya Katonda waffe: 2 kubanga emisango gye gy’amazima  era  gya nsonga; kubanga asalidde omusango  omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n’obwenzi bwe , era awooledde eggwanga ly’omusaayi gw’addu be mu mukono gw’oyo. 3 Omulundi ogw’okubiri ne boogera nti Aleruuya. N’omukka gwe gunyooka emirembe n’emirembe. 4 N’abakadde amakumi abiri mu abana n’ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe,  nga boogera nti Amiina; Aleruuya. 5 N’eddoboozi ne liva mu ntebe, nga ly’ogera nti Mumutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna  abaddu be, abamutya, abato n’abakulu. 6 Ne mpulira ng’eddoboozi ly’ekibiina ekinene, era ng’eddoboozi ly’amazzi amangi, era ng’eddoboozi ly’okubwatuka okw’amaanyi, nga byogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w’ebintu byonna afuga. 7Tusanyuke , tujaguze, tumuwe  ekitiibwa ye: kubanga obugole bw’omwana gw’endiga butuuse, ne mukazi we  yeeteeseteese. 8 N’awebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa by’obutuukirivu eby’abatukuvu. 9 N’angamba ntiWandiika nti Bawereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga ey’obugole bw’omwana  gw’endiga. N’angamba nti Ebyo bye bigambo eby’amazima ebya Katonda. 10 Ne nvuunama mu maaso ge bigere bye okumusinza. N’angamba nti laba tokola bw’otyo: ndi muddu munno era ow’omu baganda bo abalina okutegeza kwa Yesu:   sinza Katonda: kubanga  okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru n’eyali agituddeko

 ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango  era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng’alina erinnya eriwandiikiddwa , omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya lye ne liyitibwa kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu  ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era  alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI

17 Ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukungaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18 Mulyoke mulye ennyama ya bakabaka , n’ennyama ey’abagabe, n’ennyama ey’ab’amaanyi, n’ennyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama eya bonna ab’eddembe era n’abaddu, n’abato n’abakulu.19 Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’ensi, n’eggye lyabwe nga bakungaanye okulwana n’oyo eyali atudde ku mbalaasi  n’egye lye. 20 Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow’obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo  abakkiriza enkovu y’ensolo, n’abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey’omuliro eyaka n’ekibiriiti: 21 n’abasigalawo ne battibwa n’ekitala ky’oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n’ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe.

 

Bino bye bigenda okutuuka ku buli mukulembeze yenna an’ajeemera ekiragiro ekinywevu era ekitajjulukuka:-

 

1.Okujjibwako amagezi okutuuka okulya ku kasasiro oba ku nsiko. Danyeri 4:31-32.

 

Danyeri 4:31-32

31 Ekigambo kyali nga kikyali mu kamwa ka kabaka, eddoboozi ne ligwa nga liva mu ggulu, nti Ggwe kabaka Nebukadduneeza, kyogerwa eri ggwe: obwakabaka bukuvuddeko. 32 Era onogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n’ensolo ez’omu nsiko: era olirisibwa omuddo ng’ente, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’ayagala.

 

  1. Okuttibwa malayika wa Katonda mu bwangu.

Ebikolwaby’Abatume 12:20-23

 

Ebikolwaby’Abatume 12:20-23

20 N’asunguwalira nnyo ab’e Ttuulo n’ab’e Sidoni: ne bajja gy’ali n’omwoyo gumu;  bwe  baakwanagana ne Bulasiyo omukulu w’omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yabwe eriisibwa   bya mu nsi ya kabaka. 21 Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n’ayambala ebyambalo eby’obwa kabaka, n’atuula ku ntebe, n’abagamba ebigambo.23 Abantu bonna ne boogerera waggulu nti Eryo ddoboozi lya Katonda, si lya muntu. 23 Amangu ago malayika  wa Mukama n’amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n’aliibwa envunyu, n’afa.

 

3.Okuteerwa omuzimu omubi gukusendeseende oyingire mu ntalo z’omwoyo oba omubiri nga togenda kuwangula okutuusa nga wesse oba wetuze wekka. 1Samwiri 15:1-23, 1Samwiri 16:14-15, 1Samwiri 31:1-7.

 

1Samwiri 15:1-23

1 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti Mukama yantuma okukufukako amafuta okuba Kabaka w’abantu be Isiraeri: Kale nno kaakano wulira eddoboozi ly’ebigambo bya Mukama. 2 Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’eggye nti Nekkaanya ebyo  Amareki bye yakola Isiraeri, bwe yeesimbawo okumuziyiza mu kkubo,  bwe yalinnya okuva mu Misiri. 3 Kaakano genda okube Amareki, ozikiririze ddala byonna bye balina so tobasaasira; naye batte abasajja n’abakazi, Omwana omuwere n’ayonka, ente n’endiga, engamira n’endogoyi. 4Awo Sawulo n’ayita abantu n’ababalira e Terayimu, abasajja abatambula n’ebigere  obusiriivu bubiri, n’abasajja ba Yuda kakumi. 5 Sawulo n’atuuka ku kibuga kya Amaleki n’ateegera mu kiwonvu. 6 Sawulo n’agamba Abakeeni nti Mugende muveewo muserengete okuva mu Bamaleki nneme okubazikiriza awamu  nabo: kubanga mwakola eby’ekisa abaana ba Isiraeri  bonna, bwe baava mu Misiri. Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki. 7 Sawulo n’akuba Abamaleki, okuva e Kavira ng’ogenda e Ssuuli, ekyolekera Misiri. 8 N’awamba Agagi Kabaka w’Abamaleki, n’azikiririza ddala abantu bonna n’obwogi bw’ekitala. 9 Naye Sawulo n’abantu ne basonyiwa Agagi n’endiga ezaasinga obulungi n’ente n’ebyassava n’abaana b’endiga n’ebirungi byonna, ne bagaana okubizikiririza ddala:  naye ebibi byonna ebitali bya muwendo ebyo ne babizikiririza ddala.10 Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Samwiri ng’ayogera 11 nti Nejjusizza kubanga nnakuza Sawulo okuba kabaka: kubanga azzeyo ennyuma obutangoberera so takoze biragiro          bange. Awo Samwiri n’asunguwala; n’akaabira Mukama okukeesa obudde. 12 Awo Samwiri n’agolokoka mu makya okusisinkana ne Sawulo enkya; ne bamubulira Samwiri nti Sawulo yatuuka ku Kalumeeri, era, laba, ne yeesimbira ekijjukizo, n’akyuka, n’ayitamu n’aserengeta e Girugaali. 13 Awo Samwiri n’ajja eri Sawulo: Sawulo n’amugamba nti Oweebwe Mukama omukisa: nkoze ekiragiro kya Mukama. 14 Awo Sawulo n’ayogera  nti okubejjagala kuno okw’endiga nno okuli mu matu gange makulu ki? N’okungoonga kw’ente kwe mpulira? 15 Sawulo n’ayogera nti Baaziggye ku Bamaleki ne bazireeta: Kubanga abantu  baasonyiye endiga n’ente ezisiinga obulungi, okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wo; n’ebirala tubizikiririzza ddala. 16 Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti sooka oleke nange naakubuulira Mukama byangambye ekiro kino. N’amugamba nti yogera. 17 Samwiri n’ayogera nti Newakubadde  nga wali mutono mu maaso go ggwe , tewafuuka mutwe gwa bika bya  Isiraeri? Mukama n‘akufukako amafuta okuba Kabaka wa Isirseri: 18 Mukama n’akutuma olugendo, n’ayogera nti genda ozikiririze ddala abalina ebibi abo Abamaleki, olwane nabo okutuusa lwe balimalibwawo. 19 Kale kiki nno ekyakulobera okugondera eddoboozi lya Mukama, naye n’ogwa ku munyago, n’okola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama? 20 Sawulo n’agamba Samwiri  nti Okugondera ngondedde eddoboozi lya Mukama, ne ngenda olugendo Mukama lwe yantuma , ne ndeeta Agagi Kabaka wa Amaleki, ne nzikiririza ddala Abamaleki. 21 Naye abantu ne batoola ku munyago endiga n’ente ebyasinga mu ebyo ebyawongebwa, okuweerayo eri Mukama Katonda wo e Girugaali. 22 Samwiri n’ayogera nti Mukama asanyukira ebiweebwayo eby’okebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama? Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi, n’okuwulira kusinga amasavu g’endiga ennume. 23 Kubanga  okujeema kulinganga ekibi eky’obufumu, n’obukakanyavu bulinganga okusinza ebifaananyi ne baterafi. Kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, naye akuganyi okuba kabaka.

 

1S amwiri 16:14-15

14 Awo Omwoyo gwa Mukama gwali guvudde ku Sawulo, n’omuzimu omubi ogwava eri Mukama  ne gumunakuwaza.15 Awo abaddu ba Sawulo ne bamugamba  nti  Laba nno, omuzimu omubi oguva eri Katonda gukunakuwaza.

 

1Samwiri 31:1-7

1Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isiraeri: abasajja ba Isiraeri ne badduka mu maaso g’Abafirisuuti,  ne bagwa nga battibwa ku lusozi  Girubowa. 2 Abafirisuuti ne bacocca Sawulo ne batabani be; Abafirisuuti ne batta Yonasaani  ne Abinadaabu ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo. 3 Olutalo ne lumuba bubi Sawulo, abalasi ne bamutuukako; ne yeelaliikirira nnyo olw’abalasi. 4 Awo Sawulo n’agamba oyo eyatwalanga eby’okulwanyisa bye nti sowola ekitala kyo onfumitire ddala nakyo; abatali bakomole abo baleme okujja ne banfumita ne banswaza. Naye eyatwalanga eby’okulwanyisa bye   n’agaana; kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava addira ekitala kye n’akigwako. 5 Awo eyatwalanga eby’okulwanyisa bwe yalaba Sawulo ng’afudde, era naye n’agwa ku kitala kye n’afiira wamu naye. 6 Sawulo n’afa bw’atyo, ne batabani be bonsatule, n’oyo eyatwalanga eby’okulwanyisa  bye, n’abasajja be bonna, ku lunaku olwo wamu. 7 Awo abasajja ba Isiraeri abaali emitala w’ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba abasajja ba Isiraeri nga badduse, ne Sawulo ne batabani be nga bafudde, Awo ne baleka ebibuga ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.

 

  1. Okuteerwa omuzimu ogw’obuliimba gukusendesende nga guyita mu bakwetoolodde ottibwe mu lutalo lw’omwoyo oba omubiri. 2Ebyomumirembe18:18-34

2Ebyomumirembe 18:18-34

18 N’ayogera nti kale muwulire  ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng’attudde ku ntebe ye n’eggye lyonna ery’omu  ggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono. 19 Mukama n’ayogera nti Ani anaasendasenda Akabu  Kabaka wa Isiraeri  ayambuke e Lamosugireyaadi agwe?  Omu n’ayogera bw’atyo; omulala n’ayogera bw’atyo. 20 Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti nze naamusendasenda. Mukama n’agamba nti otya? 21 Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw’obuliimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. N’ayogera nti Ggwe onoomusendasenda n’okusobola onoosobola: fuluma okole bw’otyo. 22 Kale nno, laba,Mukama atadde omuzimu ogw’obuliimba mu kamwa ka bannabbi bo bano; era Mukama akwogeddeko akabi. 23 Awo Zeddekiya mutabani wa Kanaana n’asembera n’amukuba  Mikaaya ku matama,n’ayogera nti omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okw’ogera naawe? 24 Mikaaya n’ayogera nti laba,oliraba ku lunaku olwo bw’oliyingira mu kisenge eky’omunda okwekweka. 25 Awo kabaka wa Isiraeri n’ayogera nti mutwale Mikaaya mumuzze eri Amoni omukulu w’ekibuga n’eri Yowasi mutabani wa kabaka; 26 mwogere nti bw’atyo bwayogera  kabaka nti olusajja  luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey’okulaba ennaku n’amazzi ag’okulaba ennaku okutuusa lwe ndikomawo emirembe. 27 Awo Mikaaya n’ayogera nti okukomawo bw’olikomawo emirembe, Mukama nga tayogedde mu nze. N’ayogera nti muwulire, mmwe amawanga Mwenna.

28 Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne  bambuka e Lamosugireyaadi. 29 Kabaka wa Isiraeri n’agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo Kabaka wa Isiraeri ne yeefuula ne bayingira mu lutalo. 30 Awo Kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaami b’amagaali ge ng’ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu,wabula kabaka wa Isiraeri yekka. 31 Awo olwatuuka abaami b’amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti mazima ye kabaka wa Isiraeri; kyebaava bakyama okulwana naye: naye Yekosafaati n’ayogerera waggulu, Mukama n’amuyamba; Katonda n’abamuggyako. 32 Awo olwatuuka abaami b’amagaali bwe baalaba nga si ye Kabaka wa Isiraeri, kale ne bakomawo okumugoberera.33 Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego  gwe nga tagenderedde, n’alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby’ebyuma wa bigattira: kyeyava agamba omugoba w’eggali nti Kyusa omukono gwo onziye mu ggye; kubanga nfumutiddwa nnyo. 34 Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: naye Kabaka wa Isiraeri ne yeekakaabiriza mu ggaali lye okulwana n’abasuuli, okutuusa akawungeezi: awo enjuba bwe yali ng’egwa n’afa.

 

  1. Okufa ekikutuko oba ekibwatukira ( puleesa) 1Samwiri4:16-18.

1Samwiri 4:16-18

16 Omusajja n’agamba Eri nti Nze nzuuyo eyavudde mu ggye, ne nziruka leero okuva mu ggye. N’ayogera nti Byali bitya, mwana wange? 17 Awo oyo eyaleeta ebigambo n’addamu  n’ayogera nti Abaisiraeri badduse mu maaso g’Abafirisuuti, era wabaddewo olutta lunene mu bantu, era ne batabani bo bombi Kofini ne Fenekaasi bafudde, ne Ssanduuko ya Katonda ennyagiddwa. 18 Awo olwatuuka bwe yayogera ku Ssanduuko ya Katonda, n’agwa bugazi okuva ku ntebe ye ku mabbali g’omulyango, obulago bwe ne bukutukako n’afa: kubanga yali mukadde n’obuzito muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana.

                                                                       

  1. Okuggyibwako obukulembeze bakufuge, owozesebwe, oba okusibwa olyoke wejjuse, Eseza 2:4,17, Danyeri 4:17,37

Eseza 2:4’17

4 awo omuwala Kabaka gw’alisiima abe Kaddulubaale mu kifo kya Vasuti. Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; n’akola bw’atyo. 17 Awo kabaka n’ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n’alaba ekisa n’okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna: n’okuteeka n’ateeka engule ey’obwakabaka ku mutwe gwe n’amufuula Kadulubaale mu kifo kya Vasuti.

 

 

 

Danyeri 4:17,37

17 Omusango ogwo guvudde mu tteka ery’abatunuzi, n’okuteesa okwo  kuvudde mu kigambo eky’abatukuvu: abalamu balyoke bategeere nga Oyo Ali waggulu ennyo y’afugira mu bwakabaka bw’abantu, era ng’abuwa buli gw’ayagala, era ng’akuza  ku  bwo  asinga  abantu  bonna  obunaku.

37 Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza era mmugulumiza era mmuwa  ekitiibwa, Kabaka w’eggulu: kubanga emirimu gye gyonna mazima, n’amakubo ge ga nsonga: n’abo abatambulira mu malala ayinza okubajeeza.

 

7.Okuziba amaaso okumala ekiseera oba obutaddayo kulaba njuba. Ebikolwaby’Abatume13:10-12

 

Ebikolwaby’Abatume13:10-12

10 n’agamba nti Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n’okukola obubi kwonna , tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu? 11Kaakano, laba, Omukono gwa Mukama waffe guli kuggwe, onooba muzibe w’amaaso nga tolaba njuba ebiro bingiko. Amangu ago ekifu ne kimugwako, n’enzikiza; n’awamanta n’anoonya abantu abokumukwata ku mukono. 12 Awo ow’essaza bwe yalaba bwe kibadde  n’akkiriza  nga  yeewunya  nnyo  okuyigiriza  kwa Mukama waffe.

 

Okuggyako Katonda gw’ayagala ennyo ennyo omuweereza ng’akyalina by’alina okumukozesa; waakujeemulukukira mu mbeera enzibu ennyo. Okuva 12:29-31, 1Bassekabaka13:1-6, Yona 1ne 2, Ebikolwaby’Abatume9:1-6

 

Okuva 12:29-31

29 Awo olwatuuka wakati mu ttuumbi Mukama n’akuba abaana ababereberye bonna ab’omu nsi ey’e Misiri,okuva ku mubereberye wa Falaawo eyatuuka ku ntebe ey’obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow’omusibe eyali mu kkomera;  n’embereberye zonna ez’ebisibo. 30  Falawo n’agolokoka ekiro, ye n’abaddu be bonna n’Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etafaamu muntu. 31 N’abayita Musa ne Alooni ekiro,  n’ayogera nti mugolokoke muve mu bantu  bange, mmwe era n’abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze   Mukama  nga  bwe  mwayogera.

 

1 Bassekabaka 13:1-6

1 Awo laba, ne wajja omusajja wa Katonda ng’ava mu Yuda olw’ekigambo kya Mukama n’ajja e Beseri: awo Yerobowaamu yali nga ayimiridde awali ekyoto okwoteza obubaane. 2 Awo n’ayogererera waggulu ku kyoto olw’ekigambo kya Mukama  n’ayogera nti Ai ekyoto, ekyoto, bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Laba, omwana alizarirwa ennyumba ya Dawudi, erinnya lye Yosiya; era ku ggwe kwaliweerayo bakabona b’ebifo ebigulumivu abootereza obubaane ku ggwe, era baliweerayo ku ggwe amagumba g’abantu. 3 N’awa  akabonero ku lunaku olwo ng’ayogera nti kano ke kabonero Mukama k’ayogedde: laba, ekyoto kiryatika n’evvu erikiriko liriyiika. 4 Awo olwatuuka  Kabaka bwe yawulira ekigambo ky’omusajja wa Katonda kye yayogerera waggulu ku kyoto mu Beseri, awo Yerobowaamu  n’agolola omukono gwe ng’ayima awali ekyoto ng’ayogera nti Mumukwate.  N’omukono gwe gw’amugololedde ne gukala n’okuyinza n’atayinza kuguzza nate. 5 Ekyoto nakyo ne kyatika n’evvu ne liyiika okuva ku kyoto ng’akabonero bwe kaali omusajja wa Katonda ke  yawa olw’ekigambo kya Mukama. 6 Awo Kabaka n’addamu n’agamba  omusajja wa Katonda nti  weegayirire nno ekisa kya Mukama Katonda wo  onsabire omukono gwange gumponyezebwe nate. Omusajja wa Katonda  ne yeegayirira Mukama, omukono gwa  kabaka  ne  gumuwonyezebwa  nate  ne  gufuuka nga bwe gwali olubereberye.

 

Yona 1:17

1 Awo ekigambo kya Mukama kyajja eri Yona, omwana wa Amitayi, nga ky’ogera 2 nti Golokoka, ogende e Nineeve ekibuga ekyo ekinene okirangirire: kubanga obubi bwabwe bulinnye butuuse mu maaso gange. 3 Naye Yona n’agolokoka  okuddukira e Talusiisi okuva mu maaso ga Mukama; n’aserengeta e Yopa n’alaba ekyombo nga kigenda e Talusisi; awo n’abawa empoza yaakyo  n’asabala omwo agende nabo e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama. 4 Naye Mukama  n’asindika empewo ennyingi  ku nnyanja, omuyaga omungi ne  guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka. 5 N’abo abaavuga ne batya ne bakabirira        buli muntu Katonda we; ne basuula mu nnyanja ebintu ebyaali  mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng’asse  mu kisenge eky’omu kyombo, ng’agalamidde yebase otulo. 6 Awo omugoba w’ekyombo n’ajja gy’ali n’amugamba nti obadde otya ggwe omwebasi? Golokoka osabe katonda wo, era mpozzi Katonda anaatujjukira tuleme okuzikirira. 7 Ne boogera buli muntu ne muganda we nti Jjangu tukube akalulu tulyoke tutegeere gwe tulangibwa akabi kano okutubaako. Awo ne bakuba akalulu, akalulu ne kagwa ku Yona. 8 Awo ne bamugamba nti  kale tubuulire gwe tulangibwa akabi kano okutubaako; omulimu gwo mulimu ki? Ova wa?  Ensi yammwe nsi ki? Ekika kyammwe kika ki? 9 N’abagamba nti Ndi Mwebbulaniya; ntya  Mukama, Katonda  ow’omu ggulu eyakola ennyanja n’olukalu. 10 Awo abantu ne batya nnyo ne bamugamba nti kino kiki ky’okoze ggwe? Kubanga abantu baamanya  nti adduse mu maaso ga Mukama, kubanga yali ng’ababulidde. 11 Awo ne bamugamba nti Tunakukola tutya ennyanja etuteekere? Kubanga ennyanja yali ng’egenda yeeyongera okufuukuka ennyo. 12 N’abagamba nti munsitule munsuule mu nnyanja; kale ennyanja eneebateekera ; kubanga mmanyi nti  omuyaga guno omungi gubakutte okubalanga nze. 13 Naye abantu ne bavuga nyo okuddayo okugoba ettale; naye  ne batayinza; kubanga ennyanja yagenda yeeyongera bweyongezi okufuukuka okubaziyiza. 14 Kyebaava bakaabirira Mukama ne boogera nti Tukwegayiridde , ai Mukama, tukwegayiridde tuleme okuzikirira ku lw’omuntu ono; so totussaako musaayi ogutaliiko musango; kubanga ggwe, ai Mukama, ggwe okoze ky’oyagala. 15Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja; awo omuyaga ogwaali ku nnyanja ne gufa. 16 Awo abantu ne batya nnyo; Mukama; ne bawaayo  ssaddaaka eri Mukama ne beeyama obweyamo. 17 Mukama n’ateekateeka ekyennyanja ekinene kimumire Yona; Yona n’amala  mu lubuto lw’ekyennyanja  ennaku  ssatu  emisana  n’ekiro.

 

Yona 2:1-10

1Awo  n’asaba Mukama Katonda we mu lubuto lw’e kyennyanja. 2 N’ayogera nti nakaabira Mukama kubanga nalaba ennaku, N’anziramu;

Mu lubuto lw’emagombe nakoowoola;

N’owulira eddoboozi lyange.

3 Kubanga wansuula mu buziba, mu mutima ogw’ennyanja,

Amayengo go gonna n’amasingiisira go gaayita waggulu ku nze.

4 Ne njogera Nti ngobeddwa mu maaso go;

Naye  naatunuulira nate yeekalu yo entukuvu.

5 Amazzi gansaanikira, era okutuuka ku bulamu;

Obuziba bwa nneetooloola;

Endago zambikka ku mutwe gwange.

6 Ne nzika ensozi we zisibuka;

Ensi n’ebisiba byayo  ne binzigalira emirembe gyonna;

Naye oggyeemu obulamu bwange mu bunnya, ai Mukama,

Katonda wange.

7 Emmeeme yange bwe yazirika mu nze, ne njijukira Mukama;

N’okusaba kwange ne kutuuka gyoli, mu yeekaalu yo entukuvu.

8 Abo abassaayo omwoyo ku by’obulimba ebitalimu balekayo okusaasira kwabwe.

9 Naye nze naakuwa  ssaddaaka yange  n’eddoboozi  ery’okwebaza;

Naasasula obweyamo bwange.

Obulokozi buva eri Mukama.

10 Awo Mukama n’alagira ekyennyenja ne kisesema Yona ku lukalu.

 

Ebikolwaby’Abayume 9:1-16

1 Naye Sawulo bwe yali akyayogera ebigambo eby’okukaanga n’eby’okutta abayigirizwa ba Mukama waffe, n’agenda eri kabona asinga obukulu, 2 n’amusaba ebbaluwa ez’okugenda e Ddamasiko, eri amakungaaniro, bw’alirabayo abantu ab’ekkubo, oba nga basajja oba bakazi, abasibe abaleete e Yerusalemi. 3 Awo bwe yali ng’atambula, ng’anatera okutuka e Ddamasiko, amangu ago omusana oguva mu ggulu ne gumwakira okumweetooloola, 4 n’agwa wansi, n’awulira  eddoboozi nga limugamba nti Sawulo, Sawulo, onjiganyiza ki? 5 N’agamba nti Ani ggwe, Mukama wange? Ye n’agamba nti Nze Yesu,  gw’oyigganya ggwe: 6 naye golokoka oyingire mu kibuga; onoobuulirwa ebikugwanidde okukola. 7 Naye abaali  batambula naye ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga bawulidde eddoboozi naye ne batalaba muntu. 8 Sawulo n’agolokoka wansi, amaso ge bwe gaazibuka, n’atalaba kintu ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Ddamasiko. 9 N’amala ennaku sssatu nga talaba, era nga talya, wadde nga tanywa. 10 Yaliyo omuyigirizwa mu Ddamasiko, erinnya lye Ananiya; Mukama waffe n’amugamba mu kwolesebwa nti Ananiya. N’amugamba nti laba, nze nzuuno, Mukama wange. 11 Mukama waffe n’amugamba nti Golokoka ogende mu kkubo eriyitibwa Eggolokofu, obuulirize mu nnyumba ya Yuda omuntu erinnya lye  Sawulo ow’e Taluso; kubanga, laba, asaba; 12 era alabye omuntu, erinnya lye Ananiya, ng’ayingira ng’amussaako emikono azibule. 13 Naye Ananiya n’addamu nti Mukama wange, omuntu  oyo nnawulira ebigambobye mu bangi, obubi bwe yakolanga abatukuvu bo  abali e Yerusaalemi bwe buli obungi: 14 ne wano alina obuyinza  obuva eri bakabona abakulu okubasiba bonna abakusaba erinnya lyo. 15 Naye Mukama waffe n’amugamba nti  Genda; kubanga oyo kye kibya  ekironde  gye ndi okutwalanga erinnya lyange mu maaso g’amawanga ne bakabaka n’abaana ba Isiraeri.16 Kubanga ndimulaga ebigambo bwe biri ebingi ebimugwanidde okubonyaabonyezebwa  olw’erinnya lyange.

OKUBIKKULA EKYAMA KY’OBUFUZI BW’ENSI OMUSANVU OBUZZE NGA BULWANYISA OBUFUZI BWA KATONDA EKIYITIBWA  BABULOONI  EKINENE NNYINA  W’ABENZI ERA OW’EMIZIZO GY’ENSI YONNA. DANYERI 12,7 NE 8, OKUUBIKKULIRWA 17:1-6

Danyeri 2:1-49

1 Ne mu mwaka ogw’okubiri  mu mirembe gya Nebukadduneeza, Nebukkadduneeza n’aloota ebirooto: omwoyo gwe ne gweraliikirira, otulo twe ne tumubula. Awo kabaka n’alagira  okuyita  abasawo n’abafumu n’emmandwa  n’Abakaludaaya, okubuulira kabaka  ebirooto bye. Ne bayingira ne bayimirira mu maaso ga kabaka. 3 Kabaka n’abagamba nti Ndoose ekirooto, omwoyo gwange ne gweraliikirira okutegeera ekirooto. 4 Abakaludaaya ne balyoka bagamba kabaka  mu lulimi olusuuli nti Ai kabaka obenga omulamu emirembe gyonna: obuulire abaddu bo ekirooto, naffe tunaalaga amakulu gaakyo. 5  kabaka n’addamu n’agamba Abakaludaaya nti ekigambo kinvuddeko: bwe mutantegeeza ekirooto n’amakulu gaakyo, munateemebwatemebwa, n’ennyumba zammwe zirifuuka mmungo. 6 Naye bwe munaalaga ekirooto n’amakulu gaakyo, munaweebwa nze ebirabo n’empeera n’ekitiibwa kingi: kale mundage ekirooto n’amakulu gaakyo. 7 Ne baddamu omulundi ogw’okubiri ne boogera nti Kabaka abuulire abaddu be ekirooto, naffe tunaalaga amakulu. 8 kabaka n’addamu n’ayogera nti Ntegeredde ddala nga mwagala okufuna ebbanga, kubanga mulabye ng’ekigambo kinvuddeko. 9 Naye bwe mutantegeeze ekirooto, waliwo etteeka limu gye  muli: Kubanga muteeseteese okulimba n’ebigambo ebivundu okwogera mu maaso gange okutuusa ebiro lwe biriwanyisibwa: Kale mu mbuulire ekirooto, nange ndyoke ntegeere nga muyinza okundaga amakulu gaakyo. 10 Abakaludaaya ne baddiramu mu maaso ga kabaka, ne boogera nti Tewali muntu noomu mu nsi ayiinza okulaga ekigambo kya kabaka: kubanga tewali kabaka  newakubadde  omukuungu newakubadde ow’essaza eyali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo newakubadde omufumu yenna newakubadde omukaludaaya yenna. 11 Era ekigambo kino tekirabwanga kabaka kyawaliriza, so tewali ayinza okukiraga mu maaso ga kabaka, wabula bakatonda abatatuula   mu balina emibiri. 12 kabaka kyeyava asunguwala ne yeejuumuula nnyo, n’alagira okutta abagezigezi bonna ab’e Babulooni.13 Etteeka ne liteekebwa, abagezigezi ne bagenda okuttibwa: ne banoonya Danyeri ne banne okubatta. 14 Awo Danyeri n’addamu n’amagezi n’obukabakaba Aliyoki  omwami w’abaserikale ba kabaka, eyajja okutta abagezigezi ab’e Babulooni: 15 n’addamu n’agamba Aliyoki omwami wa kabaka nti  kiki ekyanguyirizisa etteeka eriva eri  kabaka? Aliyoki n’alyoka ategeeza Danyeri ekigambo ekyo. 16 Danyeri n’ayingira ne yeegayirira kabaka okumuteekerawo olunaku, naye ng’aliraga  kabaka  amakulu. 17  Awo Danyeri nagenda mu nnyumba ye, n’ategeeza  ekigambo ekyo Kananiya , Misayeri ne Azaliya, banne 18 basabe Katonda ow’omu ggulu okubasaasira olw’ekyama  ekyo:  Danyeri ne banne baleme okuzikirira awamu n’abagezigezi abalala ab’e Babulooni. 19 Ekyama ne kiryoka kibikkulirwa  Danyeri  mu kwolesebwa okw’ekiro. Danyeri n’alyoka yebaza Katonda ow’omu ggulu. 20 Danyeri n’addamu n’abagamba nti Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembbe n’emirembe: kubanga amagezi n’amaanyi gage: 21 era oyo ye  awanyisa ebiro n’ebiseera: aggyawo bakabaka, era assaawo bakabaka: awa amagezi abagezigezi, n’okumanya eri abo abamanyi okutegeera: 22 abikkula ebigambo eby’obuziba eby’ekyama: ebiri mu kizikiza abimanyi, era omusana gubeera naye. 23 Nkwebaza, nkutendereza, ai ggwe Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n’amaanyi, era antegezezza kaakano bye twakusabye: kubanga otutegezezza ekigambo kya kabaka. 24 Danyeri kyeyava ayingira eri Aliyoki, kabaka gwe yali ateeseewo okuzikiriza abagezigezi  ab’e Babulooni: n’agenda n’amugamba bw’ati nti Tozikiriza abagezigezi ab’e Babulooni: nnyingiza mu maaso ga Kabaka, nange naalaga kabaka amakulu 25 Awo Aliyoki n’ayanguwa n’ayingiza Danyeri eri kabaka n’amugamba bw’ati nti Ndabye omusajja ow’omu baana ab’o mu bunnyage bwa Yuda, anaategeeza kabaka amakulu. 26 Kabaka   n’addamu n’agamba Danyeri, erinnya lye Berutesaza, nti Ggwe oyinza okuntegeeza ekirooto kye nnalaba, n’amakulu gaakyo? 27 Danyeri n’addiramu mu maaso ga kabaka, n’ayogera nti Ekyama kabaka kyaawaliriza abagezigezi tebayinza kukiraga  kabaka newakubadde  abafumu  newakubadde  abasawo newakubadde abalaguzi: 28 naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama, era etegeezezza kabaka Nebukadduneeza ebiribaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwayolesebwa ku kitanda kyo, bye bino: 29 ggwe ai kabaka, ebirowoozo byo ne bikkujjira ku kitanda kyo, ebiribaawo oluvannyuma: naye abikkula ebyama akutegeezezza ebiribaawo. 30 Naye nze ekyama kino tekimbikkuliddwa nze olw’amagezi gonna ge nnina okusinga omuntu yenna omulamu, naye kyekivudde kimbikkulirwa kabaka ategeezebwe amakulu, naawe otegeere ebirowoozo eby’omu mutima gwo. 31 Ggwe, ai kabaka, watunula, era laba ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo, eky’amaanyi, ekyamasamasa ennyo nnyini ne kiyimirira mu maaso go: n’engeri yaakyo ya ntiisa. 32 Ekifaananyi ekyo, omutwe gwakyo gwa zaabu nnungi, ekifuba kyakyo  n’emikono gyakyo n’ebisambi byakyo bya kikomo, amagulu gaakyo ga kyuma, 33 ebigere byakyo  ekitundu kyakyo kya kyuma, n’ekitundu kya bbumba. 34 Watunula okutuusa ejjinja lwe lyatemebwa awatali ngalo, ne likuba ekifaananyi  ebigere eby’ekyuma n’ebbumba, ne libimenyaamenya. 35 Ekyuma,n’ebbumba, n’ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne  biryoka bimenyekera wamu, ne bifuuka nga ebisusuunku eby’omu gguuliro akyanda nga kituuse: empewo ne zibitwalira ddala  bwe zityo n’okulaba ne bitalaba bbanga: n’ejjinja eryakuba ekifaananyi  ne lifuuka olusozi, ne lijjula ensi zonna. 36 Ekirooto kye kiikyo: era tunaayatula amakulu gaakyo mu maaso ga kabaka. 37 Ggwe ai kabaka, oli kabaka wa bakabaka, Katonda ow’eggulu gwe yawa obwakabaka, n’obuyinza, n’amaanyi, n’e kitiibwa,: 38 era abaana  b’abantu gye batuula yonna, yagaba ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi  ez’omu ggulu mu mukono gwo, era yakubifuza ggwe byonna: ggwe oli mutwe gwa zaabu. 39 Era walikuddirira obwakabaka obulala, bw’osinga ggwe, bulibaawo: n’obwakabaka   obulala obw’okusatu abw’ekikomo obulifuga ensi zonna. 40 N’obwakabaka obw’okuna buliba bwa maanyi ng’ekyuma: kubanga ekyuma kimenyamenya ebintu byonna, era kibijeemulula: era ng’ekyuma ekibetenta ebyo, byonna bwe bulimeenyamenya  bwe bulibetenta bwe butyo. 41 Era  kubanga walaba ebigere n’obugere, ekituundu kya bbumba ery’omubumbi, n’ekitundu kya kyuma, obwakabaka buliba bwawulemu: naye muliba mu bwo ku maanyi g’ekyuma, kabanga walaba ekyuma nga kitabiddwa mu  ebbumba  ery’ettosi. 42 Era ng’obugere bwe bwali ekitundu kya kyuma, n’ekitundu kya  bbumba, era  n‘obwakabaka bwe buliba bwe butyo, ekitundu ky’amaanyi, n’ekitundu kimenyefu. 43 Era kubanga walaba  ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery’ettosi,  balyetabula ne zzadde ly’abantu: naye tebaligattagana bokka na bokka, era ng’ekyuma  bwe kiteetabula na bbumba. 44 Era mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda  ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa  emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna . 45 Kubanga walaba ejjinja nga lyatemebwa mu lusozi awatali ngalo, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza,  ne zaabu: Katonda  omukulu ategeezezza kabaka ebiribaawo oluvannyuma: era ekirooto kya mazima ddala, n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa. 46 Awo kabaka Nebukadduneeza n’alyoka avuunama amaaso ge n’asinza Danyeri, n’alagira okumuwa ssaddaaka n’omugavu. 47 Kabaka n’addamu Danyeri n’ayogera nti mazima Katonda wammwe ye Katonda wa ba Katonda, era ye Mukama wa bakabaka, era ye mubikkuzi w’e byama, kubanga oyinzizza okubikkula ekyama ekyo. 48 Kabaka n’alyoka afuula Danyeri omukulu, n’amuwa  ebirabo bingi ebinene, n’amuwa okufuga essaza lyonna ery’e Babulooni, era okuba omwami omukulu ow’abagezigezi bonna ab’e Babulooni. 49 Danyeri n’asaba  kabaka, n’akuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu bigambo eby’essaza ery’e Babulooni: naye Danyeri n’abeera mu wankaaki wa kabaka.

 

Danyeri 7:1-28

1 Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Berusaza kabaka w’e Babulooni Danyeri n’aloota ekirooto n’omutwe gwe bye gwayolesebwa ku kitanda kye: n’alyoka awandiika ekirooto n’ayatula ebigambo nga bigattibwa wamu. 2 Danyeri n’ayogera nti Natunuulira mu ebyo bye nnaayolesebwa ekiro, era laba, empewo ez’omu ggulu ennya ne ziwamatuka ku nnyanja ennene. 3 N’ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja ne zirinnya, ezitafaanana zokka na zokka. 4 Ey’olubereberye yalinganga mpologoma, era ng’erina ebiwaawatiro ng’ebyempungu: ne ntunula okutuusa  ebiwaawaatiro byayo lwe byamaanyibwa, n’eyimusibwa okuva ku nsi, n’eyimirizibwa n’ebigere bibiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ng’omuntu. 5 Era ,laba ensolo endala,  ey’okubiri, yalinganga ddubu, era yali egulumizibwa ku lubiriizi lumu, n’embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amanyo nga  gazikkutte: ne bagigamba bwe bati nti Golokoka, olye  ennyama ennyingi. 6 Oluvannyuma lw’ebyo ne ntunula, era, laba, endala, ng’engo, eyalina ebiwaawatiro ebina eby’ennyonyi ku mabega gaayo: era ensolo yalina n’emitwe ena: n’eweebwa okufuga. 7 Oluvannyuma lw’ebyo ne ntunula mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ensolo ey’okuna, ey’entiisa era ey’obuyinza, era ey’amaanyi amangi ennyo: era yalina amannyo amanene ag’ekyuma: yalya, n’emenyaamenya n’esambirira ebyasigalawo n’ebigere byayo: era teyafaanana ng’e nsolo zonna ezaagisooka: era yalina amayembe kkumi. 8 Naakebera amayembe, era ,laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne mu maaso gaalyo asatu ku mayembe ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala: era, laba, mu jjembe  eryo mwalimu amaaso ng’amaaso g’omuntu, n’akamwa akoogera ebikulu. 9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira n’enviiri ez’okumutwe gwe  ng’ebyoya bye ndiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga gw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo , ebitabo n’e byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’ewebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwaazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera . 13 Ne ndaba mw’ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. 14 N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka,  abantu bonna, amawanga  n’ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa. 15 Nange Danyeri, omwoyo gwange ne gunakuwala wakati mu mubiri gwange, n’ebyo omutwe gwange bye gwayolesebwa ne binneeraliikiriza. 16 Ne nsembera omu ku abo abaali bayimiridde okumpi, ne mmubuuza amazima g’ebyo byonna. Awo n’ambuulira, n’antegeeza amakulu g’ebyo. 17 Ensolo ezo ennene, ezaali ennya, be bakabaka abana, abaliva mu nsi. 18 Naye abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, era balirya obwakabaka emirembe n’emirembe  era n’okutuusa emirembe gyonna. 19 Ne ndyoka njagala okumanya amazima g’ensolo ey’okuna, etaafaanana ng’ensolo zonna, ey’entiisa ennene, amannyo gaayo ga kyuma, n’enjala zaayo za kikomo: eyalya, n’emenyaamenya, n’esaambirira ebyasigalawo n’ebigere byayo: 20 n’agayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, n’eddala eryamera, asatu ne gagwa mu maso gaalyo: lye jjembe eryo eryalina amaaso, n’akamwa akayogera ebikulu, obukanu bwalyo bwasinga gannaago obugumu. 21 Ne ntunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu, ne libasinga: 22 Okutuusa omukadde eyaakamala ennaku ennyingi  lwe yajja, omusango ne gubasalirwa abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo; ebiro ne bituuka abatukuvu ne balya obwakabaka. 23 N’ayogera bw’ati nti Ensolo ey’okuna eriba bwakabaka obw’okuna mu nsi, obutalifaanana  ng’obwakabaka bwonna, era obulirya ensi zonna, era obulizisambirira, era obulizimenyaamenya. 24 N’amayembe ago ekkumi, mu bwakabaka  obwo muliva bakabaka kkumi abaligolokoka: n’omulala alibaddirira aligolokoka: naye talifaanana ng’ab’olubereberye, naye aliggyawo bakabaka basatu. 25 Era alyogera ebigambo ebibi eri Oyo Ali waggulu ennyo, era aliteganya abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo: era alirowooza okuwanyisa ebiseera n’amateeka: era biriweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera lwe biriggwaawo. 26 Naye omusango gulibaawo, era balimuggyako okufuga kwe, okukumalawo n’okukuzikiriza okutuusa enkomerero. 27 N’obwakabaka n’okufuga n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu lyonna, abantu ab’abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo balibiweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwawo, n’amatwale gonna galimuweereza galimuwulira, 28 Ekigambo ekyo wekikoma wano. Nange Danyeri, ebirowoozo byange byanneeraliikiriza nnyo, n’amaaso gange ne gawanyisibwa gye ndi: naye ne nzisa ekigambo ekyo mu mutima gwange.

 

Danyeri 8:1-27

1 Mu mwaka ogw’okusatu mu mirembe gya Berusaza kabaka okwolesebwa ne kunjijira, nze Danyeri , okuddirira okwasooka okunjijira. 2 Ne ndaba mw’ebyo ebyayolesebwa: ne kiba bwe kiti ; bwe nnalaba nnali mu lubiri lw’e Susani, oluli mu ssaza  Eramu: ne ndaba mw’ebyo ebyayolesebwa, era nnali ku mugga Ulaayi. 3 Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, era, laba, endiga ensajja eyalina amayembe abiri  n’eyimirira ku mabbali g’omugga: n’amayembe ago abiri gaali mawanvu: naye erimu lyasinga linnaalyo, era eryasinga lye lyaddirira okumera. 4 Ne ndaba endiga ensajja ng’e sindika eri obugwanjuba, n’eri obukiika obwa kkono, n’eri obukiika obwa ddyo: so mpaawo nsolo ezaayinza okuyimirira mu maaso gaayo, era mpaawo eyayinza okuwonya mu mukono gwayo: naye yakolanga  nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza. 5 Bwe nnali nkebera, laba, embuzi ensajja n’eva ebugwanjuba n’ejja ng’eyita ku ngulu ku nsi yonna, n’etetuuka ku ttaka: era embuzi yalina ejjembe eryalabika ennyo wakati w’a maaso  gaayo. 6 N’ejjira endiga ensajja eyalina amayembe abiri, gye nnalaba ng’eyimiridde ku mabbali g’omugga, n’egifubutukira amaanyi gaayo nga gagiralusizza. 7 Ne ngiraba ng’esemberedde endiga ensajja, n’egisunguwalira, n’ekuba endiga ensajja, n’emenya amayembe gaayo abiri: so n’endiga ensajja teyaliimu  maanyi okuyimirira mu maaso gaayo: naye n’egimegga wansi, n’egisambirira, era mpaawo eyayinza okuwonya endiga ensajja mu mukono gwayo. 8 Embuzi ensajja ne yegulumiza nnyo: era mu maanyi gayo ago, ejjembe lyayo ekkulu mwelyamenyekera: ne mu kifo kyalyo ne mumera ana agaalabika ennyo agaatunulira empewo ennya ez’omu ggulu. 9 ne mu limu mu ago ne muva ejjembe ettono, ery’afuuka eddene ennyo, nga lyolekedde obukiika obwa ddyo, n’eri obuva njuba, n’eri ensi ey’ekitiibwa. 10 Ne lifuuka ddene, n’okutuuka eri eggye ery’omu ggulu: n’eby’omu  ggye ebimu n’emunyeenye ezimu ne libisuula wansi, ne libisambirira. 11 Weewaawo, lyekuza lyokka, era n’okutuuka eri omukulu w’eggye: ne limuggyako  ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna, n’ekifo eky’awatukuvu we ne kisuulibwa. 12 N’eggye ne liweebwayo eri eryo awamu n’ekiweebwayo eky’okebwa eky’ennaku zonna olw’okwonoona: ne lisuula amazima wansi: ne likola nga bwe lyagala ne liraba omukisa. 13 Ne ndyoka mpulira omutukuvu ng’ayogera: n’omutukuvu omulala n’agamba oyo eyali ayogedde, nti Ebikwolesebwa eby’okukiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonnna kirituusa wa okubaawo, n’okwoonona okuzisa, okuwaayo awatukuvu era n’eggye okusambirirwa n’ebigere? 14 N’angamba nti Birituusa  amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu: awatukuvu ne walyoka  walongoosebwa  . 15 Awo, nze, ye nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa  ebyo,  ne ndyoka nnoonya okubitegeera: era, laba, ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng’eky’omuntu. 16 Ne mpulira eddoboozi ly’omuntu  wakati w’emitala w’omugga Ulaayi,  eryakoowoola, ne ligamba nti Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo ebimwolesebwa. 17 Awo n’asembera we nnali nyimiridde: era bwe yajja, ne ntya, ne nvuunama amaaso gange: naye n’angamba nti Tegeera, ggwe omwana w’omuntu: kubanga ebyolesebwa bya kiseera kya nkomerero. 18 Awo, bwe yali ayogera nange, ne nneebaka otulo tungi nga nvuunama amaaso gange: naye nankomako, n’annyimiriza. 19 N’ayogera nti Laba, naakutegeeza ebiribaawo mu kiseera  eky’enkomerero eky’okunyiigiramu: kubanga bya kiseera kya nkomerero ekyaateekebwawo. 20 Endiga ensajja gy’olabye ebadde n’amayembe abiri, be bakabaka ab’obumeedi n’obuperusi. 21 N’embuzi ensajja ey’ekikuzzi  ye kabaka w’e Buyonaani: n’ejjembe eddene eriri wakati w’a maaso gaayo ye kabaka ow’olubereberye. 22 n’eryo erimenyese ne mu kifo kyalyo ne muyimirira ana, obwakabaka buna buliva mu ggwanga, buliyimirira, naye nga tebulina buyinza bw’oyo. 23 Ne mu kiseera eky’enkomerero eky’obwakabaka bwabwe, aboononyi nga batuukiridde, kabaka ow’a maaso amakambwe, era ategeera ebigambo eby’ekyama, aliyimirira. 24 N’obuyinza bwe buliba bungi, naye si lwa buyinza bwe ye: era alizikiriza kitalo,  era aliraba omukisa, era alikola by’alyagala:  era alizikiriza ab’amaanyi n’abantu abatukuvu. 25 Era olw’amagezi ge alyeza enkwe mu mukono gwe; era alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nga mirembe: era aliyimirira okulwanyisa omulangira w’abalangira: naye alimenyeka awatali ngalo. 26 Era ebikwolesebwa eby’amakya n’amawungeera ebibuuliddwa bya mazima: naye ggwe bikka ku bikwolesebwa: kubanga bya nnaku eziri ewala. 27 Nange Danyeri ne nzirika, ne ndwala okumala ennaku si nyingi; ne ndyoka ngolokoka, ne nkola emirimu gya Kabaka : ne nnewuunya  ebyanjolesebwa,  naye mpaawo eyabitegeera.

 

Okubikkulirwa 17:1-6

1Ne wajja omu ku bamalayika omusanvu abaalina  ebibya  omusanvu, n’ayogera nange, ng’agamba nti Jjangu wano, nange naakulaga omusango  gw’omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi;  2 bakabaka b’ensi gwe baayenda naye, n’abo abatuula ku nsi ne batamiira  omwenge gw’obwenzi bwe. 3 N’antwala mu ddungu mu mwoyo: ne ndaba omukazi, ng’atudde ku nsolo emyufu, ng’ejjudde amanya ag’obuvvoozi, ng’erina emitwe musanvu n’amayembe kkumi. 4 Omukazi ng’ayambadde olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ayonjebwa ne zaabu n’amayinja  ag’omuwendo omungi ne luulu, ng’alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, ye mpitambi ey’obwenzi bwe, ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, NNYINA W’ABENZI  ERA  OW’EMIZIZO  GY’ENSI.

6 Ne ndaba omukazi oyo ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, n’omusaayi gw’abajulirwa  ba Yesu. Bwe  nnamulaba,  ne nneewuunya  okwewuunya  kunene

 

 Amawaga musanvu ga kirimanyi agazze nga gafuga ku nsi yonna era nga  gagiwabya okugigya ku Katonda, Bayibuli g’eyita ensozi omusanvu  (7) omukazi kwatudde era emitwe omusanvu (7) egy’ensolo ng’erina amayembe kkumi (10) ge gano, Okubikkulirwa 17:9-14.

 

1.Misiri 2. Busuuli 3. Babulooni 4. Obumeedi n’obuperusi 5. Buyonaani 6. Ruumi 7. Bungereza ogusooka ( okufuna ekiwundu)  Okubikkulirwa 13:3, 11-14

 

Okubikkulirwa 17:9-14

9 Awo weewali omwoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu z’ensozi musanvu, omukazi  z’atuddeko; 10 era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w’ali, omulala tanaba kujja; era bw’alijja, kimugwanira okumalawo ebiro bitono. 11 N’ensolo eyaliwo era teriiwo oyo naye ye w’omunaana naye ye w’okumusanvu, era agenda kubula. 12 N’amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n’ensolo, okumala essawa emu. 13 Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n’obuyinza. 14 Abo balirwana n’Omwana gw’endiga, n’Omwana  gw’endiga  alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami, era ye kabaka wa bakabaka; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa.

 

Okubikkulirwa 13:3, 11-14

3Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo  nga gufumitiddwa okufa; n’ekiwundu eky’okufa ne kiwona: n’ensi zonna ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya;

11-14

11Ne ndaba ensolo endala ng’eva mu nsi; yalina amayembe abiri nga gafaanana ng’ag’Omwaana gw’endiga, n’eyogera ng’ogusota. 12 N’ekoza obuyinza bwonna obw’ensolo ey’olubereberye mu maaso gaayo. N’esinzisa ensi n’abatuulamu ensolo ey’olubereberye, eyawona ekiwundu eky’okufa. 13 N’ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g’abantu. 14 N’erimba abatuula ku nsi olw’obubonero bwe yaweebwa okukola mu maaso g’ensolo; ng’egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky’ekitala n’eba nnamu.

 

Bungereza n’eyambibwa  America ogw’okubiri ow’okumunaana era ow’oku musanvu. Okubikkulirwa 13:1-4,11-14 Okubikkulirwa 17:11.

 

Okubikkulirwa 13:1-4, 11-14

1Ne guyimirira ku musenyu gw’ennyanja.

N’endaba ensolo ng’eva mu nnyanja,erina amayembe kkumi n’emitwe musanvu, ne ku mayembe gaayo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo amanya ag’obuvvoozi. 2 N’ensolo gye nnalaba yali efaanana ng’engo, n’ebigere byayo ng’eddubu, n’akamwa kaayo ng’akamwa k’empologoma: n’ogusota gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n’entebe yaayo ey’obwakabaka, n’obuyinza obungi. 3 Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo  nga gufumitiddwa okufa; n’ekiwundu eky’okufa ne kiwona: n’ensi zonna ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya; 4 ne basinza ensolo, nga boogera nti Ani afaanana ng’ensolo?

11-14

11 Ne ndaba ensolo endala ng’eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng’ag’Omwana  gw’endiga, n’eyogera  ng’ogusota. 12 N’ekoza obuyinza bwonna obw’ensolo ey’olubereberye mu maaso gaayo. N’esinza ensi n’abatuulamu ensolo ey’olubereberye, eyawona ekiwundu eky’okufa. 13 N’ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu    ku nsi  mu  maaso g’abantu. 14 N’erimba abatuula ku nsi olw’obubonero bwe  yaweebwa okukola mu maaso g’ensolo; ng’egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky’ekitala n’eba nnamu.

 

 

Okubikkulirwa 17:11

N’ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w’omunaana,  naye ye w’oku musanvu, era agenda kubula.

 

Yokaana yalaga nti ku bakabaka omusanvu abataano baagwa dda bwe bufuzi obwali obwa 1. Misiri, 2. Busuuli, 3.Babulooni, 4. Aba Meedi n’aba Perusi, 5.Buyonaani.

Ate n’alaga nga omu waali bwe bufuzi bw’aba 6.Ruumi. Era n’alaga nti omulala ajja naye wa kumala akaseera katono bwe bufuzi bwa 7. Bungereza. Okubikkulirwa 13:11-15, Okubikkulirwa 17:9-14. Nabbi Danyeri yagenda okufuna okwolesebwa kw’ekifaananyi  kabaka Nebukadduneeza kye yasiimba nga Misiri  ne Busuuli zaamala dda okufuga ky’ova olaba tezaalagibwa mu kifaananyi.

 

Okubikkulirwa 13:11-15

11 Ne ndaba ensolo endala ng’eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng’ag’Omwana  gw’endiga, n’ayogera ng’ogusota. 12 N’ekoza obuyinza bwonna obw’ensolo ey’olubereberye mu maaso gaayo. N’esinzisa  ensi n’abatuulamu ensolo ey’olubereberye, eyawona ekiwundu eky’okufa. 13 N’ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g’abantu. 14 N’erimba abatuula ku nsi olw’obubonero bwe yaweebwa okukola mu maaso g’ensolo; ng’egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky’ekitala n’eba nnamu. 15 N’eweebwa okuwa ekifaananyi eky’ensolo  okussa omukka, ekifaananyi ky’e nsolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi  kya nsolo.

 

 

Okubikkulirwa 17:9-14

9 Awo we wali omwoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu, omukazi z’atuddeko; 10 era be bakabaka omusanvu;  abataano baagwa, omu w’ali, omulala tanaba kujja; era bw’alijja, kimugwanira okumalawo ebiro bitono. 11 N’ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w’omunaana, naye ye w’okumusanvu, era egenda kubula. 12 N’amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n’ensolo, okumala essawa emu. 13 Abo balina okuteesa kumu, ne bawa ensolo amaanyi gaabwe n’obuyinza. 14 Abo balirwana n’Omwana gw’endiga, n’Omwana gw’endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami, era kabaka wa bakabaka; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa.

 

        ENSOLO  ENNYA  DANYERI  ZE  YALABA  MU  KWOLESEBWA

        DANYERI 7:2-7, DANYERI 2:31-33       

        

 Danyeri 7:2-7

2 Danyeri n’ayogera nti Natunuulira mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era laba, empewo ez’omu ggulu  ennya ne ziwamatuka ku nnyanja ennene. 3 N’ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja ne zirinnya, ezitafaanana zokka na zokka. 4 Ey’olubereberye yalinganga mpologoma, era ng’erina ebiwaawatiro by’empungu:  ne ntunula okutuusa  ebiwaawatiro byayo lwe byamanyibwa, n’eyimusibwa okuva ku nsi, n’eyimirizibwa ne bigere bibiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima gw’omuntu. 5 Era, laba ensolo endala, ey’okubiri, yalinganga ddubu, era yali egulumizibwa kulubirizi lumu, n’embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti Golokoka, olye ennyama ennyingi. 6 Oluvannyuma lw’ebyo ne ntunula, era, laba, endala, ng’engo, eyalina ebiwaawaatiro ebina  eby’ennyonyi ku mabega gaayo: era ensolo yalina n’emitwe ena: n’eweebwa okufuga. 7 Oluvannyuma lw’ebyo ne ntunula mu ebyo byennayolesebwa ekiro, era, laba, ensolo ey’okuna, ey’entiisa era ey’obuyinza, era ey’amaanyi amangi ennyo: era yalina amannyo amanene ag’ekyuma: yalya n’emenyaamenya, n’esambirira ebyasigalawo n’ebigere byayo: era teyafaanana ng’ensolo zonna ezagisooka: era yalina amayembe kkumi.

 

Danyeri 2:31-33

31 Ggwe, ai kabaka, watunula, era, laba, ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo,  eky’amaanyi, ekyamasamasa ennyo nnyini ne kiyimirira  mu maaso go: n’engeri yaakyo ya ntiisa. 32 Ekifaananyi ekyo, omutwe gwakyo gwa zaabu nnungi, ekifuba kyakyo n’emikono gyakyo bya ffeeza, olubuto lwakyo n’ebisambi byakyo bya kikomo, amagulu gaakyo ga kyuma, 33 ebigere byakyo ekitundu kya kyuma, n’ekitundu kya bbumba.

 

1.Eyasooka eyalinganga empologoma eyalina ebiwaawatiro nga eby’empungu, okutuusa lwe byamaanyibwa n’eyimusibwa okuyimirira ng’omuntu n’eweebwa omutima gw’omuntu (Danyeri 7:4) bwaali bwakabaka bwa Babulooni nga bwa ntiisa, bwa kitiibwa era buwuluguma nga mpologoma. Era bw’alina obwangu, okusukkuluma oba okugulumira ku nsi yonna(by’ebiwaawatiro nga eby’empungu) Naye bwe yaggibwako byonna Kabaka Nebukadduneeza bwe yava mu nsiko nga akakkanye era n’awa Katonda ekitiibwa ( kwe kumaanyibwaako ebiwaawatiro n’okkussibwamu omutima gw’omuntu ) Danyeri 4:32-37

 

( Danyeri 7:4 )

 Ey’olubereberye yalinganga mpologoma, era ng’erina ebiwaawaatiro by’empungu: ne ntunula okutuusa ebiwaawaatiro byayo lwe byamaanyibwa, n’eyimusibwa okuva ku nsi, n’e yimirizibwa n’e bigere bibiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima gw’omuntu.

 

Danyeri 4:32-37

32 Era onogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n’ensolo ez’omu nsiko: era oliriisibwa omuddo ng’ente, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali waggulu enyo ye afugira mu bwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gwayagala. 33 Mu ssaawa eyo  ekigambo ne kituukirira Nebukadduneeza: n’agobebwa okuva mu bantu, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’omu ggulu, okutuusa enviiri ze lwe zaakula nga ebyoya by’empungu, n’enjala ze nga enjala z’ennyonyi.

34 Ennaku ezo bwe zaggwa nze Nebukadduneeza ne nyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne ganziramu, ne nnebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe, kubanga okufuga kwe kwe kufuga okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe: 35 n’abo bonna abatuula ku nsi abalowooza nga si kintu: era akola nga bwayagala mu ggye ery’omu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi: so siwali ayinza okuziyiza omukono gwe, newakubadde okumugamba nti okola ki?36 Mu kiseera ekyo amagezi gange ne ganziramu: n’olw’ekitiibwa ky’obwakabaka  bwange, obukulu bwange n’okumasamasa kwange, ne binziramu: n’abakungu bange n’abaami bange ne bannonya; ne nywezebwa mu bwakabaka bwange, n’obukulu obungi ennyo ne bunnyongerwako. 37 Kale nze Nebukadduneeza  mmutendereza era mmuwa  ekitiibwa  Kabaka  w’eggulu: kubanga emirimu gye gyonna mazima, n’amakubo ge ga nsonga: n’abo abatambulira  mu  malala  ayinza  okubajeeza.

 

  1. Ey’okubiri yalinganga ddubu era yali egulumizibwa ku lubiriizi lumu, n’embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo n’amanyo nga gazikutte, ne bagigamba nti Golokoka olye ennyama nyingi. ( Danyeri 7:5 )

Buno bwali bwakabaka  bw’aba Medi n’aba Perusi nga basse omukago ne beegatta ( okugulumizibwa ku lubiriizi lumu ) Kubanga embiriizi ze ziwa omuntu amaanyi  okuyimirira obulungi. Era okuba ng’e ddubu, kitegeeza bukkambwe bwe obusuffu bw’akozesa eri amawanga. Ate okuba n’embiriizi essatu  mu kamwa, bawaamba ku Babulooni amasaza asatu agaali gasiinga amaanyi oba kwe yali yeesigamye ne bagiwangula, ge ga Asia Minor, Macedonia, Misiri, okutta abantu nga bw’esobola kwe kulya ennyama ennyingi, amawanga gano ag’omukago Bayibuli  g’eyita  endiga ensajja ey’amayembe abiri eyeegulumiza eyakolanga by’eyagala.

Danyeri 6:15, Danyeri 8:1-4,20

 

 

 

Danyeri 7:5

Era, laba, ensolo endala, ey’okubiri, yalinganga ddubu, era yali egulumizibwa ku lubiriizi lumu, n’embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti Golokoka,  olye  ennyama ennyingi.

 

Danyeri 6:15

Awo abasajja abo ne bakungaana eri kabaka, ne bagamba kabaka nti Tegeera, ai kabaka, nga lino lye tteeka ery’Abameedi n’Abaperusi, nti tewabanga kiragiro newakubadde etteeka  kabaka ly’anyweza eriwanyisikika.

 

Danyeri 8:1-4,20

1 Mu mwaka ogw’okusatu mu mirembe gye Berusaza kabaka okwolesebwa ne kunjijira, nze Danyeri, okuddirira okwo okwasooka okunjijira. 2 Ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa: ne kiba bwe kiti; bwe nnalaba nali mu lubiri lw’e Susani Eramu: ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa, era nnali ku mugga Ulaayi. 3 Ne ndyoka nyimusa amaaso gange,  ne ndaba, era, laba, endiga ensajja eyalina amayembe abiri  n’eyimirira ku mabbali g’omugga: n’amayembe ago abiri gaali mawanvu: naye erimu lyasinga linnalyo, era eryasinga lye lyaddirira okumera. 4 Ne ndaba endiga ensajja ng’esindika eri ebugwanjuba, n’eri obukkika obwa kkono, n’ero obukiika obwa ddyo: so mpaawo nsolo ezaayinza okuyimirira mu maaso gaayo, era mpaawo eyayinza okuwonya mu mukono gwayo: naye yakolanga nga bwe yayagala nga, ne yeegulumiza. 20 Endiga ensajja gy’olabye ebadde n’amayembe abiri, be  bakabaka  ab’obumeedi n’obuperusi.

 

  1. Ey’okusatu yalinga engo eyalina ebiwaawaatiro bina (4) eby’ennyonyi ku mabega gaayo era ensolo yalina n’emitwe ena n’eweebwa okufuga (Danyeri 7:6)

Buno bwaali bwakabaka bwa Buyonaani (Greece) obwali obukambwe nga engo ate nga bwangu mu kuwamba amawanga buno bwafugibwa Alexander omukulu bwe yali anaatera okufa n’abugabanyaamu emirundi ena (4)  era ne bufugibwa abakulu bana,  by’ebiwaawaatiro ebina era okuba n’obwangu ennyo.

1.Macedonia, 2.Asia Minor, 3.Syria, 4.Egypt

 

Era  obwakabaka buno Katonda yabulaga nga embuzi ensajja ey’ejjembe erimu eyasanyaawo endiga ensajja ey’amayembe abiri. Danyeri 8:5-8,21

 

Danyeri 8:5-8,21.

5 Bwe nnali nkebera, laba, embuzi ensajja n’eva ebugwanjuba n’ejja ng’eyita ku ngulu ku nsi yonna, n’etetuuka ku  ttaka: era embuzi yalina ejjembe eryalabika ennyo wakati w’amaaso gaayo. 6 N’ejjira endiga ensajja eyalina amayembe abiri, gye nnalaba ng’eyimiridde ku mabbali g’omugga, n’egifubutukira amaanyi gaayo nga gagiralusizza. 7 Ne ngiraba ng’esemberedde endiga ensajja, n’egisunguwalira, n’ekuba endiga ensajja, n’emenya amayembe gaayo abiri: so n’endiga ensajja teyaliimu maanyi okuyimirira mu maaso gaayo: naye n’egimegga wansi, n’egisambirira, era mpaawo eyayinza okuwonya endiga ensajja mu mukono gwayo. 8 Embuzi ensajja ne yeegulumiza nnyo: era mumaanyi gaayo ago, ejjembe lyayo ekkulu mwe lyamenyekera: ne mu kifo kyalyo ne mumera ana agaalabika ennyo agatunuulira empewo ennya ez’omu ggulu. 21 N’embuzi ensajja ey’ekikkuzzi ye kabaka w’e Babulooni: n’ejjembe eddene eriri wakati w’amaaso gaayo ye kabaka ow’olubereberye.

 

  1. Ensolo ey’okuna etaalina linnya eyali enkambwe ennyo, yalina amannyo ag’ekyuma ate nga enjala zaayo kikomo, n’amayembe kkumi; eddala ne limera mu makkati w’ekkumi nga lirina amaaso nga ag’omuntu n’akamwa akoogera ebikulu ne lirwanyisa abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo ne libasinga n’okukyusa ebiseera. Danyeri 2:33-34, Danyeri7:7-8.

 

Danyeri 2:33-34

33 ebigere byayo ekitundu kya kyuma, n’ekitundu kya bbumba. 34 Watunula okutuusa ejjinja lwe lyatemebwa awatali ngalo, ne likuba ekifaananyi ebigere eby’ekyuma  n’ebbumba, ne libimenyaamenya.

 

Danyeri 7:7-8

7 Oluvannyuma lw’ebyo ne ntunula mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era laba, ensolo ey’okuna, ey’entiisa era ey’obuyinza, era ey’amaanyi amangi ennyo: era yalina amannyo amanene ag’ekyuma: yalya, n’emenyaamenya, n’esambirira ebyasigalawo n’ebigere byayo: era teyafaanana ng’ensolo zonna ezagisooka: era yalina amayembe kkumi. 8 Nakebera amayembe, era, laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne mu maaso gaalyo asatu ku mayebe ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala: era, laba, mu jjembe eryo mwalimu amaaso ng’amaaso g’omuntu, n’akamwa akoogera ebikulu.

 

Buno bwe bufuzi bw’Abaruumi obuzze butta  enyo abantu, bwe  bwatta ne Mukama waffe Yesu Kristo , nga abaIsiraeri bamuwaddeyo, b’ateeka pawulo ne Siira mu kkomera  nga bawakanya enjiri oba amazima (Ebikolwaby’Abatume 16:19-39) ne basuula Yokaana ku kizinga Patumo gye yafunira okwolesebwa  kw’ekitabo eky’okubikkulirwa, Okubikkulirwa1:9

 

Ebikolwaby’Abatume 16:19-39

19 Naye bakama be bwe baalaba ng’essuubi ly’ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula  okubatwaala mu katale eri abakulu, 20 ne babatwala eri abalamuzi ne bagamba nti abantu bano basasamaza nnyo ekibuga kyaffe, kubanga Bayudaaya, 21 era bayigiriza empisa ez’omuzizo ffe okuzikwatanga newakubadde okuzikolanga kubanga tuli Baruumi. 22 Ekibiina ne kibagolokokerako wamu: abalamuzi ne babayuliza engoye zaabwe, ne balagira okubakuba emiggo. 23 Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindikiriza mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo: 24 oyo bwe yalagirwa bw’atyo nabasindikiriza mu kkomera ery’omunda, n,akomerera ebigere byabwe mu nvuba. 25Naye ekiro mu ttumbi  Pawulo ne Siira ne basaba ne bayimbira Katonda , abasibe ne babawulira; 26 amangu ago ne wabaawo ekikankano kinene n’emisingi gy’ekkomera ne gikankana: amangu ago enzigi zonna ne zigguka; n’ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka. 27 Omukuumi w’ekkomera n’azukuka, bwe yalaba enzigi z’ekkomera nga zigguse n’asowola ekitala kye  n’agenda okwetta, kubanga ng’alowooza nti abasibe babombye. 28 Naye Pawulo n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba  nti Teweekola kabi: kubanga ffenna tuli wano. 29 N’asaba ettabaaza  n’addukana n’ayingira, n’avuunamira Pawulo ne Siira, ng’akankana, 30 n’abafulumya ebweru  n’agamba nti Bassebo, kingwanidde kukola  ntya okulokolebwa? 31 Ne bagamba nti kkiriza Mukama waffe  Yesu, onoolokoka ggwe n’ennyumba yo. 32 Ne bamubuulira   ekigambo kya Mukama waffe ne bonna abaali mu nnyumba ye. 33 N’abatwala mu kiseera ekyo  ekiro n’abanaaza emiggo; n’abatizibwa ye n’ennyumba ye yonna  amangu ago.34 N’abalinnyisa mu nnyumba ye, n’abaleetera emmeeza, n’asanyuka nnyo n’ennyumba ye yonna ng’akkiriza Katonda.

35 Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale babwe nga bagamba nti  musumulule abantu abo. 36 Omukuumi w’ekkomera n’abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi bantumye  okubasumulula: kale  kaakano mufulume, mugende n’emirembe . 37 Naye Pawulo n’abagamba nti Batukubidde mu maaso g’abantu nga tetunasarirwa musango, nga turi bantu Baruumi, ne batusiindikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? N’edda; naye bajje bennyini batufurumye. 38 Basserikale ne  babuulira Abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi: 39 ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga.

 

Okubikkulirwa 1:9

Nze Yokaana muganda wammwe era assa ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga e kiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeeza kwa Yesu.

 

Bwatuuka ekiseera ne bwegabanyamu obwakabaka kkumi era bwe bugere ekkumi, n’amayembe ekkumi ku nsolo ey’emitwe omusanvu. Danyeri 2:41-42, Danyeri 7:7, Okubikkulirwa 13:1, Okubikkulirwa 17:3,12.

 

Danyeri 2:41-42

41Era kubanga walaba ebigere n’obugere, ekitundu kya bbumba  ery’omubumbi, n’ekitundu kya kyuma, obwakabaka buliba bwawulemu: naye muliba mu bwo ku maanyi g’ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery’ettosi. 42 Era ng’obugere bwe bwali ekitundu kya kyuma, n’ekitundu kya bbumba, era n’obwakabaka bwe buliba bwe butyo, ekitundu ky’amaanyi n’ekitundu kimenyefu.

 

Danyeri 7:7

Oluvannyuma lw’ebyo ne ntunula mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ensolo ey’okuna, ey’entiisa era ey’obuyinza, era ey’amaanyi amangi ennyo:  era yalina amannyo amanene  ag’ekyuma: yalya, n’emenyaamenya, n’esambirira ebyasigalawo n’ebigere by’ayo: era teyafaanana ng’ensolo zonna ezaagisooka: era yalina amayembe kkumi.

 

Okubikkulirwa 13:1

N’endaba ensolo ng’eva mu nnyanja, erina amayembe kkumi n’emitwe musanvu, ne ku mayembe gaayo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo amannya ag’obuvvoozi.

 

 

 

Okubikkulirwa 17:3,12

3 N’antwala mu ddungu mu mwoyo: ne ndaba omukazi, ng’atudde ku nsolo emmyufu, ng’ejjudde amannya ag’obuvvoozi, ng’erina emitwe  musanvu n’amayembe kkumi.12 N’amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa  bwakabaka ; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n’ensolo, okumala essaawa emu.

 

Ekkumi mu Bayibuli oluusi kitegeeza kubonaabona, obufuzi buno bubonyaabonyezza nnyo nnyo abantu ku nsi.

Olubereberye 31:7, Okubala 14:22, Danyeri 1:12, Yobu 19:3, Okubikkulirwa 2:10

 

Olubereberye 31:7

Era kitammwe yannimba, n’awanyisanga empeera yange emirundi kkumi; naye Katonda teyamuganya kunkola bubi.

 

Okubala14:22

Kubang abasajja abo bonna abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero bwange bwe nnakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bankema emirundi gino ekkumi, ne batawulira ddoboozi lyange;

 

Danyeri1:12

Nti okemere abaddu bo ennaku kkumi, nkwegayiridde: batuwenga ebijanjalo okulya, n’amazzi okunywa.

 

Yobu 19:3

Mwakanvumira emirundi kkumi:

Temukwatiddwa nsonyi okunzitoweerera.

 

Okubikkulirwa 2:10

Totya by’ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey’obulamu.

 

                                        Era buno bwe bwakabaka ekkumi  

 

1.Roma, 2. Italy, 3. Spain, 4. France, 5. Helui, 6. Astrongoth, 7.Vendal, 8. Portugual, 9. Britain, 10. Germany.

 

Mwavaamu akayembe akaamera mu makkati okuva mu malala ne kaba kakambwe okusinga amalala ne kasimbula asatu (3)

Danyeri 7:8, 20-21, 24-26.

 

Danyeri  7:8,  20-21,  24-26

8 N’akebera amayembe, era, laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne mu maaso gaalyo asatu ku mayembe ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala: era, laba, mu jjembe eryo mwalimu amaaso ng’amaaso g’omuntu, n’akamwa akoogera ebikulu.

20-21

20 n’agayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, n’eddala ery’amera, asatu ne gagwa mu maaso gaalyo: lye jjembe eryo eryalina amaaso, n’akamwa akayogera ebikulu, obukanu bwalyo bwasinga ganaago obugumu. 21 Ne ntunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu, ne libasinga:

24-26

24 N’amayembe ago ekkumi, mu bwakabaka obwo muliva bakabaka kkumi abaligolokoka: n’omulala alibaddirira aligolokoka: naye talifaanana ng’ab’olubereberye, naye aliggyawo bakabaka basatu. 25 Era aly’ogera ebigambo ebibi eri Oyo Ali waggulu ennyo, era aliteganya abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo: era alirowooza okuwanyisa ebiseera n’amateeka: era biriweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera lwe biriggwawo. 26 Naye omusango gulibaawo, era balimuggyako okufuga kwe, okukumalawo n’okukuzikiriza okutusa enkomerero.

 

Buno bwe bufuzi bwa Vatican obuva mu bufuzi bw’abaruumi obujja bufugibwa ba Paapa nga beeyita abalabirizi b’ekkanisa ya Kristo mu nsi yonna, era Bayibuli kye yayita omukazi atudde ku nsolo emmyufu ate ly’ejjembe eryayolekera ensi ey’ekitiibwa ne lituuka eri eggye ery’omu ggulu: n’eby’omu ggye ebimu n’emunyeenye ezimu,  ne lisuulibwa wansi  ne lisambirirwa. Danyeri 8:8-12,23-26, Okubikkulirwa 17:1-6

 

Danyeri 8:8-12, 23-26

8 Embuzi ensajja ne yeegulumiza nnyo: era mu maanyi gaayo ago, ejjembe lyago ekulu mwe lyamenyekera: ne mu kifo kyalyo ne mumera ana agaalabika ennyo agaatunuulira empewo ennya ez’omu ggulu. 9 Ne mu limu mu ago ne muva ejjembe ettono, eryafuuka eddene ennyo, nga lyolekedde obukiika obwa ddyo, n’eri obuvanjuba, n’eri ensi ey’ekitiibwa. 10 Ne lifuuka ddene, n’okutuuka eri eggye ery’omu ggulu: n’ebyomu ggye ery’omu ggulu: n’eby’omu ggye ebimu n’emmunyeenye ezimu ne libisuula wansi, ne libisambirira. 11 weewaawo, lyekuza lyokka, era n’okutuuka eri omukulu w’eggye: ne limuggyako ekiweebwayo  ekyokebwa eky’ennaku zonna, n’ekifo eky’awatukuvu we ne kisuulibwa. 12 N’eggye ne liweebwayo eri eryo awamu  n’ekiweebwayo ekyokebwa  eky’ennaku zonna olw’okwonoona: ne lisuula amazima wansi: ne likola nga bwe lyagala ne liraba omukisa.

23-26

23 Ne mu kiseera eky’enkomerero eky’obwakabaka bwabwe, aboononyi nga batuukiridde, kabaka ow’amaaso  amakambwe, era ategeera ebigambo eby’ekyama, aliyimirira. 24 N’obuyinza bwe buliba bungi, naye si lwa buyinza bwe ye: era alizikiriza kitalo, era aliraba omukisa , era alikola by’alyagala: era alizikiriza  ab’amaanyi  n’abantu abatukuvu. 25 Era olw’amagezi ge alyeza enkwe mu mukono gwe: era alyeegulumiza mu mutima  gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nga mirembe : era aliyimirira okulwanyisa  omulangira w’abalangira: naye alimenyeka awatali ngalo. 26 Era ebikwolesebwa eby’amakya n’amawungeera ebibuuliddwa bya mazima: naye ggwe bikka ku bikwolesebwa: kubanga bya nnaku eziri ewala.

 

Okubikkulirwa 17:1-6

1 Ne wajja omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n’ayogera  nange, ng’agamba nti Jjangu wano, nange naakulaga omusango gw’omwenzi omukulu atuula ku mazzi amangi; 2 bakabaka b’e nsi gwe baayenda naye, n’abo abatuula ku nsi ne bataamiira omwenge gw’obwenzi bwe. 3 N’antwala mu ddungu  mu mwoyo: ne ndaba omukazi, ng’atudde ku nsolo emmyufu, ng’ejjudde amannya ag’obuvvoozi, ng’erina emitwe musanvu n’amayembe kkumi. 4 Omukazi ng’ayambadde olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ayonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu, ng’alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde  emizizo, ye mpitambi ey’obwenzi bwe, 5 ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, NNYINA W’ABENZI  ERA OWE MIZIZO GY’ENSI.

6 Ne ndaba omukazi oyo ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, n’omusaayi gw’abajulirwa ba Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya okwewuunya kunene.

 

Pawulo omutume yayigiriza ku bufuzi buno nga omulanzi, yayogera ku kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo kulina kubeerawo oluvannyuma lw’okubikkulwa kw’obufuzi buno obuva  mu baruumi nga ba paapa be batuula mu ntebe ya Katonda oba eya Mukama waffe Yesu Kristo: era obufuzi buno bwa kusanyizibwaawo n’abafuzi b’ensi ba bwesambe olw’ekiruyi kya Katonda ky’agenda okubassaako. 2Abassessalonika 2:1-15, Danyeri7:10-12, Okubikkulirwa 18:1-24.

 

2Abassessalonika2:1-15

1 Naye tubeegayirira, ab’oluganda, olw’okujja kwa Mukama waffe gy’ali; 2 obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde olw’omwoyo, newakubadde olw’ebbaluwa efaanana ng’evuudde gye tuli, nti olunaku lwa Mukama waffe lutuuse; 3 omuntu yenna tabaliimbanga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga olunaku olwo terujja wabula ng’okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow’okwoonona nga alimala kubikkulwa, omwana w’okuzikirira, 4 aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n’okutuula n’atuula mu yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda. 5 Temujjukira, nga bwe nnali nga nkyali gye muli, nababuulira ebyo? 6Era ne  kaakano ekirobera mukimanyi, alyoke abikkule mu ntuuko ze. 7 kubanga ne kaakano ekyama ky’obujeemu weekiri kikola: wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw’aliggibwawo. 8 Awo omujeemi oli n’alyoka abikkuka, Mukama waffe Yesu gw’alitta  n’omukka ogw’omu kamwa ke; era gw’alizikiriza n’okulabisibwa kw’okujja kwe; 9 naye okujja kw’oyo kuli mu kukola kwa setani n’amaanyi gona n’obubnero n’ebyamagero eby’obulimba, 10 n’okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga tebakkiriza kwagala mazima, balyoke balokoke. 11 Katonda kyava abasindikira okukyamya  okukola, bakkirize eby’obulimba: 12 bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima  naye abasanyukira obutali batuukirivu. 13 Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, aboluganda abagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa omwoyo n’okukkiriza amazima: 14 bye yabayitira n’enjiri yaffe, olw’okufuna ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo . 15 Kale nno, ab’oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaffe.

 

Danyeri 7:10-12

10 Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge:  enkumi n’enkumi  baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimiria mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri  gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera.

 

Okubikkulirwa 18:1-24

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’edoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi mbi ekyayibwa. 3 Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’e nsi  ne bayenda naye, n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe. 4 Ne mpulira eddoboozi  eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu  n’ebibi bye era muleme okuweebwa  ku bibonyoobonyo bye: 5 kubanga ebibi bye  bituuse mu ggulu, era Katonda  ajjukidde ebyoonono bye . 6 Mumusasule oyo nga   naye  bwe yasasula,, era mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe  bwe byali: mu kikompe kyeyatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bwe yeegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona  n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde  nga kabaka, so ssiri nnamwandu,  so ssiriraba nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu   ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka   b’ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba  ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba  omukka gw’okw’okebwa kwe 10 nga bayimiridde wala  olw’entiisa  ey’okubonaabona kwe , nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu  omusango gwo gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omu nsi  bakaaba banakuwala ku lulwe  kubanga tewali muntu akyayagala obuguzi bwabwe; 12 obuguzi  obwa zaabu,  ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n’olugoye  olw’effulungu, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kintu  eky’essanga,  na buli kintu eky’omuti  ogw’omuwendo omungi ennyo, n’eky’ekikomo, n’eky’ekyuma, n’eky’ejjinja eddungi; 13 n’eky’akaloosa,  n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo,  n’omwenge, n’amafuta, n’obutta obulungi, n’engaano, n’ente, n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali  n’abaddu;  n’emyoyo   gy’abantu . 14 N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo  be yagaggawaza, baliyimirira wala  olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera nti zikisaze, zikisaze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu n,olumyufu, era n’ekiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! 17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy’omu nnyanja, ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu  bwe baalaba omukka  ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti kiruwa ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 20 Mumusanyukire, egggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe. 21 Malayika ow’amaanyi n’asitula ejjinja ddene ng’olubengo olunene, n’alisuula mu nnyanja , ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so telirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w’emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde  eddoboozi ly’olubengo teririwulirwa nate mu ggwe 23 newakubadde okutangaala kw’ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’awasa omugole n’eryomugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa. 24 Era n’omusaayi gwa bannabbi n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.

 

Obukulembeze buno bwaleeta eky’obulimba nti Yesu Kristo yalekawo Peetero era basanye baloonde adda mu bigere bya Peetero – kyokka Yesu  Kristo talekangawo Peetero wabula Omwoyo Omutukuvu gwe yasindika nga agenze, y’akola ku byonna okuva olwo ye yadda mu kifo kya Mukama waffe Yesu Kristo ng’omubeezi. Yokaana 16:7-15  

 

Yokaana 16:7-15

7 Naye nze mbagamba mazima; kubasaanira nze okugenda; kubanga nze bwe sigenda, Omubeezi talibajjira; naye  bwendigenda ndimutuma gye muli. 8 Ye bwalijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu, n’olw’omusango; 9 olw’ekibi, kubanga tebanzikiriza nze; 10 olw’obutuukirivu, kubanga ngenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate; 11 olw’omusango, kubanga omukulu w’ensi eno asaliddwa omusango. 12 Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumikiriza kaakano. 13Naye bw’alijja oyo Omwoyo ow’amazima, anaabalungamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by’anaawuliranga: by’anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja. 14 Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n’ababuulira mmwe. 15 Byonna Byonna  Kitange by’ali nabyo  bye byange: kyenvudde  ngamba  nti  Anaatoolanga  ku  byange  n’abuulira  mmwe.

 

Ekiteeso kino amawanga asatu gaakiwakanya era ne  gakigaana ge Helui, Astrongoth ne Vendal kyokka gano agasigaddewo gonna omusanvu (7) gakkiriziganya amawanga asatu(3) okutuusa nga gasaaniddewo ddala ku maaso g’ensi era ge mayembe asatu (3)  agalisigulwa Danyeri 7:7-8.

 

 

Danyeri 7:7-8

7 Oluvannyuma lw’ebyo ne ntunula mu ebyo  bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ensolo ey’okuna, ey’entiisa era ey’obuyinza, era ey’amaanyi amangi ennyo: era yalina amannyo amanene ag’ekyuma: yalya, n’emenyaamenya, n’esambirira ebyasigalawo n’ebigere byayo: era teyafaanana ng’ensolo  zonna  ezaagisooka: era yalina amayembe kkumi. 8 Nakebera amayembe, era, laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne mu maaso gaalyo asatu ku mayembe ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala: era, laba, mu jjembe eryo mwalimu amaaso ng’amaaso g’omuntu, n’akamwa akoogera ebikulu.

 

Era ono Bayibuli gw’eyita Nnabbi w’obulimba oba akayembe akaamera nga kalina akamwa akoogera ebikulu. Ba Paapa nga bakulembera eggwanga lino Vatican, Bayibuli ky’eyita omukazi atudde ku nsolo nga atamidde omusaayi gw’abatukuvu ate ensolo bwe bufuzi bw’abamawanga omusanvu obwaweebwa amaanyi okuva eri setaani ( ogusota ), Okubikkulirwa 13:4.

 

Okubikkulirwa 13:4

Ne basinza ogusota, kubanga gwaawa ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga boogera  nti  Ani  afaanana  ng’ensolo? Era ani ayinza okulwana nayo?

 

Obufuzi bw’ensi Katonda abuyita nsolo kubanga ensolo  entegeera, enneyisa n’ensalawo yaazo y’akabenje. Ezimu zitta, zibba, zisamba, zitomera, ziruma, zirya, ne bye zisesemye, nkambwe zitaagula, z’amaddu, zeevuluga mu bitaba, ezimu zifuluma we zisula, zikola eby’ekyaama  mu lujjudde, tezeeguya, tezisaasira.

Katonda bw’aba ayogera ku nsolo asookera ku mukulembeze, ebiseera ebisiinga enneeyisa ye  n’enkola ye, ne  b’akulembera nabo bwe bakola, bw’aba  mubbi, omuli w’enguzi, omussi n’ebirala ne banne bye bakola era tayinza kubyogerako wadde  okubonereza ababikola kubanga baba bajja kumwogerako , ky’ova olaba Nebukadduneeza yakyusibwa omutima gwe  ku lwa Babulooni; y’ensolo eyaweebwa omutima gw’omuntu, Danyeri 4:34-37, Danyeri 7:4

 

Danyeri 4:34-37

34 Ennaku ezo bwe zaggwa nze Nebukkaduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne ganziramu, ne nnebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe, kubanga okufuga  kwe kwe kufuga okutaliggwaawo , n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe: 35 n’abo bonna abatuula mu nsi abalowooza nga si kintu: era akola nga bw’ayagala mu ggye ery’omu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi: so siwali ayinza okuziyiza omukono gwe, newakubadde okumugamba nti Okola ki? 36 Mu kiseera ekyo amagezi gange ne ganziramu : n’olw’ekitiibwa eky’obwakabaka bwange, obukulu bwange n’okumasamasa kwange ne  binziramu: n’abakungu bange n’abaami bange ne bannoonya; ne nnywezebwa mu bwakabaka bwange, n’obukulu obungi ennyo ne bunnyongerwako. 37 Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza era mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w’e ggulu: kubanga emirimu gye gyonna mazima, n’amakubo ge ga nsonga: n’abo abatambulira mu malala ayinza okubajeeza.

 

Danyeri 7:4

Ey’olubereberye yalinganga mpologoma, era ng’erina ebiwaawaatiro by’empungu: ne ntunula okutuusa ebiwaawaatiro byayo lwe byamaanyibwa, n’eyimusibwa okuva ku nsi, n’eyimirizibwa n’ebigere bibiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima gw’omuntu.

 

Era obufuzi buno obukulemberwa ba Paapa, buzze bulwanyisa amazima ga Bayibuli n’abakkiriza, ekiseera kyatuuka ( Bayibuli oba emizingo) ne bbiggibwawo Paapa eyasooka n’abakkiririzamu n’ateekawo akatabo k’omu kristu kebayita Katikisimu, n’obulala: amazima gabule  era nga  tekyali akkirizibwa kusoma (Bayibuli oba emizingo) Okuggyako obubaka bwa Paapa: oba ebiva ewa paapa; amazima gaakyusibwa n’amateeka ga Katonda n’okulwanyisa abatukuvu okubasinga. Danyeri 7:19-21, Okubikkulirwa 13:6-7.   

 

Danyeri 7:19-21

19 Ne ndyoka njagala okumanya amazima g’ensolo ey’okuna, etaafaanana ng’ezo zonna, ey’entiisa  ennene, amannyo gaayo ga kyuma, n’enjala zaayo za kikomo: eyalya n’emenyaamenya, n’esambirira ebyasigalawo n’ebigere byayo: 20 n’agayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, n’eddala eryamera, asatu ne gagwa mu maaso gaalyo: lye jjembe eryo eryalina amaaso, n’akamwa akayogera ebikulu, obukanu bwalyo bwasinga gannaago obugumu. 21 Ne ntunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu, ne libasinga:

 

Okubikkulirwa 13:6-7

6 N’eyasamya akamwa kaayo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n’eweema ye, n’abatuula mu ggulu. 7 N’eweebwa okulwana n’abatukuvu, n’okubawangula: n’eweebwa obuyinza ku buli kika n’abantu n’olulimi n’eggwanga.

 

1.Okukyusa amateeka ga Katonda n’okulwanyisa abatukuvu okubawangula, kitegeeza nti amazima ga( Bayibuli oba emizingo) gaggyibwawo obufuzi bwa ba Paapa mu biro ebyo n’okutuusa kaakati mu biseera byaffe: amawanga gano n’abafuzi baago awamu n’abatukuvu, abasinga batya ba Paapa bano era n’abasumba abaweereza ba Yesu Kristo abamu bamukkiririzaamu. Era enkola ey’okuggyawo amazima ga Bayibuli oba emizingo yabuna buli wamu. Ebimu ku by’okulabirako  ebiraga nti byaakyusibwa ( okukyusa  amateeeka  ga  Katonda).

Omukulembeze w’e Vatican Paapa y’efuula atabaganya era aleeta emirembe mu kifo kya Mukama waffe Yesu Kristo Omulangira Ow’emirembe. Isaaya 9:6-7

 

Isaaya 9:6-7

6 Kubanga omwana atuzaliddwa ffe; omwana ow’obulenzi aweereddwa ffe; n’okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n’erinnya lye liriyitibwa nti Wa  kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow’amaanyi, Kitaffe ataggwaawo,Omukulu ow’emirembe. 7 Okufuga kwe n’emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku ntebe ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe, okubunyweza, n’okubuwanirira okuva leero n’emirembe n’emirembe. Obunyiikivu bwa Mukama ow’eggye bulituukiriza ekyo.

 

  1. Okulimba nti Mukama waffe Yesu Kristo yalekawo Peetero ng’omusika: era Paapa y’aba amuddira mu bigere, ekitali kituufu era ekitali ky’amazima kubanga Yesu Kristo yasindika Omwoyo Omutukuvu ye mubeezi ayigiriza, ayamba, atabaganya n’ebirala bingi  by’akola  ku  bwa  Yesu  Kristo. Yokaana 14:26

 

Yokaana14:26

Naye  Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitaffe  gw’alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza  byonna  bye  nnabagamba.

 

  1. Okuyigiriza abantu okusinza ebibumbe n’ebifaananyi nga babigeraageranya ne Katonda, Yesu Kristo oba Malyamu so nga Bayibuli ekigaana era Katonda abiwalana emirembe ena (4). Okuva 20:4-5

 

Okuva 20:4-5

4 Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky’ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri  mu mazzi agali wansi w’e ttaka: 5 tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya ba jjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy’oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy’abantu  abankyawa;

 

  1. Okusaba n’okusabanga Malyamu asabire abantu eri Katonda, ekibi ennyo mu maaso ga Katonda kubanga tewali muntu eyali afiiridde abantu n’azuukira okuggyako Yesu Kristo eyaweebwa obuyinza  bwonna  yekka, Matayo 28:18-20.

 

Matayo 28:18-20

18 Yesu n’ajja nayogera nabo, n’agamba nti Mpereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 19 Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigizwa, nga mu babatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’Omwoyo Omutukuvu; 20 nga mubayigiriza okukwatanga byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu  nammwe  ennaku  zonna,  okutuusa  emirembe  gino lwe  giriggwawo.

 

  1. Okuggya abaami mu bifo byaabwe ne biteekebwamu abakyala (Ladies first) ekibaleetedde okufuuka bakyewaggula n’okugwenyuka ennyo mu nyambala n’enneyisa, Olubereberye 2:7,21-24 Peetero 3:1-6, Abaefeso 5:22-23, Olubereberye 3:16

 

Olubereberye 2:7,21-24

7 Mukama Katonda n’abumba omuntu n’enfuufu y’ensi, n’amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw’obulamu; omuntu n’afuuka omukka omulamu.

21 Mukama Katonda n’aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzawo ennyama mu kifo kyalwo. 22 Mukama Katonda n’azimba olubiriizi, lw’aggye mu muntu, okuba omukazi, n’amuleeta eri omuntu. 23 Omuntu n’ayogera nti Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga Mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja. 24 Omuntu kyanavaanga aleka kitawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.

 

1 Peetero 3:1-6

1 Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa za bakazi baabwe; 2 bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez’okutya. 3 Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw’okuluka enviiri n’okunaanika ezaabu n’okwambala engoye; 4 naye omuntu ow’Omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda. 5 Kubanga bwe batyo edda era n’abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera ba bbabwe bennyini: 6  nga Saala bwe yawulira Ibulayimu, ng’amuyita omwami: nammwe muli baana b’oyo, bwe  mukola  obulungi  ne  mutatiisibwa  ntiisa  yonna  yonna.

 

Abaefeso 5:22-23

22 Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. 23 Kubanga omusajja gwe mutwe gwa Mukazi we, era nga Kristo bw’ali  omutwe gw’e Kkanisa, bw’ali  omulokozi  w’omubiri  yennyini.

 

Olubereberye 3:16

N’agamba Omukazi nti okwongera nnaakwongerangako obulumi bwo n’okubeeranga  kwo  olubuto; mu bulumi mw’onozaaaliranga abaana; n’okwegomba  kwo  kunaabanga  eri  omusajja wo,  naye  anaakufuganga.

 

  1. Okujjukira n’okusaba n’okusabira abaafa edda ekitakkirizibwa mu maaso ga Katonda.

 

  1. Okuyigiriza n’okugaana abantu abamu abassasserodooti n’ababiikira okuwasa n’okufumbirwa. Bayibuli ekiyita njigiriza za setaani: 1 Timoseewo 4:1-7

 

1 Timoseewo 4:1-7

1 Naye Omwoyo ayogera  lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza nga bawulira emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa setaani, 2 olw’obunnanfuusi bw’abalimba, nga bookebwa emyoyo gyabwe nga n’ekyuma ekyokya, 3 nga bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriibwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera  ddala amazima. 4 Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, so siwali kya kusuula bwe kitolebwa n’okwebaza: 5 kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n’okusaba. 6 Bw’onojjukizanga ab’oluganda ebyo, onoobanga muweereza mulungi owa Kristo  Yesu, ng’okulira mu bigambo eby’okukkiriza n’ebyokuyigiriza okulungi kwe wagoberera: 7 naye enfumo ezitali za ddiini ez’obusirusiru  z’oba  olekanga. Weemanyiizenga  okutya  Katonda:

 

 

 

Okuggyako

 

(a)Eyazaalibwa  era nga yatondebwa nga mulaawe.

(b)Eyalaayibwa bakabaka, abafuzi oba akabenje.

(c)Eyasalawo yekka ate nga mukulu ategeera era nga amaze okulokoka. Matayo 19:1-12

 

Matayo 19:1-12

1 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, n’ava e Ggaliraaya, n’ajja ku mbibi  y’e Buyudaaya emitala wa Yoludaani; 2 ebibiina ebinene ne bimugoberera; n’abawonyeza eyo. 3 Abafalisaayo ne bajja gy’ali, ba mukeme, nga bagamba nti omuntu ayinza okugoba Mukazi we okumulanga buli kigambo? 4 N’addamu n’agamba nti  Temusoma nti oyo eyabakola olubereberye nga yabakola omusajja n’omukazi, 5 n’agamba nti omuntu kyanavaanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo banaabanga omubiri gumu? 6 obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulangamu. 7 Ne bamugamba nti Kale, Musa ekyamulagiza ki okumuwa ebbaluwa  ey’okwawukananga, alyoke amugobe? 8 N’amugamba nti Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe  Musa kyeyava akkiriza mugobenga bakazi bammwe: naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo. 9 Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw’obwenzi,  n’awasa omulala ng’ayenze; n’oyo awasa eyagobebwa ng’ayenze. 10 Abayigirizwa ne bamugamba nti Ebigambo eby’omusajja ne mukazi we bwe biba bwe bityo,  si kirungi okuwasa. 11 N’abagamba nti Abantu bonna tebayinza kukkiriza kigambo ekyo, wabula abakiweebwa. 12 Kubanga waliwo abalaawe abazaalibwa bwe batyo okuva mu mbuto za bannnyabwe; waliwo n’abalaawe abaalayibwa abantu: waliwo n’abalaawe abeeraawa bokka olw’obwakabaka  obw’omu ggulu. Ayinza okukkiriza  akikkirize.

 

  1. Okukuza n’okuwa ebisolo ekitiibwa, nga embwa mu magye ne Police; embwa esobola okuba n’ebitiibwa ebisinga eby’abantu, nayo nkola ya setaani, kubanga ffe twaweebwa obuyinza okusukkuluma n’okufuga buli kimu. Olubereberye 1:26-28, Olubereberye 9:1-2.

 

Olubereberye 1:26-28

26 Katonda n’ayogera nti Tukole omuntu mu ngeri yaffe,  mu kifaananyi kyaffe; bafugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu n’ente n’ensi yonna na buli ekyewalula ku nsi. 27 Katonda n’atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajjja n’omukazi bwe yabatonda. 28 Katonda n’abawa omukisa: Katonda n’abagamba nti Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby’omu  nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu  ku  nsi.

 

Olubereberye 9:1-2

1 Katonda n’awa Nuuwa n’abaana be omukisa, n’abagamba nti mwalenga mweyongerenga, mujjuze ensi. 2 N’ekitiibwa kyammwe n’entiisa yammwe binabanga ku buli nsolo ey’ensi, ne ku buli nnyonyi eya waggulu; era ne byonna ebijjuza olukalu, n’ebyennyanja byonna, biweereddwayo mu mukono gwammwe.

 

  1. Okukyusa ebirabo ( abantu) Yesu Kristo bye yagabira ekkanisa okugizimba ebitaano (5) 1. Abatume, 2. Bannabbi, 3. Abasumba, 4. Ababuulizi, 5. Abasomesa. Abaefeso 4:9-12 ne bateekawo ekya Paapa, Kalidinaali n’abalabirizi n’ebirala. Era kati n’e Kkanisa ya Kristo ( abalokole) olw’okuwambibwa obulimba nayo yeeteekako eddaala ly’ekitiibwa ky’omulabirizi ( Bishop) kubanga kino ne zi gavumenti zikissaamu ekitiibwa  so nga omulabirizi ( Bishop) kitegeeza omutume oba omusumba yenna ne bw’aba asumba abakulistayo  bataano, oba amakanisa amanene. Abeyita ba Bishop (abalabirizi) mutunnyonyole ffe abalala ffe bawereza bammwe  abadyankoni? 1 Timoseewo 3:1-8.

 

Abaefeso 4:9-12

9( Naye ekigambo ekyo nti Yalinnya, kigamba ki wabula okugamba nti era yakka mu njuyi eza wansi ez’ensi? 10 Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke atuukirize byonna. ) 11 Era oyo n’awa abalala okubeera abatume, n’abalala bannabbi, n’abalala ababuulizi, n’abalala abalunda n’abayigiriza; 12 olw’okutuukiriza abatukuvu, olw’omulimu ogw’okuweereza, olw’okuzimba omubiri gwa Kristo;

 

1 Timoseewo 3:1-8

1 Kyesigwa ekigambo ekyo nti Omuntu  bw’ayagala  obulabirizi, yeegomba omulimu mulungi. 2 Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, ayigiriza; atayombera ku mwenge, atakuba; naye omuwombeefu, atalwana, ateegomba bintu; 4 afuga obulungi ennyumba ye ye, agonza abaana be mu kitiibwa kyonna; 5 ( naye omuntu bw’atamanya kufuga nnyumba  ye ye ayinza atya okujanjaba e kkanisa ya Katonda? ) 6 si oyo eyakakyuka, alemenga okwekulumbaza n’amala agwa mu musango gwa setaani. 7 Era nate kimugwanira okubeeranga n’okutegeezebwa okulungi eri abo ab’e bweru, alemenga okugwa mu kuvumibwa ne mu kyambika kya Setaani. 8 Bwe batyo n’abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimi bbirye, abatanywanga  mwenge  mungi,  sibeegombi  ba  bintu;

 

  1. Okulimba abantu nti eddiini y’aba katoliki ye yasookawo so nga baali bakwese Bayibuli n’emizingo era Martin Luther n’abalala abaabawakanya okutandika okuzzaawo Bayibuli bo nga bataddewo obutabo nga ak’omukristu Katikisimu n’ebirala nga evvangiri: so nga ekyaleeta Yesu Kristo kulokola buli omu okuva mu bibi ng’ayita mu kwenenya n’okwatula era yo Bayibuli teyogera ku kirala wabula kulokola muntu nga sekinnoomu nga amaze okutegeera amazima so si kibinja nga amadiini bwe gakola. Yokaana 3:16-21, Abaruumi 10:1-10.

 

Yokaana 3:16-21

16 Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati n’okuwaayo n’awaayo  Omwana we eyazaalibwa omu  yekka, buli yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwawo. 17 Kubanga Katonda teyatuma mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye. 18 Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusiinga, kubanga takkiriza linnya lya mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda. 19 Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. 20 Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri Omusana, ebikolwa bye bireme okunennyebwa. 21 Naye akola amazima ajja eri Omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.

 

Abaruumi 10:1-10   

Ab’oluganda, kye njagala mu  mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke. 2 Kubanga mbategeeza nga balina okunyikiririranga Katonda, naye si mu kutegeera. 3 Kubanga bwe bataamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebaagondera butuukirivu bwa Katonda. 4 Kubanga Kristo ye nkomerero y’amateeka olw’okuweesa obutuukirivu buli akkiriza. 5 Kubanga Musa awandiika obutuukirivu obuva mu mateeka nti abukola ye aliba omulamu mu bwo. 6 Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti Toyogeranga mu mutima gwo nti Ani alirinnya mu ggulu? ( kwe kuleeta Kristo wansi; ) 7 newakubadde nti Ani  alikka  emagombe? ( kwe kulinnyisa Kristo okuva mu bafu. ) 8 Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwa ko, ne mu mutima gwo: kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira: 9 kubanga bw’oyatula Yesu nga ye Mukama n’akamwa ko, n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda ya muzuukiza mu bafu, olirokoka: 10 Kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.

 

  1. Okwefuula nti Abassaselodooti be basonyiwa buli kibi, nakyo kya bulimba kubanga okusonyibwa kugwa  mu  biti  bino:

 

(a) Waliwo ebyetagisa okwenenyeza Katonda okuyita mu Yesu Kristo era n’akusonyiwa oluusi biyinza okukureetera emitawaana singa obibuulira omuntu yenna. Isaaya 38:1-8

 

Isaaya 38:1-8

1 Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala kumpi n’okufa. Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama. 2 Awo Keezeekiya n’akyusiza amaaso ge  ku ekisenge ne yeegayirira Mukama n’ayogera 3 nti Jjukira kaakano,  Ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga. 4 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Isaaya 5 nti Genda ogambe Keezeekiya nti bw’atyo  bw’ayogera Mukama, Katonda  wa Dawudi kitaawo, nti mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’etaano. 6 Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa Kabaka w’e Bwasuuli: era ndirwanirira ekibuga kino. 7 Era kano ke kanaaba akabonero  gy’oli okuva eri Mukama nga Mukama alikola ekigambo kino ky’ayogedde: 8 laba, nazzaayo ennyuma ekisiikirize ekiri ku madaala, ekikkidde ku madaala ga Akazi awamu, n’enjuba, ebbanga ery’oku madaala ekkumi. Awo enjuba n’eddayo ebbanga  ery’amadaala ekkumi ku madaala ge yali akkiddeko.

 

(b)  Waliwo  by’osobola  okwenenya  gw’osobezza  n’akusonyiwa. Lukka 15:11-24

 

Lukka 15:11-24

11 N’agamba nti waaliwo omuntu eyalina batabani be  babiri: 12 omuto n’agamba kitaawe nti Kitange, mpa omugabo gw’ebintu ogungwanidde. Kale n’abagabira eby’obulamu bwe. 13 Awo oluvannyuma lw’ennaku si nnyingi, oyo omwana omuto n’akunganya ebibye byonna, n’atambula n’agenda mu nsi ey’ewala; n’asaasanyiza eyo ebintu bye mu mpisa embi. 14 Awo bwe yamala okubirya byonna, enjala  nnyingi n’egwa mu nsi omwo, n’atanula okudaagana. 15 N’agenda ne yegatta n’omwami ow’omu nsi eyo; oyo n’amusindika mu kyalo kye  okulundanga embizzi. 16 Ne yeegombanga okukkuta ebikuta by’embizzi bye zaalyanga : ne watabaawo muntu amuwa 17 Naye bwe yeddamu, n’agamba nti Abaweereza bameka ab’empeera aba  kitange abakutta emmere ne balemwa, nange nfiira wano enjala! 18 Nnaagolokoka ne ngenda eri kitange, ne mugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; 19 sikyasanira kuyitibwa mwana wo; nfuula ng’omu ku baweereza bo ab’empeera. 20 N’agolokoka n’ajja eri kitaawe. Naye yali nga akyali wala, kitaawe n’amulengera,  n’amusaasira, n’addukana mbiro, n’amugwa mu kifuba, n’amunywegera  nnyo. 21 Oyo omwana n’amugamba nti Kitange  nnyononye eri eggulu  ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo. 22 Naye kitaawe n’agamba abaddu be nti Mugende muleete  mangu olugoye olusinga zonna; mulumwambaze: mumunaanike empeta ku ngalo, n’engatto mu bigere: 23 muleete n’enyana eya ssava, mugitte, tulye, tusanyuke; 24 kubanga omwana wange  ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye , azaawuse. Ne batandika okusanyuka.

 

(c) Waliwo by’osobola okubuulira omusumba oba Katonda gw’atumye gy’oli nga wenenya   eri Katonda  n’akusabira  mu linya lya Yesu Kristo n’asonyiyibwa. 2 Samwiri12:1-13, Matayo 16:19, Yokaana20:20-23, Yakobo 5:14-15.

 

2 Samwiri 12:1- 13

1Awo Mukama n’atuma Nasani eri Dawudi. N’ajja gy’ali n’amugamba nti Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga ne munne nga mwavu. 2 Omugagga yalina endiga n’ente nnyingi nnyo nnyini: 3 naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k’e ndiga akaluusi ke yagula n’akalera: ne kakulira wamu naye n’abaana be;  kaalyanga ku kamere  ke  ye, ne kanywa ku ndeku ye ye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy’ali nga muwala we. 4 Awo ne wajja omutambuze  eri omugagga oyo, n’alema okutola ku ndiga ze  ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy’ali, naye n’atwala omwana gw’endiga ogw’omwavu, n’agufumbira omusajja azze gy’ali. 5 Awo Dawudi n’asunguwalira nnyo omusajja;  n’agamba Nassani nti Mukama nga bw’ali omulamu, omusajja eyakola ekyo asaanidde okufa: 6 era alizzaawo omwana gw’endiga emirundi ena, kubanga yakola ekyo, era kubanga teyalina kusasiira. 7 Awo Nasani n’agamba Dawudi nti  Ye ggwe. Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri ne nkuggya mu mukono gwa Sawulo; 8 ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba Mukama  wo ne mbakuwa mu kifuba kyo, ne nkuwa ennyumba ya Isiraeri n’eya Yuda; n’ebyo singa bibadde bitono, nandikwongeddeko bino na bino. 9 Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maaso ge ebibi? Osse Uliya Omukiiti n’ekitala n’otwala mukazi we okuba  mukazi wo, n’omutta  n’ekitala eky’abaana ba Amoni. 10 Kale nno ekitala tekiivenga mu nnyumba yo ennaku zonna; kubanga onnyoomye nze n’otwala mukazi wa Uliya Omukiiti okuba mukazi wo. 11Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Laba, ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazi bo mu maaso go ne mbawa muliranwa wo, era alisula ne bakazi bo mu maaso g’enjuba eno. 12 Kubanga ggwe wakikola mu kyama: naye nze ndikola ekigambo ekyo mu maaso ga Isiraeri yenna ne mu maaso g’enjuba. 13 Awo Dawudi n’agamba Nasani  nti Nnyononye Mukama. Nasani n’agamba Dawudi nti Mukam naye aggyewo ekyonono kyo; toofe.

 

Matayo 16:19

Ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu: kyokka kyonna ky’olisiba  ku nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna ky’olisumulula ku nsi kirisumululwa mu ggulu.

 

Yokaana 20:20-23

20 Awo bwe yamala okw’ogera bw’atyo, n’abalaga engalo ze n’embirizi ze. Abayigirizwa be ne baasanyuka, bwe baalaba  Mukama waabwe . 21 Awo Yesu n’abagamba nate nti Emirembe gibe mu mmwe : nga Kitange Bwe  yantuma nze, nange  bwe ntyo mbasindika mmwe. 22 Bwe yamala okwogera ekyo, n’abassiza omukka, n’abagamba nti Mutoole Omwoyo Omutukuvu: 23 be munaggyangako ebibi bonna, baggibwako; be munaasibirangako ebibi bonna, basibirwa.

 

Yakobo 5:14-15

14 Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? ayitenga abakadde b’e kkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe: 15 n’okusaba kw’okukkiriza kulirokola omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa: era oba nga yakola ebibi  birimuggibwako.

 

(d) Oba nga mwasoowagana oba okusobyagana mwenenyezagana  mwekka na mwekka ne musonyiwagana mwekka na mwekka era ne Katonda abasonyiwa. Yakobo 5:16

 

Yakobo 5:16

Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw’omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo.

 

  1. Okwegulumiza n’okwetikkira ebitiibwa nga agakoofiira n’emiggo oluusi n’okugibakwatira ebiraga okwegulumiza n’okwefuula abatuukirivu n’ebirala bingi nnyo ebyaggyawo amazima ate nga Katonda agaana okwegulumiza n’okugulimizibwa. Lukka 16:15

 

Lukka 16:15

N’abagamba nti Mmwe muumwo abeefuula abatuukirivu mu maaso g’abantu; naye Katonda amanyi emitima gyammwe; kubanga ekigulumizibwa  mu bantu kya muzizo mu maaso ga Katonda.

 

  1. Okuleeta enkola egatta amadiini, eky’obulimba bwa setaani, era eky’okulabirako ekirungi wano mu Uganda Abapolotesitanti baddayo mu ndagaano y’okutambuza Omusalaba. N’ebirala n’amadiini amalala era n’abalokole (Pentecostal) abaawambibwa olw’okw’egonza ne bayingira mu ndagaano y’omuwendo lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666) baamala dda okwegatta mu nzikiriza z’amadiini nga Bayibuli bw’egamba nti ku balonde ba Katonda abeegonza baliyingira mu ndagaano ne baleka endagaano ya Katonda (Amazima) Danyeri 11:32-36, Okubikkulirwa 14:9-10.

 

Danyeri 11:32-36

32 N’abo abakola obubi nga baleka endagaano alibakyamyakyamya  n’okwegonza: naye abantu  abamanyi Katonda waabwe baliba n’amaanyi, balikola eby’obuzira. 33 N’abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi: naye ekitala n’omuliro, okusibibwa n’okunyagibwa, biribagwisa ennaku nnyingi. 34 Awo bwe baligwa, balibeerwa n’okubeerwa  okutono: naye bangi abalyegatta nabo n’okwegonza. 35 N’abamu ku abo abalina amagezi baligwa okubawoomya, n’okubalongoosa, n’okubatukuza, okutuusa ku kiseera eky’enkomerero: kubanga kya kiseera ekyalagirwa ekitannatuuka. 36 Ne kabaka alikola nga bw’ayagala: alyegulumiza, alyekuza okusinga Katonda yenna, era alyogera eby’ekitalo ku Katonda wa bakatonda: era aliraba omukisa okutuusa obusungu lwe bulituukirira: kubanga  ebyateesebwa  birikolebwa.

 

Okubikkulirwa 14:9-10

9 Ne Malayika omulala ow’okusatu n’abagoberera, ng’ayogera n’eddoboozi ddene nti Omuntu yenna bw’asinza ensolo n’ekifananyi kyayo, era bw’akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe, 10 oyo naye alinywa ku mwenge ogw’obusungu bwa Katonda, obufukibwa  ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky’obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n’ekibiriiti mu maaso ga bamalayika  abatukuvu  ne  mu  maaso  g’Omwana  gw’endiga:

 

Era kino mu ggwanga lyaffe Uganda kyavaayo mu lujjudde nga kifulumira  mu mawulire aga Dailymonitor eyafuluma ku lw’okutaano nga 5/12/2014 ku muko ogw’omwenda (9) nga galaga ekibiina ky’abalokole abamu era n’abalala Katonda bagenda  okubikkula.  Danyeri 11:32-34. 

 

Danyeri 11:32-34

32 N’abo abalikola obubi nga baleka endagaano alibakyamyakyamya n’okwegonza: naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n’amaanyi, balikola eby’obuzira. 33 N’abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi: naye ekitala n’omuliro, okusibibwa n’okunyagibwa, biribagwisa ennaku nnyingi. 34 Awo bwe baligwa, balibeerwa n’okubeerwa  okutono: naye bangi abalyegatta nabo okwegonza.

 

Kati kye kiseera Paapa aliwo aveeyo  mu lujjudde yeenenye ku lw’e byo era ategeeze ensi nti naye munnabyabufuzi era ye mukulembeze  wa Vatican.

 

                                         OKUKYUUKA KW’OMULEMBE

 

Katonda alina enteekateeka  ennungi eri buli anaagonda mu kukyuuka kw’omulembe. Katonda bw’aba akyusa omulembe oluvannyuma lw’okwonoona ennyo (obujeemu) alonda omuntu annyoomebwa n’amussaako ekisa era n’amugattako abanyoomebwa n’abateekateeka asobole okubakozesa okukyuusa omulembe, n’enkola baddewo n’agidibya oba okugyongeramu ebirungo: asobole okukomya obujemu n’akamanyiiro era n’asala omusango nga bw’ayagala.

 

Eby’okulabirako

 

1.Omulembe gwa Nuuwa abantu bwe beeyonoona ekisusse, Katonda yaleeta enkola yakuzimba lyato n’asala omusango nga ekibonerezo gaali mataba agataasosola   mukulu  oba  muto. Olubereberye 6:1-8, 11-14

 

Olubereberye 6:1-8,11-14

1 Awo abantu bwe basooka okweyongera ku nsi, ne bazaala abaana ab’obuwala, 2 abaana ba Katonda ne balaba abawala b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda. 3 Mukama  n’ayogera nti omwoyo gwange teguwakanenga na muntu  emirembe  n’emirembe, kubanga  naye  gwe mubiri: naye ennaku ze ziribaemyaka kikumi mu  abiri. 4 Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b’abantu, ne babazaalira abaana: bano be b’amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira. 5 Mukama n’alaba obubi bw’omuntu nga bungi mu nsi , na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo. 6 Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n’anakuwala mu mutima gwe. 7 Mukama n’ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n’e nsolo, n’ekyewalula n’ekibuuka waggulu; kubanga nejjusiza  kubanga  nnabikola. 8 Naye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.

11-14

11 Ensi n’eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n’ejjula eddalu. 12 Katonda n’alaba ensi, ng’eyonoonese; kubanga ekirina omubiri yonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi. 13 Katonda n’agamba Nuuwa nti  Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde eddalu ku lwabwe; kale, laba, ndibazikiriza wamu n’e nsi. 14 Weekolere e lyato n’omuti goferi; osalangamu  ennyumba  mu    lyato, osiige   munda  ne kungulu envumbo. 

 

Olubereberye 7:1,6,17

1 Mukama n’agamba Nuuwa nti Yingira ggwe n’ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga  nkulabye  ng’oli  mutuukirivu  mu  maaso  gange  mu  mirembe  gino.

6 Naye Nuuwa yali nga yaakamala emyaka lukaaga, amataba ag’amazzi bwe gaabeera  ku  nsi.

17 Amataba ne gabeera ku nsi ennaku amakumi ana; amazzi negeeyongera ne gasitula  eryato,  ne liwanikibwa  waggulu  w’ensi.

 

2.Omulembe gwa Lutti e Sodoma ne Ggomola bwe beeyonoona olw’ebisiyaga yaleeta enkola ya kuva mu bitundu ebyo ebibonerezo muliro n’okufuuka empagi y’omunnyo, teyataliza muto na mukulu  awamu  ne  mukyala  wa Lutti  n’amaka gabakoddomi be   abawasa bawala be                                                                                                                                       abalala.    Olubereberye 19:12-26.

 

Olubereberye 19:12-26

12 Abasajja ne bagamba Lutti nti olina nate wano abalala? Mukoddomi wo, n’abaana bo, ab’obulenzi n’abobuwala, ne bonna b’olina mu kibuga; bafulumye mu kifo muno: 13 Kubanga tunaazikiriza  ekifo kino, kubanga okukaaba kwabwe kweyongedde nnyo mu maaso ga Mukama; era Mukama yatutumye okukizikiriza. 14  Lutti n’afuluma n’ayogera ne bakoddomi be, abaawasa bawala be, n’agamba nti mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama anaazikiriza ekibuga. Naye yalinganga asaaga eri bakoddomi be. 15 Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bamwanguyiriza Lutti, nga boogera nti Golokoka, otwale Mukazi wo, n’abaana bo abawala bombi abali wano: oleme okuzikirizibwa mu butali butuukurivu  obw’ekibuga 16 Naye n’alwa; abasajja ne bamukwata ku mukono  gwe neku mukono gwa Mukazi we, ne ku mukono gw’abawala be bombi; Mukama  ng’amusaasira : ne bamuggyamu, ne bamuleeta ebweru w’ekibuga. 17 Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, n’ayogera nti Dduka oleme okufa; totunula  nnyuma wo, so tolwa mu lusenyi lwonna; ddukira ku lusozi, oleme  okuzikirizibwa. 18 Lutti n’agamba nti nedda, mukama wange, nkwegayiridde: 19 laba nno, omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, era agulumizizza okusasira kwo, kwondaze ng’omponya nneme okufa; ne siyinza kuddukira ku lusozi luno, akabi kaleme okuntukako ne nfa: 20 laba nno, ekibuga ekyo kwe kumpi okukiddukiramu, era kye kibuga ekitono: nkwegayiridde, nzirukire omwo, (  si kitono? ), n’obulamu bwange buliwona. 21 N’amugamba nti Era nkukkirizza ne mu kibuga ekyo, obutasuula kibuga ky’oyogeddeko. 22 Yanguwako,  oddukire omwo; kubanga siyinza kukola kigambo, nga tonnatuuka omwo. Erinnya ly’ekibuga kyeryava liyitibwa Zowaali. 23 Enjuba yali ng’emaze okuvaayo ku nsi Lutti bwe yatuuka mu Zowaali. 24 Mukama n’alyoka attonnyesa  ku Sodoma ne ku Ggomola omuliro n’ekibiriiti nga biva mu ggulu; 25 n’asuula ebibuga ebyo,  n’olusenyi lwonna, n’abo bonna abaatuulanga mu bibuga, n’ebyo ebyamera ku ttaka. 26 Naye Mukazi we n’atunula ennyuma we  ng’amuvaako ennyuma, n’afuuka empagi  ey’omunnyo.

 

  1. Omulembe gwa Musa, enkola yali ya kukozesa muggo, ebibonererzo kufiira mu ddungu mu ngeri ez’enjawulo. Okuva 4:1-3, Okuva 14:1-4, 30, Okubala 16:1-11, 26-32.

 

Okuva 4:1-3

1Musa n’addamu n’ayogera nti Naye, laba, tebalinzikiriza so tebaliwulira ddoboozi lyange: kubanga balyogera nti Mukama teyakulabikira. 2 Mukama n’amugamba nti Kiki ekiri mu mukono gwo?  N’ayogera nti  Muggo. 3 N’ayogera nti Gusuule wansi. N’agusuula wansi, ne gufuuka omusota: Musa n’adduka mu maaso gaagwo.

 

Okuva 14:1-4,30

1 Mukama n’amugamba Musa, ng’ayogera nti 2 Bagambe abaana ba Isiraeri badde ennyuma basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n’ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni:  emitala w’eri mulisula ku mabbali g’ennyanja. 3 Falaawo aliboogerako abaana ba Isiraeri nti Bazingiziddwa mu nsi,  eddungu libasibye. 4 Nange Falaawo Ndimukakanyaza omutima, alibagoberera ennyuma waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n’Abamisiri balimanya nga nze Mukama. Bwe batyo bwe baakola.

30 Bw’atyo Mukama n’alokola Isiraeri ku lunaku luli mu mukono gw’Abamisiri;  Isiraeri ne balaba  Abamisiri  nga  bafudde  ku   mabbali  g’ennyanja.

 

Okubala 16:1-11, 26-32

1 Awo Koola, mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu, ne Oni, mutabani wa Peresi, batabani ba Lewubeeni, ne batwala abantu: 2 ne bagolokoka mu maaso ga Musa, wamu n’abalala  ab’oku baana ba Isiraeri, abakulu b’ekibiina bibiri mu ataano, abayitibwa mu kungaaniro, abasajja abayatikirira: 3 ne beekunganyiza ku Musa ne ku Alooni ne bagamba nti Muyinga okwekuza, kubanga ekibiina kyonna kitukuvu, buli muntu ku bo, era Mukama ali mu bo: kale mwegulumiriza ki okusiinga ekibiina kya Mukama? 4 Awo Musa bwe yakiwulira n’avuunama amaaso ge: 5 n’agamba Koola ne banne bonna  nti Enkya  Mukama anaalaga ababe bwe bali, n’omutukuvu bw’ali, era anaamusembeza gy’ali: oyo gw’a naalonda anaamusembeza gy’ali. 6 Mukole bwemuti; muddire ebyoterezo Koola ne banne bonna; 7 muteeke omwo omuliro, mubiteekeko obubbane mu maaso ga Mukama enkya: kale olunaatuuka omuntu Mukama gw’anaalonda ye anaaba  omutukuvu: muyinga okwekuza, mmwe batabani ba Leevi. 8 Musa n’agamba Koola nti Muwulire nno, mmwe batabani  ba leevi: 9 kyali kitono gye muli Katonda wa Isiraeri okubaawula mu kibiina kya Isiraeri, okubasembeza gy’ali; okukolanga okuweereza okw’omu nnyumba ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina okubaweereza: 10 n’okusembeza ggwe ne baganda bo bonna batabani ba Leevi wamu naawe?  era munoonya n’obwakabona? 11 Kyemuvudde mukungaanira ku Mukama ggwe ne banno bonna: ne Alooni ye ani mmwe okumwemulugunyiza?

26-32

26 N’agamba ekibiina nti Mbegayiridde, muve ku weema ez’abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyonna ku byabwe, muleme okuzikirizibwa mu bibi byabwe byonna. 27 Awo ne bagolokoka okuva ku nnyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu, enjuyi zonna: Dasani ne Abiraamu ne bafuluma, ne bayimirira ku mulyango gw’eweema zaabwe, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n‘abaana baawe abato. 28 Musa n’agamba nti ku kino kwe munaategeerera nga Mukama yantuma okukola  emirimu gino gyonna; kubanga saayima mu magezi gange nze okugikola. 29 Abantu bano bwe balifa ng’ abantu  bonna bwe bafa bulijjo, oba bwe balijjirwa ng’abantu bonna bwe bajjirwa; kale Mukama nga teyantuma. 30 Naye Mukama bw’anaakola ekigambo ekiggya, ettaka  ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n’ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng’abantu bano bannyoomye Mukama. 31 Awo olwatuuka, bwe yali ng’agenda okumala okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka ne lyatika eryali wansi waabwe: 32 ensi n’eyasama  akamwa kaayo, n’ebamira, n’ennyumba zaabwe, n’abantu bonna  aba  Koola,  n’ebintu  byabwe  byonna.

 

  1. Omulembe gwa Yoswa, enkola yali ya kusitulanga Ssanduuko y’endagaano ku bibegabega n’okugikulembezanga. Yoswa 3:1-11.

 

Yoswa 3:1-11

1 Yoswa n’akeera enkya n’agolokoka, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n’abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka. 2 Awo ennaku ssatu bwe zaayita abaami ne bayita wakati mu lusiisira; 3 ne balagira abantu, nga boogera nti Bwe munaalaba e Ssanduuko  ey’endagaano ya Mukama Katonda wammwe, ne bakabona abaleevi nga bagyettisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera. 4 Naye wanaabaawo ebbanga wakati wammwe nayo, ng’emikono enkumi bbiri egigerebwa: temugisemberera, mulyoke mumanye ekkubo eribagwanidde okuyitamu; kubanga okutuuka kaakano temunnayita mu kkubo lino. 5 Yoswa n’agamba abantu nti Mwetukuze: kubanga enkya  Mukama anaakola eby’amagero mu mmwe. 6 Yoswa  n’agamba bakabona, ng’ayogera nti musitule e ssanduuko ey’endagaano, musomoke mukulembere  abantu. Ne basitula e ssanduuko ey’endagaano ne bakulembera abantu. 7 Mukama  n’agamba Yoswa nti Leero naatanula okukugulumiza mu maaso ga Baisiraeri  bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa,bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe. 8 Era onoolagira bakabona abasitula e ssanduuko ey’endagaano, ng’oyogera nti Bwe munaatuuka ku mabbali g’amazzi aga Yoludaani, munayimirira mu Yoludaani. 9 Yoswa n’agamba abaana ba Isiraeri nti mujje wano, muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammmwe. 10 Yoswa n’ayogera nti ku kino kwe munamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n’Abakiiti, n’Abakiivi, n’Abaperizi, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abayebusi. 11 Laba, e ssanduuko ey’endagaano ya Mukama w’ensi zonna, abakulembera okusomoka Yoludaani.

 

  1. Omulembe gwa Dawudi, Katonda yaleeta enkola ya kulonda mayinja ataano (5) naye nga yalina kukozesaako limu lyokka okutta omufirisuuti; ebibonerezo kwali kubonaabona n’abalala kufa nga ne kabaka Sawulo talutoonze n’abaana be . 1Samwiri 17:10,40,49-51, 2 Samwiri1:1- 4.

 

1 Samwiri 17:10,40,49-51

10 Omufirisuuti n’ayogera nti Nsoomozezza eggye lya Isiraeri leero: mumpe omusajja tulwane fembi.

40 N’addira omuggo gwe mu mukono gwe, ne yeerondera amayinja amaweewevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo y’omusumba gye yalina, mu ndyanga  ye; n’envuumuulo ye yali mu mukono gwe: n’asemberera omufirisuuti.

49 Awo Dawudi n’ayingiza engalo ze mu nsawo ye n’aggyamu ejjinja n’alivuumuula n’akuba omufirisuuti ekyenyi; ejjinja ne liyingira mu kyenyi kye, n’agwa nga ye vuunise. 50 Awo Dawudi n’awangula bw’atyo omufirisuuti n’envuumuulo n’ejjinja, n’akuba omufirisuuti n’amutta; naye nga temuli kitala mu mukono gwa Dawudi. 51 Awo Dawudi n’adduka mbiro n’ayimirira ku mufirisuuti, n’addira ekitala kye n’akisowola mu kiraato kyakyo, n’amutta n’amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuti bwe baalaba omuzira waabwe ng’afudde ne badduka.

 

2 Samwiri 1:1- 4

1 Awo lwatuuka Sawulo ng’amaze okufa, Dawudi ng’akomyewo nga amaze okutta Abamaleki, era Dawudi ng’amaze ennaku bbiri e Zikulagi: 2 awo olwatuuka ku lunaku olw’okusatu, laba, omusajja n’ava mu lusiisira eri Sawulo ng’ayuzizza ebyambalo bye n’ettaka nga liri ku mutwe gwe: awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n’avuunama ne yeeyanza. 3 Dawudi n’amugamba nti Ova wa? N’amugamba nti mponye mu lusiisira lwa Isiraeri. 4 Dawudi n’amugamba nti Byali bitya? Nkwegayiridde mbuulira. N’addamu nti Abantu badduse mu lutalo, era  n’abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde  nabo.

 

6 Omulembe gwa Yokaana omubatiza enkola yali ya kudda mu ddungu kubuulira njiri ya kwenenya na kubatiza n’okulindirira Mukama waffe Yesu Kristo. Lukka 3:3-14.

 

Lukka 3:3-14

3 N’ajja mu nsi yonna eriranye Yoludaani, ng’abuulirira okubatizibwa okw’okwenenya olw’okuggibwako ebibi; 4 nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya  Nabbi  Isaaya  nti

Eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose

Oluguudo lwa Mukama,

Mulungamye amakubo ge.

5 Buli kiwoonvu kirijjuzibwa,

Na buli lusozi n’akasozi biriterezeebwa:

N’ekikyamye kirigololwa,

N’amakubo agatali masende galitereezebwa;

6 N’abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.

7 Awo n’agamba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa ye nti

Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 8 kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliranga Ibulayimu  abaana. 9 Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro. 10 Ebibiina ne bamubuuza nga bagamba nti kale tukole ki? 11 N’addamu n’abagamba nti  Alina ekkanzu ebbiri, amuweko emu atalina, n’alina emmere akole bw’atyo. 12 N’abawooza ne bajja okubatizibwa, ne bamugamba nti Omuyigiriza tukole ki ? 13 N’abagamba nti Temusoloozanga kusukkiriza okusinga bwe mwalagirwa. 14 Era basserikale ne bamubuuza, nga bagamba nti Naffe tukole ki? N’abagamba nti Temujooganga muntu so temukanga; era empeera yammwe ebamalenga.

 

  1. Omulembe gwa Mukama waffe Yesu Kristo ng’ali ku nsi enkola yali ya kwenenya n’okubatizibwa n’amazzi era yagyongeramu okubatizibwa n’Omwoyo n’omuliro. Matayo 3:11-12.

 

Matayo 3:11-12

11 Nze mbatiza na mazzi olw’okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange yaansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n’Omwoyo omutukuvu n’omuliro. 12 Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikungaanyiza engaano mu ggwanika, naye ebisusuunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.

 

  1. Omulembe gwaffe ogusembayo gwayongerwamu omuti ogw’obulamu, ebibonerezo, bibonyoobonyo oba okufa. Okubikkulirwa 22:1-2, Malaki 3:1-7, Danyeri 7:9-12, Abaebulaniya 12:26-29, Okubikkulirwa 14:17-19, Okubikkulirwa 18,19.

 

Okubikkulirwa 22:1-2

1 N’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu nga gumasamasa ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n’ey’Omwana  gw’endiga, 2 wakati w’oluguudo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti ogw’obulamu, ogubala ebibala ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga.

 

Malaki 3:1-7

1 Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo  mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya  alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw’ayogera Mukama w’eggye. 2 Naye ani ayinza okugumikiriza olunaku olw’okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga alinganga omuliro gw’oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow’aboozi: 3 era alituula ng’oyo alongoosa effeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng’ezaabu  n’effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu. 4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayitawo. 5 Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n’eri abenzi n’eri abalayira eby’obulimba; n’eri abo abalyazaamanya omupakasi empeera ye, nnamwandu n’atalina kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw’ayogera Mukama w’eggye. 6 Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe , batabani ba Yakobo, kye muva mulema okumalibwawo. 7 Okuva ku nnaku za bajjajja mmwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw’ayogera Mukama w’eggye. Naye mwogera nti Tunadda tutya?

 

Danyeri 7:9-12

9 Ne ndaba  okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde  eyaakamala  ennaku ennyingi n’atuula: abyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga ogw’omuliro ne  gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi  akakumibaayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ly’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera:  ne ntunula okutusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera.

 

Abaebulaniya 12:26-29

26 eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n’eggulu. 27 N’ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n’ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n’okwegendereza n’okutya: 29 kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya. 

 

 

 

Okubikkulirwa 14:17-19

17 Ne malayika omulala n’ava mu yeekaalu ey’omu ggulu, naye ng’alina ekiwabyo eky’obwogi. 18 Ne malayika omulala n’ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba oyo alina ekiwabyo eky’obwogi, ng’ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky’obwogi, onoge birimba by’omuzabbibu  gw’ensi; kabanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala. 19 Ne malayika n’asuula ekiwabyo kye ku nsi, n’anoga omuzabbibu gw’ensi, n’akisuula mu ssogolero eddene ery’obusungu bwa Katonda.

 

Okubikkulirwa 18:1-24

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni  ekinene, ne kifuuka ekisulo kye balubaale,  n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa. 3 Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’ensi ne bayenda naye,  n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe. 4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme  okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 5 kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye. 6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi  ebiri. 7 Nga bwe yeegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama  Katonda wa maanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’ensi, bayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka gw’okwokebwa kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe  nga boogera nti Zikisanze, zikisanze ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu  omusango gwo gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi  bwabwe; 12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n’olugoye olw’effulungu, ne aliri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu,  na buli kintu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’eky’ekikomo, n’eky’ekyuma,  n’eky’ejjinja eddungi; 13 n’eky’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge, n’amafuta,  n’obutta obulungi, n’engaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi,  n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’etiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa  bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ekiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! 17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi    nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy’omu nnyanja, ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka  ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti kiruwa ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala,  nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina  ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo  gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 20 Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe  bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe. 21 Malayika ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene ng’olubengo olunene,  n’alisuula mu nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w’emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’olubengo teririwulirwa nate mu ggwe.. 23 newakubadde okutangaala kw’ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’awasa omugole n’ery’omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali  balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa. 24 Era n’omusaayi gwa bannabbi n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.  

 

Okubikkulirwa 19:1-21

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira ng’eddoboozi eddene ery’ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; obulokovu, n’ekitiibwa, n’obuyinza bye bya Katonda waffe: 2 kubanga emisango gye gya Mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n’obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly’omusaayi gw’abaddu be mu mukono gw’oyo. 3 Omulundi ogw’okubiri ne boogera nti Aleruuya. N’omukka gwe gunyooka emirembe n’emirembe.  4 N’abakadde amakumi abiri mu abana n’ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya. 5 N’eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mumutendereze Katonda  waffe, mmwe mmwenna abaddu be, abamutya, abato n’abakulu. 6 Ne mpulira ng’eddoboozi ly’ekibiina ekinene,  era ng’eddoboozi ly’amazzi amangi, era  ng’eddoboozi  ly’okubwatuka okw’amaanyi, nga byogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w’ebintu byonna afuga. 7 Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw’Omwana gw’endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese. 8 N’aweebwa  okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa by’obutuukirivu eby’abatukuvu. 9 N’angamba nti  Wandiika nti Baweereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga ey’obugole bw’Omwana gw’endiga. Ne nvuunama mu maaso g’ebigere bye okumusinza. N’angamba nti laba tokola  bw’otyo:  ndi muddu munno era ow’omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.

11Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne me butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa  nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.

17 Ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukungaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18 mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n’ennyama ey’abagabe, n’ennyama ey’ab’amaanyi, n’enyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama eya bonna abeddembe era n’abaddu, n’abato n’abakulu. 19 Ne ndaba ensolo, ne bakabaka  b’e nsi n’eggye lyabwe nga bakungaanye okulwana n’oyo eyali atudde ku mbalaasi n’eggye lye. 20 Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow’obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y’ensolo, n’abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey’omuliro eyaka n’ekibiriiti: 21 n’abasigalawo ne battibwa ne kitala ky’oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n’ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yabwe.

 

                 OMUTI GW’OBULAMU OGW’OKUWONYA AMAWANGA

                             ( ABALOKOLE N’ABATALI BALOKOLE)

                                          OKUBIKKULIRWA 22:1-2

 

Enkola eno y’egenda okuwonya abantu mu bibonyoobonyo bafune obulamu obweyagaza  eri  buli  an’akkiriza  okwenenya  n’okigondera  Yesu Kristo.

Omuti ogw’obulamu mu ntandikwa y’okutonda ensi Katonda mwe yali afugira omuntu nga alina obulamu n’emirembe. Olubereberye 2:6-17.

 

Olubereberye 2:6-17

6 naye olufu ne lulinya okuva ku nsi, ne lutonnya amazzi ku nsi yonna. 7 Mukama Katonda n’abumba omuntu n’enfuufu y’ensi, n’amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw’obulamu; omuntu n’afuuka omukka omulamu. 8 Mukama Katonda n’asimba olusuku mu Adeni  ku luuyi olw’ebuvanjuba; n’ateeka omwo omuntu gwe yabumba. 9 Mukama Katonda n’ameza ku nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya; n’omuti ogw’obulamu wakati mu lusuku, n’omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi. 10 Omugga ne gusibuka mu Adeni okufukiriranga amazzi mu  Lusuku; ne gwawukanamu ne gufuuka emitwe ena. 11 Ogw’olubereberye erinnya lyagwo Pisoni; ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavina, erimu zaabu; 12 ne zaabu  ey’omunsi eri ennungi: mulimu bedola n’amayinja Sokamu. 13 N’erinnya ly’omugga ogw’okubiri Gidoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kkuusi. 14 N’erinnya ly’omugga ogw’okusatu Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g’e Bwasuli. N’omugga ogw’okuna Fulaati. 15 Mukama Katonda n’atwala omuntu, n’amuteeka mu lusuku Adeni alulimenga alikuumenga. 16 Mukama Katonda n’alagira omuntu n’amugamba  nti Buli muti ogw’omulusuku olyangako nga bwonooyagalanga: 17naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi  togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.

 

Bayibuli egulaga mu bitabo bino bye mbikkuliddwa, Olubereberye 2:9,Isaaya 11:1-3, Ezeekyeri 47:12, Danyeri 7:9-13, Malaki 3:1-12, Ezeekyeri 20:40-41, Okubikkulirwa 22:1-2.

 

Olubereberye 2:9

Mukama Katonda n’ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya; n’omuti ogw’obulamu wakati mu lusuku, n’omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi.

 

Isaaya 11:1-3

1 Era mu kikolo kya Yese muliva ensibuka, n’ettabi eririva mu mmizi gye liribala ebibala: 2 n’omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo gw’okuteesa n’amaanyi, omwoyo ogw’okumanya n’okutya Mukama; 3 n’okutya Mukama kw’alisanyukira: so taasalenga misango  ng’okulaba kw’amaaso ge bwe kunaabanga, so taanenyenga  ng’okuwulira  kw’amatu ge bwekunaabanga:

 

Ezeekyeri 47:1-12

1 Awo n’anzizaayo ku luggi olw’ebuvanjuba; kale, laba, amazzi gaasibuka nga  gava wansi w’omulyango ogw’ennyumba ebuvanjuba, kubanga obwenyi bwe nnyumba bwayolekera obuvanjuba: amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw’ennyumba  olwaddyo ku luyi olw’ekyoto olw’obukiika obwa ddyo. 2 Awo n’anfulumiza mu kkubo ery’omulyango obukiika obwa kkono, n’antwala nannetoolooza mu kkubo ery’ebweru okutuuka ku mulyango ogw’ebweru mu kkubo ery’omulyango  ogutunuulira ebuvanjuba; era, laba, amazzi nga gakulukutira ku luuyi olwa ddyo. 3 Omusajja bwe yavaamu ng’agenda ebuvanjuba  ng’akutte omugwa mu mukono gwe, n’agera emikono lukumi, n’ampisa mu mazzi, amazzi agakoma mu bukongovvule. 4 Nate n’agera lukumi, n’ampisa mu mazzi,  amazzi agakoma mu maviivi. Nate n’agera lukumi n’ampisa mu mazzi, amazzi  agakoma mu kiwato. 5 Oluvannyuma n’agera lukumi; ne guba mugga gwe saayinza kusomoka: kubanga amazzi gaali gatumbidde, amazzi ag’okuwugirira, omugga ogutayinzika kusomokeka. 6 N’angamba nti omwana w’omuntu, olabye? Awo n’antwala nanzizaayo ku lubalama lw’omugga. 7 Awo bwe nnali nga nzizeeyo, laba, ku lubalama lw’omugga nga kuliko emiti mingi nnyo eruuyi n’eruuyi. 8 Awo n’angamba nti Amazzi gano gasibuka okugenda mu njuyi ez’ebuvanjuba, era galiserengeta mu Alaba: era galigenda eri ennyanja; mu nnyanja amazzi gye galidda agaasibusibwa; era amazzi galiwonyezebwa. 9 Awo olulituuka buli kintu ekiramu kye gajjula mu buli kifo emigga gye girituuka kiriba kiramu; era walibaawo olufulube lw’ebyennyanja lungi nnyo: kubanga amazzi gano gatuuse eyo, n’amazzi ag’omu nnyaja galiwonyezebwa na buli kintu kiriba kiramu buli  omugga gye gunaatuukanga. 10 Awo olulituuka abavubi baliyimirira ku mabbali gaagwo: okuva Engedi okutuuka e Negulayimu waliba ekifo eky’okusuuliramu emigonjo; eby’ennyanja byabwe biriba ng’engeri zaabyo bwe biriba, okwenkana ebyennyanja ebiri mu nnyanja ennene, bingi nnyo nnyini. 11 Naye ebifo eby’ettosi n’emigga gyagwo tebiriwonyezebwa; biriweebwayo eri omunnyo. 12 Era ku mugga ku lubalama lwagwo eruuyi n’eruuyi kulimera buli muti ogubaako emmere ogutaliwotoka malagala gagwo, so n’ebibala byagwo tebiriggwawo: gulibala ebibala biggya buli mwezi kubanga amazzi gaagwo gava mu watukuvu: n’ebibala byagwo biriba mmere, n’amalagala gaagwo galiba ga ddagala kuwonya.

 

Danyeri 7:9-13

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku  ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’okumutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omuga ogw’omuliro ne gitiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11Ne ntunula mu biro ebyo olw’edoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ebisera. 13  Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era laba, ne wajja omu eyafaanana ng’Omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge.

 

Malaki 3:1-12

1 Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange;  era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw’ayogera Mukama w’eggye. 2 Naye ani ayinza okugumikiriza olunaku olw’okujja kwe?  Era ani aliyimirira ye bwalirabika?  Kubanga alinganga omuliro gw’oyo alongoosa  effeeza, era nga sabbuni ow’aboozi; 3 era alituula ng’oyo alongoosa effeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa  batabani ba leevi, era alibasengejja  ng’ezaabu  n’effeeza; awo baliwayo eri Mukama ebiweebwayo  mu butuukirivu. 4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama  nga mu naku ezedda era nga mu myaka egyayitawo. 5 Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n’eri abenzi n’eri abalayira eby’obulimba; n’eri abo abalyazamanya omupakasi empeera ye, nnamwandu n’atalina  kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw’ayogera Mukama w’eggye. 6 Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe batabani ba Yakobo  kyemuva mulema okumalibwawo. 7 Okuva  mu nnaku za bajjajjammwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gyendi, nange nnadda gye muli, bw’ayogera Mukama w’eggye. Naye mwogera nti Tunadda tutya? 8 omuntu alinyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwanyagako ebitundu eby’ekkumi n’ebiweebwayo. 9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze,  eggwanga lino lyonna. 10 Muleete ekitundu ekyekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme  nakyo, bw’ayogera Mukama w’eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli  eby’omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya. 11 Era ndinenya omuli ku lwammwe, so talizikiriza  bibala bya ttaka lyammwe; so n’omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinatuuka, bw’ayogera Mukama w’eggye. 12 Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw’ayogera Mukama w’eggye.

 

Ezeekyeri 20:40-41

40 Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi olw’entikko ya Isiraeri, bw’ayogera Mukama Katonda, okwo ennyumba yonna eya Isiraeri, bo bonna, kwe malimperereza mu nsi; eyo gye ndibakkiririza, era eyo gye ndibasalira ebiweebwayo byammwe n’ebibala ebibereberye eby’ekitone byammwe wamu n’ebintu byammwe byonna ebitukuvu. 41 Ndibakkiriza ng’akaloosa, bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakungaanya okubaggya mu nsi mwe mwasasanyizibwa; kale  nditukuzibwa  mu  mmwe  mu maaso g’amawanga.

 

Okubikkulirwa 22:1-2

1 N’andaga omugga og’amazzi ag’obulamu, ogumasamasa ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda  n’ey’Omwana gw’endiga, 2 wakati w’oluguddo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti ogw’obulamu, ogubala ebibala ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga.

 

Baibuli eraga omugga ogw’amazzi ag’obulamu oguva mu ntebe ya Katonda  n’omwana gw’endiga awamu n’omuti ogw’obulamu (eddagala) Okubikkulirwa 22:1-2,Malaki 3:1-7.

 

Okubikkulirwa 22:1-2

1 N’andaga Omugga ogw’amazzi ag’obulamu, ogumasamasa ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n’ey’Omwana gw’endiga, 2 wakati w’olugudo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga Omuti og’obulamu, ogubala ebibala ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga.

 

Malaki 3:1-7

1 Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw’ayogera Mukama w’eggye. 2 Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku lw’okujja kwe? Era ani aliyimirira ye bwalirabika? Kubanga alinganga omuliro gw’oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni w’aboozi: 3 era alituula ng’oyo alongoosa effeeza nagimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza; awo baliwaayo eri Mukama  ebiweebwayo mu butuukirivu. 4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yeusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayitawo. 5 Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n’eri abenzi n’eri abalayira eby’obulimba; n’eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye, nnamwandu n’atalina kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw’ayogera Mukama  w’eggye. 6 Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo. 7 Okuva ku nnaku za bajjajjammwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw’ayogera Mukama w’eggye. Naye mwogera nti Tunadda tutya?

 

Kitegeeza bufuzi bwa Katonda okudda ku nsi ngaYesu Kristo tanadda.

Zabbuli 2:1-12, Zabbuli 110:1-7, Isaaya 2:1-5, 11-12, 17-21, Isaaya 60:12, Danyeri 2:43-45, Danyeri 7:9-13,13,18,22,26-27, Mikka 4:1-3, Mikka 14:9, 1Abakkolinso 15:23-25, Abafiripi 2:9-11, Abaebulaniya 12:25-27, okibikkulirwa11:15-19, Okubikkulirwa 19:11-16, Okubikkulirwa 21:24-26.

 

Zabbuli 2:1-12

1Kiki ekibagugumusizza ab’amawanga,

N’abantu kiki ekibalowozesezza ekitaliimu?

2 Bakabaka b’ensi beeteeseteese,

N’abafuga bateesezza ebigambo wamu,

Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti

3 Ka tumenyeemenye enjegere zaabwe,

Tusuule wala emigwa gyabwe.

4 Atuula mu ggulu aliseka,

Mukama alibaduulira.

5 Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe,

Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:

6 Naye naateeka kabaka wange

Kulusozi lwange olutukuvu Sayuni.

7 Ekiragiro ndikibuulira:

Mukama yangamba nti Ggwe oli mwana wange;

Leero nkuzadde.

8 Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo,

N’ensonda z’ensi okubeera amatwale go.

9 Olibimenya n’omuggo ogw’ekyuma;

Olibyasayasa ng’entamu ey’omubumbi.

10 Kale kaakano mubeere n’amagezi, mmwe bakabaka:

Muyige, mmwe abasala omusango gw’ensi.

11 Muweereze Mukama n’okutya,

Era musanyuke n’okukankana.

12 Munnywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne

Mubula mu kkubo,

Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu.

Balina omukisa bonna abamweyuna ye.

 

Zabbuli110:1-7

1 Mukama agamba Mukama wange nti

Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,

Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe  y’ebigere byo.

2 Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi go okuva mu Sayuni:

Ggwe fugira wakati mu balabe bo.

3 Abantu bo beewayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo:

Mu bulungi obw’obutuukirivu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo,

Oguva mu lubuto olw’enkya.

4 Mukama yalayira, so talyejjusa,

Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna

Ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga,

Alijjuza ebifo emirambo;

Alifumita emitwe mu nsi ennyingi.

7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo:

Kyaliva ayimusa omutwe.

 

 

Isaaya 2:1-5,11-12-17-21

1 Ekigambo  Isaaya  omwana  wa  Amozi  kye  yalaba  ku Yuda ne Yerusaalemi.

2 Awo olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, olusozi olw’ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y’ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo. 3 Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anatuyigiriza ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze: kubanga mu Sayuni mwe mulifuluma amateeka, n’ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 4 Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala, eri eggwanga linnalyo, so tebaliyiga kulwana nate.

5 Mmwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu musana gwa Mukama.

11-12

11 Okulalambala kw’abantu kuliwanulibwa, n’amalala g’abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. 12 Kubanga walibaawo olunaku  lwa Mukama ow’eggye eri ebyo byonna ebyekuza ebirina amalala, n’eri byonna  ebigulumizibwa; era biriwanulibwa:

17-21

17 Era okugulumizibwa kw’abantu kulikutamizibwa, n’amalala g’abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. 18 N’ebifaananyi biriggwerawo ddala. 19 Era abantu baligenda mu mpuku ez’amayinja, ne mu bunnya obw’ettaka, okuva mu maaso g’entiisa ya Mukama, ne mu maaso g’ekitiibwa ky’obukulu bwe, bw’aligolokoka okukankanya ensi n’amaanyi. 20 Ku lunaku olwo omuntu alisuulira ddala ebifaananyi bye eby’effeeza n’ebifaananyi bye eby’ezaabu, bye baamukolera okusinzanga, eri emmese n’eri ebinyira; 21 bagende  mu mpuku ez’amayinja, ne mu nkoonko ez’amayinja amaatifu, okuva mu maaso g’entiisa ya Mukama, ne mu maaso g’ekitiibwa ky’obukulu bwe, bw’aligolokoka okukankanya ensi n’amaanyi.

 

Isaaya 60:12

Kubanga eggwanga eryo n’obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwawo; weewaawo, amawanga  ago  galizikirizibwa  ddala.

 

Danyeri 2:43-45

43 Era kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery’ettosi, balyetabula n’ezzadde ly’abantu: naye tebaligattagana bokka na bokka, era ng’ekyuma bwe kiteetabula na bbumba.

44 Era mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda  w’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna. 45 Kubanga walaba ejjinja nga lyatemebwa mu lusozi awatali ngalo, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu ategeezezza kabaka ebiribaawo oluvannyuma: era ekirooto kya mazima ddala, n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.

 

Danyeri 7:9-13,18,22,26-27

9 Ne ndaba okutuusa ntebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri  ez’okumutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira  mu maaso ge: Omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri  gwaayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo  ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13 Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa  ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’Omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde  eyaakamala  ennaku  ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge.

18,22,26-27

18 Naye Abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, era balirya obwakabaka emirembe n’emerembe, era n’okutuusa  emirembe  gyonna.

22 Okutuusa omukadde eyaakamala ennaku ennyingi lwe yajja, omusango ne gubasalirwa abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo; ebiro n’ebituuka abatukuvu ne balya obwakabaka.

26 Naye omusango gulibaawo, era balimuggyako okufuga kwe, okukumalawo n’okukuzikiriza okutuusa enkomerero. 27 N’obwakabaka n’okufuga n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu lyonna, abantu ababatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo balibiweebwa: obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n’amatwale  gonna  galimuweereza  galimuwulira.

 

Mikka 4:1-3

1 Naye mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu. 2 Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’engudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n’ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe  okuba  enkumbi n’amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebayigenga kulwana nate.

 

1 Abakkolinso 15:23-25

23 Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe. 24 Enkomerero n’eryoka etuuka bw’aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw’aliba ng’amaze okuggyawo okufuga kwonna n’amaanyi gonna n’obuyinza. 25 Kubanga kimugwanira okufuganga  okutuusa  lw’alissa  abalabe  be  bonna  wansi  w’ebigere bye.

 

Abafiripi 2:9-11

9 Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n’amuwa erinnya  liri erisinga amannya gonna; 10 buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omuggulu n’eby’oku nsi n’ebya wansi w’ensi, 11 era buli lulimu lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda kitaffe  aweebwe ekitiibwa.

 

Abaebulaniya 12:25-27

25 Mwekuume obutaganaanga ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng’ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng’ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka: 26 eyakankanya ensi n’eddoboozi  lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n’eggulu. 27 N’ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyizibwa,  ng’ebyakolebwa, ebitakakanyizibwa biryoke bibeerewo.

 

Okubikkulirwa 11:15-19

15 Malayika ow’omusanvu n’afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n’emirembe. 16 N’abakadde amakumi abiri mu bana, abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda, 17 nga boogera nti Tukwebaza ,  ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi,  n’ofuga. 18 Amawanga ne gasunguwala, n’obusungu bwo ne bujja, n’entuuko ez’okusaliramu omusango gw’abafu, n’ez’okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n’abatukuvu, n’abatya erinnya lyo, abato n’abakulu;  n’ez’okwonooneramu aboonona ensi. 19 Ne Yeekaalu  ya Katonda ey’omu ggulu n’ebikkulwa; ne walabika mu yeekaalu ye e ssanduuko y’endagaano ye;  ne wabaawo okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka n’ekikankano  n’omuzira mungi.

 

Okubikkulirwa 19:11-16

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era nga alina erinnya  eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi:  n’erinnya lye ne liyitibwa kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru  ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA W’ABAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.        

 

 

 

 

Okubikkulirwa 21:24-26

24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga n’akatono emisana ( kubanga eyo ekiro tekiibengayo ); 26 era balireeta ekitiibwa n’ettendo ery’amawanga mu kyo:

 

Omuti guno ogw’obulamu batono nnyo abagutegedde ne bagukozesa era nze omu ku abo abaweereddwa omukisa okusooka okumanya okukozesa eddagala lino. Era obujulizi weebuli kyokka abaakagutegeerako si bangi mu Uganda ne mu nsi yonna.

 

                   OKUGAZIYAAKO  KATONO  KU MUTI  OGW’OBULAMU

                                             OKUBIKKULIRWA 22:1-2

 

Okubikkulirwa 22:1-2

1 N’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu, ogumasamasa  ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n’ey’Omwana gw’endiga, 2 wakati w’olugudo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi  ew’omugga omuti ogw’obulamu, ogubala ebibala  ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga.

 

Omuti ogw’obulamu ku lubereberye Katonda mwe yali afugira omuntu gwe yatonda n’amussa mu  lusuku Adeni, ng’alina okuba omulamu n’okubeera obulungi ennyo singa yali yeegenderezza n’okukuuma ebiragiro. Olubereberye 2:9, 16-17

 

Olubereberye 2:9,16-17

9 Mukama Katonda n’ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya; n’omuti ogw’obulamu wakati mu lusuku, n’omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi.

16-17

16 Mukama Katonda n’alagira omuntu  n’amugamba nti Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onoyagalanga: 17 naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi  togulyangako: kubanga  olunaku  lw’oligulyako tolirema kufa.

 

Era Katonda gwe yateekateeka okuwonya mu mulembe ogusembayo nga Yesu Kristo tannadda oba nga akyatudde ku mukono ogwa ddyo ne Katonda kitaffe mu ggulu. Zabbuli110:1-7, Abafiripi2:10-11, Okubikkulirwa 22:1-2.

 

Zabbuli 110:1-7

1 Mukama  agamba  Mukama  wange  nti

Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,

Okutuusa  lwe  ndifuula  abalabe  bo  entebe  y’ebigere  byo.

2 Mukama  alisindika  omuggo  ogw’amaanyi  go  okuva  mu  Sayuuni:

Ggwe fugira wakati mu balabe bo.

3 Abantu bo beewayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo:

Mu bulungi obw’obutuukirivu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo,

Oguva mu lubuto lw’enkya.

4 Mukama yalayira, so talyejjusa,

Nti Ggwe oli Kabona emirembe gyonna

Ng’engeri ya Merukizeddeeki bweri.

5Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga,

Alijjuza ebifo emirambo;

Alifumita omutwe mu nsi nnyingi.

7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo:

Kyaliva ayimusa omutwe.

 

Abafiripi 2:10-11

10 buli vviivi lifukamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omu ggulu n’eby’oku nsi n’ebya wansi w’ensi, 11 era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda kitaffe aweebwe ekitiibwa.

 

Okubikkulirwa 22:1-2

1 N’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu, ogumasamasa ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n’ey’Omwana gw’endiga, 2 wakati w’olugudo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti ogw’obulamu, ogubala ebibala  ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti  ga kuwonya amawanga.

 

Omuti guno gwa kuwonya mawanga, be bantu bonna  abalokole  n’abatali balokole mu buli kizibu kyonna gamba : ndwadde, bibonyoobonyo eri buli anaagonda n’akkiriza: era anaagaana w’akubonaabona okutuusa lw’alifa. Danyeri 7:10, Abaebulaniya 12:25-29, Okubikkulirwa 14:6-19, Okubikkulirwa18,19

 

Danyeri 7:10

Omugga gw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne bibikkulibwa.

 

Abaebulaniya 12:25-29

25 Mweekuume obutagaanaga  ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng’ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng’ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka: 26 eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n’eggulu. 27 N’ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa , ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n’ekisa, kituwerezese okuweereza okusimibwa Katonda n’okwegendereza n’okutya: 29 kubanga Katoda waffe gwe muliro ogwokya.

 

 

Okubikkulirwa 14:6-19

6 Ne ndaba malayika omulala ng’abuuka mu bbanga ery’omu ggulu ng’alina enjiri ey’emirembe n’emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu, 7 ng’ayogera n’eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola  eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi. 8 Ne malayika omulala ow’okubiri n’ayogera nti Kigudde kigudde Babulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwakyo.

9 Ne malayika omulala ow’okusatu n’abagoberera, ng’ayogera n’eddoboozi ddene nti omuntu yenna bw’asinza ensolo n’ekifaananyi kyayo, era bw’akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe, 10 oyo naye alinywa ku mwenge ogw’obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky’obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n’ekibiriiti mu maaso ga ba malayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’endiga: 11 n’omukka ogw’okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe; so tebalina kuwummula  emisan n’ekiro abasinza ensolo n’ekifaananyi kyayo, na buli akkiriza enkovu y’erinnya lyayo. 12 Awo we wali okugumiikiriza kw’abatukuvu, abakwata ebiragiro bya Katonda n’okukkiriza kwa Yesu. 13 Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okutanula leero; weewaawo, bw’ayogera Omwoyo, balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo.

14 Ne ndaba, era, laba, ekire ekyeru; ne ku kire ne ndaba atudde eyali afaanana ng’Omwana w’omuntu, ng’alina ku mutwe gwe engule eya zaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky’obwogi. 15 Ne malayika omulala n’ava mu yeekaalu, ng’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba oyo atudde ku kire nti Teekako ekiwabyo kyo, okungule: kubanga ekiseera eky’okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa by’ensi bikaze. 16 N’oyo atudde ku kire n’asuula  ekiwabyo kye ku nsi, n’ensi n’ekungulibwa.

17 Ne malayika omulala n’ava mu Yeekaalu ey’omu ggulu, naye ng’alina ekiwabyo eky’obwogi. 18 Ne malayika omulala n’ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba oyo alina ekiwabyo eky’obwogi,  ng’ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky’obwogi, onoge ebiriimba by’omuzabbibu gw’ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala. 19 Ne malayika n’asuula ekiwabyo kye ku nsi, n’anoga omuzabbibu gw’ensi, n’akisuula mu ssogolero eddene ery’obusungu bwa Katonda.

 

Okubikkulirwa 18:1-24

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa. 3 Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’ensi ne bayenda naye, n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe.

4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonoobono bye: 5 kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye, 6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe byali:  mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bwe yeegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala;  kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku nakatono. 8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera ntu Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gw’akyo gutuuse. 11 N’abatuunzi ab’omu nsi bakaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe; 12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n’olugoye olumufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kintu aky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’eky’ebikomo, n’eky’ekyuma, n’eky’ejjinja eddungi; 13 n’eky’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge,  n’amafuta, n’obutta obulungi, n’engaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera ntu Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era  n’ekiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! 17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja ne bonna abakola emirimu  egy’omu nnyanja, ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti kiruwa ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 20 Mumusanyukire, eggulu,  nammwe abatukuvu n’ammwe abatume nnammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe. 21 Malayika ow’amaanyi n’asitula ejjinja ddene  ng’olubengo olunene, n’alisuula mu nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w’emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’olubengo teririwulirwa nate mu ggwe 23 newakubadde okutangaala kw’etabaaza tekulitangaala   nate mu ggwe; newakubadde  eddoboozi ly’awasa omugole n’ery’omugole  teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalumbibwa. 24 Era n’omusaayi gwa bannabbi n’abatukuvu n’ogwa bonna abattibwa ku nsi gwalabika mu ye.

 

Okubikkulirwa 19:1-21

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira eddoboozi eddene ery’ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; obulokovu, n’ekitiibwa, n’obuyiinza bye bya Katonda waffe: 2 kubanga emisango gye gya mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omukulu, eyayonoona ensi n’obwenzi bwe, era awooledde eggwnga ly’omusaayi gw’abaddu be mu mukono gw’oyo. 3 Omulundi ogw’okubiri ne boogera nti Aleruuya. N’omukka gwe gunyooka emirembe n’emirembe. 4 N’abakadde amakumi abiri mu bana n’ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya. 5 N’eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti  Mumutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n’abakulu. 6 Ne mpulira ng’eddoboozi ly’ekibiina ekinene, era ng’eddoboozi ly’amazzi amangi, era ng’eddoboozi ly’okubwatuka okw’amaanyi,  nga by’ogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda  waffe Omuyinza w’ebintu byonna afuga. 7 Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw’omwana gw’endiga butuuse ne mukazi we yeeteeseteese. 8 N’aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa by’obutuukirivu eby’abatukuvu. 9 N’angamba nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga ey’obugole bw’Omwana gw’endiga. N’angamba nti Ebyo bye bigambo eby’amazima  ebya Katonda. 10 Ne nvuunama mu maaso g’ebigere bye okumusinza. N’angamba nti laba, tokola bw’otyo: ndi muddu munno era ow’omubaganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutgeeza kwa Yesu  gwe mwoyo gw’obunnabbi. 11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse;  era, laba, embalaasi enjeru n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka,  ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya rye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambade bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye  n’ekukisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA W’ABAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.

17 Ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu ne ddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukungaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18 mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n’ennyama y’abalonde, n’ennyama ey’ab’amaanyi, n’ennyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama eya bonna ab’eddembe era n’abaddu, n’abato n’abakulu. 19 Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’ensi, n’eggye lyabwe nga bakungaanye okulwana n’oyo eyali atudde ku mbalaasi n’eggye lye. 20 Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow’obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y’ensolo, n’abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey’omuliro eyaka n’ekibiriiti: 21 n’abaasigalawo ne battibwa n’ekitala  ky’oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n’ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe.

 

Omuti guno Danyeri yagulagulako dda era Baibuli ky’eyita omukadde eyaakamala ennaku ennyingi( the acient of the days ) n’atuula ku ntebe  omusango ne gusalibwa enkumi n’enkumi bamuweereza. Danyeri 7:9-12,21-22.

 

 

Danyeri 7:9-12,21-22

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’okumutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga gw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge : enkumi n’enkumi  baamuweereza,  n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera.

21-22

21 Ne ntunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu, ne libasinga: 22 okutuusa omukadde eyaakamala ennaku ennyingi lwe yajja, omusango negusalirwa abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo; ebiro ne bituuka abatukuvu ne balya obwakabaka.

 

Omusango okusalibwa kitegeeza nti buli muntu avunaanibwa bye yakola, bakadde be, bajjajjabe, ebitundu, eggwanga, obuweereza era ekyo ky’ekitegeeza  omugga gw’omuliro okutiiriika okuva mu ntebe y’omukadde, okuggyawo obwakabaka obunyenyezebwa, okussawo obutanyenyezebwa n’ebibonyoobonyo. Danyeri 7:9-12, Abaebulaniya 12:25-29, Okubikkulirwa 18:1-24, Okubikkulirwa 19:1-21.

 

Danyeri 7:9-12

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali ng’omuzira, n’enviiri ez’okumutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo  ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa  ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwaazo ne kuziggibwako : naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera.

 

Abaebulaniya 12:25-29

25 Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe baatalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng’ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng’ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka: 26 eyakankanya ensi n’eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng’ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya si nsi yokka,  naye era n’eggulu. 27 N’ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo  ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo. 28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka  obutakankanyizibwa, tubenga n’ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa  Katonda n’okwegendereza n’okutya: 29 kubanga Katonda waffe gwe muliro ogw’okya.

 

 

Okubikklirwa 18:1-24

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi: n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti  Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera lya buli dayimooni, n’ekkomera  lya buli nnyonyi mbi ekyayibwa. 3 Kubanga olw’omwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b’ensi ne bayenda naye, n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe. 4 Ne mpulira eddobbozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 5  kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye. 6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bwe yeegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja olunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda w’amaanyi  eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’ensi, balikaaba balikuba ebowoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omu nsi bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyagula obuguzi bwabwe; 12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kintu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo,  n’eky’ekikomo, n’eky’ekyuma, n’eky’ejjinja eddungi; 13 n’eky’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge, n’amafuta, n’obutta obulungi, n’engaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali g’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebikyalabika nate. 15 Abatunzi b’ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene,  ekyayambazibwa bafuta ennungi n’olugoye olw’efulungu n’olumyufu, era n’ekiyonjebwa  ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! 17 kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy’omu nnyanja, ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu bwe balaba omukka ogw’okwokebwa kwe, nga boogera nti Kiruwa ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba  nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna  kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi,  kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 20 mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda  amusalidde omusango gwammwe. 21 Malayika Ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene ng’olubengo olunene, n’alisuula mu nnyanja, ng’ayogera nti Babulooni, ekibuga, bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate. 22 Newakubadde eddoboozi ly’abakubi b’ennanga n’abalina ebivuga n’abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere teririwulirwa nate mu ggwe; newakubadde omugezi w’emirimu gyonna gyonna talirabika nate mu ggwe, newakubadde eddoboozi ly’olubengo teeririwulirwa nate mu ggwe 23 newakubadde okutangaala kw’ettabaaza  tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly’awasa omugole n’ery’omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo  amawanga gonna gaalimbibwa. 24 Era n’omusaayi gwa bannabbi n’abatukuvu n’ogwa  bonna  abattibwa  ku  nsi  gwalabika mu ye.

 

Okubikkulirwa19:1-21

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira  ng’eddoboozi eddene ery’ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; Obulokovu, n’ekitiibwa, n’obuyinza bye bya Katonda waffe: 2 kubanga emisango gya mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n’obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly’omusaayi gw’abaddu be mu mukono gw’oyo. 3 Omulundi ogw’okubiri ne boogera nti Aleruuya.  N’omukka gwe gunyooka emirembe n’emirembe. 4 N’abakadde amakumi abiri mu bana n’ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya. 5 N’eddoboozi ne liva mu ntebe , nga lyogera nti mumutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n’abakulu. 6 Ne mpulira ng’eddoboozi ly’ekibiina ekinene, era ng’eddoboozi ly’amazzi amangi, era ng’eddoboozi ly’okubwatuka okw’amaanyi, nga boogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w’ebintu byonna afuga. 7 Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw’Omwana gw’endiga butuuse, ne mukazi e yeteeseteese. 8 N’aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu. 9 N’angamba nti wandiika nti Baweereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga ey’obugole bw’Omwana gw’endiga. N’angamba nti ebyo by e bigambo eby’amazima ebya Katonda. 10 Ne nvuunama mu maaso g’ebigere bye  okumusinza. N’angamba nti laba tokola bw’otyo: ndi muddu munno era ow’omubaganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro  ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era nga alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde  ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru,  nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA W’ABAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.

17 Ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje  mukungaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18 mulyoke mulye ennyama y’abakabaka, n’ennyama y’abagabe, n’ennyama ey’ab’amaanyi, n’ennyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama eya bonna ab’eddembe era n’abaddu, n’abato n’abakulu. 19 Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’ensi, n’eggye lyabwe nga  bakungaanye okulwana n’oyo  eyali  atudde ku mbalaasi n’eggye lye . 20 Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow’obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y’ensolo, n’abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey’omuliro eyaka n’ekibiriiti: 21 n’abaasigalawo ne battibwa n’ekitala ky’oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n’ennyonyi  zonna  ne  zikkuta ku nnyama yaabwe.

 

Ekitabo kya Danyeri kiraga bulungi nga Mukama waffe Yesu Kristo nga tannadda mu mulembe ogusembayo, Katonda yategeka okuzzaawo enkola eyasooka mu lubereberye ey’omuti gw’obulamu ng’akozesa; Omwoyo we Omutukuvu okubikkula ennono ekkumi n’ebbiri ng’emiryango ekkumi n’ebiri, luulu kkumi nabbiri, era bye bibala ekkumi n’ebibiri ku muti gw’obulamu ebitegeeza eddagala ( Acient of the days). Olubereberye 2:9, Danyeri 7:9-12, Malaki 3:1-7, Okubikkulirwa 21:1-2, 24-26  ne  Okubikkulirwa  22:1-2.

 

Olubereberye 2:9

Mukama Katonda n’ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya; n’omuti ogw’obulamu wakati mu lusuku, n’omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi.

 

Danyeri 7:9-12

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi  n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera.

 

Malaki 3:1-7

1 Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebaayiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw’ayogera Mukama w’eggye. 2 Naye ani ayinza okugumikiriza olunaku lw’okujja kwe? era ani aliyimirira ye bwalirabika? Kubanga alinganga omuliro gw’oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow’aboozi: 3 era alituula ng’oyo alongoosa effeeza,  n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu. 4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama  nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayitawo. 5 Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n’eri abenzi n’eri abalayira eby’obulimba; n’eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye, nnamwndu n’atalina kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya bw’ayogera Mukama w’eggye. 6 Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.

7 Okuva mu nnaku za bajjajjammwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga, Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw’ayogera Mukama

w’eggye. Naye mwogera nti Tunadda tutya?

 

Okubikkulirwa 21:1-2,24-26

1 Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya: kubanga eggulu ery’olubereberye n’ensi ey’olubereberye nga bigenze: n’ennyanja nga tekyaliwo. 2 Ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng’omugole ayonjereddwa bba.

24-26

24 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga n’akatono emisana ( kubanga eyo ekiro tekibeengayo); 26 era balireeta ekitiibwa n’ettendo ery’amawanga mu kyo.

 

Okubikkulirwa 22:1-2

1 N’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu , ogumasamasa  ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n’ey’Omwana gw’endiga, 2 wakati w’olugudo lwakyo. Era eruuyi n’eruuyi ew’omugga omuti ogw’obulamu, ogubala ebibala ekkumi n’ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n’amalagala g’omuti ga kuwonya amawanga.

 

Era ekitabo kyebikolwa by’Abatume kiraga bulungi nti nga Mukama waffe Yesu Kristo tannadda, Katonda yateekawo ebiro eby’okulongoosezaamu byonna, kwe kuwonyezebwa  kw’omuti gw’obulamu. Ebikolwa by’Abatume 3:19-23

 

Ebikolwaby’Abatume 3:19-23

19 Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby’okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke; 20 naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu, 21 eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby’okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mukamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye. 22 Musa yagaba nti Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by’alibagamba. 23 Olulituuka buli mwoyo ogutaliwulira nnabbi oli gulizikirizibwa mu ggwanga.

 

Omwoyo Omutukuvu ng’awonyeza mu nnono ekkumi n’ebbiri (12) eri abantu bonna, olwo  ebiro  bituuke  Mukama waffe Yesu Kristo ajje. Danyeri 7:13

 

Danyeri 7:13

Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era,laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge.

 

                    

                          

ENKUMI  N’ENKUMI  OKUMUWEEREZA

 

       Danyeri 7:9-10, Malaki 3:1-11, Malaki 4:5-6, Okubikkulirwa 6, 7, 8.

 

Danyeri 7:9-10

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka.10 Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi kakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa.

 

Malaki 3:1-11

1 Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tabamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw’ayogera Mukama w’eggye. 2 Naye ani ayinza okugumikiriza olunaku olw’okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga alinganga omuliro gw’oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow’aboozi: 3 era alituula ng’oyo alongoosa effeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu. 4 Awo ekiweebwayo kya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayitawo. 5 Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n’eri abenzi n’eri abalayira  eby’obulimba; n’eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye, nnamwandu n’atalina kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw’ayogera Mukama w’eggye. 6 Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.

7 Okuva mu nnaku za bajjajjammwe ga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw’ayogera Mukama w’eggye. Naye mwogera nti Tunadda tutya? 8 Omuntu alinyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwanyagako ebitundu eby’ekkumi n’ebiweebwayo. 9 Mukolimiddwa ekikolimo  ekyo; kubanga munnyaga nze eggwanga lino lyonna. 10 Muleete ekitundu eky’ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere,  era munkeme  nakyo, bw’ayogera Mukama w’eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli  eby’omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya. 11 Era ndinenya omuli ku lwammwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n’omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala bya gwo mu nnimiro  entuuko nga tezinnatuuka, bw’ayogera Mukama w’eggye.

 

Malaki 4:5-6

5 Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw’entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. 6 Era alikyusa omutima gwa ba kitaabwe eri abaana, n’omutima gw’abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n’ekikolimo.

 

Okubikkulirwa 6:1-17

1 Ne ndaba Omwana gw’endiga bwe yabembula ku bubonero omusanvu ko akamu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n’eddoboozi ery’okubwatuka nti Jjangu. 2 Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n’oyo atuddeko ng’alina omutego; n’aweebwa  engule: n’agenda ng’awangula, era awangula.

3 Bwe yabembula akabonero ak’okubiri, ne mpulira ekiramu eky’okubiri nga kyogera nti  Jjangu. 4 N’evaayo embalaasi endala eya lukunyu: era oyo eyali atuddeko n’aweebwa okuggyako emirembe ku nsi, era battingane bokka na bokka: n’aweebwa  ekitala  ekinene.

5 Bwe yabembula akabonero ak’okusatu ne mpulira ekiramu eky’okusatu nga kyogera ntu Jjangu. Ne  ndaba,era, laba, enbalaasi enzirugavu; n’eyali atuddeko ng’alina ekigera mu mukono gwe. 6 Ne mpulira ng’eddoboozi wakati w’ebiramu ebina nga lyogera nti Ekiyi ky’engaano kya ddinaali, n’ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali; amafuta n’omwenge so tobyoonona.

7 Bwe yabembula akabonero ak’okuna, ne mpulira eddoboozi ly’ekiramu eky’okuna nga ky’ogera nti Jjangu. 8 Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu; n’eyali atuddeko, erinnya lye kufa: ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu eky’okuna eky’ensi; okutta n’ekitala n’enjala n’olumbe n’ensolo z’ensi. 9 Bwe yabembula akabonero ak’okutaano, ne ndaba wansi w’ekyoto emyoyo gyabwe abattibwa olw’ekigambo kya Katonda, n’olw’okutegeeza kwe baalina: 10 ne boogerera waggulu n’eddoboozi ddene, nga boogera nti Olituusa wa, Mukama, Omutukuvu era Ow’amazima, obutasala musango n’obutawalana ggwanga olw’omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi? 11Ne bawebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.

12 Bwe yabembula akabonero ak’omukaaga, ne ndaba, ne waba ekikankano kinene; enjuba n’eddugala ng’olugoye olw’ebyoya, n’omwezi gwonna ne guba ng’omusaayi; 13 n’emunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng’omutiini bwe gukunkumula amagu gaagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi. 14 N’eggulu ne liggibwawo, ng’omuzingo gwe kitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n’ekizinga ne bigibwawo mu bifo byabyo. 15 ne bakabaka bensi, n’abalangira, n’abagabe, n’abagagga, n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow’eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag’oku nsozi; 16 ne bagamba ensozi n’amayinja nti Mutugweko, mutukise mu maaso g’oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw’Omwana gw’endiga: 17 kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe  butuuse; era ani ayinza okuyimirirawo?

 

Okubikkulirwa 7:1-17

1 Oluvannyuma  ne ndaba ba malayika bana nga bakutte empewo nnya ez’ensi, empewo yonna ereme okukunta ku nsi, ne wakubadde ku nnyanja, newakubadde ku muti gwonna. 2 Ne ndaba malayika omulala ng’alinnya okuva ebuvanjuba, ng’alina akabonero ka Katonda omulamu: n’ayogerera waggulu n’eddoboozi  ddene ng’agamba bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n’ennyanja, 3 ng’ayogera nti Temwonoona ensi, newakubadde ennyanja,  newakubadde  emiti, okutuusa lwe tulimala okuteeka  akabonero abaddu ba Katonda waffe ku byenyi byabwe. 4 Ne mpulira omuwendo gwabwe abateekebwako akabonero, baali kasirivu mu obukumi buna mu  enkumi nnya, abaateekebwako akabonero mu buli kika ky’abaana ba Isiraeri.

5 Ab’omu kika kya Yuda abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri:

Ab’omu kika kya Lewubeeni kakumi mu enkumi bbiri:

Ab’omu kika kya Gaadi kakumi mu enkumi bbiri:

6 Ab’omu kika kya Aseri kakumi mu enkumi bbiri:

Ab’omu kika kya Nafutaali kakumi mu enkumi bbiri:

Ab’omu kika kya Manase kakumi mu enkumi bbiri:

7 Ab’omu kika kya Simyoni kakumi mu enkumi bbiri:

Ab’omu kika kya Leevi kakumi mu nkumi bbiri:

Ab’omu kika kya Isakaali kakumi mu enkumi bbiri:

8 Ab’omu kika kya Zebbulooni kakumi mu enkumi bbiri:

Ab’omu kika kya Yusufu kakumi mu enkumi bbiri:

Ab’omu kika kya Benyamini abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri.

9 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna kyatayinza kubala, na buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n’amatabi g’enkindu mu mukono gwabwe; 10 ne boogerera waggulu n’eddoboozi ddene,  nga boogera nti Obulokozi  buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe,  n’eri Omwana gw’endiga. 11 Ne  bamalayika bonna baali bayimiridde nga beetoolodde entebe n’abakadde n’ebiramu ebina; ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g’entebe, ne basinza Katonda, 12 nga boogera nti Amiina: Omukisa n’ekitiibwa n’amagezi n’okwebaza n’ettendo n’obuyinza n’amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n’emirembe Amiina. 13 Omu ku bakadde n’addamu,  ng’angamba nti Bano abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, be baani, era bava wa?  14 Ne mmugamba nti Mukama wange,  gw’omanyi. N’angamba nti Bano be baava mu  kubonaabona kuli okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga. 15 Kyebavudde babeera mu maaso g’entebe ya Katonda; ne bamuweereza emisana n’ekiro mu yeekalu ye: n’oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo. 16 Tebalirumwa njala nate, so tebalirumwa nyonta nate, so omusana tegulibookya, newakubadde okwokya kwonna: 17 kubanga Omwana gw’endiga ali wakati w’entebe n’anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez’amazzi ag’obulamu: era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.

 

Okubikkulirwa 8 :1-13

1 Bwe yabembula akabonero ak’omusanvu, ne waba akasiriikiriro mu ggulu nga kitundu kya ssaawa. 2 Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda; ne baweebwa obugombe musanvu. 3 Ne malayika omulala n’ajja n’ayimirira ku kyoto,  ng’alina ekyotezo ekya zaabu; n’aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteke mu kusaba kw’abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe. 4 N’omukka gw’obubaane ne gulinnya wamu n’okusaba kw’abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maaso ga Katonda. 5 Malayika n’atwala ekyotezo; n’akijjuza omuliro ogw’omu kyoto, n’akisuula ku nsi; ne waba okubwatuka n’amaloboozi n’okumyansa n’ekikankano.

6Ne bamalayika omusanvu abaalina obugombe omusanvu  ne beeteekateeka okufuuwa.

7 Malayika ow’olubereberye n’afuuwa, ne waba omuzira n’omuliro ebitabuddwa n’omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi: n’ekitundu eky’okusatu eky’ensi ne kiggya, n’ekitundu eky’okusatu eky’emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya.

8 Malayika ow’okubiri n’afuuwa; ng’olusozi olunene  olwaka omuliro ne lusuulibwa mu nnyanja: n’ekitundu eky’okusatu eky’ennyanja ne kifuuka musaayi; 9 ne bifa ekitundu eky’okusatu eky’ebitonde eby’omu nnyanja, ebiramu, n’ekitundu eky’okusatu eky’ebyombo ne kizikiririra. 10 Malayika ow’okusatu n’afuuwa, emmunyeenye ennene n’eva mu ggulu n’egwa ng’eyaka ng’omumuli, n’egwa ku kitundu eky’okusatu eky’emigga, ne ku nzizi z’amazzi. 11 N’erinnya lyemunyeenye liyitibwa Abusinso:  n’ekitundu eky’okusatu eky’amazzi ne kifuuka obusinso: n’abantu bangi ne bafa olw’amazzi, kubanga  gaakaayizibwa.

12 Malayika ow’okuna n’afuuwa, n’ekitundu eky’okusatu eky’enjuba ne kikubibwa, n’ekitundu eky’okusatu eky’omwezi, n’ekitundu eky’okusatu eky’emunyeenye; ekitundu eky’okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n’omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky’okusatu, n’ekiro bwe kityo.

13 Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng’ebuuka wakati w’eggulu, ng’eyogera n’eddoboozi ddene nti Zibasanze, zibasanze, abatuula ku nsi, olw’amaloboozi agasigaddeyo ag’akagombe ka  bamalayika abasatu abagenda okufuuwa.

 

Olw’embeera eya kazigizigi oba embi ennyo etabangawo okuva ku kutondebwa kw’ensi erimu ebibonyoobonyo n’okufa okw’amaanyi ejja kuwaliriza abasinga obungi abanaaba bakyalina obulamu okukkakana tukozese eddagala lino oba enkola eno.

 

                          Era enkola eno y’egenda kutuukiriza amakulu gonna.

 

(a) Buli vviivi okuvuunuma na buli lulimi okw’atula nti Yesu Kristo ye Kabaka wa bakabaka. Mukama Katonda waffe aweebwe ekitiibwa. Isaaya 45:23-24 Abafiripi 2:10-11.

 

Isaaya 45:23-24

23 Neerayidde mwene, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu butuukirivu so tekirikomawo, nga nze buli vviivi lirinfukaamirira,  buli lulimi lulirayira nze. 24 Walibaawo alingamba nti Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi: eri oyo abantu gye balijja, n’abo bonna abaamusunguwalira balikwatibwa ensonyi.

 

Abafiripi 2:10-11

10 buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery’eby’omu ggulu n’ebyo ku nsi n’ebya wansi w’ensi,11 era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

 

(b)  Ebiro eby’okulongoosezamu byonna ebyayogerwa mu kamwa ka bannabbi abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye. Ebikolwaby’Abatume 3:19-23

 

 

 

Ebikolwaby’Abatume 3:19-23

19 Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby’okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama  bituuke; 20 naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu, 21 eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby’okulongoosezamu byonna, Katonda byeyayogerera mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye. 22 Musa yagamba nti Mukama Katonda alibayimusiza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by’alibagamba. 23 Olulituuka buli mwoyo ogutaliwulira nnabbi oli gulizikirizibwa mu ggwanga.

 

(c) Okussa  abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. Zabbuli 110:1-7

 

Zabbuli 110:1-7

1 Mukama agamba Mukama wange nti

Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,

Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.

2 Mukama alisindika omuggo ogw’amaanyi go okuva mu Sayuuni:

Ggwe fugira wakati mu balabe bo.

3 Abantu bo beewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo:

Mu bulungi obw’obutuukirivu,olina omusulo ogw’obuvubuka bwo.

Oguva mu lubuto lw’enkya.

4 Mukama yalayira, so talyejjusa,

Nti Ggwe oli Kabona emirembe gyonna

Ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.

5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo

Alifumita bakabaka ku lunaku olw’obusungu bwe.

6 Alisala emisango mu mawanga,

Alijjuza ebifo emirambo;

Alifumita omutwe mu nsi nnyingi.

7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo:

Kyaliva ayimusa omutwe.

 

(d) Okufuga amawanga gonna n’abafuzi baago n’omuggo ogw’ekyuma n’okubakuba nga akuba ng’ayasayasa ng’ensuwa. Zabbuli 2:1-12, Mikka 4:1-3, Okubikkulirwa 2:26-28, Okubikkulirwa 17:14, Okubikkulirwa 11:15-17, Okubikkulirwa 19:11-18.

 

Zabbuli 2:1-12

1 Kiki ekibagugumusizza ab’amawanga,

N’abantu kiki ekibalowoozesezza ekitaliimu?

2 Bakabaka ab’ensi bateeseteese,

N’abafuga bateesezza ebigambo wamu,

Ku Mukama ne ku Kristo we nga boogera nti

3 Ka tumenyeemenye enjegere zaabwe,

Tusuule wala emigwa gyabwe.

4 Atuula mu ggulu aliseka,

Mukama alibaduulira.

5 Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe,

Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:

6 Naye naateeeka  kabaka  wange  ku  lusozi  lwange  olutukuvu  Sayuuni.

7 Ekiragiro ndikibuulira:

Mukama yangamba nti Gwe oli mwana wange; Leero nkuzadde.

8 Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera  obusika bwo,

N’ensonda z’ensi okubeera amatwale go.

9 Olibimenya n’omuggo ogw’ekyuma;

Olibyasayasa ng’entamu ey’omubumbi.

10 Kale kaakano mubeere n’amagezi, mmwe bakabaka:

Muyige, mmwe abasala omusango gw’ensi.

11 Muweereze Mukama n’okutya, Era musanyuke n’okukankana.

12 Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo,

Kubanga obusungu bwe buli bubuuka mangu.

Balina omukisa bonna abamweyuna ye.

 

Mikka 4:1-3

1 Naye mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu. 2 Era amawanga mangi  agaligenda, ne googera nti  Mujje twambuke eri olusozi lwa  Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda  wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka  n’ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga aga’amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n’amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala  ku ggwanga,  so  tebayigenga  kulwana  nate.

 

Okubikkulirwa 2:26-28

26 Era awangula n’akwata ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga. 27 era alibalunda n’omuggo gw’ekyuma, ng’ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nange  nga bwe nnaweebwa Kitange: 28 era ndimuwa  emmunyeenye  ey’enkya.

 

Okubikkulirwa 17:14

Abo balirwana n’Omwana gw’endiga, n’Omwana gw’endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w’abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n’abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa.

 

Okubikkilirwa 11:15-17

15 Malayika ow’omusanvu n’afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n’emirembe. 16 N’abakadde amakumi abiri mu bana, abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda, 17 nga boogera nti Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga  otutte  amaanyi  go  amangi, okufuga.

 

Okubikkulirwa 19:11-18

11 Ne ndaba eggulu ga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng’alina erinnya  eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo eky’amansirwako omusaayi: n’erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu  ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke  muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA W’ABAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.

17 Ne ndaba Malayika ng’ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukungaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18 mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n’ennyama ey’abagabe, n’ennyama ey’ab’amaanyi, n’ennyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama eya bonna ab’eddembe era n’abaddu, n’abato n’abakulu.

 

(e) Kuggyawo amaanyi, obuyinza n’obufuzi bwonna alyoke asembyeyo okufa olwo nga eby’ensi biwedde. Isaaya 12:1-4, Danyeri 7:9-13, Mikka 4:1-3, 1 Abakkolinso 15:23-25, Okubikkulirwa 14:6-8, 17-19, Okubikkulirwa 15:1-6

 

Isaaya 12:1-4

1 Era ku lunaku luli alyogera nti Naakwebazanga, ai Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira  , obusungu bwo bukyuse, era onsanyusa. 2 Laba, Katonda bwe bulokozi bwange; nneesiganga ne ssitya: kubanga Mukama Yakuwa ge maanyi gange n’oluyimba; era  ye afuuse obulokozi bwange. 3 Kyemunavanga musenanga n’essanyu amazzi ku nzizi ez’obulokozi.4 Era ku lunaku luli mulyogera nti Mwebaze Mukama, mukowoole erinnya lye, mubuulire  ebikolwa bye mu mawanga, mwogere erinnya lye ligulumizibwe.  

 

Danyeri 7:9-13

9 Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala  ennaku ennyingi n’atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi: entebe ye nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo muliro ogwaka. 10 Omugga ogw’omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n’enkumi baamuweereza, n’obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa. 11 Ne ntunula mu biro ebyo olw’eddoboozi ery’ebigambo ebikulu ejjembe bye lyayogera: ne ntunula okutuusa ensolo lwe yattibwa, n’omubiri gwayo ne guzikirizibwa, n’eweebwayo okwokebwa omuliro. 12 N’ensolo endala okufuga kwazo ne kuziggibwako: naye obulamu bwazo ne bwongerwako ebbanga n’ekiseera. 13 Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafanaanana ng’Omwana w’omuntu n’ebire ebyomu ggulu, n’ajjira ddala eri omukadde  eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge.

 

Mikka 4:1-3

1Naye mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulutiramu. 2 Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n’eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby’enguudo ze, naffe  tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n’ekigambo kya Mukama mu  Yerusaalemi. 3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala; era baliweesa abitala  byabwe okuba enkumbi n’amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.

 

1 Abakkolinso 15:23-28

23 Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe. 24 Enkomerero n’eryoka etuuka bw’aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw’aliba ng’amaze okuggyawo okufuga kwonna n’amaanyi gonna n’obuyinza. 25 Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw’alissa abalabe be  bonna wansi w’ebigere bye. 26 Omulabe ow’enkomerero aliggibwawo, kwe kufa. 27  Kubanga kyawandiikibwa nti Yassa byonna  wansi w’ebigere bye. Naye bw’ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegerekeka  ng’oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we. 28 Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we era n’Omwana yennyini n’alyoka assibwa wansi w’oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.

 

Okubikkulirwa 14:6-8, 17-19

6 Ne ndaba malayika omulala ng’abuuka mu bbanga ery’omu ggulu ng’alina enjiri ey’emirembe n’emirembe, okubuulira  abatuula ku nsi na buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu, 7 ng’ayogera n’eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.

8 Ne malayika omulala n’agoberera, ng’ayogera nti Kigudde kigudde Babulooni ekinene ekyanywesa  amawanga gonna ku mwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwakyo.

17-19

17 Ne malayika omulala n’ava mu Yeekalu ey’omu ggulu, naye ng’alina ekiwabyo eky’obwogi. 18 Ne malayika omulala n’ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba oyo alina ekiwabyo eky’obwogi ng’ayogera nti Tekako ekiwabyo kyo eky’obwogi, onoge ebirimba by’omuzabbibu gw’ensi;  kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala. 19 Ne malayika n’asuula ekiwabyo kye ku nsi, n’anoga omuzabbibu gw’ensi, n’akisuula mu ssogolero eddene ery’obusungu bwa Katonda.

 

 

Okubikkulirwa 15:1-6

1 Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak’ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby’enkomerero, kubanga  mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra.

2 Ne ndaba ng’ennyanja y’endabirwamu etabuddwamu omuliro: abava eri ensolo n’ekifaananyi kyayo n’omuwendo gw’erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y’endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda. 3 Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba olw’Omwana gw’endiga,  nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka Ow’emirembe n’emirembe. 4 Ani atalitya, Mukama n’ataliwa kitiibwa erinnya lyo? Kubanga ggwe wekka ggwe Mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.

5 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, yeekalu eya weema ey’obujulirwa mu ggulu n’ebikkulwa: 6 ne muva mu yeekalu ba malayika omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu.

 

Abafuzi b’ensi n’abantu bonna okuleeta ekitiibwa n’amatendo eri ekkanisa. Mikka 4:13, Kaggayi 2:6-9, Okubikkulirwa 21:24-26

 

Mikka 4:13

Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama ,  n’ebintu byabwe eri Mukama w’ensi zonna.

 

Kaggayi 2:6-9

6 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda  w’eggye, nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye eggulu n’ensi n’ennyanja n’olukalu; 7 ndikankanya amawanga gonna, n’ebyo ebyegombebwa amawanga gonna, birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw’ayogera Mukama w’eggye. 8 Effeeza yange ne zaabu yange, bw’ayogera Mukama w’eggye. 9 Ekitiibwa eky’ennyumba eno eky’oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw’ayogera Mukama w’eggye: era mu kifo kino mwe ndiwa emirembe, bw’ayogera Mukama w’eggye.

                                        

Okubikkulirwa 21:24-26

6 N’amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b’ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 N’emiryango gyakyo tegiggalwenga n’akatono emisana ( kubanga eyo ekiro tekibeengayo) ; 26 era balireeta ekitibwa n’ettendo eryamawanga mukyo:

 

Kwe kuggya buli muntu mu byobulogo oba eby’obusamize n’obutaddayo kubitambuliramu. Isaaya 28:14-19, Mikka 5:10-15, Okubikkulirwa 3:10, Okubikkulirwa 19:11-16.

 

 Isaaya 28:14-19

14 Kale, muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abanyooma, abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi: 15 Kubanga mwogedde nti Tulagaane endagaano n’okufa, era tutabagane n’amagombe; ekibonyoobonyo ekyanjaala bwe kiriyitamu, tekiritutuukako; kubanga tufudde eby’obulimba ekiddukiro kyaffe, era twekwese wansi w’obukuusa: 16 Mukama Katonda kyava ayogera nti Laba, nteeka mu Sayuuni  ejjinja okuba omusingi, ejjinja  eryakemebwa, ejjinja ery’okunsonda ery’omuwendo omungi erinywezebwa  ennyo wansi: akkiriza  talyanguyiriza. 17 Era ndifuula omusango okuba omugwa ogugera , n’obutuukirivu okuba  omugwa ogutereeza: n’omuzira gulyerera ddala ekiddukiro ky’okulimba, n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu. 18 N’endagaano gye mwalagaana n’okufa erijjulukuka, so n’okutabagana kwammwe kwe mwatabagana n’amagombe tekulinwera; ekibonyoobonyo ekiryanjaala bwe kiriyitamu, ne kiryoka kiribalinyirira wansi. 19 Buli lwe kinayitangamu, kinabakwataanga; kubanga buli lukya kinaayitangamu emisana n’ekiro: era okutegeera  ebibuulirwa kuliba ntiisa nsa.

 

Mikka 5:10-15

10 Era kiriba ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama, ndikujjamu wakati  embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go; 11 era ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi y’ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna; 12 era ndijjamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate; 13 era ndikujjamu wakati ebifaananyi byo ebyole n’empagi zo; so tolisinza nate emirimu gy’engalo zo. 14 Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo. 15 Era ndiwalana eggwanga  ku  mawaga  agatawulira.

 

Okubikkulirwa 3:10

Kubanga weekuuma ekigambo  ky’okugumikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira   mu kiseera  eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi.

 

Okubikkulirwa 19:11-16

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka.13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya lye ne liyitibwa kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’omwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne kukisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA W’ABAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.

 

                                                       AMAGEZI

 

Kya magezi nnyo eri buli muntu naddala abakulembeze mu nsi ne mu kkanisa okukkakkana okwenenya n’okutambula ne Katonda mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo kubanga Katonda tayagala muntu yenna kufiira mu bibi oba mu bujeemu. Atannalokoka lokoka, eyalokoka oba alokose, tudde ku mulamwa, n’abatalokose  oba  abatannatuusa  mugondere  eddoboozi lye.

 

Ebikolwaby’Abatume 17:30

Kale Katonda ebiro ebyo eby’obutamanya teyabitunuuliranga;  naye kaakano alagira  abantu  bonna  abali  wonna  wonna  okwenenya,

 

Naye nga mumanyi nti omulokole eyagwa oba agudde n’omuntu atalokose enkomerero  muliro  ogutazikira  awamu  ne setaani n’emizimu gye. Okubikkulirwa  20:11-15.

 

 

Okubikkulirwa 20:11-15

11 Ne ndaba entebe ey’obwakabaka ennene enjeru, n’oyo eyali agituddeko,  eggulu n’ensi ne bidduka mu maaso ge; era tebyazuulirwa na kifo. 12 Ne ndaba abafu, abakulu n’abato, nga abayimiridde mu maaso g’entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n’ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky’obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng’ebikolwa byabwe bwe byaali. 13  N’ennyanja n’ereeta abafu  abalimu, n’okufa n’amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng’ebikolwa byabwe bwe byali. 14 N’okufa n’amagombe ne bisuulibwa  mu nnyanja ey’omuliro. Eyo kwe kufa okw’okubiri, ennyanja ey’omuliro. 15 Era omuntu yenna ataalabika ng’awandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja  ey’omuliro.

 

Kubanga Katonda aky’alina bangi abasobola okukulembera oba okusumba mu nsi ne mu Kkanisa kubanga y’awa amagezi, okutegeera n’okumanya. 1Samwiri 15:26, Danyeri 4:34.

 

1 Samwiri 15:26

Samwiri n’agamba Sawulo nti siddeyo naawe: kubanga ogaanyi ekigambo kya Mukama, ne Mukama akugaanyi okuba kabaka wa Isiraeri.

 

Danyeri 4:34

Ennaku ezo bwe zaggwa nze  Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne ganziramu, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe  n’emirembe, kubanga okufuga kwe kwe kufuga okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe:

 

              OKWONGERA OKUKKAATIRIZA KU KUJEEMA KWONNA

 

Okusinziira mu bubaka buno buli muntu yenna ali ku nsi awatali kusosola an’ajeemera obubaka buno n’enkola  y’omulembe ogusembayo ey’omuti gw’obulamu nga gutegeeza Mukama waffe Yesu Kristo, wa kufa mangu oba okubonaabona okutuusa lw’alifa. Zabbuli 7:11-16, Isaaya 1:19-20, Mikka 5:10-15, Malaki 4:1, 2Peetero 3:5-12, Okubikkulirwa 11:15-18, Okubikkulirwa 14:18-20, Okubikkulirwa 19:11-18.

 

Zabbuli 7:11-16

11 Katonda ye musazi w’emisango mutuukirivu,

Era ye Katonda alina obusungu buli lunaku.

12 Omuntu bw’atakyuka, aliwagala ekitala kye;

Aleeze omutego gwe, aguteeseteese.

13 Era amutekeddetekedde ebintu ebitta;

Emisaale gye agiteekako omuliro.

14 Laba, alina olubuto olw’obubi;

Weewaawo, eggwako lye lya ttima, era azadde obulimba.

15 Yakola obunnya, yabusima,

Era agudde mu lusalosalo lwe yakola.

16 Ettima lye liriddira ku mutwe gwe ye,

N’ekyejo kye kirituuka ku bwezinge bwe.

 

Isaaya 1:19-20

19 Bwe munagoondanga  ne muwulira munalyanga ebirungi eby’ensi: 20 naye bwe munagaananga ne mujeemanga, munaliibwanga n’ekitala: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

 

Mikka 5:10-15

10 Era kiriba ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go; 11 era ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi y’ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna; 12 era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na bbanga nate; 13 era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n’empagi zo; so tolisinza nate mirimu gy’engalo zo. 14 Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo. 15 Era ndiwalana eggwanga n’obusungu n’ekiruyi ku mawanga agatawulira.

 

Malaki 4:1

Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi; n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw’ayogera Mukama w’eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.

 

2 Peetero 3:5-12

5 Kubanga beerabira kino nga balaba, ng’edda waaliwo eggulu , n’ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw’ekigambo kya Katonda, 6 ensi ey’edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n’ezikirira: 7 naye eggulu erya kaakano  n’ensi olw’ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango n’okuzikirira kw’abantu abatatya Katonda. 8 Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng’emyaka lukumi, n’emyaka lukumi giri ng’ olunaku olumu. 9 Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula,  naye bonna batuuke okwenenya. 10 Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n’okuwuuma okunene n’ebintu eby’obuwangwa birisaanuuka olw’okwokebwa okungi, n’ensi n’ebikolwa ebigirimu birisirikka. 11 Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde okubeera  nga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga  Katonda, 12 nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n’ebintu eby’obuwangwa ne bisebengerera olw’ebbugumu eringi.

 

Okubikkulirwa 11:15-18

15 Malayika ow’omusanvu n’afuuwa: ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anafuganga emirembe n’emirembe. 16 N’abakadde amakumi abiri mu bana, abatuula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda, 17 nga boogera nti Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi n’ofuga. 18 Amawanga ne gasunguwala, n’obusungu bwo ne bujja,  n’entuuko ez’okusaliramu omusango gw’abafu, n’ez’okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n’abatukuvu, n’abatya erinnya lyo, abato n’abakulu; n’ez’okwononeramu aboonoona ensi.

 

Okubikkulirwa 14:18-20

18 Ne malayika omulala n’ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro;  n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’agamba oyo alina ekiwabyo eky’obwogi, ng’ayogera nti Tekako ekiwabyo kyo eky’obwogi, onoge ebirimba by’omuzabbibu gw’ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala. 19 Ne malayika n’asuula ekiwabyo kye ku nsi, n’anoga omuzabbibu gw’ensi, n’akisuula mu ssogorero eddene ery’obusungu bwa Katonda. 20 N’essogolero ne lirinnyirirwa ebweru w’ekibuga, n’omusaayi ne guva mu ssogolero, okutuuka ku nkoba z’embalaasi, n’okutuuka  amabanga  lukumi  mu  lukaaga.

 

Okubikkulirwa 19:11-18

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse, era, laba embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule ennyingi: era ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo  ogw’ekyuma: era alinnya essogolero ly’omwenge gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA W’ABAKABAKA ERA MUKAMA W’ABAAMI.

17 Ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukungaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18 mulyoke mulye  ennyama ya bakabaka, ne nnyama ey’abagabe, n’ennyama ey’abamaanyi, n’ennyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama eya bonna ab’eddembe era n’abaddu, n’abato n’abakulu.

 

Kati nga bw’omaze okutegeera tegeeza n’abalala era okufa n’obulamu, ekikolimo n’omukisa biri mu mikono gyo nze siriiko musaayi gwa muntu yenna wabula guli ku mutwe  gwo n’ogw’abalala singa tobategeeza mazima. Ekyamateeka 30:19-20, Ekyamateeka 11:26-28, Ezeekyeri 3:16-21.

 

Ekyamateeka 30:19-20

19 Mpita eggulu n’ensi okuba omujulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo: 20 Okwagalanga Mukama Katonda wo, okugonderanga eddoboozi lye, n’okwegattanga naye: kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaala ennaku zo: olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo, okubawa.

 

Ekyamateeka 11:26-28

26 Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’okukolimirwa; 27 Omukisa bwe munawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero: 28 n’okukolimirwa, bwe mutaawulirenga biragiro bya Muama Katonda wammwe, naye ne Mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, okugoberera bakatonda  abalala  be  mutamanyanga.

 

 

Ezeekyeri 3:16-21

16 Awo olwatuuka enaku musanvu bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne nkinjijira nga kyogera 17 nti Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo ky’omu kamwa kange, obawe okulabula okuva gye ndi. 18 Bwe ngamba omubi nti tolirema kufa; naawe n’otomulabula so toyogera ojulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana  mu mukono gwo. 19 Era naye bw’olabula omubi, n’atakyuka okuleka obubi bwe  newakubadde okuva mu kkubo lye  ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng’owonyezza emeeme yo. 20 Nate omuntu Omutuukirivu bw’akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n’akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n’ebikolwa bye ebituukirivu bye yakola tebirijjukirwa; naye omusaayi gwe ndi guvuunaana mu mukono gwo.

 

Wandibadde mugezi nnyo n’otetantala kuziyiza n’okulwanyisa amazima gano wabula okutwegattako, Mukama waffe Yesu Kristo akumpeere omukisa.

 

Kuno kwe kusaba kwange eri Katonda:

 

 

Ai Kitange nkwebaza nga nkugulumiza olw’ekisa kyo kyompadde era nange ng’omuddu atasaanira nsaba otukuume otuwe omukisa ng’abaweereza n’amaka gaffe tuwangulenga  ennaku zonna ate tusobole okutuuka mu ggulu nga obudde butuuse mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, osembeze buli muntu yenna an’agonda ng’ekigambo kyo bwe kiri ekitaggwawo wabula buli abanaatwesimbamu nga tukola omulimu guno obakole nga bwe wateesa edda ennyo. Ebikolwaby’Abatume 4:24-31.

 

 

 

 

Ebikolwaby’Abatume 4:24-31

24 Nabo bwe baawulira ne bayimusa eddoboozi lyabwe n’omwoyo gumu eri Katonda, ne bagamba nti Mukama,  ggwe eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ebirimu byonna, 25 ggwe eyeyogerera ku bw’Omwoyo Omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Dawudi mulenzi wo nti

Abamawanga  kiki  ekibesazizza  akajegere,

N’ebika birowoozezza ebitaliimu?

26 Bakabaka  b’ensi  baasimba  ennyiriri,

N’abakulu baakungaanira wamu ku Mukama ne ku Kristo we.

27 Kubanga mazima baakungaanira mu kibuga muno ku mulenzi wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n’abamawanga n’ebika bya Isiraeri, 28 bakole byonna omukono gwo n’okuteesa kwo bye byalagira edda okubaawo. 29 Kale kaakano, Mukama, laba okukanga kwabwe owe abaddu bo bagume nnyo okw’ogeranga ekigambo kyo, 30 bw’ogolola omukono gwo owonye, n’obubonero n’amagero bikolebwenga mu linnya lya mulenzi wo Omutukuvu Yesu. 31 Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakungaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.

 

Ekitiibwa kidde gy’oli n’emirembe eri abantu abasiimibwa.  Lukka2:14

 

Lukka 2:14

Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo;

Ne munsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.

 

YESU KRISTO AWEEBWE EKITIIBWA KABAKA W’ABAKABAKA  MUKAMA W’ABAAMI, EMIREMBE N’EMIREMBE  AMIINA

                                           OBUNNABBI  BWA  2018

 

OKULABULA EGGWANGA LYAFFE UGANDA KU NSONGA  BBIRI NGA ZA KABI  NNYO  ERI  OBULAMU  BWAFFE   

 

Ensonga esooka: Kwe kulabula banna Uganda bannange obutajeemera Katonda

Olw’okuyitibwa okumuweereza mu mulembe ogusembayo mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

Ensonga ey’okubiri: Kwe kuva n’okujjawo eby’emizizo byonna mu ggwanga lyaffe Uganda.

Eri banna Uganda bannange mwenna ntuusa okulamusa kwange gye muli era emirembe n’ekisa bibe gye muli mu Mukama waffe Yesu kristo era Kabaka  wabakabaka Omwami w’abami okuyita mu mwoyo we Omutukuvu azze angamba emirundi egisukka mu ena okuva omwaka guno lwe gwatandika (2018) ndabule banna Uganda  bannange  ku nsonga ezo bbiri era zengenda okulambulula.

                               OKULAMBULULA  ENSONGA  ZOMBI

Ensonga esooka:

Kwe kulabula buli munna Uganda yenna obutajeemera Katonda mu kuyitibwa  era

mwe yatulondera okumuweereza mu mulembe ogusembayo nga tukolera wamu nga bwe nnannyonnyola mu  bunnabbi bwe nnawandiika mu mwaka 2002 mu mwezi ogw’omunaana   nga ennaku z’omwezi musanvu (7/8/2002) Okuva mu kitabo kya nnabbi  Isaaya 19:1-10, 16,19 – 22 

 

 Isaaya 19:1-10, 16,19 – 22

1Omugugu gwa Misiri.

Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekiyita amangu n’ajja mu Misiri: n’ebifaananyi eby’e Misiri birinyeenyezebwa mu maaso ge, n’omutima gwa Misiri gulisaanuuka mu yo wakati. 2 Era ndirwanya aba Misiri n’Abamisiri: era balirwana buli muntu ne muganda we, na buli muntu ne muliranwa we; ekibuga n’ekibuga, obwakabaka n’obwakabaka. 3 N’omwoyo gwa Misiri guliggwamu  wakati mu yo; nange nditta okuteesa kwayo: era baliragulwa eri ebifaananyi, n’eri abasamize, n’eri abo abaliko emizimu, n’eri abo abalogo. 4 Era ndigabula  Abamisiri mu mukono gw’omwami omukambwe; era kabaka omukanga  alibafuga, bw’ayogera Mukama, Mukama Ow’eggye. 5 N’amazzi galikendeera mu nnyanja, n’omugga guliweebuuka ne gukala. 6 N’emigga giriwunya, obugga obw’e  Misiri  bulikeewa ne  bukala: ebitoogo n’essaalu biriwotoka. 7 Amalundiro agali ku Kiyira, ku lubalama lwa Kiyira kwennyini, ne byonna ebisigibwa ku Kiyira, birikala, birigobebwawo, so tebiribaawo nate. 8 Era n’abavubi balikaaba, n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira balinakuwala, n’abo abasuula ebiragala mu mazzi baliggwamu amaanyi. 9 Era nate abo abakola omulimu ogw’obugoogwa obusunsule, n’abo abaluka engoye enjeru, balikwatibwa ensonyi. 10 N’empagi zaayo zirimenyekamenyeka, abo bonna abakolera empeera balinakuwala mu mwoyo.

16 Ku lunaku luli Misiri erifaanana ng’abakazi: era erikankana eritya olw’okukunkumula kw’omukono gwa Mukama ow’eggye, gw’alikunkumulira ku yo.

19-22

19 Ku lunaku luli waliba ekyoto eri Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, n’empagi eriba ku nsalo yaayo eri Mukama. 20 Era eriba kabonero era omujulirwa eri Mukama ow’eggye mu nsi y’e  Misiri: kubanga balikaabira Mukama olw’abajoozi, naye alibaweereza omulokozi, era omukuumi, naye alibalokola. 21 Era Mukama alimanyibwa Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama ku lunaku luli;  weewaawo, balisinza ne ssaddaaka n’ebitone, era balyeyama obweyamo eri Mukama, era balibutuukiriza. 22 Era Mukama alikuba Misiri, ng’akuba era ng’awonya; nabo balidda eri Mukama, naye alyegayirirwa  bo, era alibawonya.

 

Era kirungi nnyo okusomako nate mu bunnabbi obwo obwa 2002 obwawandiikibwa nga 7/8/2002 era otwale obuvunanyizibwa okutegeera n’okumanya obulungi ebigenda mu maaso tusobole okukwatira awamu mu kuweereza  kuno kubanga ngambiddwa emirundi egisukka mu ena nti singa wanaabaawo  okujeema kwonna ku buli bukadde kkumi na munaana (18,000,000) obw’abantu kujja kufangako kkumi ne butaano (15,000,000) wasigalewo busatu (3,000,000) nga wakusindika endwadde ya kawumpuli etawonyezeka nga bwe yakola edda eri abaamujeemeranga. Na kati agenda kukikola mu Uganda singa tewaabeewo kugonda 2Samwiri 24:15, Ezeekyeri 14: 17-23, Ezeekyeri 38:22-23, Okubkkulirwa 14:18-20, Okubikkulirwa 19:11-18.

 

 

2Samwiri 24:15

Awo Mukama n’aleeta kawumpuli ku Isiraeri okuva enkya okutuuka ku biro ebyateekebwawo: awo ku bantu ne kufaako abasajja obukumi musanvu okuva e Daani okutuuka e Beeruseba.

 

Ezeekyeri 14:17-23

17 Oba bwe ndireeta ekitala ku nsi ne njogera nti Ekitala, yita mu nsi; n’okumalamu ne njimalamu abantu n’ensolo; 18 abo bonsatule newakubadde nga bali omwo, nga bwe  ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya batabani  baabwe newakubadde bawala baabwe, naye bo bennyini  baliwonyezebwa bokka. 19 Oba bwe ndiweereza kawumpuli mu nsi eno, ne ngifukako ekiruyi kyange mu musaayi, okugimalamu abantu n’ensolo: 20 Nuuwa ne Danyeri ne Yobu  newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi Omulamu bw’ayogera Mukama Katonda,  tebaliwonya  mutabani waabwe newakubadde muwala waabwe; baliwonya emmeeme zaabwe  bo zokka olw’obutuukirivu bwabwe. 21 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti Kale tebirisinga nnyo kuba bwe bityo, bwe ndi weereza emisango gyange ena emizibu ku Yerusaalemi, ekitala n’enjala n’ensolo  embi ne kawumpuli, okukimalamu abantu n’ensolo? 22 Era naye mulisigalamu ekitundu ekifisseewo ekiriggibwamu ne kitwalibwa, abaana  ab’obulenzi n’ab’obuwala: laba, balifuluma balijja gye muli, nammwe muliraba ekkubo lyabwe n’ebikolwa byabwe:  kale mulisanyusibwa mu bubi bwe ndeese ku Yerusaalemi, olwa byonna bye nkireseeko. 23 Era balibasanyusa bwe muliraba ekkubo lyabwe,  n’ebikolwa byabwe: kale mulimanya nga ssaabalanga bwereere okukola byonna bye nnakolera mu kyo, bw’ayogera Mukama Katonda.

 

Ezeekyeri 38:22-23

22 Era ndiwoza naye ne kawumpuli n’omusaayi; era ndimutonnyesaako  ne ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye oluwandaggirize  olwanjaala n’amayinja amanene ag’omuzira n’omuliro n’ekibiriiti. 23 Era ndyegulumiza ne nneetuuza, era ndyemanyisa mu maaso g’amawanga amangi; kale balimanya nga nze Mukama.

 

Okubikkulirwa 14:18-20

18 Ne malayika omulala n’ava ku Kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n’ayogerera waggulu ne ddooozi ddene ng’agamba oyo alina ekiwabyo eky’obwogi, ng’ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky’obwogi, onoge ebirimba by’omuzabibu gw’ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala. 19 Ne malayika n’asuula ekiwabyo kye ku nsi, n’anoga omuzabibu gw’ensi, n’akisuula mu ssogolero eddene ery’obusungu bwa Katonda. 20 N’essogolero ne lirinnyirirwa ebweru w’ekibuga,  n’omusaayi ne guva mu ssogolero, okutuuka ku nkoba z’embalaasi, n’okutuuka amabanga lukumi mu lukaaga.

 

Okubikkulirwa 19:11-18

11 Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n’eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow’amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12 Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era nga alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly’atamanyi wabula ye yekka. 13 Era ng’ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n’erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda. 14 N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi  enjeru, nga bambadde bbafuta enjeru ennungi. 15 Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala  eky’obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma: era alinnya essogolero  ly’omwenge  gw’obusungu bw’obukambwe bwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. 16 Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa  nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.

17 Ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba; n’ayogerera waggulu n’e ddoboozi ddene, ng’agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukungaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18 Mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n’ennyama ey’abagabe, n’ennyama ey’ab’amaanyi, n’ennyama ey’embalaasi n’ey’abo abazituulako, n’ennyama eya bonna ab’eddembe era n’abaddu, n’abato n’abakulu.

 

Ensoonga ey’okubiri:

 

Kwe  kulabula buli munna Uganda yenna okuva n’okujjirawo ddala eby’emizizo byonna n’obutaddayo kubikola n’okubitambuliramu kubanga buli abikola aba afuuse wa muzizo mu maaso ga Mukama Katonda.  Ekyamateeka 7:26, Okubikkulirwa 18:1-20.

 

Ekyamateeka 7:26

So toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba  yo, naawe n’ofuuka ekyakolimirwa okufaanana nga kyo: onookikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga  kintu ekyakolimirwa.

 

Okubikkulirwa 18:1-20

1 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. 2 N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa. 3 Kubanga olw’omwenge gw’obusuungu bw’obwenzi bwe amawanga gonna gagudde;  ne bakabaka b’ensi ne bayenda naye, n’abatunzi b’ensi ne bagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe.

4 Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye  era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 5 kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebibonyoobonyo bye. 6 Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era  mumwongereko emirundi ebiri ng’ebikolwa  bye  bwe  byali:  mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. 7 Nga bwe yegulumiza n’akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n’akatono. 8 Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n’ennaku, n’enjala; era alyokerwa ddala  omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango. 9 Era bakabaka b’ensi, abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe, 10 nga bayimiridde wala olw’entiisa  ey’okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky’amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse. 11 N’abatunzi ab’omu nsi  bakaaba banakuwala ku lulwe kubanga tewali muntu akyayagala obuguzi bwabwe; 12 obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo, ne luulu , ne bafuta ennungi, n’olugoye olw’effulungu, ne aliiri, n’olugoye olumyufu; na buli muti ogw’omugavu, na buli kintu eky’essanga, na buli kintu eky’omuti ogw’omuwendo omungi ennyo, n’eky’ekikomo, n’eky’ekyuma, n’eky’ejjinja eddungi; 13 n’eky’akaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envumbo, n’omwenge, n’amafuta, n’obutta obulungi, n’engaano, n’ente n’endiga; n’obuguzi bw’embalaasi n’amagaali n’abaddu; n’emyoyo gy’abantu. 14 N’ebirala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n’ebintu byonna  ebiwooma n’ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate. 15 Abatunzi b’ebyo, be yagaggawaza, baliyimirira wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe, nga bakaaba nga banakuwala; 16 nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene,  ekyayambazibwa bbafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ekiyonjebwa ne zaabu n’amayinja  ag’omuwendo  ne luulu! 17 Kubanga mu ssaawa emu  obugagga obungi nga buno buzikiridde.  Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n’abalunnyanja  ne bonna abakola emirimu egy’omu nnyanja, ne bayimirira wala, 18 ne boogerera waggulu bwe baalaba omukka ogw’okwokebwa kwe , nga boogera nti Kiruwa ekifaanana ng’ekibuga ekinene? 19 Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw’omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira. 20 Mumusanyukire, eggulu nammwe abatukuvu nammwe abatume nammwe bannabbi; kubanga Katonda amusalidde omusango gwammwe.

 

Ku nsonga eno nnalagirwa okulabula n’okugezaako nga bwe nsobola okulaga eby’emizizo bye mbikkuliddwako okusinziira ku Bayibuli era awamu  n’Omwoyo Omutukuvu mu linnya lya Yesu Kristo; era ne by’anayongera okutubikkuliranga tusobole okwenenya n’okubirekera ddala:  kubanga bituleetedde ebibonyoobonyo bingi nnyo nnyo: nga kw’ogatta n’enjala ennyingi gye yandaga nga ejja singa tetubivaamu. Kyokka  enjala eno eggya kubanga y’abyewunyo nnyo kubanga abanaabanga n’ensiimbi oba obusobozi obw’okufunanga eby’okulya n’eby’okunywa okuva awantu wonna nga wabweru w’eggwanga naye nga bagaanidde mu by’emizizo, eby’okulya n’eby’okunywa  byabwe byakuyingirangamu kuwumpuli w’okukaawa era bikaawenga 2 Bassekabaka 4:40 era nga buli abikombako asooka kuzimba lubuto  n’agwa eri n’afa so nga abalala abanenenyanga ne baleka eby’emizizo baakusigala nga beeriira.

 

2B assekabaka 4:40

Awo ne bajjulira abantu okulya. Awo bwe baali nga balya ku nva, ne boogerera waggulu nga bagamba  nti Ai Omusajja wa Katonda, mu ntamu mulimu okufa so tebaayinza kugiryako.

 

                        Okutegeera  n’okumanya ebimu ku by’emizizo

 

(1)Okukola, okusuubula, okutunda, n’okunywa omwenge, sigala, enjaga, n’ebiragalalagala ebikyusa obwongo,  ne Gavumenti okubiwaako obuyinza okubikozesa  n’okubisoloozaako  omusolo.

 

(2)  Okukola, okusuubula, okutunda, okugula, n’okwambala engoye eziweebuula omuntu yenna nga ezitangaala, ez’enkunamyo, ez’ebitulituli, musala nkwawa, abakyala empale ez’amagulu amawanvu  n’amampi okuggyako obuwale  bwabwe obutono ( Knickers) bwe balina okwambala era ne G-string tezikkirizibwa za kigwenyufu era za muzizo, obuleega amabeere bwe bayita pampingi (pumping) obutabuniza mabeere ate ne  bugapika nabwo bwa muzizo, abasajja okusiba balansi ( empale nga tezituuka mu kiwato) ate n’ okwambala empale nga zirebera olw’okulaga obuwale obw’omunda byonna bya mizizo, Gavumenti okubiwaako obuyinza okubyambala  n’okubisoloozaako  omusolo.

 

(3)  Okukola, okusuubula, okutunda, okugula, okuteekako ebiviiri ebikolerere, enjala enkolerere, okukuza n’okusiiga enjala, okusiiga emimwa, ebizigo oba ebiragalalagala ebigezza amabeere n’obubina, ebigema okuzaala,  mu baami n’abakyala, ebikyusakyusa langi naddala mu kw’eyerusa, engatto ez’enkondo empanvu, okukola enviiri n’ensala eweebuula, abasajja  okukola n’okusiba enviiri n’okuteeka empeta mu matu, okwetunda n’okugula bamalaaya, abasiyazi  n’abafuna sente eziva mu basiyazi,  Gavumenti okuwa obuyinza ku bisiyaga n’okubisoloozaako omusolo. (Eri zi Gavumenti ezibikkiriza)

 

(4)  Okukola, okusuubula, okutunda ebintu byonna eby’ebipimo ebitenkanankana oba minzani ezitenkanankana eby’ebicupuli , oba ebitali bya mutindo ne Gavumenti okubiwako obuyinza   n’okubisoloozaako omisolo. Engero 11:1-4

 

Engero 11:1-4

1 Eminzaani ey’obulimba ya muzizo eri Mukama: Naye ekipima ekituufu ky’asanyukira.

2 Amalala lwe gajja, lwe wajja n’ensonyi:

Naye amagezi gaba n’abeetoowaza.

3 Obutayonoona  obw’abagolokofu  bulibalungamya:

4 Obugagga tebuliiko kye bugasa ku lunaku olw’obusungu:

Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.

 

(5)  Amasomero okunyuunyunta abazadde  oba abasasulira abayizi kwogatta okubakanda enjeyo bbiri bbiri n’okudda waggulu; essomero bwe libeeramu abayizi nga 200 bw’okubisaamu  enjeyo 2 = 400 ate singa baba abayizi nga700 bw’okubisaamu enjeyo 2 = 1400. Liimu z’empapula buli muyizi liimu emu abamu bazisiba buli lusoma ate ebibuuzo naddala  mu masomero ege pulayimale babikuba ku mpapula za kigubaguba so si ezo ezitwalibwa abazadde oba abayizi; essomero singa liba n’abayizi 200 kubisaamu  liimu 1= 200 ate singa baba abayizi 700 kubisaamu liimu 1= 700 ate nga bagenda kuzitunda oluusi kw’ossa okusaba ez’ebibuuzo. Ebikookooma ( toilet papers) ennyingi abamu cementi, ebidomola bya langi  ne kalonda omulala mungi nnyo Yeremiya 17: 9-11.

 

Yeremiya 17:9-11

9 Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde  endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya? 10 Nze Mukama nkebera mutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng’ebikolwa bye. 11 Ng’enkwale bw’ekungaanya obwana  bw’etazaalanga, bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga so si lwa mazima; ennaku ze nga zikyali za kitundu bulimuvaako, ne nkomerero ye aliba musirusiru.

 

(6)  Ebitongole ebigereka emisolo n’okugisolooza, okubinika abantu emisolo egisusse mu bye bafunamu ensiimbi n’obutaba na nteekateeka nnungi ate ne zidda mu ku bbibwa  n’okusanyizibwa  obubi  Lukka 3:12-13.

 

Lukka 3:12-13

12 N’abawooza ne bajja okubatizibwa, ne bamugamba nti Omuyigiriza tukole ki? 13 N’abagamba nti Temusoloozanga kusukkiriza okusinga bwe mwalagirwa.

 

(7)  Abatekwa okuwa oba okusasula emisolo obutagisasula  Abaruumi 13:6-7

 

Abaruumi 13:6-7

6 Era kye muva muwa omusolo; kubanga be  baweereza ba Katonda, nga banyiikira mu mulimu ogwo.

7 Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab’omusolo;  ab’empooza  ab’okutiibwa  kutya;  ab’ebitiibwa kitiibwa.    

 

(8)  Abateeka amateeka oba abakola semateeka okuteesa n’okuyisa agatasaana nga bye njogeddeko waggulu nga emyenge, emizannyo egisiruwaza abantu obutakola nga basiiba  mu mizannyo gya betingi ebinyuunyuntamu bannansi ensiimbi, n’ebirala n’obutateesa ku nsonga eziruma era eziganyula abantu, wakati mu mbeera y’eby’enfuna enzibu ne bateesa  ku boongeza mudidi gwa nsiimbi n’okumala gayisa  mateeka aganyigiriza abantu.

Abalamuzi abatalamula n’amazima  naddala eri abanaku abatasobola kuwa nguzi. Isaaya 10:1-4, Yeremiya 8:8

 

Isaaya 10:1-4

1 Zibasanze abateeka amateeka agatali ga butuukirivu, n’abawandiisi abawandiika obukyamu: 2 okugoba abanaku  baleme okusalirwa omusango, n’okubanyagako ebyabwe abaavu ab’omu bantu bange, bannamwandu babeere munyago gwabwe, era abafiiriddwa bakitaabwe babafuule omuyiggo gwabwe!  3 Era mulikola mutya ku lunaku olw’okujjirwa, ne mu kuzikirizibwa okuliva ewala? Muliddukira eri ani okubeerwa?  Era mulireka wa ekitiibwa kyammwe? 4 Balikutama bukutami wansi w’abasibe, era baligwa wansi w’abattiddwa. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono  gwe  gukyagoloddwa.

 

Yeremiya 8:8

Mwogera mutya nti Tulina amagezi, n’amateeka ga Mukama  gali naffe? Naye, laba, ekkalamu ey’obulimba ey’abawandiisi ewandiise ebitali bya mazima.

 

(9)  Abasirikale oba abakuuma ddembe obutamanya nkwata ya bantu kubanga omuntu wa muwendo nnyo mu maaso ga Katonda okusinga byonna okujjako abeefuula ab’omutawana; era na kino mukimanye, temuteekwa kukanga wadde okujjako omuntu yenna ensiimbi,  Lukka 3:14.

 

Lukka 3 :14

Era  basserikale ne bamubuuza, nga bagamba nti Naffe tukole ki ?  n’abagamba nti Temujooganga  muntu  so  temukanga;  era  empeera  yammwe  ebamalenga.

 

(10)  Abakulembeze abamu ab’ebiti eby’enjawulo obutalumirirwa n’okutegekera be bakulembera ne bekkusa bokka, n’okunyigiriza abantu nga batwala ebyabwe era nga tebabassamu kitiibwa.

 

(11)  Abantu abamu abakulemberwa mu biti eby’enjawulo obutagondera n’okussa ekitiibwa mu babakulembera nga kw’ogatta n’okwewaggula okukola ebintu ebitatongozeddwa  bakulembeze  baabwe.

 

(12) Abantu abenyigira mu kusamira, okusaddaaka oba okuyiwa omusaayi gw’abantu, ebisolo, ebinyonyi n’ebirala olw’eby’enfuna, obugagga, obukuumi nga beenyweza naddala obutava mu bifo oba entebe z’obukulembeze ez’ebiti eby’enjawulo n’ensonga  endala.

 

(13)  Okutta abantu mu ngeri ez’enjawulo n’okutulugunya.

 

(14)  Okusimba n’okusinza ebifaananyi eby’omu ggulu ebyengeri zonna n’eby’engeri endala yonna,  Ekyamateeka 5:8-9.

 

Ekyamateeka 5:8-9

8Tewekoleranga kifaananyi kyole, ekifaananyi ky’ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, newakubadde  wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w’ettaka 9 tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baana obubi bwa bajjajja baabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa;

 

(15)  Okutimba, okulaga n’okusaasanya eby’obugwenyufu ku bipande, ku zi terefayina, mu mpapula z’amawulire,  mu butabo, ku zi Radio, ku mikutu gya yintaneti, mu bibanda bya zi firimu n’awalala wonna; okuyimba ennyimba ez’obugwenyufu n’amazina agekigwenyufu mu bivvulu ne ku mikutu  gy’empuliziganya egy’enjawulo awamu n’okwogera ebitasaana, okubiwolereza era awamu n’okubisoloozaako  omusolo  ebyo byonna.

 

(16)  Okw’ekkiriranya n’abagwiira oba abeeru olw’okubatya oluusi n’okwagala ensimbi ne tukkiriza eby’obugwaagwa nga ebisiyaga, eddembe eriwa abantu okweyisa nga bwe balaba, nga abasajja ku basajja, abakazi ku bakazi n’ebirala bingi kw’ogatta ebyonoona ensi n’obulamu bwaffe nga ensigo enjingirire oba tugambe enkolerere ezitaddamu kumera okujjako ng’oguze mpya; eby’okulya ebijingirire, eddagala ly’ebirime n’ebisolo nga n’erimu lya kubikuza mangu, ebitooke ebinene ennyo n’ebirime ebirala  ebyonoona ettaka, naffe okusanyaawo ebibira, entobazi n’ebirala bingi, Okubikkulirwa11:18.

 

Okubikkulirwa 11:18

Amawanga ne gasunguwala, n’obusungu ne bujja, n’entuuko ez’okusaliramu omusango gw’abafu, n’ez’okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n’abatukuvu, n’abatya erinnya lyo, abato n’abakulu; n’ez’okwonooneramu abonoona ensi.

 

Nsabira buli mukulembeze mu kitiibwa ne kiti mw’agwa agondere eddoboozi ly’omutoonzi mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo era anaawaganyala omusango gunaaba ku mutwe gwe: nze nga ndi mulongoofu siriiko musaayi gwe n’akatono,  Ezeekyeri 3:16-21.

 

Ezeekyeri 3:16-21

16 Awo olwatuuka ennaku omusanvu bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera 17 nti Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: Kale wulira ekigambo ky’omu kamwa kange, obawe okulabula okuva gye ndi. 18 Bwe ngamba omubi nti Tolirema kufa;  naawe n’otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi  gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 19 Era naye bw’olabula omubi, n’atakyuka okuleka obubi bwe newakubadde okuva mu kkubo lye ebbi,  alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng’owonyezza emmeeme yo. 20 Naye omuntu omutuukirivu bw’akyuka okuleka obutuukurivu bwe, n’akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n’ebikolwa bye ebituukirivu bye yakola tebirijjukirwa;  naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 21 Era naye bw’olabula omuntu omutuukirivu, omutuukirivu aleme okukola ekibi n’atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng’owonyezza emmeeme yo.

 

Ai Katonda eyakola eggulu n’ensi okutaali mpagi mu buyinza bw’amaanyi go nkwebaza nga nkugulumiza olw’ebyaama by’ombikkulira n’amagezi agaakwekebwa emirembe emingi ennyo n’ogakisa n’abeyita abagezi b’omulembe guno so nga bajeema nga bagaana obubaka n’okuyigirizibwa kw’omulembe ogusembayo; olwokumanyirira n’okugaya, okusavuwala n’eby’e nsi, ebitiibwa n’obutakkakana ebigenda okubazikiriza nga balaba kubanga bwe batyo ne bajjajja abaatusooka bwe baagaananga bannabbi abaabatumirwanga awamu  ne Mukama waffe yennyini: onooweebwanga ekitiibwa eri buli anaagondanga ne tukola okwagala kwo olw’ekisa ky’ompadde nze omuddu wo atasaanidde mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

 

MUKAMA WAFFE YESU KRISTO AWEEBWENGA EKITIIBWA KABAKA WA BAKABAKA OMWAMI W’ABAAMI, EMIREMBE N’EMIREMBE                                                            AMIINA.

 

Omuweereza wa bonna kulwa Mukama waffe Yesu Kristo

…………………………………

Omutume Muwanguzi Jubilee

0782610368/0752610368

 

OKULABULA: Toyonoona oba okutunda obubaka buno bwa bweerere, yamba okuwaako omulala (Matayo 10:8).

 

Matayo 10:8

Muwoonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga  dayimooni: mwawebwa buwa, nammwe muwenga buwa                                                                                

 

Nga oyagala okuyimirira naffe  okuyamba omulimu gwa Katonda guno oba nga olina obuyambi bwe weetaaga gamba nga okumanya ebisingawo  ku bubaka buno

 

 Oyinza okukuba ku masimu gano:   0782610368 /0752610368 / 0414693075